Omukolo gw’Okuziika—Gwa Kitiibwa, Mutonotono, era Gusanyusa Katonda
EMIRANGA gisaanikidde ekifo kyonna. Abakungubazi abamu beesibye ebimyu era baazirana nga bwe beekuba wansi. Abalala beenyenya mpolampola nga bagendera ku buyimba obutekeddwako. Kyokka ate waliwo n’abali mu kulya n’okujaganya nga bwe basekera waggulu. Abatonotono baagudde dda eri ne beebaka oluvannyuma lw’okwekamirira omwenge. Kiki ekigenda mu maaso? Mu bitundu by’ensi ebimu, bwe kityo bye kiba ng’abantu abangi bazze ku mukolo ogw’okuziika munnaabwe.
Abajulirwa ba Yakuwa bangi balina ab’eŋŋanda ne baliraanwa abakkiririza ennyo mu kukola obulombolombo ng’omuntu afudde. Abantu bukadde na bukadde bakkiriza nti omuntu bw’afa afuuka omuzimu, era nti aba asobola okuyamba abantu oba okubakola akabi. Obulombolombo bungi obukolebwa ng’omuntu afudde buva ku nzikiriza eyo. Okukungubaga nga waliwo afudde kyo kintu kya bulijjo. Era Ebyawandiikibwa biraga nti Yesu n’abayigirizwa be nabo baakungubaganga nga bafiiriddwa. (Yok. 11:33-35, 38; Bik. 8:2; 9:39) Naye tebaakungubaganga mu ngeri etesaana ng’abantu b’omu biseera ebyo bwe baakolanga. (Luk. 23:27, 28; 1 Bas. 4:13) Lwaki? Kubanga baali bamanyi bulungi ekibaawo ng’omuntu afudde.
Baibuli ekyogera kaati nti: “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi . . . Okwagala kwabwe kwenkana n’okukyawa n’obuggya bwabwe okuzikirira kaakano . . . Tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.” (Mub. 9:5, 6, 10) Ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa bikyoleka bulungi nti omuntu bw’afa aba takyalina ky’amanyi. Aba tasobola kulowooza, kuwulira, kwogera, wadde okutegeera ekintu kyonna. Okutegeera enjigiriza ya Baibuli eno enkulu kyandikutte kitya ku ngeri Abakristaayo gye bakolamu omukolo gw’okuziika?
‘Temukwatanga ku Kintu Kitali Kirongoofu’
Ka babe mu nsi ki oba ba ggwanga ki, Abajulirwa ba Yakuwa beewalira ddala obulombolombo obulina akakwate n’enzikiriza nti abafu baba bategeera era nti balina bingi bye basobola okukola. Obulombolombo gamba ng’abantu okusula ku mufu, okukuma olumbe, okwabya olumbe, okukola emikolo gy’okujjukira abafu, okusaddaakira abaafa, awamu n’emikolo egikolebwa ku nnamwandu oba ssemwandu, bwonna tebusanyusa Katonda kubanga bwesigamizibwa ku njigiriza ya zidayimooni nti omwoyo tegufa. (Ez. 18:4) Olw’okuba Abakristaayo ab’amazima ‘tebayinza kulya ku mmeeza ya Yakuwa ne ku mmeeza ya dayimooni,’ tebeenyigira mu bintu ng’ebyo. (1 Kol. 10:21, NW) Bagondera ekiragiro kino: ‘Mweyawule era temukwatanga ku kintu kitali kirongoofu.’ (2 Kol. 6:17) Kyokka, okwewala obulombolombo ng’obwo oluusi tekiba kyangu.
