Ssa Ekitiibwa mu Linnya lya Yakuwa Ekkulu
‘Nnaagulumizanga erinnya lyo emirembe gyonna.’—ZAB. 86:12.
1, 2. Obutafaananako madiini ga Kristendomu, Abajulirwa ba Yakuwa batwala batya erinnya lya Katonda?
AMADIINI ga Kristendomu tegaagala kukozesa linnya lya Katonda. Ng’ekyokulabirako, mu nnyanjula y’enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Revised Standard Version mulimu ebigambo bino: “Abakristaayo tebasaanidde kukozesa linnya lya Katonda.”
2 Ku luuyi olulala, Abajulirwa ba Yakuwa bagitwala nga nkizo okuyitibwa erinnya lya Katonda n’okuligulumiza. (Soma Zabbuli 86:12; Isaaya 43:10.) Ate era bagitwala nga nkizo okumanya amakulu g’erinnya eryo n’okumanya ensonga lwaki kikulu nnyo okulitukuza. (Mat. 6:9) Okusobola okulaba ensonga lwaki okumanya Yakuwa nkizo ya maanyi, ka twetegereze ebibuuzo ebikulu bisatu: Kitegeeza ki okumanya erinnya lya Katonda? Yakuwa atuukanye atya n’erinnya lye? Era tuyinza tutya okutambulira mu linnya lya Yakuwa?
KITEGEEZA KI OKUMANYA ERINNYA LYA KATONDA?
3. Kitegeeza ki okumanya erinnya lya Katonda?
3 Okumanya erinnya lya Katonda kisingawo ku kumanya obumanya ekigambo “Yakuwa.” Kizingiramu okumanya ekyo Yakuwa ky’ali, ekigendererwa kye, engeri ze, n’ebintu bye yakola bye tusomako mu Bayibuli, gamba ng’engeri gye yakolaganamu n’abaweereza be ab’edda. Yakuwa agenze ayamba abantu mpolampola okumutegeera. (Nge. 4:18) Yakuwa ateekwa okuba nga yabuulira Adamu ne Kaawa erinnya lye, kubanga Kaawa yalikozesa oluvannyuma lw’okuzaala Kayini. (Lub. 4:1) Nuuwa, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo nabo baali bamanyi erinnya lya Katonda. Abasajja abo beeyongera okutegeera Yakuwa bwe baalaba engeri gye yabawaamu emikisa, engeri gye yabalabiriramu, n’engeri gye yabayamba okutegeera ekigendererwa kye. Ate era Yakuwa yayamba Musa okutegeera obulungi amakulu g’erinnya lye.
Musa yali amanyi amakulu g’erinnya lya Katonda, era ekyo kyanyweza okukkiriza kwe
4. Lwaki Musa yabuuza Katonda ebikwata ku linnya lye, era lwaki ekibuuzo kye yabuuza kyali kikulu nnyo?
4 Soma Okuva 3:10-15. Musa bwe yali wa myaka 80, Katonda yamulagira okugenda ‘okuggya abaana ba Isiraeri e Misiri.’ Musa yabuuza Katonda ekibuuzo ekikulu ennyo. Yamubuuza nti: ‘Erinnya lyo ggwe ani?’ Okuva bwe kiri nti abantu baali bamaze ekiseera kiwanvu nga bamanyi erinnya lya Katonda, lwaki Musa yabuuza ekibuuzo ekyo? Musa yali ayagala okumanya ekyo kyennyini Yakuwa ky’ali. Ekyo kyandimuyambye okukakasa Abaisiraeri nti Yakuwa yali asobola okubanunula. Abaisiraeri baali bamaze emyaka mingi mu buddu, era oboolyawo baali tebakyalina ssuubi nti Katonda wa bajjajjaabwe yali asobola okubanunula. Mu butuufu, Abaisiraeri abamu baali batandise n’okusinza bakatonda b’Abamisiri!—Ez. 20:7, 8.
5. Bwe yali addamu ekibuuzo kya Musa, Yakuwa yatangaaza atya ku makulu g’erinnya lye?
5 Yakuwa yaddamu atya ekibuuzo kya Musa? Yamugamba nti: “Bw’otyo bw’oligamba abaana ba Isiraeri nti NDI [“NJA KUBEERA,” NW] ye antumye eri mmwe.”a Era yagattako nti: ‘Yakuwa Katonda wa bajjajja bammwe ye antumye eri mmwe.’ Katonda yakiraga nti yali ajja kubeera ekyo kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye, era yakiraga nti ye Katonda atuukiriza ebyo byonna by’aba asuubizza. Eyo ye nsonga lwaki mu lunyiriri olwa 15 Yakuwa yagamba nti: “Eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n’ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna.” Ng’ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Musa amaanyi era ne binyweza okukkiriza kwe!
