LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 1/1 lup. 23-26
  • Obuyonjo Lwaki Bwetaagisa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obuyonjo Lwaki Bwetaagisa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kikulu ab’Omu Maka Okukolera Awamu
  • Bwe Tuba Abayonjo Tuweesa Katonda Gwe Tusinza Ekitiibwa
  • “Mukoppe Katonda”
  • Obuyonjo bwa Mugaso Kwenkana Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Obuyonjo Ddala Butegeeza Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Yakuwa Ayagala Abantu Abayonjo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Katonda Ayagala Abantu Abayonjo
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 1/1 lup. 23-26

Obuyonjo Lwaki Bwetaagisa?

Okuva edda n’edda, abantu babadde bakwatibwa endwadde nnyingi nnyo. Abamu baali balowooza nti Katonda y’asindika endwadde ng’ezo okubonereza abantu ababa bamunyiizizza. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, kyazuulibwa nti waliwo obuwuka obuleeta endwadde ezo.

Abanoonyereza ku by’obulamu baakizuula ebintu ng’emmese, ebiyenje, ensowera, n’ensiri byonna bisobola okusaasaanya endwadde. Era baakizuula nti abantu bakwatibwa nnyo endwadde nnyingi olw’obutaba bayonjo. Bwe kityo, omuntu bw’ataba muyonjo kiyinza n’okumuviirako okufa.

Kya lwatu nti emitindo gy’obuyonjo tegiba gye mu buli kitundu. Kiba kizibu okukuuma omutindo gw’obuyonjo omulungi nga mu kitundu temuli mazzi mayonjo wadde awagenda kazambi. Kyokka, Katonda yawa Abaisiraeri ab’edda ebiragiro ebyabayamba okuba abayonjo nga bali mu ddungu​—embeera ezaali enzibu ennyo okukuumiramu obuyonjo!

Lwaki obuyonjo kintu kikulu nnyo eri Katonda? Omutindo gw’obuyonjo ogusaanira gubeera gutya? Ggwe n’ab’omu maka go muyinza kukola ki okulaba nti mwewala endwadde ezimu?

MAX,a omulenzi omuto ow’omu Cameroon, akomyewo okuva ku ssomero ng’enjala n’ennyonta bimuluma. Ayingira mu nnyumba, aweeweeta embwa ye, n’oluvannyuma ateeka ensawo ye ey’ebitabo ku mmeeza okuliirwa emmere, n’atuula alindirire emmere.

Bw’awulira nti akomyewo, maama wa Max ava mu ffumbiro n’amuleetera essowaani y’omuceere n’ebijanjalo. Naye akyusa ku ntunula bw’alaba ensawo y’ebitabo ku mmeeza ennyonjo. Akuba mutabani we eriiso era n’ayogera nti, “Maaaax!” Kino mutabani we akitegeererawo, era amangu ago aggya ensawo ku mmeeza, n’adduka ebweru okunaaba mu ngalo. Mu kaseera buseera, akomawo n’atandika okulya emmere ye. Agamba maama we nti, “Nsonyiwa Maama, nneerabidde bwerabizi.”

Maama alina kinene nnyo ky’asobola okukola bwe kituuka ku buyonjo ne ku bulamu bw’ab’omu maka ge, wadde ng’ab’omu maka bonna balina okumuyambako. Ng’ekyokulabirako kya Max bwe kiraga, okuyigiriza abaana obuyonjo kitwala ebbanga ddene, era kyetaagisa okufuba n’okubajjukiza entakera.

Maama wa Max akimanyi nti waliwo engeri nnyingi emmere gy’esobola okugendamu obuwuka. N’olwekyo, takoma ku kya kunaaba ngalo nga tannakwata ku mmere, naye agibikkako ereme kugwako nsowera. Olw’okuba emmere yonna eba mbikkeko, nga n’ennyumba nnyonjo bulungi, tatera kutawanyizibwa mmese na biyenje.

Emu ku nsonga lwaki maama wa Max afaayo nnyo ku buyonjo eri nti ayagala okusanyusa Katonda. Agamba nti: “Baibuli eragira abantu ba Katonda okuba abatukuvu kubanga Katonda mutukuvu.” (1 Peetero 1:16) Agattako nti: “Obutukuvu bulina akakwate n’obuyonjo. N’olwekyo, njagala amaka gange gabe mayonjo, era n’ab’omu maka gange babe bayonjo. Kino kisoboka olw’okuba ffenna ng’amaka tukolera wamu.”

