LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 2 lup. 3-4
  • Naye Ddala Byaliyo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Naye Ddala Byaliyo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OBUKAKAFU OBULAGA NTI YESU YALIYO
  • BUKAKAFU OBULAGA NTI YESU YAZUUKIRA?
  • Okuzuukira kwa Yesu Kutuganyula Kutya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Ddala Yesu Yazuukira?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Okuzuukira—Ssuubi Kkakafu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Yesu Kristo Ebibuuzo Ebimukwatako Biddibwamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 2 lup. 3-4
Omulambo gwa Yesu baguwanika ku muti ng’abayigirizwa be balaba

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI YESU YABONAABONA ERA N’AFA?

Naye Ddala Byaliyo?

Mu mwaka gwa 33 E.E.,a Yesu Omunazaaleesi yattibwa. Baamusibako omusango ogw’okulya mu nsi ye olukwe, baamukuba nnyo era ne baamukomerera ku muti. Yafiira mu bulumi obw’amaanyi naye Katonda n’amuzuukiza, era oluvannyuma lw’ennaku 40 n’agenda mu ggulu.

Ebigambo ebyo bisangibwa mu bitabo by’Enjiri ebina ebisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani abamu bye bayita Endagaano Empya. Naye ddala ebintu ebyo byaliyo? Ekibuuzo ekyo kikulu nnyo kubanga bwe biba nga tebyaliyo ebyo Abakristaayo bye bakkiriza tebyandibadde na makulu, era tebandibadde na ssuubi lya bulamu obutaggwaawo. (1 Abakkolinso 15:14) Ku luuyi olulala, ebintu ebyo bwe biba nga byaliyo, ebiseera by’abantu bonna eby’omu maaso biba bitangaavu. Naye ddala ebikwata ku Yesu ebyogerwako mu bitabo by’Enjiri byaliyo?

OBUKAKAFU OBULAGA NTI YESU YALIYO

Obutafaananako nfumo z’abantu, ebyo abawandiisi b’Enjiri bye baawandiika bituufu era biwa kalonda yenna atuyamba okumanya ebyo ebyaliwo. Ng’ekyokulabirako, baawandiika amannya g’ebifo bingi ebikyaliwo ne leero. Baawandiika ku bantu abaaliyo ddala era aboogerwako ne mu bitabo eby’ebyafaayo.​—Lukka 3:1, 2, 23.

Yesu kennyini ayogerwako ne mu bitabo bya bannabyafaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka n’eky’okubiri.b Engeri Yesu gye yattibwamu eyogerwako mu bitabo by’Enjiri ekwatagana n’ebyo bannabyafaayo bye boogera ku ngeri Abaruumi gye battangamu abantu mu kiseera ekyo. Ate era, ebintu ebyogerwako bituufu era byawandiikibwa mu bwesimbu. Abawandiisi abo baawandiika ne ku nsobi abamu ku bayigirizwa ba Yesu ze baakola. (Matayo 26:56; Lukka 22:24-26; Yokaana 18:10, 11) Ebyo byonna bikakasa nti ebyawandiikibwa mu bitabo by’Enjiri ebikwata ku Yesu bituufu.

BUKAKAFU OBULAGA NTI YESU YAZUUKIRA?

Wadde ng’abantu bangi bakkiriza nti Yesu yaliyo era nti yafa, bangi babuusabuusa obanga yazuukira, era n’abatume be tebaasooka kukkiriza. (Lukka 24:11) Naye baggwaamu okubuusabuusa bwe baamulaba emirundi egiwerako era ne bakimanya nti yalabikira n’abayigirizwa abalala. Mu butuufu, lumu yalabikira abayigirizwa abasukka mu 500.​—1 Abakkolinso 15:6.

Abayigirizwa be baabuulira ebikwata ku kuzuukira kwe n’obuvumu, era baabuulira n’abo abamutta wadde ng’ekyo kyali kiyinza okubaviirako okusibibwa oba okuttibwa. (Ebikolwa 4:1-3, 10, 19, 20; 5:27-32) Abayigirizwa abo bandibuulidde n’obuvumu bwe batyo singa tebaali bakakafu nti Yesu yali azuukiziddwa? Mu butuufu, okuba nti Yesu yazuukira kye kintu ekyaleetera Obukristaayo okubuna mu nsi yonna okuva mu kiseera ekyo okutuusa kati.

Waliwo obukakafu obw’enkukunala obulaga nti ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri ebikwata ku kufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe bituufu. Bw’onoosoma ebitabo by’Enjiri naawe ojja kukakasa nti ebintu ebyo ddala byaliyo. Ate era ojja kweyongera okukakasa by’osoma singa onootegeera ensonga lwaki Yesu yabonaabona era n’afa. Ekitundu ekiddako kigenda kwogera ku nsonga eyo.

a Tacitus, eyazaalibwa awo nga mu mwaka gwa 55 E.E., yawandiika nti “Kristo, erinnya Abakristaayo mwe lyasibuka, yabonyaabonyezebwa nnyo mu kiseera ky’obufuzi bwa Tiberiyo nga Pontiyo Piraato ye gavana.” Ate era waliwo bannabyafaayo abalala abaayogera ku Yesu, gamba nga Suetonius (ow’omu kyasa ekyasooka); munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus (ow’omu kyasa ekyasooka); ne Pliny the Younger, gavana w’e Bisuniya (ku ntandikwa y’ekyasa eky’okubiri).

b E.E., kitegeeza Embala Eno ate E.E.T., kitegeeza Embala Eno nga Tennatandika

Lwaki Ebyafaayo Tebyogera Nnyo ku Kuzuukira kwa Yesu?

Yesu yakola ebintu ebirungi bingi ng’ali ku nsi. Naye olowooza bannabyafaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali basobola okwogera ku bintu byonna ebikwata ku Yesu n’okuzuukira kwe okusinga Bayibuli? Nedda. Ekyo kiri bwe kityo kubanga ebitabo by’Enjiri byawandiikibwa emyaka nga 2,000 emabega. Ebitabo ebirala ebyawandiikibwa mu kiseera ekyo ebikyaliwo bitono nnyo. (1 Peetero 1:24, 25) Ate era tetusobola kusuubira nti abalabe ba Yesu baali bayinza okuwandiika ebintu ebyandireetedde abantu okumukkiririzaamu.

Omutume Peetero ng’ayogera ku kuzuukira kwa Yesu, yagamba nti: “Katonda yamuzuukiza ku lunaku olw’okusatu era n’akkiriza alabibwe, si bantu bonna, wabula ffe abajulirwa Katonda be yalonda edda, abaalya era abaanywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu.” (Ebikolwa 10:40, 41) Lwaki si bantu bonna? Enjiri ya Matayo eraga nti bannaddiini abaali batayagala Yesu bwe bawulira nti azuukiziddwa, baateesa okulimba nti Yesu teyazuukiziddwa.​—Matayo 28:11-15.

Kino kitegeeza nti Yesu yali tayagala bantu bamanye nti azuukidde? Nedda, kubanga omutume Peetero era yagamba nti: “Yatulagira okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu nti oyo Katonda gwe yassaawo okuba omulamuzi w’abalamu n’abafu.” Abakristaayo ab’amazima baakola ekyo kyennyini era bakyakikola.​—Ebikolwa 10:42.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share