LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 1/15 lup. 17-20
  • “Lino Lye Kkubo, Mulitambuliremu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Lino Lye Kkubo, Mulitambuliremu”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ebibuuzo Bye Biddibwamu
  • Ebibala by’Obuweereza bw’Obwakabaka
  • Enkuŋŋaana Ennene Zituzzaamu Amaanyi
  • Tutendekebwa mu Giriyadi era Tuyingira Obuminsani
  • Tufuna Ebizibu
  • Nsindikibwa mu Nsi Endala
  • Batambulidde mu “Kkubo”
  • Maama Kye Yatulekera
  • Nnafuna Emirembe ne Katonda era ne Maama Wange
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Bamaama Bye Bayinza Okuyigira ku Ewuniike
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 1/15 lup. 17-20

“Lino Lye Kkubo, Mulitambuliremu”

Ebyafaayo Bya Emilia Pederson

Byayogerwa Ruth E. Pappas

MAAMA wange, Emilia Pederson, yazaalibwa mu 1878. Wadde nga yali musomesa, yali ayagala nnyo okuyamba abantu okumanya ebikwata ku Katonda. Eno ye nsonga lwaki Maama yalina kkeesi ennene mu nnyumba yaffe eyali mu kibuga Jasper, eky’omu Minnesota, mu Amerika. Kkeesi eyo yali ya kutwaliramu ebintu bye ng’agenda e China, ng’eyo gye yali ayagala okuweerereza ng’omuminsani. Kyokka, teyasobola kugenda olw’okuba maama we bwe yafa ye yalina okulabirira bato be. Mu 1907 yafumbirwa Theodore Holien. Nze nnazaalibwa nga Ddesemba 2, 1925​—nze nnali omwana ow’omusanvu era omuggalanda.

Maama yalina ebintu ebikwata ku Baibuli bingi bye yali yeebuuza. Ekimu ku bye yali yeebuuza ye njigiriza nti ababi babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira. Lumu yasaba omu ku bakulu mu kkanisa eyali akyaddeko mu kitundu kyabwe amulage enjigiriza eyo w’eyogererwako mu Baibuli. Kye yamuddamu kyalaga nti Baibuli ky’egamba si kye kyali ekikulu​—ekikulu kwe kuba nti enjigiriza eyo ey’omuliro yali yeetaagisa.

Ebibuuzo Bye Biddibwamu

Ng’omwaka 1900 gwakatandika, muto wa Maama ayitibwa Emma yagenda e Northfield, mu ssaza ly’e Minnesota, okusoma eby’okuyimba. Omusomesa we Milius Christianson gwe yabeeranga naye yalina mukyala we nga Muyizi wa Baibuli, ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe baayitibwanga mu biseera ebyo. Emma yategeeza omukyala oyo nti mukulu we yali musomi nnyo wa Baibuli. Mu bbanga ttono, Mukyala Christianson yawandiikira Maama ebbaluwa n’addamu ebibuuzo bye byonna ebikwata ku Baibuli.

Lumu, Omuyizi wa Baibuli ayitibwa Lora Oathout yalinnya eggaali y’omukka okuva e Sioux Falls mu ssaza ly’e South Dakota, n’ajja okubuulira e Jasper. Maama yasoma ebitabo ebinnyonnyola Baibuli bye yafuna, era mu 1915, yatandika okubuulira abantu ku mazima ge yali ayiga okuva mu Baibuli, ssaako n’okugaba ebitabo Lora bye yamuwanga.

Mu 1916, Maama yakitegeerako nti Charles Taze Russell yali ajja kuba mu lukuŋŋaana olunene olwali lugenda okuba mu kibuga Sioux, mu ssaza ly’e Iowa. Bw’atyo yasalawo okugenda. Mu kiseera ekyo, Maama yali alina abaana bataano, ng’asembayo obuto, Marvin, wa myezi etaano gyokka. Wadde kyali kityo, bonna yalinnya nabo eggaali y’omukka n’agenda e Sioux mu lukuŋŋaana, olugendo olwali olwa mayiro 100. Yawuliriza emboozi za Ow’oluganda Russell, n’alaba ne firimu eyitibwa “Photo-Drama of Creation,” era n’abatizibwa. Bwe yakomawo eka, maama yawandiika ku byali mu lukuŋŋaana olwo ne bifulumizibwa mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa Jasper Journal.

