Obuyonjo Ddala Butegeeza Ki?
OLW’OBUJAMA obw’amaanyi ennyo obwali mu Bulaaya ne mu Amereka mu kyasa ekya 18 ne 19, abaminsani ab’omu biseera ebyo baabuulira ekiyinza okuyitibwa “enjigiriza ekwata ku buyonjo.” Enjigiriza eyo yakwataganya obujama n’ekibi, ate era n’egamba nti obuyonjo buleetera omuntu okubeera okumpi ne Katonda. Oboolyawo, ekyo kye kyaviirako enjogera egamba nti “Obuyonjo kumpi bwenkanankana n’okutya Katonda” okucaaka mu nsi ezo.
Endowooza eyo yali y’ab’eddiini ya Salvation Army eyatandikibwawo William ne Catherine Booth. Okusinziira ku kitabo Health and Medicine in the Evangelical Tradition, emu ku ŋŋombo ze baalina yali nti: “Soap, Soup, and Salvation.” (Sabbuuni, Ssupu n’Obulokozi) Kati ate Louis Pasteur n’abalala bwe baalaga nti waliwo obuwuka obusirikitu obuleeta obulwadde, kyaleetera bannasayansi okwongera amaanyi mu ngeri gye bayinza okuyambamu abantu okufuna obulamu obusingawo obulungi.
Ebimu ku ebyo ebyasooka okukolebwa, mwe mwali okugaana omuntu awa obujulirwa mu kkooti okunywegera Baibuli era n’okuggyawo enkola ey’okunywera mu kikopo ekimu ku ssomero ne mu bifo eggali z’omuka gye zisimba. Era mu kifo ky’ekikopo ekimu ekyakozesebwanga okunywa enviinyo mu makanisa, baatandika okukozesa ebikopo ebiwerako. Yee, kirabika nti abantu abaasooka okuwoma omutwe mu by’obuyonjo baalina kinene kye baakola mu kukyusa endowooza z’abantu ku nsonga ezikwata ku buyonjo. Enkyukakyuka mu ndowooza yali y’amaanyi nnyo, omuwandiisi omu n’atuuka n’okugamba nti “abantu baali basse omukago n’obuyonjo.”
Kyokka, ‘omukago ogwo’ gwali gwa kungulu kwokka. Ekiseera kyayitawo mpaawo kaaga, abasuubuzi sabbuuni ne bamufuula ekintu ekyetaagisa ennyo mu kulongoosa olususu. Okulangirira ebyamaguzi mu ngeri ey’obukujukuju kwaleetera abaguzi okulowooza nti okukozesa ebintu ebikozesebwa mu kuyonja nga sabbuuni, kwandibafudde aba waggulu era nti abalala abatamukozesa bandibadde babeesimisa nnyo. Ttivi zikubiriza nnyo endowooza eyo etali ntuufu. Abantu abatutumufu era abalabika obulungi abakozesebwa mu kulangirira ebyamaguzi oba mu mizannyo egiragibwa ku ttivi, tebatera kulabibwa nga balongoosa ennyumba, nga beera olujja, nga balonda ebisasiro oba nga balongoosa mu kifo ebisolo byabwe we bibeera.
Waliwo n’abagamba nti okugenda n’okola omulimu kikusobozesa okufuna ssente ezeetaagisa okukola ku byetaago byo, naye emirimu egy’awaka oba emirala egy’okulongoosa tegivaamu magoba gonna mu by’ensimbi. N’olwekyo, olw’okuba tekivaamu ssente, tebalaba nsonga lwaki bandifuddeyo nnyo ku kulongoosa gye babeera. Ekimu ekivudde mu ndowooza eyo kiri nti, abantu abamu leero balowooza nti obuyonjo kitegeeza okweyonja kinnoomu.
Engeri Katonda gy’Atunuuliramu Obuyonjo
Awatali kubuusabuusa, okufuba okwo mu biseera eby’edda okuyigiriza abantu ebikwata ku buyonjo kwabayamba okulongoosa embeera z’obulamu bwabwe. Era ekyo tekyewuunyisa kubanga obuyonjo busibuka eri Yakuwa, Katonda omutukuvu era omuyonjo. Atuyigiriza okutuganyula tulyoke tubeere abatukuvu era abayonjo mu ngeri zaffe zonna.—Isaaya 48:17; 1 Peetero 1:15.
