Oli ‘Muwanika Mulungi ow’Ekisa kya Katonda eky’Ensusso’?
“Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.”—BAR. 12:10, NW.
1. Ekigambo kya Katonda kitukakasa ki?
EKIGAMBO KYA KATONDA kitukakasa nti Yakuwa ajja kutuyamba nga tuweddemu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ebigambo bino ebibudaabuda: “Mukama awanirira abagwa bonna, era ayimiriza abakutama bonna.” “Awonya abalina emitima egimenyese, era asiba ebiwundu byabwe.” (Zab. 145:14; 147:3) Ng’oggyeko ekyo, Kitaffe ow’omu ggulu kennyini agamba nti: “Nze Mukama Katonda wo n[n]aakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze n[n]aakuyambanga.”—Is. 41:13.
2. Yakuwa ayamba atya abaweereza be?
2 Naye, Yakuwa, abeera mu ggulu, ayinza atya ‘okukwata omukono gwaffe’? Mu ngeri ki ‘gy’ayimiriza abakutama bonna’ olw’ebizibu? Yakuwa Katonda atuwa obuyambi ng’obwo mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, awa abantu be “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (2 Kol. 4:7, NW; Yok. 14:16, 17) Abaweereza ba Katonda era bafuna amaanyi bwe basoma Ekigambo kya Katonda, Baibuli. (Beb. 4:12) Waliwo engeri endala yonna Yakuwa gy’atuzzaamu amaanyi? Eky’okuddamu kisangibwa mu kitabo kya Peetero Ekisooka.
‘Ekisa kya Katonda eky’Ensusso Kiragibwa mu Ngeri Ezitali Zimu’
3. (a) Omutume Peetero ayogera ki ku kugezesebwa? (b) Kiki ekyogerwako mu kitundu ekisembayo eky’ebbaluwa ya Peetero esooka?
3 Ng’awandiikira abakkiriza abaafukibwako amafuta, omutume Peetero agamba nti balina okuba abasanyufu olw’ekirabo eky’omuwendo ennyo ekibalindiridde. Agattako nti: “Newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa [“okugezesebwa,” NW] okutali kumu akaseera akatono kaakano.” (1 Peet. 1:1-6) Weetegereze ebigambo “okutali kumu.” Biraga nti okugezesebwa kujja kuba kwa ngeri nnyingi. Naye Peetero taleka baganda be kwebuuza obanga banaasobola okugumira ebizibu ebyo ebitali bimu. Akakasa Abakristaayo nti Yakuwa ajja kubayamba okugumira buli kizibu kye boolekagana nakyo, ka kibe kya ngeri ki. Kino Peetero akyogerako oluvannyuma mu bbaluwa ye, ng’awandiika ebikwata ku ‘nkomerero y’ebintu byonna.’—1 Peet. 4:7.
4. Lwaki ebigambo ebiri mu 1 Peetero 4:10 bituzzaamu amaanyi?
4 Peetero agamba nti: “Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, akikozesenga okuweereza abalala ng’omuwanika omulungi ow’ekisa kya Katonda eky’ensusso ekiragibwa mu ngeri ezitali zimu.” (1 Peet. 4:10, NW) Peetero akozesa ebigambo “ezitali zimu.” Mu ngeri endala, agamba, ‘Okugezesebwa kwa ngeri nnyingi, naye ne Katonda alaga ekisa kye eky’ensusso mu ngeri nnyingi.’ Lwaki ebigambo ebyo bizzaamu amaanyi? Biraga nti okugezesebwa ka kube kwa ngeri ki, Katonda ajja kwolesa ekisa kye eky’ensusso mu ngeri etusobozesa okukigumira. Naye weetegerezza Peetero kye yayogera ku engeri Yakuwa gy’ayolekamu ekisa kye eky’ensusso gye tuli? Akyoleka ng’ayitira mu Bakristaayo bannaffe.
“Okuweereza Abalala”
5. (a) Buli Mukristaayo alina kukola ki? (b) Bibuuzo ki ebijjawo?
5 Peetero agamba bw’ati Abakristaayo bonna: “Okusinga byonna, mwagalanenga nnyo.” Agattako nti: “Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, akikozesenga okuweereza abalala.” (1 Peet. 4:8, 10, NW) Bwe kityo, buli omu mu kibiina alina okubaako ky’akola okuzimba Bakristaayo banne. Waliwo ekintu eky’omuwendo Yakuwa kye yatukwasa nga tulina okukigabirako n’abalala. Kintu ki ekyo? Peetero agamba nti ‘kirabo.’ Kirabo ki Yakuwa kye yatukwasa? Tuyinza tutya ‘okukikozesa okuweereza abalala’ mu kibiina?