Mu Afirika ne mu bitundu ebirala, bangi bakkiriza nti obulombolombo obumu bwe butakolebwa, emizimu gy’abafu ginyiiga. Kigambibwa nti abantu bwe batabukola kiyinza n’okubaviirako okufuna ebisiraani oba okukolimirwa. Okugaana okukola obulombolombo obukontana ne Baibuli nga bafiiriddwa kireetedde Abajulirwa ba Yakuwa bangi okuvumirirwa, ssaako okwewalibwa ab’eŋŋanda zaabwe n’abantu b’omu bitundu gye babeera. Abamu bakonjerwa nti tebakolagana n’abantu, era nti tebassa kitiibwa mu bafu. Emirundi egimu, abantu abatali bakkiriza balinnya mu nteekateeka Abakristaayo ze baba bakoze okuziika mukkiriza munnaabwe. Kati olwo tuyinza tutya okwewala okukaayana n’abo abandyagadde tukole obulombolombo obutasanyusa Katonda ku mukolo gw’okuziika? N’ekisinga obukulu, tuyinza tutya okwewala okukola obulombolombo n’ebikolwa ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa?
Bategeeze ky’Oyagala Kikolebwe
Mu bitundu ebimu eby’ensi, ab’eŋŋanda z’omufu n’abakulu mu kika kye baba n’obuyinza ku nteekateeka ez’okuziika. N’olwekyo, Omukristaayo ateekwa okulambika obulungi engeri omukolo gw’okuziikibwa kwe gye gulina okukolebwamu, era nti gulina kukulemberwa Bajulirwa ba Yakuwa. (2 Kol. 6:14-16) Mu kuziika Omukristaayo, tulina okwewala okukola ebintu ebiyinza okwesittaza bakkiriza bannaffe oba abo abamanyi bye tukkiriza ne bye tuyigiriza ku mbeera y’abafu.
Ekibiina Ekikristaayo bwe kisabibwa okukulembera omukolo gw’okuziika, abakadde bayinza okuwa amagezi n’obulagirizi ku ngeri gye guyinza okukolebwamu nga tewali misingi gya mu Byawandiikibwa gimenyeddwa. Abantu abatali Bajulirwa bwe bagezaako okuyingizaamu obulombolombo, kikulu okunywerera ku kituufu n’okubannyonnyola ennyimirira yaffe ey’Ekikristaayo mu ngeri ey’ekisa era ebawa ekitiibwa. (1 Peet. 3:15) Naye watya nga ab’eŋŋanda abatali bakkiriza balemedde ku ky’okukola obulombolombo obukontana n’emisingi gya Baibuli? Bwe kiba kityo, ab’eŋŋanda Abakristaayo bayinza okusalawo okuva ku mukolo ogwo. (1 Kol. 10:20) Kino bwe kibaawo, wasobola okutegekebwawo emboozi mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu kifo ekirala ekisaanira, okusobola okugumya ‘n’okubabudaabuda’ abo abafiiriddwa. (Bar. 15:4, NW) Ka kibe nti omulambo teguliiwo, enteekateeka ng’eyo eba ya kitiibwa era ng’ekkirizibwa. (Ma. 34:5, 6, 8) Ab’eŋŋanda okweyingiza mu nsonga kiyinza okwongera abo abafiiriddwa okuwulira ennaku, naye baguma olw’okukimanya nti okukola ekituufu kisanyusa Katonda, oyo atuwa ‘amaanyi agatali ga bulijjo.’—2 Kol. 4:7.
By’Oyagala Biteeke mu Buwandiike
Omuntu bw’ateeka mu buwandiike by’ayagala bikolebwe ng’afudde, kiba kyanguko okwogera n’ab’eŋŋanda ze abatali bakkiriza kubanga abantu batera okwagala okukolera ku ebyo omufu bye yalagira. Kikulu okulambika obulungi eby’okuziika bwe birina okukolebwa, ddi lw’oyagala oziikibwe, wa gy’oyagala okuziikibwa, ssaako n’oyo gw’owadde obuyinza okuteeka by’osazeewo mu nkola. (Lub. 50:5) Kiba kirungi ekiwandiiko ekyo okuteekebwako omukono gwo awamu n’egy’abajulirwa ababaddewo. Abo abategeera obulungi emisingi gya Baibuli era abalaba ewala tebalinda kuwandiika kiraamo nga bamaze kukaddiwa, oba ng’obulwadde bumaze kubakuba wansi.—Nge. 22:3; Mub. 9:12.
