LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 2/1 lup. 3-4
  • Obuyonjo bwa Mugaso Kwenkana Wa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obuyonjo bwa Mugaso Kwenkana Wa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Similar Material
  • Obuyonjo Ddala Butegeeza Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Obuyonjo Lwaki Bwetaagisa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Yakuwa Ayagala Abantu Abayonjo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Katonda Ayagala Abantu Abayonjo
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 2/1 lup. 3-4

Obuyonjo bwa Mugaso Kwenkana Wa?

OBUYONJO abantu babutegeera mu ngeri ez’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, maama bw’agamba omwana we omuto agende anaabe mu ngalo ne mu maaso, omwana oyo ayinza okulowooza nti okuteeka obuteesi engalo ze mu mazzi n’okutobya emimwa gye kimala. Naye maama amanyi bulungi omwana ky’asaanidde okukola. Amuzzaayo mu kinaabiro n’amunaaza bulungi engalo n’amaaso ng’akozesa sabbuuni mungi n’amazzi wadde ng’omwana oyo aba takyagala!

Kya lwatu, emitindo egikwata ku buyonjo si gye gimu okwetooloola ensi yonna, era abantu bakula nga balina endowooza za njawulo ku buyonjo. Mu biseera ebyayita, mu nsi nnyingi, essomero eriyonjo era eritegekeddwa obulungi, lyayambanga abayizi okukulaakulanya empisa ennungi ez’obuyonjo. Leero, ebisaawe by’amasomero agamu bijjudde ebisasiro ne kiba nti bifaananira ddala n’ebifo ebisuulibwamu kasasiro mu kifo ky’okubeera ebifo ebirungi eby’okuzannyiramu. Naye ate kiri kitya mu bibiina mwennyini? Darren, omukuumi ku ssomero erimu mu Australia yagamba bw’ati: “Kati ebisasiro tubiraba ne mu bibiina mwennyini.” Abaana abamu bwe balagirwa okulonda ebisasiro oba okulongoosa ekifo, bakitwala nti baweereddwa ekibonerezo. Entabwe eva ku kuba nti abasomesa abamu okulongoosa bakutwala ng’engeri emu ey’okubonerezaamu.

Ku luuyi olulala, abantu abakulu tebatera kuba kyakulabirako kirungi mu buyonjo, ka kibe mu bulamu obwa bulijjo oba mu by’obusuubuzi. Ng’ekyokulabirako, ebifo bingi eby’olukale birekebwa nga birabika bubi nnyo. Amakolero agamu goonoona obutonde. Kyokka, amakolero oba bizinesi si bye byonoona obutonde, wabula abantu. Wadde nga kiyinzika okuba nti omululu ye nsonga enkulu eviiriddeko okwonoona obutonde mu nsi yonna awamu n’ebizibu ebirala, naye era n’obutabeera bayonjo kirina kye kikoze. Eyaliko omukungu mu gavumenti ya Australia yawagira ensonga eyo bwe yagamba: “Obulamu bw’abantu okusobola okuba obulungi, kyetaagisa buli muntu kinnoomu okubeera omuyonjo.”

Wadde kiri kityo, abamu balowooza nti obuyonjo nsonga ekwata ku buli muntu kinnoomu era nti abantu abalala tebakwatako. Naye ddala bwe kityo bwe kiri?

Obuyonjo kintu kikulu nnyo nnaddala bwe kituuka ku bikwata ku mmere​—ka kibe nti tugigula mu katale, tulya mu wooteeri, oba tugirya mu maka ga mikwano gyaffe. Abo abakola ku by’emmere oba abagigabula basuubirwa okuba abayonjo ddala. Engalo encaafu ka zibe zaffe oba ez’abalala ziyinza okusibukako endwadde nnyingi. Naye ate kiri kitya mu malwaliro, ekifo kye twandisuubidde okuba ekiyonjo okusinga ebirala byonna? Magazini emu eyitibwa The New England Journal of Medicine yagamba nti abasawo n’abajjanjabi abatanaaba mu ngalo bayinza okuleetera abalwadde okufuna endwadde endala ezeetaagisa obuwumbi n’obuwumbi bw’ensimbi buli mwaka okuziwonya. Tusuubira nti tewali muntu yenna anaatulwaza olw’okuba si muyonjo.

Era kiba kya kabi nnyo singa omuntu ayonoona amazzi gaffe mu bugenderevu oba olw’obulagajjavu. Era tekyandibadde kya kabi okutambulira ku lubalama lw’ennyanja awali empiso ezirekeddwa awo abantu abeekamirira amalagala n’abalala nga toyambadde kintu mu bigere? Oboolyawo ekisingayo n’obukulu, kye kibuuzo kino: Tuli bayonjo mu maka gaffe?

Mu kitabo kye Chasing Dirt, Suellen Hoy abuuza: “Tukyali bayonjo nga bwe twali edda?” Addamu ng’agamba: “Oboolyawo nedda.” Agamba nti ensonga enkulu eviiriddeko ekyo, gye mitindo gy’empisa egigenda gikyukakyuka. Olw’okuba abantu bamala ebiseera bitono nnyo mu maka gaabwe, bafuna omuntu omulala okubalongooseza amaka gaabwe. N’olwekyo, abantu kinnoomu ensonga ey’obuyonjo tebakyagitwala ng’ekikulu ennyo. Omusajja omu yagamba: “Siyonja kinaabiro naye nze nneeyonja.” “Ennyumba yange ne bw’eba nga si nnyonjo, nze mba muyonjo.”

Kyokka, obuyonjo busingawo ku kulabika obulabisi obulungi kungulu. Butwaliramu engeri zonna ezikwata ku bulamu obulungi. Era, mbeera ey’omu mutima n’ebirowoozo ekwata ku mpisa n’okusinza kwaffe. Ka tulabe lwaki tugamba nti kiri bwe kityo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share