6. Ebimu ku birabo Abakristaayo bye baweebwa bye biruwa?
6 Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Buli kirabo ekirungi, na buli kitone kituukirivu kiva waggulu.” (Yak. 1:17) Mu butuufu, ebirabo byonna Yakuwa by’awa abantu be byoleka ekisa kye eky’ensusso. Ekimu ku birabo eby’omuwendo ennyo by’atuwa gwe mwoyo gwe omutukuvu. Ekirabo ekyo kituyamba okukulaakulanya engeri ennungi ng’okwagala, obulungi, n’obuwombeefu. Engeri ennungi ng’ezo zituleetera okulaga bakkiriza bannaffe ekisa n’okubayamba. Amagezi aga nnamaddala n’okumanya bye birabo ebirala ebirungi ebituweebwa omwoyo omutukuvu. (1 Kol. 2:10-16; Bag. 5:22, 23) Mu butuufu, tuyinza okugamba nti amaanyi gaffe gonna, obusobozi bwaffe, ne talanta ze tulina birabo bye tusaanidde okukozesa tuweese Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa. Bwe kityo, tuvunaanyizibwa eri Katonda okulaga bakkiriza bannaffe ekisa kya Katonda eky’ensusso nga tukozesa obusobozi bwaffe n’engeri ennungi ze tulina.
‘Kikozesenga Okuweereza’—Mu Ngeri Ki?
7. (a) Ebigambo nga “bwe yaweebwa” biraga ki? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza, era lwaki?
7 Ng’ayogera ku birabo bye tufuna, Peetero era agamba nti: “Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, akikozesenga.” Ebigambo “bwe yaweebwa” biraga nti ebitone byaffe n’obusobozi bwaffe tebyenkanankana, era nti tubyoleka mu ngeri ya njawulo. Wadde kiri kityo, buli omu akubirizibwa ‘okukozesa ekirabo ky’alina okuweereza abalala.’ Ate era ebigambo ‘kikozesenga ng’omuwanika omulungi’ biraga nti kino kiragiro. N’olwekyo, tusaanidde okwebuuza: ‘Ddala, nkozesa ebirabo bye nnina okuzzaamu bakkiriza bannange amaanyi?’ (Geraageranya 1 Timoseewo 5:9, 10.) ‘Oba obusobozi Yakuwa bwe yampa nsinga kubukozesa kwetuusaako bye njagala—oboolyawo kwefunira bya bugagga oba kwekolera linnya?’ (1 Kol. 4:7) Tujja kusanyusa Yakuwa bwe tunaakozesa ebirabo byaffe “okuweereza abalala.”—Nge. 19:17; soma Abaebbulaniya 13:16.
8, 9. (a) Ezimu ku ngeri Abakristaayo gye baweereza Bakristaayo bannaabwe okwetooloola ensi ze ziruwa? (b) Ab’oluganda bayamba batya bannaabwe mu kibiina kyammwe?
8 Ekigambo kya Katonda kiraga engeri Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baaweerezangamu bakkiriza bannaabwe. (Soma Abaruumi 15:25, 26; 2 Timoseewo 1:16-18.) Ne leero, Abakristaayo bagondera ekiragiro eky’okukozesa ebirabo bye balina okuyamba bakkiriza bannaabwe. Ka tulabe ezimu ku ngeri gye bakikolamu.
9 Ab’oluganda bangi bakozesa ebiseera byabwe okuteekateeka ebitundu eby’okusomesa mu nkuŋŋaana. Bwe bagenda mu nkuŋŋaana ne boogera ku birungi bye baba bayize nga beesomesa Baibuli, buli omu mu kibiina addamu amaanyi ne yeeyongera okugumiikiriza. (1 Tim. 5:17) Ab’oluganda ne bannyinnaffe bangi bamanyiddwa olw’ekisa n’obusaasizi bye balaga bakkiriza bannaabwe. (Bar. 12:15) Abamu batera okukyalira ab’oluganda abennyamivu ne basabira wamu nabo. (1 Bas. 5:14) Abalala bawandiikira Bakristaayo bannaabwe abalina ebizibu ne babazzaamu amaanyi. Ate bo abalala bayamba abo abatakyasobola okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Abajulirwa nkumi na nkumi beenyigira mu kuyamba bakkiriza bannaabwe okuzzaawo amayumba gaabwe agaba goonooneddwa obutyabaga. Ebikolwa bino eby’ekisa n’okwagala ebikolebwa ab’oluganda byolekamu “ekisa kya Katonda eky’ensusso ekiragibwa mu ngeri ezitali zimu.”—Soma 1 Peetero 4:11.