Yakuwa Katonda assaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Obuyonjo, awamu n’engeri ze endala ezitalabika, byeyolekera mu bitonde bye ebirabika. (Abaruumi 1:20) Tulaba nti obutonde bwennyini tebusobola kuleetawo kabi ka nkalakkalira. Ensi yatondebwa ng’esobola okwerongoosa yokka. Ekintu ekirungi ng’ekyo kyandibadde kisobola kuva eri Omuteesiteesi omuyonjo yekka. N’olwekyo, okusinziira ku kino, tusobola okugamba nti abasinza ba Katonda basaanidde okubeera abayonjo mu buli ngeri yonna ey’obulamu bwabwe.
Engeri Nnya ez’Obuyonjo
Baibuli eraga nti abasinza ba Katonda balina okubeera abayonjo mu ngeri nnya. Ka twekenneenye buli emu ku zo.
Mu By’Omwoyo. Buno buyinza okutwalibwa ng’obuyonjo obusinga bwonna, kubanga bukwataganyizibwa n’essuubi ly’omuntu ery’okubeerawo emirembe gyonna. Kyokka, obuyonjo obw’engeri eno bwe businga okulagajjalirwa. Okukyogerako mu ngeri ennyangu, okubeera omuyonjo mu by’omwoyo kitegeeza obutasukka kkomo Katonda ly’ataddewo wakati w’okusinza okw’amazima n’okw’obulimba, kubanga engeri yonna ey’okusinza okw’obulimba Katonda agitwala nga si nnyonjo. Omutume Pawulo yawandiika: “Muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; nange ndibasembeza.” (2 Abakkolinso 6:17) Omuyigirizwa Yakobo naye ayogera butereevu ku nsonga eno: “Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, . . . okwekuumanga obutaba na mabala ag’omu nsi.”—Yakobo 1:27.
Katonda yakiraga bulungi nti tasiima kugattika kusinza okw’amazima n’okw’obulimba. Okusinza okw’obulimba kutera okuzingiramu ebikolwa ebitali birongoofu n’okusinza ebifaananyi ne bakatonda abalala. (Yeremiya 32:35) Bwe kityo, Abakristaayo ab’amazima bakubirizibwa obutenyigira mu kusinza kwonna okutali kulongoofu.—1 Abakkolinso 10:20, 21; Okubikkulirwa 18:4.
Mu Mpisa. Ne mu kino, Katonda alaga bulungi enjawulo eriwo wakati w’ekiyonjo n’ekitali kiyonjo. Okutwalira awamu, ensi yonna eyinza okwogerwako nga bwe kiri mu Abaefeso 4:17-19: ‘Bali mu kizikiza mu birowoozo era baawuliddwa ku Katonda olw’obutaba na mpisa n’akamu, beewaayo mu bwenzi ne mu bikolwa eby’obugwenyufu ebya buli ngeri.’ Endowooza embi ng’eyo erabikira mu ngeri nnyingi, mu ezo ezirabika amangu n’enneekusifu. N’olwekyo, Abakristaayo basaanidde okwekuuma.
Abantu abaagala Katonda bakimanyi nti obwamalaaya, okulya ebisiyaga, okwetaba nga temuli bafumbo n’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu bimenya emitindo gya Yakuwa egy’obuyonjo. Kyokka, ebintu ebyo bicaase nnyo mu by’amasanyu ne mu nnyambala. N’olwekyo, Abakristaayo basaanidde okwekuuma ebintu ebyo. Okwambala engoye ennyimpi ennyo oba ezitangaala ng’oli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo oba mu bifo ebirala abantu gye bakuŋŋaanira kiraga nti ofaayo ekisukkiridde ku mubiri gwo era nti oddiridde mu mpisa. Ng’oggyeko okuleeta endowooza y’ensi etali nnongoofu mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, okwambala mu ngeri ng’eyo kuyinza okuleetera abalala ebirowoozo ebibi. Ku bikwata ku nsonga ezo, Abakristaayo bonna basaanidde okukola n’amaanyi basobole okwoleka “amagezi agava waggulu.”—Yakobo 3:17.
Mu Birowoozo. Omutima tegusaanidde kubeera tterekero lya birowoozo ebitali birongoofu. Yesu yalabula ku birowoozo ebitali birongoofu bwe yagamba: “Buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:28; Makko 7:20-23) Ebigambo ebyo bikwata ne ku kulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu mu bitabo ne mu firimu, okusoma ebitabo ebikwata ku by’okwetaba, n’okuwuliriza ennyimba ezitali nnungi. N’olwekyo, Abakristaayo basaanidde okwewala okweyonoona n’ebirowoozo ebitali birongoofu ebiyinza okubaleetera okwogera n’okweyisa mu ngeri etali nnungi.—Matayo 12:34; 15:18.