Abamu batya okukola ekiwandiiko eky’engeri eyo. Naye Omukristaayo bw’akikola kiraga nti akuze mu by’omwoyo era nti afaayo ku balala. (Baf. 2:4) Kisingako ggwe kennyini okwesalirawo ensonga zino, mu kifo ky’okuzireka abantu bo okuzikolako nga bali mu nnaku empitirivu, oluusi beesange nga bakoze n’ebintu by’obadde tokkiriziganya nabyo.
Omukolo Tegulina Kuba gwa Maanyi
Mu bitundu bingi eby’omu Afirika, abantu bangi bakkiriza nti omukolo gw’okuziika gulina okuba ogw’amaanyi, emizimu gy’ab’eŋŋanda abaafa gireme kunyiiga. Ate abalala bwe bafiirwa, ako bakalaba ng’akakisa ‘ak’okweraga’ nti balina ssente era ba waggulu. (1 Yok. 2:16, NW) Bamala ebiseera bingi n’ensimbi nga balowooza nti olwo omuntu waabwe baba bamuziise mu kitiibwa. Okusobola okusikiriza abantu bajje bangi, abamu bakubisa ebifaananyi by’omuntu aba afudde ne babitimba mu bifo eby’enjawulo. Oluusi bakubisa n’obujoozi okuli ekifaananyi ky’oyo afudde ne babuwa abazze okuziika ne babwambala. Bagula ssanduuko z’abafu ez’ebbeeyi okusamaaliriza abalabi. Mu nsi emu ey’omu Afirika, abamu batuuka n’okukozesa ssanduuko efaanana ng’emmotoka, ennyonyi, eryato n’ebiri ng’ebyo, balage nti bagagga era ba kitiibwa. Omulambo guyinza okuggyibwa mu ssanduuko ne gugalamizibwa mu kitanda ekitoneetone. Afudde bw’aba mukazi ayinza okwambazibwa ekiteeteeyi ekyeru eky’obugole n’amajjolobero, nga yenna okoleddwako bulungi mu maaso. Ebintu ng’ebyo ddala bisaana okukolebwa abantu ba Katonda?
Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bamanyi nti kya magezi okwewala okukola ebintu ebyettanirwa abantu abatamanyi misingi gya Katonda. Tukimanyi nti omwoyo gw’okweraga era n’obulombolombo obukontana n’Ebyawandiikibwa ‘tebiva eri Katonda wabula biva eri ensi eno eggwawo.’ (1 Yok. 2:15-17) Tulina okwegendereza okulaba nti tetuyingiramu muze gwa kuvuganya. (Bag. 5:26) Abantu abatya abafu batera okuwalirizibwa okukola emikolo gy’okuziika eminene ennyo, abakungubazi ne batuuka n’okweyisa nga bwe balaba. Okukuliriza ennyo ebikwata ku bafu kireetera abantu okukola obulombolombo obutasaana. Ku mikolo gy’okuziika ng’egyo, abantu bayinza okukuba ebiwoobe ebiyitiridde, okunywegera omufu, okumwolekeza ebigambo nga gy’obeera abiwulira, awamu n’okumussako ssente n’ebintu ebirala. Ebintu nga bino bwe bibeera mu kukungubagira Omukristaayo, bireeta ekivume kya maanyi ku linnya lya Yakuwa n’abantu be.—1 Peet. 1:14-16.
Olw’okuba tumanyi ekituufu ku mbeera y’abafu, tusaanidde okuba abavumu nga tufiiriddwa n’okwewala obulombolombo abantu b’ensi bwe bakola mu kuziika. (Bef. 4:17-19) Wadde nga Yesu ye muntu asingayo ekitiibwa eyali abadde ku nsi, omukolo gw’okumuziika gwali mutono ddala. (Yok. 19:40-42) Eri abo abalina ‘endowooza ya Kristo,’ okuziikibwa mu ngeri ng’eyo tekiba kya buswavu n’akamu. (1 Kol. 2:16) Tewali kubuusabuusa nti omukolo gw’okuziika bwe guba omutonotono, guba guweesa ekitiibwa nga bwe kigwanira abantu abatya Katonda, era kiba kyangu okwewala okukola ebintu ebikontana n’Ebyawandiikibwa.
