Beera n’Endowooza ya Baibuli ku Bujjanjabi
“Yagalanga Mukama Katonda wo . . . n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.”—MAK. 12:30.
1. Ekigendererwa kya Katonda eri olulyo ly’omuntu kye kiruwa?
ABANTU okulwala n’okufa tekyali kigendererwa kya Yakuwa Katonda. Adamu ne Kaawa Katonda yabateeka mu lusuku Adeni ‘balulimenga era balukuumenga,’ si kumala myaka 70 oba 80 gyokka, wabula mirembe na mirembe. (Lub. 2:8, 15; Zab. 90:10) Singa abantu abo ababiri abaasooka baasigala nga beesigwa eri Yakuwa era ne bamugondera, tebandirwadde wadde okufa.
2, 3. (a) Okukaddiwa kwogerwako kutya mu kitabo ky’Omubuulizi? (b) Okufa kwava ku ani, era ebizibu ebyava mu kwonoona bya kumalibwawo bitya?
2 Omubuulizi essuula 12 eraga bulungi “ennaku embi” omuntu z’abaamu ng’akaddiye. (Soma Omubuulizi 12:1-7.) Envi zigeraageranyizibwa ku bimuli ‘by’omulozi.’ Amagulu gafaananyizibwa “abasajja ab’amaanyi” nga kati banafuye era nga batambula batagala. Amaaso agayimbadde googerwako ng’abakazi abagenda ku ddirisa okufuna ekitangaala, naye nga balaba kizikiza kyereere. Amannyo googerwako ng’abakazi ‘abalekedde awo okusa kubanga batono,’ olw’okuba agamu gaba gaakukamu.
3 Tekyali kigendererwa kya Katonda nti abantu bandituuse ekiseera ne bakaddiwa, amagulu ne gakankana, amaaso ne gayimbaala, n’amannyo ne gaggwa mu kamwa. Era n’okufa kwe twasikira okuva ku Adamu kye kimu ku ‘bikolwa bya Setaani’ Omwana wa Katonda by’ajja okuggyawo ng’ayitira mu Bwakabaka bwe. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani.”—1 Yok. 3:8.
Kya mu Butonde Okufaayo ku Bulamu Bwaffe
4. Lwaki abaweereza ba Yakuwa basaanidde okufaayo ku bulamu bwabwe, naye kiki kye balina okujjukira?
4 Olw’okuba tebatuukiridde, abaweereza ba Yakuwa abamu nabo boolekagana n’ebizibu ng’obulwadde n’okukaddiwa. Kya mu butonde era kya muganyulo okufaayo ku bulamu bwaffe. Ggwe ate tetwandyagadde kuweereza Yakuwa ‘n’amaanyi gaffe gonna’? (Mak. 12:30) Naye wadde nga kikulu okufaayo ku bulamu bwaffe, tulina okukijjukira nti tewali kya maanyi kye tuyinza kukola kwewala kulwala oba kukaddiwa.
5. Tuyiga ki ku baweereza ba Katonda abaatawanyizibwa obulwadde?
5 Waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi abaatawaanyizibwanga obulwadde. Omu ku bo yali Epafuloddito. (Baf. 2:25-27) Timoseewo munne wa Pawulo yalumwanga nnyo olubuto, era Pawulo bw’atyo yamuwa amagezi ‘anywenga ku mwenge katono.’ (1 Tim. 5:23) Ne Pawulo kennyini yalina “eriggwa mu mubiri,” era nga buno bwandiba nga bwali bulwadde bw’amaaso oba obulwadde obulala obutaaliko ddagala mu kiseera ekyo. (2 Kol. 12:7; Bag. 4:15; 6:11) Pawulo yeegayirira nnyo Yakuwa amuggyemu ‘eriggwa eryo mu mubiri.’ (Soma 2 Abakkolinso 12:8-10.) Naye mu kifo ky’okumuggyamu ‘eriggwa eryo mu mubiri’ mu ngeri ey’ekyamagero, Katonda yamuwa buwi maanyi asobole okuligumira. Mu ngeri eyo, amaanyi ga Yakuwa geeyolekera mu bunafu bwa Pawulo. Kino tulina kye tukiyigamu?
Tetusaanidde Kweraliikirira Kisusse
6, 7. Lwaki obulamu bwaffe tebulina kutweraliikiriza kisusse?
