LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp19 Na. 1 lup. 4-5
  • Erinnya lya Katonda y’Ani?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Erinnya lya Katonda y’Ani?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENSONGA LWAKI ERINNYA LYA KATONDA KKULU
  • ERINNYA LYA KATONDA BYE LIRAGA
  • Erinnya lya Katonda
    Zuukuka!—2017
  • Ssa Ekitiibwa mu Linnya lya Yakuwa Ekkulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Erinnya lya Katonda—Enkozesa Yaalyo n’Amakulu Gaalyo
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Omanyi Erinnya lya Katonda era Olikozesa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 1 lup. 4-5

Erinnya Lya Katonda y’Ani?

Bw’oba oyagala okumanya omuntu, oboolyawo osooka kumubuuza nti, “Erinnya lyo gwe ani?” Singa obuuza Katonda ekibuuzo ekyo, olowooza yandikuzzeemu atya?

“Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange.”​—Isaaya 42:8.

Erinnya eryo wali oliwuliddeko? Oyinza okuba nga toliwulirangako olw’okuba abavvuunuzi ba Bayibuli bangi tebatera kulikozesa, ate abamu tebalikozesezaako ddala. Ebiseera ebisinga mu kifo ky’erinnya eryo bakozesa ekitiibwa “MUKAMA.” Kyokka, erinnya lya Katonda lisangibwa mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka emirundi egisukka mu 7,000. Erinnya eryo lirina ennukuta ensirifu nnya ez’Olwebbulaniya, nga zikiikirirwa YHWH oba JHVH, era mu Luganda, erinnya eryo lyavvuunulwa nti “Yakuwa.”

Erinnya lya Katonda mu Lwebbulaniya mu Mizingo gy’Ennyanja Enfu

Omuzingo gwa Zabbuli ogw’Ennyanja Enfu Ekyasa Ekyasooka E.E., MU LWEBBULANIYA

Erinnya lya Katonda mu Lungereza mu Nkyusa ya Tyndale

Enkyusa ya Tyndale 1530, MU LUNGEREZA

Erinnya lya Katonda mu Lusipeyini mu nkyusa ya Reina-Valera

Enkyusa ya Reina-Valera 1602, MU LUSIPEYINI

Erinnya lya Katonda mu nkyusa ya Union Version ey’Olukyayina

Union Version 1919, MU LUKYAYINA

Erinnya lya Katonda lisangibwa mu byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ne mu nkyusa za Bayibuli nnyingi

ENSONGA LWAKI ERINNYA LYA KATONDA KKULU

Katonda kennyini alitwala nga kkulu. Tewali yawa Katonda linnya eryo; ye kennyini ye yalyetuuma. Yakuwa yagamba nti: “Eryo lye linnya lyange emirembe n’emirembe, era bwe ntyo bwe nnajjukirwanga buli mulembe oguliddawo.” (Okuva 3:15) Mu Bayibuli erinnya lya Katonda lirabika emirundi mingi okusinga ebitiibwa bye, gamba ng’Omuyinza w’Ebintu Byonna, Kitaffe, Mukama, oba Katonda, era lirabika emirundi mingi okusinga amannya g’abantu, gamba nga, Ibulayimu, Musa, Dawudi, oba Yesu. Ate era, Yakuwa ayagala abantu bamanye erinnya lye. Bayibuli egamba nti: “Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, Ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”​—Zabbuli 83:18.

Yesu alitwala nga kkulu. Mu ssaala eyitibwa Essaala ya Kitaffe, Yesu yagamba abagoberezi be okusaba Katonda nti “Erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Yesu kennyini yasaba Katonda nti: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” (Yokaana 12:28) Yesu yakulembeza okugulumiza erinnya lya Katonda mu bulamu bwe, era eyo ye nsonga lwaki bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa.”​—Yokaana 17:26.

Erinnya eryo kkulu eri abantu abamanyi Katonda. Abantu ba Katonda ab’omu biseera eby’edda baali bakimanyi nti Katonda yabakuumanga era n’abalokola ku lw’erinnya lye. Bayibuli egamba nti: “Erinnya lya Yakuwa kigo kya maanyi. Omutuukirivu addukira omwo n’afuna obukuumi.” (Engero 18:10) Ate era egamba nti: “Buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” (Yoweeri 2:32) Bayibuli eraga nti erinnya lya Katonda lye lyandyawuddewo abo abamuweereza. “Buli ggwanga linaatambuliranga mu linnya lya katonda waalyo, naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe emirembe n’emirembe.”​—Mikka 4:5; Ebikolwa 15:14.