Kikulu ab’Omu Maka Okukolera Awamu

Nga maama wa Max bw’agamba, amaka okusobola okuba amayonjo buli omu alina okwenyigiramu. Abamu batuula wamu ng’amaka ne boogera ku ngeri gye bayinza okwongera ku mutindo gw’obuyonjo mu maka gaabwe. Kino kiyamba ne mu kuleetawo obumu mu maka, n’okujjukiza buli omu obuvunaanyizibwa bw’alina awaka. Ng’ekyokulabirako, Maama ayinza okunnyonnyola abaana be abakulu lwaki kikulu okunaaba mu ngalo nga bavudde mu kabuyonjo, nga bakutte ku bintu nga ssente, oba nga bagenda okulya. Olwo nabo basobola okuyamba bato baabwe okukola kye kimu.

Buli omu mu maka asobola okubaako emirimu gy’aweebwa okukola. Kiyinza okusalibwawo nti ennyumba yakuyonjebwanga omulundi gumu buli wiiki, ate omulundi gumu oba ebiri buli mwaka, eyonjebwe yonna na buli kimu ekirimu. Ate kiri kitya ku kuyonja wabweru w’ennyumba? Ng’ayogera ku ggwanga lya Amerika, omulwanirizi w’obutonde ayitibwa Stewart L. Udall yagamba nti: “Ensi gye tulimu kati eyonoonese tekyalabika bulungi, era obutonde bwayo bwonooneddwa olw’omukka ogw’obutwa n’ebintu ebirala.”

Bwe kityo bwe kiri ne mu kitundu gy’obeera? Mu bibuga by’edda, ne mu bimu eby’omu masekkati ga Africa leero, waabangawo omuntu eyagendanga ng’akuba ekidde nga bw’ayogerera waggulu okujjukiza abatuuze okuyonja ekibuga, okugogola emyala, okuwagulira emiti, okukuula omuddo, n’okulondalonda ebisasiro.

Mu nsi yonna ebisasiro bifuuse ekizibu eky’amaanyi era gavumenti nnyingi tezimanyi kya kubikolera. Olw’obungi bw’ebisasiro mu bibuga ebimu, abo abalina okubiyoola oluusi balemererwa okubimalawo ne byetuuma ku nguudo. Emirundi egimu abatuuze basabibwa okuyambako. Ng’abatuuze abalungi, Abakristaayo be bamu ku abo abasooka okwanukula omulanga ogwo, nga bagondera etteeka lya Kayisaali awatali kwemulugunya. (Abaruumi 13:3, 5-7) Abakristaayo ab’amazima baba beetegefu okukola kyonna ekisoboka okuyamba mu nsonga eno. Baagala nnyo okubeera awantu awayonjo era okubaako kye bakolawo tebalinda muntu kujja ng’akuba ekide okubajjukiza. Bakimanyi bulungi nti omuntu ow’empisa era ow’obuvunaanyizibwa ateekwa okufaayo ennyo ku buyonjo. Obuyonjo buno butandikira ku buli muntu kinnoomu era na mu buli maka. Okukuuma obuyonjo awaka kiyamba mu kulwanyisa endwadde n’okulabisa obulungi ekitundu kyammwe.

Bwe Tuba Abayonjo Tuweesa Katonda Gwe Tusinza Ekitiibwa

Okuba abayonjo n’okwambala obulungi kitundu kya kusinza kwaffe era kino kitwawula ku bantu abalala. Abalenzi n’abawala nga 15 baayingira mu kawooteeri akamu nga bavudde ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali e Toulouse, mu France. Omwami ne mukyala we abaali ku mmeeza eyali okumpi ne we baatuula baali bamanyi nti abavubuka abo bagenda kubaleekaanira. Naye enneeyisa y’abavubuka abo abaali bambadde obulungi awamu n’emboozi gye baali banyumya byabeewuunyisa nnyo. Abavubuka abo bwe baali basituka okugenda, omwami oyo ne mukyala we baabasiima olw’okweyisa obulungi era baagamba omu ku bo nti ennaku zino kizibu okusanga abavubuka abeeyisa bulungi bwe batyo.

Abantu abakyala ku ofiisi z’amatabi, ne mu bifo ebirala awaddukanyizibwa emirimu gy’Abajulirwa ba Yakuwa batera okwewuunya omutindo gw’obuyonjo gwe basangayo. Bannakyewa abakola mu bifo bino balina okuba abayonjo n’okwambala obulungi. Bakimanyi nti okwefuuyira obuwoowo si kye kireetera omubiri okuba omuyonjo. Bannakyewa abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bwe baba babuulira akawungeezi oba ku wiikendi, baweesa obubaka bwabwe ekitiibwa olw’endabika yaabwe ennungi.

