LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 1/1 lup. 3
  • Ekintu Bangi Kye Bakkiririzaamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekintu Bangi Kye Bakkiririzaamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bannaddiini Kye Bayigiriza
  • Lwaki ky’Okkiriza Kikulu?
  • Baani Abagenda Emagombe?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Amagombe Kye Ki? Ddala Kifo Abantu Gye Babonyaabonyezebwa Emirembe Gyonna?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okutegeera Ekituufu ku Muliro Ogutazikira Kikukwatako Kitya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 1/1 lup. 3

Ekintu Bangi Kye Bakkiririzaamu

“Nnafunanga nnyo ebirooto ebikwata ku muliro ogutazikira! Oluusi nnalootanga nga nsuulibwa mu muliro ne mpawamuka nga bwe mpoggana. Era nnafubanga nnyo obutakola bibi.”​—Arline.

OKKIRIZA nti eriyo omuliro ogutazikira, ekifo omusuulibwa aboonoonyi babonyaabonyezebwe? Bangi bagamba nti gye guli. Ng’ekyokulabirako, mu 2005 omwekenneenya omu ow’omu Yunivasite y’omu Scotland eyitibwa St. Andrews yakizuula nti kimu kya kusatu ekya bannaddiini mu nsi eyo bakkiriza nti abantu abajeemera Katonda bajja kulumwa “ennaku empitirivu mu muliro ogutazikira emirembe n’emirembe.” Ate kimu kya kutaano bakkiriza nti abo abali mu omuliro ogutazikira batulugunyizibwa.

Mu nsi nnyingi, abantu bangi bakkiriza nti eriyo omuliro ogutazikira. Ng’ekyokulabirako, mu Amerika, okunoonyereza okwakolebwa mu 2007 kwalaga nti abantu nga 70 ku buli 100 abaabuuzibwa bakkiririza nti omuliro ogutazikira gye guli. Ne mu mawanga abantu abasinga gye batakkiririza mu Katonda eriyo abakkiriza nti omuliro ogwo gye guli. Okunoonyereza okwakolebwa 2004 mu Canada kwalaga nti abantu nga 42 ku buli 100 bakkiririza nti eriyo omuliro ogutazikira. Ate yo mu Bungereza, abantu 32 ku buli 100 baali bakakasa nti omuliro ogutazikira gye guli.

Bannaddiini Kye Bayigiriza

Bannaddiini bangi balekedde awo okuyigiriza nti eriyo ekifo omuli omuliro abantu gye babonaabonera. Bangi kati bawagira enjigiriza eyafulumira mu katabo akayitibwa Catechism of the Catholic Church, akaakubibwa mu 1994. Akatabo ako kagamba nti: “Ekibonerezo ekisingayo obubi kwe kwawulibwa ku Katonda emirembe gyonna.”

Wadde kiri kityo, bangi bakyakkiriza nti eriyo omuliro ogutazikira, era nti abo abasuulibwamu baba mu nnaku ya maanyi oba batulugunyizibwa. Abo abawagira mu njigiriza eno bagamba nti yeesigamiziddwa ku Baibuli. R. Albert Mohler, omukulu w’essomero ly’eddiini eriyitibwa Southern Baptist Theological Seminary, agamba nti: “Tewali kubuusabuusa nti enjigiriza eyo yeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa.”

Lwaki ky’Okkiriza Kikulu?

Bwe kiba nti omuliro ogutazikira ddala gye guli, oba mutuufu okugutya. Naye, bwe kiba nti enjigiriza eyo nkyamu, abakulembeze b’eddiini abagiyigiriza baleetera abagoberezi baabwe okubuzaabuzibwa n’okutya ennyo. Ate era bawa ekifaananyi ekibi ku Katonda.

Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kyogera ki ku nsonga eno? Ebitundu ebiddako biraga engeri Baibuli gy’eddamu ebibuuzo bino ebisatu: (1) Kiki ddala ekibaawo ng’omuntu afudde? (2) Ddala Yesu yayigiriza nti eriyo omuliro ogutazikira? (3) Okutegeera ekituufu ku muliro ogutazikira kikukwatako kitya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share