Mu 1922, Maama y’omu ku bantu nga 18,000 abaaliwo mu lukuŋŋaana olunene olwali e Cedar Point, mu ssaza ly’e Ohio. Okuva ku lukuŋŋaana olwo maama yatandika okulangirira Obwakabaka bwa Katonda awatali kuddirira. Mu kukola atyo, yalinga atugamba nti: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu.”​—Is. 30:21.

Ebibala by’Obuweereza bw’Obwakabaka

Ng’emyaka gya 1920 gyakatandika, bazadde bange baasenguka ne bagenda mu nnyumba eyali ebweru w’ekibuga Jasper. Taata yalina bizineesi ennungi era yali alabirira abantu bangi mu maka ge. Ye yali tasoma nnyo Baibuli nga Maama, naye yawagiranga nnyo omulimu gw’okubuulira era twakyazanga abalabirizi abatambula. Emirundi mingi, abalabirizi bwe baawanga emboozi mu maka gaffe, abantu bajjanga bangi​—bajjulanga mu ddiiro ne mu bisenge yonna.

Lumu nga ndi wa myaka musanvu, muto wa Maama eyali ayitibwa Lettie yakuba essimu n’agamba nti muliraanwa we Ed Larson ne mukyala we baali baagala okuyiga Baibuli. Bakkiriza amazima ge baali bayiga mu Baibuli era waayita ekiseera kitono ne bayita ne muliraanwa waabwe Martha Van Daalen okubegattako, omukyala oyo yalina abaana munaana. Martha wamu n’ab’omu maka ge bonna baafuuka Abayizi ba Baibuli.a

Mu kiseera kumpi kye kimu, Gordon Kammerud, omuvubuka eyali abeera mayiro nga ziizo okuva ewaffe, yatandika okukolera Taata. Gordon abantu baamugamba nti: “Weegendereze bawala ba mukama wo. Eddiini yaabwe tetegeerekeka.” Wadde kyali kityo, Gordon yatandika okuyiga Baibuli era yakiraba mangu nti yali azudde amazima. Waayita emyezi esatu n’abatizibwa. Bazadde be nabo baafuuka abaakkiriza, era ffe ab’omu maka ga Holien, aga Kammerud, n’aga Van Daalen twafuuka ba mukwano nnyo.

Enkuŋŋaana Ennene Zituzzaamu Amaanyi

Olukuŋŋaana olwali e Cedar Point lwazzaamu nnyo Maama amaanyi era okuva olwo yali tasubwa nkuŋŋaana nnene. N’olwekyo, ebimu ku bye nzijukira nga nkyali muto ze ŋŋendo empanvu ze twatabulanga okugenda ku nkuŋŋaana ezo. Olukuŋŋaana olwali e Columbus, mu Ohio, mu 1931 lwali lwa byafaayo kubanga ku olwo lwe twatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa. (Is. 43:10-12) Era nkyajjukira n’olwo olwali e Washington, D.C., mu 1935, mwe bannyonnyolera ‘ekibiina ekinene’ ekyogerwako mu Okubikkulirwa. (Kub. 7:9) Bakulu bange Lilian ne Eunice be bamu ku bantu abasukka 800 abaabatizibwa ku olwo.

Ab’omu maka gaffe ffenna twaliyo ku lukuŋŋaana olunene olwali e Columbus, mu Ohio, mu 1937; ku lwali e Seattle, mu Washington, mu 1938; ne ku lwali mu kibuga New York mu 1939. Ab’omu maka ga Van Daalen, aga Kammerud awamu n’abalala baagendanga naffe era twasulanga ffenna mu weema ku mabbali g’ekkubo. Muganda wange Eunice yafumbirwa Leo Van Daalen mu 1940, era ne bafuuka bapayoniya. Mu mwaka ogwo gwennyini, ne Lilian yafumbirwa Gordon Kammerud, era nabo baafuuka bapayoniya.