Mu Mubiri. Obutukuvu n’obuyonjo obw’omubiri bikwataganyizibwa nnyo mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yawandiika: “Abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.” (2 Abakkolinso 7:1) N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima basaanidde okufuba okukuuma emibiri gyabwe, amaka gaabwe n’ebifo ebigeetoolodde nga biyonjo nnyo ng’embeera bwe ziba zibasobozesa okukikola. Ne bwe kiba nti mu bifo gye babeera si kyangu kufuna mazzi ga kunaaba n’okwoza engoye, Abakristaayo basaanidde okukola kyonna kye basobola okubeera abayonjo.
Era okubeera omuyonjo mu mubiri kitegeeza nti tetusaanidde kukozesa ttaaba mu ngeri yonna, okwekamirira omwenge n’amalagala. Ebintu ebyo biviirako omubiri okuwunya n’okwonooneka. Omusumba ayogerwako mu kitabo ky’Oluyimba yeegomba nnyo akaloosa k’ebyambalo by’omuwala Omusulamu. (Oluyimba 4:11) Kiba kya kwagala okubeera abayonjo, okuva bwe tutayagala kuwunyirira abo ababa batuliraanye. Kiyinza okubeera ekirungi okukozesa obuloosa, naye ekyo tekitegeeza nti tetusaanidde kunaaba n’okwoza engoye zaffe.
Okubeera n’Endowooza Etagudde Lubege
Ku bikwata ku buyonjo bw’omubiri, abantu bayinza okugwa olubege. Ku luuyi olumu, okusukkirira ennyo ku bikwata ku buyonjo kiyinza okutumalako essanyu. Kiyinza n’okutwala ebiseera byaffe bingi eby’omuwendo. Ku luuyi olulala, amaka amajama era agatafiibwako gayinza okutwetaagisa essente nnyingi okugaddaabiriza. Bwe tutagwa lubege mu ngeri ezo zombi, tujja kukuuma amaka gaffe nga mayonjo mu ngeri esaanira.
Beera n’obulamu obwangu. Amaka oba ebisenge omuli ebintu ebingi ennyo biba bizibu okuyonja, era oyinza n’obutalaba mangu bucaafu mu mujjuzo gw’ebintu ebyo ebiba mu nnyumba. Amaka agataliimu bintu bingi nnyo gaba mangu okuyonja. Obulamu obwangu bukubirizibwa nnyo mu Baibuli: “Bwe tuba n’emmere n’eby’okwambala, ebyo binaatumalanga.”—1 Timoseewo 6:8.
Gategeke bulungi. Buvunaanyizibwa bwa buli muntu ali mu maka okugakuuma nga mayonjo. Ebisenge bwe bitategekebwa bulungi, n’amaka gonna tegajja kuba mategeke bulungi. Okutegeka obulungi ebintu kitegeeza nti buli kintu kisaanidde okubeera mu kifo kyakyo. Ng’ekyokulabirako, engoye eziddugala tezandirekeddwa wansi mu kisenge ekisulwamu. Ate, eky’akabi n’okusingawo kwe kumala galeka awo ebintu abaana bye bazannyisa oba ebintu ebirala ebikozesebwa. Obubenje bungi obubaawo mu maka, bubaawo lwa kubanga amaka gaba tegategekeddwa bulungi.
Kya lwatu, obuyonjo n’obulamu obw’Ekikristaayo bigendera wamu. Ku bikwata ku bulamu obw’okutya Katonda, nnabbi Isaaya ayogera ku ‘Kkubo ly’Obutukuvu,’ era n’ayongerako n’ebigambo bino nti “abatali balongoofu tebaliriyitamu.” (Isaaya 35:8) Yee, okukulaakulanya empisa ennungi ez’obuyonjo kaakati kiwa obukakafu bw’amaanyi nti tukkiririza mu bisuubizo bya Katonda nti mangu ddala ajja kussaawo olusuku lwe oluyonjo ku nsi. Olwo nno, mu nsi erabika obulungi, abantu bonna bajja kutendereza Yakuwa Katonda nga bagoberera emitindo gye egy’obuyonjo mu bujjuvu.—Okubikkulirwa 7:9.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Buvunaanyizibwa bwa buli ali mu maka okugakuuma nga mayonjo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Ensi esobola okwerongoosa yokka mu ngeri ey’eky’amagero