LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 3/15 lup. 30-32
  • Toggwamu Maanyi!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Toggwamu Maanyi!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KIKULU OKUBA OMUGUMIIKIRIZA
  • WEETAAGA OKWAMBALA OMUNTU OMUGGYA
  • ENSIGO EZIMU ZIMERA LUVANNYUMA
  • “Abo Abakuwuliriza” Bajja Kulokolebwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Okwagala Kutuyamba Okugumira Obukyayi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 3/15 lup. 30-32

Toggwamu Maanyi!

Kyandiba nti omaze emyaka mingi ng’oweereza Yakuwa naye ng’oyagala munno mu bufumbo akwegatteko mu kusinza Yakuwa?

Oba waliwo omuyizi wo owa Bayibuli eyali akola obulungi mu kusooka, naye n’atakulaakulana?

Ebyokulabirako okuva mu Bungereza bijja kukuyamba okulaba ensonga lwaki tolina kuggwamu maanyi. Ate era ojja kulaba engeri gy’oyinza ‘okusuula emmere yo ku mazzi,’ mu ngeri ey’akabonero, osobole okuyamba abo abatannaba kukkiriza mazima.​—Mub. 11:1.

KIKULU OKUBA OMUGUMIIKIRIZA

Ekimu ku bintu bye weetaaga okuba nabyo bwe bugumiikiriza. Weetaaga okunyweza amazima n’okunywerera ku Yakuwa. (Ma. 10:20) Ekyo kyennyini Georgina kye yakola. Bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa mu 1970, mwami we, Kyriacos, tekyamusanyusa. Yamulagira okulekera awo okuyiga Bayibuli, n’agaana Abajulirwa ba Yakuwa okudda ewuwe, era n’amuggyako ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa byonna.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30]

Georgina bwe yatandika okugenda mu nkuŋŋaana, ekyo kyeyongera okunyiiza omwami we Kyriacos. Lumu Kyriacos yasalawo okugenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka ayombese ab’oluganda. Mwannyinaffe omu bwe yakiraba nti Kyriacos yali amanyi nnyo Oluyonaani okusinga Olungereza, yakubira essimu ow’oluganda omu enzaalwa ya Buyonaani eyali abeera mu kibiina ekirala n’amugamba ajje ayogereko ne Kyriacos. Ow’oluganda oyo yayogera bulungi ne Kyriacos era ekyo Kyriacos kyamukwatako nnyo n’akkiriza okuyiga naye Bayibuli. Yamala emyezi egiwerako ng’ayiga Bayibuli. Kyokka ekiseera kyatuuka Kyriacos n’alekera awo okuyiga Bayibuli.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30]

Kyriacos yeeyongera okuyigganya Georgina okumala emyaka essatu miramba. Yagamba Georgina nti singa abatizibwa, yali ajja kumulekawo. Ku lunaku Georgina lwe yali agenda okubatizibwa, yasaba Yakuwa amuyambe Kyriacos aleme kumulekawo. Ab’oluganda bwe baagenda okukima Georgina bagende ku lukuŋŋaana, Kyriacos yabagamba nti: “Mmwe mugende. Nja kumuleeta.” Kyriacos yaliwo mu kitundu eky’okumakya eky’olukuŋŋaana olwo era yalaba mukyala we ng’abatizibwa!

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30]

Nga wayise emyaka nga 40 bukya Georgina asisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, omwami we yabatizibwa

Okuva olwo Kyriacos yakendeeza ku kuyigganya Georgina, era yatandika okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Nga wayise emyaka nga 40 bukya Georgina asisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, omwami we yabatizibwa! Kiki ekyayamba Kyriacos? Agamba nti: “Nnakwatibwako nnyo okulaba nga Georgina yali mumalirivu obutakkiriza kintu kyonna kumuleetera kulekera awo kuweereza Yakuwa.” Georgina agamba nti: “Wadde nga mwami wange yali anjigganya nnyo, nnali mumalirivu okweyongera okuweereza Katonda. Nnasabanga nnyo Yakuwa era saggwamu maanyi.”