Olukuŋŋaana olwaliwo mu 1941 e St. Louis, mu ssaza ly’e Missouri, lwali lwa njawulo. Abaana ffenna abaali abangi ennyo twaweebwa akatabo akayitibwa Children. Olukuŋŋaana olwo lwakyusa obulamu bwange. Waayita ekiseera kitono nnyo, nga Ssebutemba 1, 1941, ne nfuuka payoniya wamu ne mwannyinaze Marvin, ssaako ne mukyala we Joyce. Nnalina emyaka 15.

Abantu b’omu kitundu kyaffe baali balimi, era ab’oluganda abamu tebaasobolanga kugenda ku nkuŋŋaana nnene olw’okuba zaabangawo mu kiseera kya makungula. N’olwekyo, bwe twabanga tukomyewo okuva ku lukuŋŋaana, ffenna twatulanga emmanju ne twejjukanya ebyabanga biyigiriziddwa mu lukuŋŋaana, kiyambe abo ababanga batasobodde kugenda. Bino byabanga biseera bya ssanyu.

Tutendekebwa mu Giriyadi era Tuyingira Obuminsani

Mu Febwali 1943, Essomero lya Giriyadi lyatandikibwawo okutendeka bapayoniya okuweereza ng’abaminsani. Mu mugigi ogwasooka mwalimu ab’omu nnyumba ya Van Daalen mukaaga mulamba​—ab’oluganda Emil, Arthur, Homer, ne Leo; kizibwe waabwe Donald; ne muganda wange Eunice, muka Leo. Twali tetumanyi lwe tuliddayo kubalabako, n’olwekyo twabasiibula n’emitima ebiri. Olwamala okutendekebwa, bonna omukaaga ne basindikibwa okuweereza mu Puerto Rico, ewali Abajulirwa abatawera na kkumi na babiri.

Nga wayise omwaka gumu, Lilian, Gordon, Marvin, ko ne Joyce nabo baagenda mu Giriyadi mu mugigi ogw’okusatu. Era nabo baasindikibwa e Puerto Rico. Ate mu Ssebutemba 1944, nga nnina emyaka 18, nange nnagenda mu Giriyadi mu mugigi ogw’okuna. Nnavaayo mu Febwali 1945, era nneegatta ku baganda bange e Puerto Rico. Nneesanga nga buli kimu kipya gye ndi! Wadde nga tekyatwanguyira kuyiga Lusipeyini, mu kiseera kitono abamu ku ffe twalina abayizi ba Baibuli abasukka mu 20. Omulimu gwaffe Yakuwa yaguwa omukisa.Leero, Puerto Rico erimu Abajulirwa nga 25,000!

Tufuna Ebizibu

Leo ne Eunice baasigalayo mu Puerto Rico oluvannyuma lw’okuzaala omwana waabwe omulenzi, Mark, mu 1950. Mu 1952 baateekateeka okuddako eka bawummuleko era balabe ne ku b’eŋŋanda. Baasitula nga Apuli 11, ne balinnya ennyonyi. Eky’ennaku ennyo, ennyonyi eyo yagwa mu nnyanja nga yakasituka. Omwo Leo ne Eunice mwe baafiira. Mutabani waabwe Mark eyali ow’emyaka ebiri yasangibwa ku mazzi ng’aseeyeeya. Omuntu eyawona akabenje ako yamuyamba n’amusuula mu lyato n’awona.b

Nga wayise emyaka etaano, nga Maaki 7, 1957, emmotoka Maama ne Taata mwe baali yayabika omupiira nga bagenda mu nkuŋŋaana. Taata bwe yali akyusa omupiira ku mabbali g’oluguudo, emmotoka eyali eyitawo yamukona n’afiirawo. Taata yali aweebwa nnyo ekitiibwa mu kitundu kyaffe, era abantu nga 600 abaaliwo mu kuziika baweebwa obujulirwa bwa maanyi.

Nsindikibwa mu Nsi Endala

Nga Taata tannafa, nnafuna ebbaluwa ensindika okuweereza mu Argentina. Mu Agusito 1957, nnatuuka mu kibuga Mendoza ekiri okumpi ddala n’ensozi eziyitibwa Andes. Mu 1958, George Pappas, eyatendekebwa mu Giriyadi mu mugigi ogwa 30, yasindikibwa okuweereza mu Argentina. Nze ne George twafuuka ba mukwano nnyo, era twafumbiriganwa mu Apuli 1960. Mu 1961, Maama yafa ng’aweza emyaka 83. Yatambulira mu kusinza okw’amazima n’obwesigwa era yayamba bangi nnyo okukola kye kimu.