ERINNYA LYA KATONDA BYE LIRAGA

Erinnya eryo liraga ekyo Katonda ky’ali. Abeekenneenya ba Bayibuli bangi bagamba nti erinnya Yakuwa litegeeza nti “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” Yakuwa yalaga amakulu g’erinnya lye bwe yagamba Musa ebigambo bino: “Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera.” (Okuva 3:14) N’olwekyo, erinnya lya Katonda lirina amakulu agasinga ku kuba nti ye Mutonzi w’ebintu byonna. Erinnya lye liraga nti asobola okubeera kyonna oba okusobozesa ebitonde bye okubeera ekyo ky’ayagala okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Wadde ng’ebitiibwa bya Katonda bisobola okulaga ekifo kye, obuyinza bwe, oba amaanyi ge, erinnya lye Yakuwa, lye lyokka eriraga ekyo ky’ali era ne ky’asobola okubeera.

Erinnya eryo liraga nti Katonda atwagala nnyo. Amakulu g’erinnya lya Katonda galaga okwagala kw’alina eri ebitonde bye, nga mwemuli naffe abantu. Olw’okuba Katonda atumanyisizza erinnya lye, kiraga nti ayagala tumumanye. Yatubuulira erinnya lye nga tetunnaba na kulimubuuza. Mu butuufu, Katonda tayagala kumutwala ng’atategeerekeka era ng’ali ewala, wabula ayagala tumutwale nga Katonda owa ddala gwe tusobola okusemberera.​—Zabbuli 73:28.

Bwe tukozesa erinnya lya Katonda kiraga nti tumwagala. Ng’ekyokulabirako, oyinza okugamba omuntu gwe wandyagadde afuuke mukwano gwo okukuyitanga erinnya lyo. Wandiwulidde otya singa omuntu oyo agaana okukuyita erinnya lyo? Oluvannyuma lw’ekiseera oyinza okwebuuza obanga ddala omuntu oyo yali ayagala obeere mukwano gwe. Bwe kityo bwe kiri ne ku Katonda. Yakuwa abuulidde abantu erinnya lye era ayagala balikozese. Bwe tulikozesa tuba tulaga nti twagala okubeera mikwano gye. Mu butuufu yeetegereza “abo abalowooza ku linnya lye” [oba, “abo abatwala erinnya lye nga lya muwendo,” obugambo obuli wansi]!​—Malaki 3:16.

Okumanya erinnya lya Katonda kye kintu ekikulu ekisooka okusobola okumumanya. Naye tetulina kukoma ku ekyo. Twetaaga okumanya nnannyini linnya eryo ky’ali.

ERINNYA LYA KATONDA Y’ANI? Erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Erinnya eryo liraga nti Katonda wa ddala era asobola okutuukiriza ebigendererwa bye

KATONDA YAJJAWO ATYA?

Abantu bangi beebuuza ekibuuzo ekyo. Oboolyawo naawe wali okyebuuzizzaako. Ekibuuzo ekyo tuyinza okukikyusaamu bwe tuti: Bwe kiba nti obwengula n’ebintu byonna ebirimu Katonda ye yabitonda, kati olwo ye yajja atya okubaawo?

Bannassaayansi okutwalira awamu bakkiriza ntiobwengula bwaliko entandikwa. Bayibuli ekkiriziganya n’endowooza eyo. Olunyiriri olusooka mu Bayibuli lugamba nti: “Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.”​—Olubereberye 1:1.

Obwengula tebuyinza kuba nga bwajjawo bwokka; tebuyinza kuba nga bwava mu kintu ekitaaliwo. Ekintu tekisobola kuva mu kintu kitaliiwo. Bwe kiba nti tewaaliwo kintu kyonna ekiramu ng’obwengula tebunnabaawo, ekyo kiba kitegeeza nti obwengula tebwandibaddewo leero. Wadde nga si kyangu kutegeera, walina okubaawo ekintu ekibaddewo emirembe gyonna era nga si kitundu kya bwengula, obwengula okusobola okubaawo. Yakuwa Katonda ow’omwoyo, alina amaanyi agataggwaawo era alina amagezi ye yabutonda.​—Yokaana 4:24.

Bayibuli eyogera bw’eti ku Katonda: “Ensozi nga tezinnazaalibwa, era nga tonnakola nsi n’ebigirimu, okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna, ggwe Katonda.” (Zabbuli 90:2) N’olwekyo, Katonda yasooka kubaawo emirembe n’emirembe, oluvannyuma, “ku lubereberye” n’atonda obwengula.​—Okubikkulirwa 4:11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share