6 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tukkiriza enzijanjaba ezitali zimu. Magazini yaffe Awake! etera okufulumiramu ebitundu ebyogera ku by’obulamu. Tusiima obuyambi bwonna obutuweebwa abasawo, naye tetulina nzijanjaba gye tugamba nti esinga endala. Tukimanyi bulungi nti tetuyinza kuba na bulamu butuukiridde mu kiseera kino. N’olwekyo, kiba kya magezi obuteemalira nnyo ku bulamu bwaffe. Endowooza yaffe erina okuba ey’enjawulo ku y’abantu ‘abatalina ssuubi,’ abalowooza nti buno bwe bulamu bwokka bwe tulinayo era abeetegefu okukkiriza enzijanjaba yonna gye basuubira nti ejja kubayamba okuwona. (Bef. 2:2, 12) Tulina okuba abamalirivu obutanyiiza Yakuwa mu ngeri yonna nga tugezaako okutaasa obulamu bwaffe, kubanga tumanyi nti bwe tusigala nga tuli beesigwa gy’ali tujja ‘kunyweza obulamu obwa nnamaddala,’ obulamu obutaggwawo mu nteekateeka empya gye yasuubiza.—1 Tim. 6:12, 19; 2 Peet. 3:13.
7 Ensonga endala lwaki tetulina kweraliikirira nnyo lwa bulamu bwaffe eri nti, tuyinza okutandika okwerowoozaako ffekka. Pawulo yalabula ku kabi kano bwe yakubiriza Abafiripi ‘obutatunuuliranga byabwe byokka naye n’eby’abalala.’ (Baf. 2:4) Kiba kirungi okufaayo ku bulamu bwaffe, naye tulina n’okufaayo ku baganda baffe era ne ku bantu be tubuulira “amawulire amalungi ag’obwakabaka,” kituyambe obutamalira nnyo birowoozo ku bulamu bwaffe.—Mat. 24:4.
8. Okufaayo ekisusse ku bulamu bwaffe kiyinza kutuviiramu ki?
8 Okufaayo ekisusse ku bulamu bwaffe kiyinza okutuleetera okussa omulimu gw’Obwakabaka mu kifo eky’okubiri. Kiyinza n’okutuleetera okupikiriza abalala balye ebintu bye tulowooza nti bya mugaso, oba bakkirize enzijanjaba ze tulowooza nti ziyamba. Ku nsonga eno, lowooza ku bigambo bya Pawulo bino: ‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu, muleme kubaako kye munenyezebwa era muleme kwesittaza balala okutuusa ku lunaku lwa Kristo.’—Baf. 1:10, NW.
Kiki Ekisinga Obukulu?
9. Ekimu ku bintu ebisinga obukulu kye tutalina kulagajjalira kye kiruwa, era lwaki?
9 Bwe tuba tumanyi ebintu ebisinga obukulu, tujja kunyiikirira omulimu gw’okuwonya abantu mu by’omwoyo. Kino tukikola nga tubabuulira era nga tubayigiriza Ekigambo kya Katonda. Omulimu guno guganyula ffe abagukola era n’abo be tuyigiriza. (Nge. 17:22; 1 Tim. 4:15, 16) Oluusi mu Watchtower ne mu Awake! mubaamu ebyokulabirako by’ab’oluganda abalina endwadde ez’amaanyi. Ebyokulabirako ebyo oluusi biraga engeri ab’oluganda abo gye basoboddemu okugumira obulwadde obubaluma, n’okuyamba abalala okumanya ebikwata ku Yakuwa n’ebisuubizo bye eby’ekitalo.a
10. Lwaki twandifuddeyo ku ngeri gye tusalawo okujjanjabibwa?
10 Buli Mukristaayo akuze bw’alwala ab’alina ‘okwetikka omutwalo gwe,’ oba obuvunaanyizibwa bwe, okwesalirawo engeri gy’anajjanjabibwamu. (Bag. 6:5) Naye tulina okukijjukira nti tuvunaanyizibwa mu maaso ga Yakuwa. Nga bwe ‘twewala omusaayi’ olw’okuba Baibuli bw’etyo bw’eragira, bwe tutyo bwe tulina okwewala enzijanjaba eziyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Bik. 15:20) Enzijanjaba ezimu zeekuusa ku by’obusamize. Yakuwa teyali musanyufu eri Abaisiraeri abeeyambisanga ‘amaanyi g’emyoyo emibi,’ oba eby’obusamize. Yagamba nti: “Mulekere awo okuleeta ebiweebwayo ebitaliimu makulu. Obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi. Omwezi ogubonese ne ssabbiiti, okuyita enkuŋŋaana—sseetagira ddala maanyi ga myoyo mibi mu nkuŋŋaana entukuvu.” (Is. 1:13, NW) Tetwandyagadde kukola kintu kyonna ekiyinza okulemesa essaala zaffe okutuuka eri Katonda, oba okwonoona enkolagana yaffe naye, naddala nga tuli balwadde.—Kung. 3:44.