Okumala emyaka kkumi nze ne George wamu n’abaminsani abalala twaweereza mu bitundu ebitali bimu. Oluvannyuma twamala emyaka musanvu mu buweereza obw’okukyalira ebibiina nga George akola ng’omulabirizi w’ekitundu. Mu 1975 twaddayo mu Amerika okuyamba ab’eŋŋanda zaffe abaali abalwadde. Mu 1980 mwami wange yayitibwa okukola ng’omulabirizi w’ekitundu mu bibiina ebyogera Olusipeyini. Mu kiseera ekyo, ebibiina ebyogera Olusipeyini mu Amerika byali nga 600. Mu myaka 26 gye twamala nga tukyala mu bibiina ebyo, byeyongera obungi ne bisoba ne mu 3,000.

Batambulidde mu “Kkubo”

Maama yali musanyufu okulaba n’ab’omu maka ge abaali abato nga bayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Ng’ekyokulabirako, Carol muwala wa mukulu wange Ester, yafuuka payoniya mu 1953. Yafumbirwa Dennis Trumbore, era okuva olwo babadde mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Muwala wa Ester omulala, Lois, yafumbirwa Wendell Jensen. Baatendekebwa mu Giriyadi mu mugigi ogwa 41 era baaweereza ng’abaminsani mu Nigeria okumala emyaka 15. Mark, eyafiirwa bazadde be mu kabenje k’ennyonyi, yakuzibwa Ruth La Londe, mwannyina wa Leo, ne bba Curtiss. Mark ne mukyala we Lavonne, baaweereza nga bapayoniya okumala emyaka mingi era abaana baabwe abana baabakuliza mu “kkubo.”​—Is. 30:21.

Orlen, mwannyinaze yekka akyasigaddewo, kati atemera mu myaka 90 egy’obukulu. Akyaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Nze ne George tukyaweereza n’essanyu mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

Maama Kye Yatulekera

Waliwo ekimu ku bintu Maama bye yayagalanga ennyo kye nnina kati​—emmeeza ye. Kye kirabo taata kye yamuwa nga bafumbiriganiddwa. Mu kamu ku budoloowa bwayo mulimu ekitabo ekikadde ennyo omuli amabaluwa, n’ebyo bye yawandiikanga mu mpapula z’amawulire okuwa obujulirwa ku Bwakabaka. Ebimu ku bino byawandiikibwa eyo ng’emyaka gya 1900 gyakatandika. Mu buduloowa obulala obw’emmeeza eyo mulimu amabaluwa ag’omuwendo ennyo abaana ba Maama abaali abaminsani ge baamuwandiikiranga. Sikoowa ne bwe ngasoma emirundi n’emirundi! N’amabaluwa ge yatuwandiikiranga gaatuzzangamu nnyo amaanyi, era gaalimu ebintu bingi ebizimba. Maama teyasobola kufuuka muminsani nga bwe yali ayagala. Naye, yalina omwoyo gw’obuminsani ogwakubiriza abaana be n’abazzukulu okubuyingira. Nga nneesunga ekiseera ffenna lwe tuliddamu okusisinkana Maama ne Taata mu Lusuku lwa Katonda ku nsi!​—Kub. 21:3, 4.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebyafaayo by’obulamu bwa Emil H. Van Daalen, omu ku batabani ba Martha, laba Watchtower eya Jjuuni 15, 1983, olupapula 27-30.

b Laba Awake! eya Jjuuni 22, 1952, olupapula 3-4.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Emilia Pederson

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

1916: Maama, Taata (ng’asitudde Marvin); wansi, okuva ku kkono okudda ku ddyo: Orlen, Ester, Lilian, Mildred

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Leo ne Eunice, ng’ebula ekiseera kitono bafe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

1950: Okuva mu kkono okudda ku ddyo, waggulu: Ester, Mildred, Lilian, Eunice, Ruth; wansi: Orlen, Maama, Taata, ne Marvin

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

George ne Ruth Pappas mu mulimu gw’okukyalira ebibiina, 2001

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share