“Mukoppe Katonda”

Abakristaayo bakubirizibwa ‘okukoppa Katonda.’ (Abaefeso 5:1, NW) Mu kwolesebwa, nnabbi Isaaya yalaba bamalayika nga boogera ku Mutonzi waffe nti “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu.” (Isaaya 6:3) Ebigambo ebyo biraga nti Katonda muyonjo era mulongoofu ku kigero ekya waggulu ennyo. Eyo ye nsonga lwaki Katonda yeetaagisa abaweereza be bonna okuba abatukuvu era abayonjo. Agamba nti: “Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.”​—1 Peetero 1:16.

Baibuli ekubiriza Abakristaayo okwambala ‘ebyambalo ebisaana.’ (1 Timoseewo 2:9) Tekyewuunyisa nti mu kitabo kya Okubikkulirwa, “bafuta entukuvu ennungi” zikiikirira ebikolwa by’obutuukirivu eby’abo Katonda b’atwala okuba abatukuvu. (Okubikkulirwa 19:8) Ku luuyi olulala, mu Byawandiikibwa, ebibi bitera okwogerwako ng’amabala oba obucaafu.​—Engero 15:26; Isaaya 1:16; Yakobo 1:27.

Leero, obukadde n’obukadde bw’abantu babeera mu bitundu gye kiri ekizibu ennyo okuba omuyonjo mu mubiri, mu mpisa ne mu by’omwoyo. Katonda ‘bw’anaafuula ebintu byonna ebiggya,’ ekizibu ekyo kijja kuggwawo. (Okubikkulirwa 21:5) Ekisuubizo ekyo bwe kinaatuukirira, obucaafu n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri bujja kuggwerawo ddala.

[Obugambo obuli wansi]

a Erinnya likyusiddwa.

[Akasanduuko akali ku lupapula 24]

Katonda Atwetaagisa Okuba Abayonjo

Bwe baali mu ddungu, Abaisiraeri baalagirwa okuziikanga empitambi yaabwe. (Ekyamateeka 23:12-14) Kino tekyali kyangu olw’okuba olusiisira lwabwe lwali lunene nnyo, naye kirina okuba nga kyabayamba nnyo mu kuziyiza endwadde nga omusujja gw’omu byenda ne kkolera.

Abaisiraeri baalagirwa okwoza oba okusuula ekintu kyonna ekyabanga kikonye ku mulambo. Bayinza okuba nga tebaamanya nsonga lwaki ekyo baalina, naye kyabayamba okwewala okukwatibwa endwadde.​—Eby’Abaleevi 11:32-38.

Bakabona baalina okunaaba engalo n’ebigere nga tebannaba kugenda kukweereza mu weema ey’okusisinkanirangamu. Okujjuza ebbenseni y’ekikomo omwabeeranga amazzi ag’okunaaba tekyali kyangu, naye okunaaba kyali kya tteeka.​—Okuva 30:17-21.

[Akasanduuko akali ekiri ku lupapula 25]

Amagezi Okuva eri Omusawo

Amazzi kintu kikulu nnyo mu kuyimirizaawo obulamu, naye bwe gaba amacaafu gayinza okuviirako omuntu okulwala n’okufa. Omusawo ayitibwa J. Mbangue Lobe akulira ekitongole ky’ebyenzijanjaba ku mwalo gw’e Douala mu Cameroon alina amagezi ge yawa bwe yali addamu ebibuuzo ebyamubuuzibwa.

“Amazzi ag’okunywa gafumbe bw’oba togeekakasa.” Naye yalabula nti: “Okuteeka eddagala mu mazzi ag’okunywa kirungi naye kiyinza okuba eky’akabi bwe kitakolebwa bulungi. Bulijjo naaba engalo ne sabbuuni ng’ogenda okulya oba ng’ovudde mu kabuyonjo. Omuti gwa ssabbuuni gwa ssente ntono era n’omwavu asobola okumugula. Yozanga engoye zo, era bw’oba olina obulwadde bw’olususu kozesa amazzi agookya.”

Omusawo oyo era yagamba nti: “Ab’omu maka bonna balina okwenyigira mu kukuuma obuyonjo. Kabuyonjo n’obusenge omuterekebwa ebintu bitera okulagajjalirwa era bibaamu nnyo ebiyenje n’ensowera.” Yayongerako ekintu ekikulu ekikwata ku baana n’agamba nti: “Mwegendereze emyala egiyita mu bitundu byammwe. Gibaamu obuwuka bungi obw’akabi. Naaba buli kiro nga tonneebaka, senya bulungi amannyo, era weebake mu katimba k’ensiri.” Bino byonna bituyigiriza okutunula mu maaso, tugezeeko okulaba kye tulina okukola okusobola okwewala emitawaana.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Okwoza engoye zo kiyamba okwewala endwadde z’olususu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Abakristaayo bafuba okukuuma ebifo mwe babeera nga biyonjo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Maama akola kinene mu kukuuma amaka ge nga mayonjo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share