Kikulu ‘Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu’
11, 12. Okuba “n’endowooza ennuŋŋamu” kituyamba kitya nga tusalawo engeri y’okujjanjabibwamu?
11 Bwe tuba abalwadde, tetulina kusuubira nti Yakuwa ajja kutuwonya mu ngeri ey’ekyamagero, naye tusobola okumusaba atuyambe tulonde enzijanjaba esaanira. Tasaanidde okwesigama ku misingi gy’Ebyawandiikibwa n’okwoleka endowooza ennuŋŋamu nga tusalawo ku nsonga eyo. Obulwadde bwe buba obw’amaanyi, kiyinza okuba eky’amagezi okulaba abasawo ab’enjawulo, nga tukolera ku musingi guno oguli mu Engero 15:22 (NW): ‘Enteekateeka zigootaana bwe wataba kwebuuza, naye zitereera bwe wabaawo abawabuzi abangi.’ Omutume Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne “okubeera n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka eno ey’ebintu.”—Tito 2:12, NW.
12 Abantu bangi leero beesanga mu mbeera efaananako ey’omukyala omu eyali omulwadde mu kiseera kya Yesu. Makko 5:25, 26 wagamba: “[Waliwo] omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky’omusaayi emyaka kkumi n’ebiri, eyatengejja ennyo eri abasawo abangi, n’awangayo bye yali nabyo byonna, so n’atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala.” Omukazi oyo Yesu yamukwatirwa ekisa n’amuwonya. (Mak. 5:27-34) Olw’okwagala okuwona, Abakristaayo abamu basalawo okujjanjabibwa mu ngeri ezikontana n’okusinza okw’amazima.
13, 14. (a) Setaani ayinza atya okukozesa eby’obujjanjabi okutusuula? (b) Lwaki twandyewaze ekintu kyonna ekyekuusa ku by’obusamize?
13 Setaani akola buli ekisoboka okutuwugula okuva mu kusinza okw’amazima. Nga bw’aleetera abamu okugwa mu bwenzi n’okwagala eby’obugagga ne baddirira mu by’omwoyo, agezaako okusuula abalala ng’abaleetera okukkiriza enzijanjaba ezirimu eby’obusamize. Tusaba Yakuwa atununule eri “omubi” ne “mu bujeemu bwonna.” N’olwekyo, tetwandiwadde Setaani kakisa nga twesembereza ekintu kyonna ekyekuusa ku by’obusamize.—Mat. 6:13; Tito 2:14.
14 Yakuwa yagaana Abaisiraeri okwenyigira mu by’obusamize. (Ma. 18:10-12) Pawulo akiraga nti “eby’obusamize” kye kimu ku ‘bikolwa eby’omubiri.’ (Bag. 5:19, 20, NW) Ate era, ‘abo abeenyigira mu by’obusamize’ tebagenda kusikira bulamu mu nteekateeka ya Yakuwa empya. (Kub. 21:8, NW) Awatali kubuusabuusa, ekintu kyonna ekikwatagana n’eby’obusamize kiba kya muzizo eri Yakuwa.
‘Temuba Bakakanyavu’
15, 16. Lwaki twetaaga okusalawo enzijanjaba mu ngeri ey’amagezi, era bulagirizi ki obwava eri akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka?
15 Okusinziira ku bye tulabye, kiba kya magezi okwewala enzijanjaba yonna gye tulinamu enkenyera. Kino tekitegeeza nti buli nzijanjaba gye tutategeera bulungi ebaamu eby’obusamize. Okusobola okuba n’endowooza y’Ebyawandiikibwa ku bujjanjabi, tulina okufuna obulagirizi bwa Katonda era n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Mu Engero essuula 3, tuweebwa amagezi gano: “Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe. Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo. . . . Kwatanga amagezi amatuufu n’okuteesa; bwe binaabanga bwe bityo obulamu eri emmeeme yo.”—Nge. 3:5, 6, 21, 22.