Wandibaddewo Okusanyuka?
Mu bitundu ebimu okuziika bwe kuggwa, ab’eŋŋanda, baliraanwa n’abalala bakuŋŋaana ne beesanyusaamu nga bayimba era nga bazina. Ku bikujjuko ng’ebyo abantu batera okunywa ne batamiira, ssaako n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Abamu bagamba nti okukola batyo kiyamba mu kubamalako ennaku y’okufiirwa. Abalala bakikola kutuukiriza mpisa zaabwe ez’obuwangwa. Kyokka, bangi bakkiriza nti balina okusanyuka mu ngeri eyo basobole okutendereza n’okugulumiza abaafa, n’omwoyo gw’oyo afudde gusobole okusumulurwa gwegatte ku gya bajjajja be abaafa edda.
Abakristaayo ab’amazima bamanyi amagezi agali mu Kyawandiikibwa kino: “Ennaku zisinga enseko: kubanga obuyinike bw’amaaso bwe busanyusa omutima.” (Mub. 7:3) Ate era bamanyi omuganyulo oguli mu kufumiitiriza ku bulamu buno ebw’ekiseera ne ku ssuubi ery’okuzuukira. Mu butuufu, eri abo abalina enkolagana ennungi ne Yakuwa, “olunaku olw’okufiiramu lusinga olunaku lw’okuzaalirwamu.” (Mub. 7:1) N’olwekyo, okukimanyi nti ku bikujjuko by’okukungubaga kukolerwako nnyo ebintu eby’obusamize awamu n’ebikolwa eby’obugwenyufu kiyamba Abakristaayo okukiraba nti tebasaana kubibeerako. Okwenyigira mu bintu ng’ebyo kiraga obutatya Katonda n’obutafaayo ku nneewulira ya bakkiriza banno.
Tulina Okulaga nti Tuli ba Njawulo
Nga twesimye okuba nti tetutya bafu nga bwe kiri ku abo abali mu kizikiza eky’eby’omwoyo! (Yok. 8:32) “Ng’abaana b’omusana,” engeri gye tukungubagamu erina okuba ng’esaanira era eweesa ekitiibwa, tulage nti tulina essuubi ery’okuzuukira. (Bef. 5:8; Yok. 5:28, 29) Essuubi eryo lituyamba okwewala okukungubaga mu ngeri etesaana nga tufiiriddwa, nga bwe kiba ku abo “abatalina ssuubi.” (1 Bas. 4:13) Era lituyamba okuba abavumu mu kunywerera ku kusinza okw’amazima, mu kifo ky’okwekkiriranya olw’okutya abantu.—1 Peet. 3:13, 14.
Bwe tunywerera ku misingi gy’omu Byawandiikibwa, tuba tuwa abantu omukisa ‘okulaba enjawulo eri wakati w’abo abaweereza Katonda n’abo abatamuweereza.’ (Mal. 3:18) Ekiseera kijja kutuuka okufa kuggwewo. (Kub. 21:4) Nga bwe tulinda ekisuubizo ekyo okutuukirizibwa, ka tufube okulaba nti tetubaako bbala lyonna, wadde akamogo mu maaso ga Yakuwa, tweyawulire ddala ku nsi eno embi n’ebikolwa byayo ebiraga obutatya Katonda.—2 Peet. 3:14.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Kiba kya magezi okuteeka mu buwandiike bye twagala bikolebwe nga tufudde
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Omukolo gw’okuziika ogw’Ekikristaayo gusaanidde kuba mutonotono era nga guweesa ekitiibwa