WEETAAGA OKWAMBALA OMUNTU OMUGGYA

Ekintu ekirala ky’oyinza okukola okusobola okuyamba munno mu bufumbo okukkiriza amazima kwe kwambala omuntu omuggya. Omutume Peetero yagamba abakyala Abakristaayo nti: “Mugonderenga babbammwe, bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo okuyitira mu mpisa z’abakazi baabwe.” (1 Peet. 3:1) Christine yakolera ku magezi ago, wadde nga kyamutwalira emyaka mingi okuyamba omwami we okuyiga amazima. Christine we yayigira amazima, emyaka nga 20 emabega, mwami we John yali takkiririza mu Katonda. John yali tayagala bya ddiini, kyokka yakiraba nti Christine yali ayagala nnyo ebyo bye yali ayiga. John agamba nti: “Nnakiraba nti bye yali ayiga byali bimuyambye okufuna essanyu. Yafuuka omukyala omuvumu era eyeesigika, era ekyo kyannyamba nnyo okuyita mu mbeera enzibu ezitali zimu.”

Christine teyakaka mwami we kuyiga mazima. Mwami we agamba nti: “Christine bwe yatandika okuyiga Bayibuli yakirabirawo nti yali teyeetaaga kumbuulira bikwata ku nzikiriza ye, era yasalawo okundeka ŋŋende nga njiga mpolampola.” Christine bwe yasomanga ekitundu mu magazini ya Watchtower oba eya Awake!, gamba ng’ekyo ekikwata ku sayansi oba ku butonde, n’akiraba nti kiyinza okusikiriza John, yakimulaganga, era n’amugamba nti, “Nkakasa nti ojja kunyumirwa nnyo okusoma ekitundu kino.”

Oluvannyuma lw’ekiseera, John yawummula ku mulimu era n’atandika okulima. Olw’okuba kati yali alina ebiseera ebiwerako okulowooza ennyo ku bulamu, yatandika okwebuuza, ‘Ku nsi twajjako mu butanwa, oba twatondebwa butondebwa?’ Lumu waliwo ow’oluganda eyali anyumya ne John n’amubuuza nti, “Olaba otya bwe tutandika okuyiga Bayibuli?” John agamba nti, “Okuva bwe kiri nti nnali ntandise okukkiririza mu Katonda, nnakkiriza okutandika okuyiga Bayibuli.”

Okuba nti Christine teyaggwamu maanyi kyavaamu ebibala. Nga wayise emyaka 20 bukya Christine ayiga amazima, John yabatizibwa. Kati bombi baweereza Yakuwa n’obunyiikivu. John agamba nti: ‘Waliwo ebintu bibiri ebyansikiriza okuyiga amazima. Ekisa awamu n’omukwano Abajulirwa ba Yakuwa bye baandaga era n’okuba nti mukyala wange yali mwesigwa era nga teyeefaako yekka.’ Mu butuufu, Christine yakolera ku magezi agali mu 1 Peetero 3:1, era ebyavaamu byali birungi!

ENSIGO EZIMU ZIMERA LUVANNYUMA

Ate watya ng’obadde n’omuyizi wa Bayibuli akola obulungi naye n’atakulaakulana? Kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.” (Mub. 11:6) Oluusi ensigo ey’amazima eyinza okumala ekiseera kiwanvu nga tennamera mu mutima gw’omuntu. Naye oluvannyuma omuntu oyo ayinza okukiraba nti yeetaaga okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. (Yak. 4:8) Lumu omuntu oyo ayinza okuddamu okuyiga era n’akulaakulana.

Lowooza ku Alice, eyali abeera mu Buyindi naye n’asengukira e Bungereza. Mu 1974 yatandika okuyiga Bayibuli. Yali ayogera Luyindi naye ng’ayagala okuyiga okwogera obulungi Olungereza. Alice yayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa okumala emyaka egiwerako, era n’agendako ne mu nkuŋŋaana mu kibiina ky’Olungereza. Yali akimanyi nti bye yali ayiga ge mazima naye nga tabitwala ng’ekikulu. Ate era Alice yali ayagala nnyo ssente era ng’ayagala nnyo okugenda ku bubaga. Oluvannyuma lw’ekiseera Alice yalekera awo okuyiga Bayibuli.

