Obadde Okimanyi?
Bukakafu ki obutali bwa mu Baibuli obulaga nti ddala Yesu yaliwo?
▪ Abawandiisi bangi abaaliwo mu kiseera ekyaddirira okufa kwa Yesu, baamuwandiikako mu bitabo byabwe. Omu ku bo ayitibwa Cornelius Tacitus, yawandiika ku byafaayo bya Rooma ng’ekyafugibwa ba empura. Ng’ayogera ku muliro ogwasaanyaawo Rooma mu 64 E.E., Tacitus agamba nti kyagambibwa nti Empura Nero ye yaviirako akatyabaga ako. Era yagamba nti Nero yagezaako okuteeka omusango ku kibiina ky’abantu be baayitanga Abakristaayo. Tacitus yawandiika bw’ati: “Erinnya lyabwe baaliggya ku Kristo eyattibwa Pontiyo Piraato, eyali omukungu mu bufuzi bwa Tiberiyo.”—Annals, XV, 44.
Munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Flavius Josephus naye ayogera ku Yesu. Ng’ayogera ku ebyo ebyaliwo okuva ku kiseera nga Festus gavana Omuruumi eyali afuga Buyudaaya amaze okufa awo nga mu 62 E.E., okutuuka ku kiseera oyo eyamuddira mu bigere ayitibwa Albinus we yatandikira okufuga, Josephus yagamba nti, Kabona Asinga Obukulu ayitibwa Ananiya “yakuŋŋaanya abalamuzi b’omu Lukiiko Olukulu n’abaleetera abantu omwali omusajja ayitibwa Yakobo, muganda wa Yesu eyali ayitibwa Kristo.”—Jewish Antiquities, XX, 200 (ix, 1).
Lwaki Yesu yali ayitibwa Kristo?
▪ Ebiri mu Njiri biraga nti malayika Gabulyeri bwe yalabikira Maliyamu yamugamba nti yandifunye olubuto era nti omwana omulenzi gwe yandizadde yali wa kumutuuma erinnya Yesu. (Lukka 1:31) Mu biseera bya Baibuli, erinnya lino Abayudaaya baalituumanga nnyo abaana baabwe. Munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus yawandiika ku bantu 12 abaali bayitibwa erinnya eryo ng’oggyeko abo aboogerwako mu Byawandiikibwa. Omwana wa Maliyamu yali ayitibwa “Omunnazaaleesi” kisobozese abantu okutegeera nti ye Yesu eyali abeera e Nazaaleesi. (Makko 10:47) Era ekiseera kyatuuka n’ayitibwa “Kristo,” oba Yesu Kristo. (Matayo 16:16) Kino kitegeeza ki?
Ekigambo “Kristo” kiva mu kigambo ky’Oluyonaani Khri·stosʹ, ekirina amakulu ge gamu n’eky’Olwebbulaniya Ma·shiʹach (Masiya). Ebigambo ebyo byombi bitegeeza “Eyafukibwako Amafuta.” Ebigambo bino byakozesebwanga ku bantu abamu abaaliwo nga Yesu tannajja. Ng’ekyokulabirako, Musa, Alooni, ne Kabaka Dawudi bonna baafukibwako amafuta, ekitegeeza nti Katonda yabalonda n’abateeka mu bifo eby’obuvunaanyizibwa era n’abawa obuyinza. (Eby’Abaleevi 4:3; 8:12; 2 Samwiri 22:51; Abebbulaniya 11:24-26) Yesu, Masiya eyasuubizibwa, ye mubaka wa Yakuwa eyasinga abalala bonna. N’olwekyo, Yesu yafuna ekitiibwa ekimugwanira ekya “Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”—Matayo 16:16; Danyeri 9:25.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Artist’s rendering of Flavius Josephuse