YAKUWA YATUUKANA N’ERINNYA LYE
6, 7. Yakuwa yatuukana atya n’erinnya lye ekkulu?
6 Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yakuwa okutuma Musa okugenda okuggya Abaisiraeri e Misiri, Yakuwa yatuukana n’erinnya lye ng’anunula Abaisiraeri. Yabonereza eggwanga lya Misiri ng’alireetako ebibonoobono kkumi, n’akiraga nti bakatonda b’e Misiri, nga mw’otwalidde ne Falaawo, baali banafu nnyo. (Kuv. 12:12) Oluvannyuma Yakuwa yayawulamu Ennyanja Emmyufu wakati, n’ayisaamu Abaisiraeri, era n’asuulamu Falaawo n’eggye lye. (Zab. 136:13-15) Abaisiraeri bwe baali bayita mu “ddungu eddene era ery’entiisa,” Yakuwa yabalabirira ng’abawa emmere n’amazzi. Baali ng’obukadde busatu oba n’okusingawo! Ate era Yakuwa yakakasa nti ebyambalo byabwe n’engatto zaabwe tebikaddiwa. (Ma. 1:19; 29:5) Ebyo byonna biraga nti, tewali kintu kyonna kisobola kulemesa Yakuwa kutuukiriza ebyo by’aba asuubizza. Yakuwa yagamba Isaaya nti: “Nze, nze mwene, nze Mukama [“Yakuwa,” NW]; so tewali mulokozi wabula nze.”—Is. 43:11.
7 Yoswa, oyo eyaddira Musa mu bigere, naye yalaba ebintu eby’ekitalo Yakuwa bye yakola mu Misiri ne mu ddungu. Bwe kityo, bwe yali anaatera okufa, Yoswa yagamba Baisiraeri banne nti: “Nammwe mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo [na] kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.” (Yos. 23:14) Mu butuufu, ebintu byonna Yakuwa bye yasuubiza yabituukiriza.
8. Yakuwa atuukanye atya n’erinnya lye leero?
8 Ne leero Yakuwa atuukanye bulungi n’erinnya lye. Okuyitira mu Mwana we, Yakuwa yagamba nti mu nnaku ez’oluvannyuma, amawulire amalungi ag’Obwakabaka gandibadde gabuulirwa “mu nsi yonna etuuliddwamu.” (Mat. 24:14) Yakuwa ye yekka eyali asobola okugamba nti omulimu ogwo gwandikoleddwa era n’akakasa nti gukolebwa nga bw’ayagala. Akozesa ‘abantu aba bulijjo’ okukola omulimu ogwo. (Bik. 4:13) N’olwekyo, bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira tuba tuyamba mu kutuukiriza obunnabbi bwa Bayibuli, tuba tuweesa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa, era tuba tulaga nti tutegeera amakulu g’ebigambo bino: “Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—Mat. 6:9, 10.
ERINNYA LYE KKULU
Falaawo yagaana okussa ekitiibwa mu Yakuwa Katonda
9, 10. Biki bye tuyiga ku Yakuwa bwe twetegereza engeri gye yakolaganamu n’Abaisiraeri?
9 Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’Abaisiraeri okuva e Misiri, Yakuwa yayamba abantu be okwongera okumumanya. Yakuwa yakola endagaano y’Amateeka nabo era n’abasuubiza okubalabirira ng’omwami bw’alabirira mukyala we. (Yer. 3:14) Bwe kityo, Abaisiraeri baali bafuuse nga mukyala wa Yakuwa. Baafuuka abantu abayitibwa erinnya lye. (Is. 54:5, 6) Abaisiraeri bwe bandikutte amateeka ga Yakuwa, yandibawadde emikisa, yandibakuumye, era yandibayambye okuba mu mirembe. (Kubal. 6:22-27) Ekyo kyandireetedde erinnya lya Yakuwa okugulumizibwa mu mawanga gonna. (Soma Ekyamateeka 4:5-8; Zabbuli 86:7-10.) Mu butuufu, Abaisiraeri bwe baali bakyali bantu ba Yakuwa, waliwo abantu bangi okuva mu mawanga amalala abaasalawo okutandika okuweereza Yakuwa. Abantu abo baali ng’omukyala Omumowaabu ayitibwa, Luusi, eyagamba Nawomi nti: “Abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange.”—Luus. 1:16.