Nga wayise emyaka nga 30, Stella, eyali yayigirizaako Alice Bayibuli, yafuna ebbaluwa okuva eri Alice. Yali egamba nti: “Nsuubira nti ojja kuba musanyufu okukimanya nti omuntu gwe wali oyigiriza Bayibuli mu 1974 yabatiziddwa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti oluwedde. Wakola kinene nnyo mu kunnyamba okuyiga amazima. Wasiga ensigo ey’amazima mu mutima gwange. Wadde nga mu kiseera ekyo saali mwetegefu kwewaayo eri Katonda, ensigo eyo yasigala mu mutima gwange.”

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30]

Ebbaluwa Alice gye yawandiikira Stella yali egamba nti: “Nsuubira nti ojja kuba musanyufu okukimanya nti omuntu gwe wali oyigiriza Bayibuli mu 1974 yabatiziddwa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti oluwedde”

Kiki ekyaleetera Alice okuddamu okuyiga Bayibuli? Alice yafiirwa omwami we mu 1997 era ekyo ne kimuleetera okwennyamira ennyo. Yasaba Katonda amuyambe. Oluvannyuma lw’eddakiika nga kkumi, Abajulirwa ba Yakuwa aboogera Olupunjabi bajja ewuwe ne bamulekera tulakiti Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Abaafa? Alice yawulira nti essaala ye yali eddiddwamu era n’asalawo okuddamu okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Kyokka yali tamanyi gye bakuŋŋaanira. Bwe kityo, yakebera mu katabo ke akakadde omwali endagiriro Stella gye yali yamuwa ey’ekibiina ky’Olupunjabi. Alice bwe yagenda mu nkuŋŋaana ab’oluganda baamusanyukira nnyo. Agamba nti: “Okwagala kwe bandaga kwankwatako nnyo era ekyo kyandeetera okufuna obuweerero.”

Alice yatandika okugenda mu nkuŋŋaana obutayosa era n’addamu okuyiga Bayibuli. Yayiga okwogera obulungi Olupunjabi n’okulusoma. Mu 2003, yabatizibwa. Ebbaluwa gye yawandiikira Stella yakomekkereza n’ebigambo bino, “Weebale nnyo okusiga ensigo eyo mu mutima gwange emyaka 29 egiyise era weebale nnyo okunteerawo ekyokulabirako ekirungi.”

“Weebale nnyo okusiga ensigo eyo mu mutima gwange emyaka 29 egiyise era weebale nnyo okunteerawo ekyokulabirako ekirungi.”​—Alice

Ebyokulabirako ebyo bikuyigiriza ki? Omuyizi wo owa Bayibuli ayinza okutwala ekiseera kiwanvu okukulaakulana okusinga bw’obadde osuubira. Naye bw’aba nga ddala ayagala okuyiga ebikwata ku Katonda, nga mwesimbu, era nga mwetoowaze, Yakuwa asobola okumuyamba okukulaakulana. Lowooza ku bigambo bya Yesu bino: ‘Ensigo emera n’ekula mu ngeri omusizi gy’atamanyi. Ettaka likuza mpolampola ebibala; ebikoola bye bisooka, ne kuddako ebirimba ebito, ate oluvannyuma ebirimba ebirimu empeke ezikuze obulungi.’ (Mak. 4:27, 28) Ensigo ey’amazima ekula mpolampola. Mu butuufu, tewali mubuulizi n’omu amanyi ngeri gy’ekulamu. N’olwekyo, weeyongere okusiga ensigo. Bw’onookola bw’otyo, oyinza okukungula mu bungi.

Ate era kikulu nnyo okusaba Yakuwa. Georgina ne Christine baanyiikirira okusaba Yakuwa. Singa ‘onyiikirira okusaba’ era n’otoggwamu maanyi, oluvannyuma ‘lw’ennaku nnyingi,’ oyinza okulaba “emmere” gye wasuula ku mazzi.​—Bar. 12:12; Mub. 11:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share