16 N’olwekyo, wadde nga kirungi okufaayo ku bulamu bwaffe, tulina okwegendereza obutakola bintu binyiiza Katonda nga tugezaako okulwanyisa obulwadde oba okulaba nti tetukaddiwa mangu. Bwe tunywerera ku misingi gya Baibuli nga kituuse ku bujjanjabi, nga bwe tukola ku bintu ebirala, ‘kyeyoleka bulungi eri abalala nti tetuli bakakanyavu.’ (Baf. 4:5) Akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka kaawandiikira Abakristaayo ebbaluwa ne kabakubiriza okwewalanga okusinza ebifaananyi, omusaayi, n’obwenzi. Ebbaluwa eyo erimu n’ebigambo bino: “Bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi.” (Bik. 15:28, 29) Mu ngeri ki?
Okulabirira Obulamu Bwaffe Kati nga bwe Tulindirira Obutuukiridde
17. Tuganyuddwa tutya mu kunywerera ku misingi gya Baibuli?
17 Kirungi buli omu ku ffe okwebuuza: ‘Ndaba emiganyulo gye nfunye mu kunywerera ku misingi gya Baibuli egikwata ku bwenzi n’omusaayi?’ Lowooza ne ku miganyulo gye tufunye olw’okuba tufubye ne ‘twenaazaako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo.’ (2 Kol. 7:1) Okutambulira ku mitindo gya Baibuli egy’obuyonjo kituyamba okwewala endwadde nnyingi. Tuli bayonjo mu mubiri ne mu by’omwoyo olw’okuba tetunywa taaba, njaga, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Lowooza ne ku miganyulo egiri mu kulya ne mu kunywa ekisaanira. (Soma Engero 23:20; Tito 2:2, 3.) Wadde ng’ebintu ng’okuwummula ekimala n’okuzannya emizannyo okugolola ebinywa biyamba, ekisingira ddala okutuganyula mu mubiri ne mu by’omwoyo kwe kutambulira ku bulagirizi bwa Baibuli.
18. Kiki kye tulina okusinga okufaako, era bunnabbi ki obukwata ku bulamu bwaffe bwe twesunga?
18 Okusinga byonna, tulina okufaayo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo n’okunyweza enkolagana yaffe ne Kitaffe ow’omu ggulu, Ensibuko ‘y’obulamu obwa kaakano n’obwo obugenda okujja’ mu nsi empya. (1 Tim. 4:8; Zab. 36:9) Mu nsi ya Katonda eyo empya, tujja kuwonyezebwa mu mubiri ne mu by’omwoyo nga tusonyiyibwa ebibi byaffe okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu ey’ekinunulo. Omwana gw’Endiga Yesu Kristo ajja kututwala ku ‘nzizi ez’amazzi ag’obulamu,’ era Katonda ajja ‘kusangula buli zziga’ mu maaso gaffe. (Kub. 7:14-17; 22:1, 2) Olwo n’obunnabbi buno bujja kutuukirizibwa: “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.”—Is. 33:24.
19. Tuyinza kuba bakakafu ku ki nga tugezaako okulabirira obulamu bwaffe?
19 Tukimanyi bulungi nti okununulibwa kwaffe kuli kumpi, era twesunga nnyo olunaku olwo Yakuwa mw’ajja okumalirawo ddala okulwala n’okufa. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tuli bakakafu nti Kitaffe ow’okwagala ajja kutuyamba okugumira endwadde zonna ezituluma, kubanga ‘atufaako.’ (1 Peet. 5:7) N’olwekyo, ka tufeeyo ku balamu bwaffe, naye nga tukikola okusinziira ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa!
[[Obugambo obuli wansi]
a Ebimu ku bitundu ng’ebyo bisangibwa mu kasanduuko akali ku lupapula 31, mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 1, 2003.
Okwejjukanya
• Ani yaleetera abantu okulwala, era ani anaatuwonya ebyo byonna ebyava mu kibi?
• Wadde nga kya mu butonde okufaayo ku bulamu bwaffe, kiki kye tulina okwewala?
• Lwaki twandifuddeyo ku ngeri gye tusalawo okujjanjabibwamu?
• Ku bikwata ku bulamu bwaffe, tuyinza tutya okuganyulwa mu kunywerera ku misingi gya Baibuli?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Abantu baatondebwa nga tebalina kulwala na kukaddiwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Ne bwe baba nga balwadde, abantu ba Yakuwa bafuna essanyu mu kubuulira amawulire amalungi