Okutegeera Ekituufu ku Muliro Ogutazikira Kikukwatako Kitya?
ABANTU abayigiriza nti ababi babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira baleeta ekivume ku Yakuwa Katonda awamu n’engeri ze. Kituufu nti Baibuli egamba nti Katonda ajja kuzikiriza ababi. (2 Abasessaloniika 1:6-9) Naye, wadde ng’obusungu bwa Katonda bwa butuukirivu, obusungu si ye ngeri ye esinga obukulu.
Katonda talina mutima mubi era teyeesasuza. Abuuza nti: “Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi?” (Ezeekyeri 18:23) Oba nga Katonda tasanyukira kufa kwa babi, ayinza atya okusanyuka okulaba ababi nga babonaabona emirembe gyonna?
Engeri ya Katonda esinga obukulu kwe kwagala. (1 Yokaana 4:8) Baibuli egamba nti: “Mukama mulungi eri bonna; n’okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.” (Zabbuli 145:9) Era naffe Katonda ayagala tumwagale n’omutima gwaffe gwonna.—Matayo 22:35-38.
Katonda Twandimuweerezza lwa Kutya Muliro Ogutazikira oba lwa Kumwagala?
Enjigiriza nti emyoyo gibonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira ereetera abantu okutya Katonda nga balowooza nti mukambwe nnyo. Naye bwe bayiga amazima agamukwatako, batandika okumwagala n’okumutya mu ngeri ennungi nga bamuwa ekitiibwa. Zabbuli 111:10 wagamba: “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo.” Okutya Katonda okw’engeri eno kutuleetera okumuwa ekitiibwa ng’Omutonzi waffe. Ekyo kituyamba okwewala okukola ebintu ebimunyiiza.
Lowooza ku ngeri Kathleen, omukazi ow’emyaka 32 eyali omunywi w’enjaga, gye yakwatibwako ng’ayize ekituufu ku muliro ogutazikira. Yali yeemalira mu binyumu, mu kulwana, mu bwenzi, era ng’awulira obulamu tebuliimu makulu. Yagamba nti: “Nnatunuuliranga kawala kange ak’omwaka ogumu muli ne ŋŋamba, ‘Kale laba kye nkola omwana wange. Kino kijja kundeetera okusuulibwa mu muliro ogutazikira.’” Kathleen yagezaako nnyo okuva ku njaga naye n’alemwa. Yagamba nti: “Nnali njagala nnyo okuba omuntu omulungi naye nga siraba mugaso gwonna mu bulamu wadde mu nsi eno. Nnali siraba nsonga lwaki nfuba okuba omuntu omulungi.”
Lwali lumu Kathleen n’asanga Abajulirwa ba Yakuwa. Yagamba nti: “Nnayiga nti omuliro ogutazikira teguliiyo. Kino Baibuli ekinnyonnyola mu ngeri etegeerekeka obulungi. Nnawulira nga ntowolokose bwe nnakimanya nti nnali sigenda kusuulibwa muliro ogutazikira.” Kathleen era yategeera ekisuubizo kya Katonda eky’abantu okubeera mu nsi eteriimu bubi emirembe n’emirembe. (Zabbuli 37:10, 11, 29; Lukka 23:43) Yagamba nti: “Kati nnina essuubi erya nnamaddala—okubeera omulamu emirembe n’emirembe mu Lusuku lwa Katonda!”
Kathleen yasobola atya okuva ku njaga nga takyalimu kutya nti ajja kusuulibwa mu muliro ogutazikira? Yagamba nti: “Buli lwe nnawuliranga nga njagala kunywa njaga, nnasabanga Yakuwa Katonda annyambe. Bwe nnafumiitirizanga ku ngeri gy’atunuuliramu ebintu ebibi ng’ebyo, nnawulinga nga ssaagala kumunyiiza. Yaddamu okusaba kwange.” (2 Abakkolinso 7:1) Okutya okunyiiza Katonda kyayamba Kathleen okuleka emize egyo emibi.
Yee, okwagala Katonda n’okutya okumunyiiza—so si kutya kusuulibwa mu muliro ogutazikira—kisobola okutukubiriza okukola Katonda by’ayagala, bwe tutyo ne tuba basanyufu emirembe gyonna. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Alina omukisa buli atya Mukama, atambulira mu makubo ge.”—Zabbuli 128:1.
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]
BAANI ABALIKOMAWO OKUVA EMAGOMBE?
Mu Baibuli ezimu ekigambo ky’Oluyonaani Geʹen·na, ekitegeeza okuzikirira okw’emirembe n’emirembe awatali ssuubi lya kuzuukira, kivvuunulwa “omuliro ogutazikira.” Kyokka, abafu abali mu kifo Baibuli ky’eyita haiʹdes mu Luyonaani (ekyavvuunulwa “amagombe” mu Luganda) bo balina essuubi ery’okuzuukira.
Bwe kityo, oluvannyuma lwa Yesu okufa n’okuzuukizibwa, omutume Peetero yakakasa abaali bamuwuliriza nti Yesu “teyalekebwa mu Magombe.” (Ebikolwa 2:27, 31, 32; Zabbuli 16:10) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘Amagombe’ mu nnyiriri ezo kiri Haiʹdes. Ekifo ekyo Yesu gye yali tekyali kya kubonaabona. Okuba mu Hades, oba mu “magombe,” kitegeeza kuba mu ntaana. Naye Yesu si ye yekka Katonda gw’akomyawo okuva Emagombe.
Baibuli bw’eba eyogera ku kuzuukira egamba nti: “Okufa n’Amagombe ne bireeta abafu abalimu.” (Okubikkulirwa 20:13, 14) “Amagombe” okuleeta abafu bonna abalimu kitegeeza kuzuukiza abo bonna Katonda b’alaba nga bagwanira okuzuukizibwa. (Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15) Ng’eryo ssuubi lya kitalo—okuddamu okulaba abaagalwa baffe nga bavuddeyo mu ntaana! Yakuwa, Katonda ow’okwagala okw’ensusso, kino ajja kukikola.