LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 4/1 lup. 6
  • Katonda Alina Erinnya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda Alina Erinnya?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Similar Material
  • Erinnya lya Katonda
    Zuukuka!—2017
  • Erinnya lya Katonda y’Ani?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Omanyi Erinnya lya Katonda era Olikozesa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Erinnya lya Katonda—Enkozesa Yaalyo n’Amakulu Gaalyo
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 4/1 lup. 6

Katonda Alina Erinnya?

Abantu bye batera okuddamu:

▪ “Erinnya lye ye Katonda.”

▪ “Talina linnya lya nkalakkalira.”

Yesu yayogera ki?

▪ “Musabenga bwe muti, nti Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Okusinziira ku Yesu, Katonda alina erinnya.

▪ “Nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.” (Yokaana 17:26) Yesu yategeeza abantu erinnya lya Katonda.

▪ “Temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama [“Yakuwa,” NW].” (Lukka 13:35; Zabbuli 118:26) Yesu yakozesanga erinnya lya Katonda.

KATONDA kennyini atubuulira erinnya lye. Agamba nti: “Nze Yakuwa, eryo lye linnya lyange.”a (Isaaya 42:8, NW) Katonda yeewa erinnya Yakuwa, eriva mu lulimi Olwebbulaniya. Kiyinza okukwewuunyisa okumanya nti erinnya eryo ery’enjawulo lisangibwa emirundi nkumi na nkumi mu biwandiiko bya Baibuli eby’edda. Mu butuufu, lisangibwamu emirundi mingi okusinga erinnya eddala lyonna eriri mu Baibuli.

Abamu bw’obabuuza nti, “Erinnya lya Katonda y’ani?” bagamba nti ye “Katonda.” Kino kiba ng’okubuuza omuntu nti “Ani yawangudde okulonda?” n’addamu nti, “eyeesimbyewo.” Olw’okuba “Katonda” ne “eyeesimbyewo” si mannya, omuntu bw’addamu bw’atyo aba tazzeemu bulungi kibuuzo ekyo.

Lwaki Katonda yatubuulira erinnya lye? Yalitubuulira tusobole okumutegeera obulungi. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okuyitibwa Ssebo, Mukulu, Taata, oba Jjajja mu mbeera ez’enjawulo. Ebitiibwa ebyo byonna birina kye bikutegeeza ku muntu oyo. Naye erinnya lye lyokka lye litujjukiza buli kye tumumanyiiko. Mu ngeri y’emu, ebitiibwa gamba nga Mukama, Omuyinza w’Ebintu Byonna, Kitaffe, ne Omutonzi birina kye bitutegeeza ku busobozi bwa Katonda obw’enjawulo. Naye erinnya lye, Yakuwa, lye lyokka eritujjukiza buli kye tumumanyiiko. Oyinza otya okugamba nti omanyi Katonda nga tomanyi linnya lye?

Okumanya erinnya lya Katonda si kye kikulu kyokka, wabula n’okulikozesa. Lwaki? Kubanga Baibuli etugamba nti: “Buli alikaabirira erinnya lya Mukama [“Yakuwa,” NW] alirokola.”​—Abaruumi 10:13; Yoweeri 2:32.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya amakulu g’erinnya lya Katonda, n’ensonga lwaki mu Baibuli ezimu teririimu, laba olupapula 195-197 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]

Omuntu ayinza okuyitibwa Ssebo, Mukulu, Taata, oba Jjajja mu mbeera ez’enjawulo. Naye erinnya lye lyokka lye litujjukiza buli kye tumumanyiiko

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share