LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 3/15 lup. 29
  • Ddala Josephus Ye Yabiwandiika?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Josephus Ye Yabiwandiika?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • Obadde Okimanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 3/15 lup. 29

Ddala Josephus Ye Yabiwandiika?

Mu kimu ku bitabo bye ebirimu ebyafaayo by’Abayudaaya, munnabyafaayo eyaliwo mu kyasa ekyasooka Flavius Josephus yayogera ku kufa kwa “Yakobo, muganda wa Yesu eyali ayitibwa Kristo.” Abayivu bangi bakkiriza nti Josephus ye yawandiika ebigambo ebyo. Kyokka waliwo ebigambo ebirala ebikwata ku Yesu ebiri mu kitabo ekyo abayivu abamu bye babuusabuusa obanga ddala Josephus ye yabiwandiika. Ebigambo ebyo biyitibwa Testimonium Flavianum era bigamba nti:

‘Mu kiseera ekyo, waaliwo omusajja ow’amagezi ayitibwa Yesu, eyakolanga ebyamagero era abantu baayagalanga nnyo okumuwuliriza ng’ayigiriza. Abayudaaya bangi n’Ab’amawanga bangi baamugoberera. Omusajja oyo ye Kristo. Piraato, ng’asendebwasendebwa abakulembeze baffe, yamusalira ogw’okuwanikibwa ku musaalaba, naye abo abaali bamwagala tebaamuvaako, era ku lunaku olw’okusatu yaddamu okubalabikira, nga bannabbi ba Katonda bwe baali baagamba; era Abakristaayo, abajja erinnya lyabwe ku Kristo, ne leero weebali.’​—Josephus​—The Complete Works, kyavvuunulwa William Whiston.

Ekyasa ekya 16 bwe kyali kinaatera okuggwako, waabalukawo obutakkaanya ng’abayivu abamu bagamba nti Josephus ye yawandiika ebigambo ebyo ate ng’abalala bagamba nti si ye yabiwandiika. Munnabyafaayo Omufalansa era omukugu mu biwandiiko by’edda ayitibwa Serge Bardet, agezezzaako okuyamba mu kugonjoola obutakkaanya obwo obumaze ebyasa nga bina. Yanoonyereza ku nsonga eyo era ebyo bye yazuula yabifulumiza mu kitabo kye ekiyitibwa Le Testimonium Flavianum​—Examen historique considérations historiographiques.

Josephus yali takkiririza mu njigiriza za Kikristaayo naye yali akkiririza mu njigiriza za Kiyudaaya era yawandiika byafaayo by’Abayudaaya. Bwe kityo, abantu abamu tebakkiriza nti Josephus yali asobola okugamba nti Yesu “ye Kristo.” Naye Bardet yagamba nti okuva bwe kiri nti ebigambo ebyo Josephus yabiwandiika mu Luyonaani, Josephus okugamba nti Yesu “ye Kristo” kyali kituukagana n’amateeka agafuga olulimi Oluyonaani.

Kyandiba nti waliwo omuntu omulala eyagatta ebigambo ebyo mu kitabo kya Josephus era n’akoppa engeri Josephus gye yali awandiikamu? Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebyafaayo ebitali bimu awamu n’ebyo Josephus bye yawandiika, Bardet yagamba nti tewali muntu n’omu yali asobola kukoppa ngeri Josephus gye yali awandiikamu kubanga empandiika ya Josephus yali ya njawulo nnyo.

Lwaki abantu abamu babuusabuusa obanga Josephus ye yawandiika ebigambo ebyo? Bardet yagamba nti abayivu bangi bakkiriza ebintu ebisinga obungi Josephus bye yawandiika naye bwe kituuka ku bigambo ebiyitibwa Testimonium babuusabuusa obanga ddala Josephus ye yabiwandiika olw’okuba tebaagala kukkiriza nti Yesu ye Kristo.

Tetumanyi obanga ebyo Bardet bye yazuula binaakyusa endowooza abayivu abamu gye balina ku Testimonium Flavianum. Kyokka ebyo Bardet bye yazuula byasobola okukyusa endowooza y’omusajja omu omuyivu ayitibwa Pierre Geoltrain. Okumala emyaka mingi Geoltrain yali alowooza nti ebigambo ebiyitibwa Testimonium muntu mulala ye yabigatta mu kitabo kya Josephus, era yali asekerera abo abaali bagamba nti Josephus ye yabiwandiika. Geoltrain yagamba nti ebyo Bardet bye yazuula bye byamuleetera okukyusa endowooza ye. Yagattako nti: “Tewali muntu n’omu asaanidde kubuusabuusa nti Josephus ye yawandiika ebigambo ebyo.”

Kya lwatu nti Abajulirwa ba Yakuwa balina ensonga ey’amaanyi n’okusinga ku eyo ebaleetera okukkiriza nti Yesu ye Kristo. Bayibuli ebayambye okukakasa nti Yesu ye Kristo.​—2 Tim. 3:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share