Kiki Ekisinga Obukulu?
10. (a) Pawulo yayogera ku ngeri ki ebbiri ze tulina okuweerezaamu Katonda? (b) Tuyinza tutya okukoppa Pawulo leero?
10 Ng’oggyeko ebirabo bye bayinza okukozesa okuyamba bakkiriza bannaabwe, abaweereza ba Katonda baaweebwa obubaka obulina okutuusibwa ku bantu abalala. Omutume Pawulo yali akimanyi nti alina okuweereza Yakuwa mu ngeri zino zombi. Bwe yawandiikira ekibiina ky’omu Efeso, yayogera ku ‘buwanika obw’ekisa kya Katonda eky’ensusso’ obwali bumuweereddwa okubaganyula. (Bef. 3:2, NW) Kyokka era yagamba nti: “Twasaanyizibwa Katonda okuteresebwa enjiri.” (1 Bas. 2:4) Okufaananako Pawulo, naffe tumanyi nti twakwasibwa omulimu ogw’okuweereza ng’ababuulizi b’Obwakabaka bwa Katonda. Bwe tukola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu, tuba tukoppa Pawulo eyateekawo ekyokulabirako mu kulangirira amawulire amalungi awatali kuddirira. (Bik. 20:20, 21; 1 Kol. 11:1) Tukimanyi nti okubuulira obubaka bw’Obwakabaka kiyamba mu kuwonya obulamu. Kyokka mu kiseera kye kimu, era tufuba okukoppa Pawulo nga tunoonya engeri gye tusobola ‘okuwa bakkiriza bannaffe ku kirabo eky’omwoyo.’—Soma Abaruumi 1:11, 12; 10:13-15.
11. Tusaanidde kutunuulira tutya omulimu gw’okubuulira n’okuzimba baganda baffe?
11 Ku buweereza obwo obw’engeri ebbiri buluwa obusinga bunnaabwo obukulu? Kino kiba ng’okubuuza nti, Ku biwaawaatiro by’ekinyonyi byombi kiruwa ekisinga okuba eky’omugaso? Eky’okuddamu kimanyiddwa bulungi. Ekinyonyi kyetaaga ebiwaawaatiro byombi okusobola okubuuka obulungi. Naffe bwe tutyo tulina okuweereza Katonda mu ngeri zino zombi okusobola okutuukiriza omulimu gwaffe ng’Abakristaayo. N’olwekyo, mu kifo ky’okulowooza nti okubuulira amawulire amalungi n’okuzimba baganda baffe tebirina kakwate, emirimu egyo gyombi twandigitunuulidde ng’omutume Peetero ne Pawulo bwe baagitwala—gyombi baagikoleranga wamu. Mu ngeri ki?
12. Tuyinza tutya okukozesebwa Yakuwa?
12 Ng’ababuulizi b’enjiri, tukola buli kye tusobola okulaba nti obubaka bw’Obwakabaka bwa Katonda butuuka ku mitima gy’abantu. Bwe tukola tutyo, tuba tubayamba okufuuka abayigirizwa ba Kristo. Kyokka era tukozesa obusobozi bwaffe n’ebirabo bye tulina okubudaabuda bakkiriza bannaffe mu bigambo ne mu bikolwa, ebintu ebyoleka ekisa kya Katonda eky’ensusso. (Nge. 3:27; 12:25) Bwe tukola tutyo, tuba tubayamba okusigala nga bagoberera Kristo. Okukola ebintu ebyo byombi—okubuulira abantu ‘n’okuweereza abalala’—kituwa enkizo ey’ekitalo ey’okuba nti tukozesebwa Yakuwa.—Bag. 6:10.