10 Yakuwa yamala emyaka nga 1,500 ng’akolagana n’eggwanga lya Isiraeri era mu kiseera ekyo engeri ze zeeyoleka bulungi. Wadde ng’emirundi mingi Abaisiraeri baamujeemeranga, Yakuwa yakiraga nti ye “Katonda ajjudde okusaasira” era “alwawo okusunguwala.” Yakuwa yagumiikiriza nnyo Abaisiraeri. (Kuv. 34:5-7) Kyokka, obugumiikiriza bwa Yakuwa bwaliko ekkomo. Abantu b’eggwanga lya Isiraeri bwe baagaana okukkiriza Omwana we era ne batuuka n’okumutta, Yakuwa yalekera awo okutwala Abaisiraeri ng’abantu abayitibwa erinnya lye. (Mat. 23:37, 38) Abaisiraeri baali bafudde mu by’omwoyo, nga bali ng’omuti ogukaze. (Luk. 23:31) Ekyo kyakwata kitya ku ngeri gye baali batwalamu erinnya lya Katonda?
11. Lwaki Abayudaaya baalekera awo okukozesa erinnya lya Katonda?
11 Oluvannyuma lw’ekiseera, Abayudaaya baafuna endowooza enkyamu ku linnya lya Katonda. Baatandika okukitwala nti erinnya lya Katonda terisaanidde kwatulwa era bwe batyo ne balekera awo okulikozesa. (Kuv. 20:7) Yakuwa ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo okulaba ng’abantu be tebakyassa kitiibwa mu linnya lye. (Zab. 78:40, 41) Katonda erinnya lye alitwala nga kkulu nnyo. Mu butuufu, Bayibuli eraga nti Katonda akwatibwa obuggya olw’erinnya lye. Okuva bwe kiri nti Abaisiraeri baali tebakyassa kitiibwa mu linnya lya Yakuwa, baali tebakyasaana kuyitibwa linnya lye. (Kuv. 34:14) Ekyo kiraga nti tusaanidde okussa ekitiibwa mu linnya ly’Omutonzi waffe.
ABANTU ABAYITIBWA ERINNYA LYA KATONDA
12. Baani abaafuuka abantu abayitibwa erinnya lya Katonda?
12 Okuyitira mu Yeremiya, Yakuwa yagamba nti yali agenda kukola “endagaano empya” n’eggwanga eriggya, Isiraeri ow’omwoyo. Yeremiya yagamba nti abantu bonna abandibadde mu ggwanga eryo, “okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo,” bandibadde ‘bamanyi Yakuwa.’ (Yer. 31:31, 33, 34) Obunnabbi obwo bwatandika okutuukirira ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., Katonda bwe yatandikawo endagaano empya. Eggwanga eriggya, “Isiraeri wa Katonda,” omwali Abayudaaya n’abatali Bayudaaya, lyafuuka abantu “abayitibwa erinnya” lya Katonda.—Bag. 6:16; soma Ebikolwa 15:14-17; Mat. 21:43.
13. (a) Kiki ekiraga nti Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baakozesanga erinnya lya Katonda? (b) Enkizo ey’okukozesa erinnya lya Katonda ng’obuulira ogitwala otya?
13 Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, abaali mu Isiraeri ow’omwoyo, baakozesanga erinnya lya Katonda. Ng’ekyokulabirako, baalikozesanga nga bajuliza Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.b Omutume Peetero bwe yali ayogera eri Abayudaaya n’abakyufu ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., yakozesa erinnya lya Katonda emirundi egiwerako. (Bik. 2:14, 20, 21, 25, 34) Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, bassanga ekitiibwa mu Yakuwa era naye n’abawa emikisa mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa atuwa emikisa mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira bwe tubuulira abantu erinnya lye era ne tulibalaga mu Bayibuli zaabwe bwe kiba kisoboka. Nga nkizo ya maanyi okuyamba abantu okutandika okumanya Katonda ow’amazima! Ekyo kisobola okubayamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era enkolagana eyo basobola okuba nayo emirembe n’emirembe.
14, 15. Wadde nga wabaddewo obwakyewaggula, kiki ekiraga nti Yakuwa akuumye erinnya lye?