“Mwagalanenga Mwekka na Mwekka”
13. Kiki ekibaawo singa tugayaalirira “okuweereza abalala”?
13 Pawulo yakubiriza bakkiriza banne nti: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Bar. 12:10, NW) Yee, okulaga ab’oluganda okwagala kituyamba okuweereza ng’abawanika ab’ekisa kya Katonda eky’ensusso. Bwe tuleka Setaani okutulemesa “okuweereza abalala,” tuba tumuwadde akakisa okunafuya obumu bwaffe. (Bak. 3:14) Ekyo kiviirako omulimu gwaffe ogw’okubuulira okuddirira. Setaani akimanyi nti bw’atulemesa okutuukiriza obumu ku buweereza bwaffe, tuba tufuuse ng’ekinyonyi ekisigazza ekiwaawaatiro ekimu kyokka.
14. Baani abaganyulwa mu ‘kuweereza abalala’? Waayo ekyokulabirako.
14 “Okuweereza abalala” mu kibiina kiganyula abo abalagibwa ekisa kya Katonda eky’ensusso awamu n’abo abakiraga. (Nge. 11:25) Lowooza ku kyokulabirako kya Ryan ne mukyala we Roni ab’omu Illinois, mu Amerika. Baakwatibwako nnyo olwa Bajulirwa bannaabwe abangi abaafiirwa amayumba gaabwe mu muyaga Katrina. Bwe batyo baaleka emirimu gyabwe n’ennyumba mwe baali basula, ne bagula ekyana ky’emmotoka ekikadde mwe basobola okusula, ne bavuga mayiro 900 okugenda e Louisiana. Baamalayo omwaka mulamba nga bakozesa ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe n’essente zaabwe okuyamba baganda baabwe. Ryan ow’emyaka 29 agamba nti: “Okwenyigira mu mulimu ogwo kyannyamba okusemberera Katonda. Nnalaba engeri Yakuwa gy’alabiriramu abantu be.” Agattako nti: “Okukola n’ab’oluganda abansinga obukulu kyanjigiriza bingi ku ngeri y’okuyambamu ab’oluganda. Era nnayiga nti ffe abakyalina amaanyi tulina bingi bye tusobola okukola mu kibiina kya Yakuwa.” Roni, ow’emyaka 25, agamba nti: “Ndi musanyufu olw’akakisa ke nnafuna okuyamba abalala. Siwulirangako ssanyu lituuka wano mu bulamu bwange bwonna. Nkakasa nti kino kijja kuŋŋanyula nnyo mu biseera eby’omu maaso.”
15. Ng’abawanika abalungi, lwaki twandifubye okwoleka ekisa kya Katonda eky’ensusso?
15 Mu butuufu, okugondera ekiragiro eky’okubuulira amawulire amalungi n’okuzimba bakkiriza bannaffe kiviiramu buli omu emikisa. Abo be tuyamba beeyongera okunywera mu by’omwoyo, ate naffe ababayamba tufuna essanyu ery’enjawulo ennyo eriva mu kugabira abalala mwokka. (Bik. 20:35) Enkolagana yeeyongera okuba ennungi mu kibiina buli omu bw’aba afaayo ku munne. Ng’oggyeko ekyo, bwe tulaga okwagala n’ekisa tuba tulaga nti ddala ffe Bakristaayo ab’amazima. Yesu yagamba nti: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yok. 13:35) N’okusinga byonna, Kitaffe ow’okwagala Yakuwa aweebwa ekitiibwa, ffe ng’abaweereza be bwe tumukoppa ne tuyamba abo abali mu bwetaavu. Ng’ezo nsonga nnungi nnyo ezitukubiriza okukozesa ebirabo byaffe ‘okuweereza abalala, ng’abawanika abalungi ab’ekisa kya Katonda eky’ensusso’! Oneeyongera okukola bw’otyo?—Soma Abaebbulaniya 6:10.
Ojjukira?
• Yakuwa azzaamu atya abaweereza be amaanyi?
• Kiki kye twakwasibwa?
• Bakkiriza bannaffe tusobola kubaweereza mu ngeri ki ez’enjawulo?
• Kiki ekinaatukubiriza okweyongera okukozesa ebirabo byaffe ‘okuweereza abalala’?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
‘Ebirabo’ byo obikozesa kuweereza balala oba kwesanyusa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Tubuulira abalala amawulire amalungi era tuyamba Bakristaayo bannaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Abo abadduukirira abakoseddwa obutyabaga bagwana okusiimibwa olw’omwoyo gwabwe ogw’okwefiiriza