14 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, naddala oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, wajjawo obwakyewaggula mu kibiina Ekikristaayo. (2 Bas. 2:3-7) Abayigiriza ab’obulimba baatandika okugamba abantu obutakozesa linnya lya Katonda. Naye ddala Yakuwa yandikkirizza erinnya lye okusaanyizibwawo? Nedda! Wadde nga tetumanyidde ddala ngeri linnya lya Katonda gye lyayatulwangamu, erinnya lye terisaanyiziddwawo. Okumala emyaka mingi, erinnya lya Katonda libadde lirabikira mu nzivuunula za Bayibuli nnyingi era ne mu biwandiiko by’abeekenneenya ba Bayibuli ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, mu 1757, Charles Peters yawandiika nti: ‘Amakulu agali mu linnya lya Katonda, Yakuwa, gatuyamba okutegeera obulungi Katonda okusinga ago agali mu bitiibwa byonna by’alina.’ Mu kitabo ekimu ekikwata ku kusinza Katonda ekyafulumizibwa mu 1797, Hopton Haynes yagamba nti: “YAKUWA lye linnya lya KATONDA omu yekka Abayudaaya gwe baasinzanga; era Kristo n’abatume nabo gwe baasinzanga.” Henry Grew (1781-1862) yakozesanga erinnya lya Katonda era yakiraba nti lyali lisiigiddwa enziro era nga lyetaaga okutukuzibwa. George Storrs (1796-1879) ne Charles T. Russell nabo baakozesanga erinnya lya Katonda.
15 Omwaka gwa 1931 gwali gwa njawulo nnyo eri abantu ba Katonda. Omwaka ogwo bwe gwali tegunnatuuka, baali bayitibwa Abayizi ba Bayibuli. Naye mu mwaka ogwo baatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa. (Is. 43:10-12) Bwe kityo, baamanyisa ensi yonna nti bagitwala nga nkizo okuweereza Katonda omu ow’amazima, ‘okuyitibwa erinnya lye,’ n’okutendereza erinnya lye. (Bik. 15:14) Bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’akuumyemu erinnya lye, kitujjukiza ebigambo bye ebiri mu Malaki 1:11, awagamba nti: “Okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu b’amawanga.”
TAMBULIRA MU LINNYA LYA YAKUWA
16. Lwaki okutambulira mu linnya lya Yakuwa tusaanidde okukitwala nga nkizo ya maanyi?
16 Nnabbi Mikka yawandiika nti: “Amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya [Yakuwa] Katonda waffe emirembe n’emirembe.” ( Mi. 4:5) Ng’Abayizi ba Bayibuli baafuna enkizo ya maanyi okuba nti Yakuwa yabakkiriza okuyitibwa erinnya lye! Ekyo kyalaga nti baali basiimibwa mu maaso ge. (Soma Malaki 3:16-18.) Ate kiri kitya eri ggwe? Ofuba ‘okutambulira mu linnya lya Yakuwa’? Omanyi kye kitegeeza okutambulira mu linnya eryo?
17. Okutambulira mu linnya lya Katonda kizingiramu ki?
17 Okutambulira mu linnya lya Katonda kizingiramu ebintu nga bisatu. Ekisooka, tulina okubuulira abalala erinnya eryo, kubanga abo bokka ‘abakoowoola erinnya lya Yakuwa be bajja okulokolebwa.’ (Bar. 10:13) Eky’okubiri, tulina okwoleka engeri za Yakuwa, naddala okwagala. N’eky’okusatu, tulina okutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, kubanga bwe tutakola tutyo tusobola okuleeta ekivume ku linnya lye ettukuvu. (1 Yok. 4:8; 5:3) Oli mumalirivu okweyongera ‘okutambulira mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe emirembe n’emirembe’?
18. Lwaki abo bonna abassa ekitiibwa mu linnya lya Yakuwa ekkulu beesunga nnyo ebiseera eby’omu maaso?
18 Mu kiseera ekitali kya wala, abo bonna abatatya Yakuwa era abatamugondera bajja kutegeera ekyo kyennyini ky’ali. (Ez. 38:23) Abantu abo balinga Falaawo eyagamba nti: ‘Yakuwa y’ani ndyoke mpulirize eddoboozi lye?’ Naye mu kiseera kitono, Falaawo yategeera ekyo Yakuwa ky’ali! (Kuv. 5:1, 2; 9:16; 12:29) Kyokka ffe tumanyi Yakuwa. Tugitwala nga nkizo okuyitibwa erinnya lye era tufuba okumugondera. N’olwekyo, twesunga nnyo ebiseera eby’omu maaso era twesunga okulaba ekisuubizo kino ekiri mu Zabbuli 9:10 nga kituukirira: ‘Abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; kubanga ggwe, Ai Yakuwa, tolibaleka abakunoonya.’
a Erinnya lya Katonda lirina akakwate n’ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okubeera.” Bwe kityo, erinnya “Yakuwa” litegeeza nti “Asobozesa Ebintu Okubeerawo.”—Lub. 2:4.
b Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka bye baakozesanga byalimu erinnya lya Katonda. Era erinnya lya Katonda liyinza okuba nga lyali ne mu kopi za Septuagint ezaasooka. Septuagint bye Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyakyusibwa mu Luyonaani.