Omuntu Taba Mulamu lwa Mmere Yokka—Engeri Gye Nnawonawo mu Nkambi z’Abanazi
Byayogerwa Joseph Hisiger
Nnabuuza musibe munnange nti: “Osoma ki ekyo?” Ko ye nti “Nsoma Baibuli. Nsobola okugikuwa singa okkiriza okumpa emigaati gy’ofuna okumala wiiki emu.”
NNAZAALIBWA nga Maaki 1, 1914, mu kitundu ekiyitibwa Moselle ekyali kifugibwa Bugirimaani mu kiseera ekyo. Ssematalo I bwe yaggwa mu 1918, ekitundu ekyo kyaddizibwa Bufalansa. Mu 1940, kyaddamu nate ne kiwambibwa Bugirimaani. Naye era kyazzibwayo mu mikono gya Bufalansamu mu 1945 nga Ssematalo II anaatera okuggwa. Olw’okuba eggwanga lyange lyakyukanga buli lwe kyawambibwanga, nnayiga okwogera Olufalansa n’Olugirimaani.
Bazadde bange baali Bakatuliki bakuukuutivu. Ab’awaka ffenna twafukamiranga ne tusaba nga tugenda okwebaka. Ku Ssande era ne ku nnaku enkulu twagendanga mu kereziya okusaba. Eddiini yange nnali ngyagala nnyo era nnalina ekibinja mwe nnasomeranga eby’eddiini ne Bakatuliki bannange.
Nneenyigira mu Mulimu Gwaffe
Mu 1935, Abajulirwa ba Yakuwa babiri bakyalira bazadde bange. Bye baayogera okusinga byali bikwata ku ngeri amadiini gye geenyigira ennyo mu Ssematalo asooka. Okuva ku olwo, nnatandika okwagala ennyo okusoma Baibuli, era mu 1936 nnabuuza omusaseredooti obanga nnali nsobola okugifuna. Yaŋŋamba nti okusobola okugitegeera, kyali kinneetaagisa kusooka kukuguka mu bya ddiini. Kyokka kino kyannyongera bwongezi kwagala kufuna Baibuli na kugisoma.
Mu Jjanwali 1937, Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Albin Relewicz gwe nnali nkola naye yatandika okumbulira ebikwata ku Baibuli. Nnamubuuza nti: “Naye ggwe ogirina?” Yali agirina, era yagibikkula n’andaga erinnya lya Katonda, Yakuwa, n’oluvannyuma n’agimpa. Nnagisoma n’obunyiikivu era nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa mu kibuga Thionville akyali okumpi.
Mu Agusito 1937, nneegatta ku Albin ne tugenda ku lukuŋŋaana lw’ensi yonna olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu kibuga Paris. Eyo gye nnatandikira okubuulira nnyumba ku nnyumba. Waayita ekiseera kitono ne mbatizibwa, era omwaka 1939 gwali gwakatandika ne nfuuka payoniya, oba omubuulizi ow’ekiseera kyonna. Nnasindikibwa okuweereza mu kibuga Metz. Mu Jjulaayi, nnayitibwa okuweereza ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa e Paris.
Nfuna Ebizibu mu Biseera by’Olutalo
Mu Agusito 1939 nga nnaakamala ebbanga ttono ku ofiisi y’ettabi, nnayitibwa okuyingira eggye lya Bufalansa. Olw’okuba nnagaana okwenyigira mu lutalo, nnasindikibwa mu kkomera. Mu Maayi w’omwaka ogwaddako nga ndi mu kkomera, Bugirimaani yalumba Bufalansa. Jjuuni yagenda okutuuka, nga Bufalansa ewambiddwa, era bwe ntyo nnaddamu okufuuka Omugirimaani. Mu Jjulaayi 1940, nnateebwa okuva mu kkomera, era nnaddayo eka ne mbeera ne bazadde bange.
Olw’okuba kati Abanazi be baali batufuga, twakuŋŋaananga mu nkukutu okusoma Baibuli. Magazini yaffe eya Watchtower twagifunanga okuyitira mu Maryse Anasiak, mwannyinaffe gwe nnasanganga mu dduuka eryali ery’Omujulirwa wa Yakuwa nga litunda migaati. Ebizibu Bajulirwa bannange mu Bugirimaani bye baali boolekagana nabyo nnasobola okubyewala okutuukira ddala mu 1941.
Naye lwali lumu ne zireeta omusirikale ow’ekitongole ekikessi ekyayitibwanga Gestapo. Ofiisa oyo bwe yamala okuntegeeza nti Abajulirwa ba Yakuwa baali bawereddwa, yambuuza obanga nnali njagala okusigala nga ndi omu ku bo. Bwe nnakkiriza nti “Yee,” n’andagira mugoberere. Kino kyakuba mmange enkyukwe n’agwa eri n’azirika. Omusirikale bwe yalaba kino, n’aŋŋamba nsigale nzijanjabe mmange.
Ku mulimu gye nnali nkola, nnagaana okulamusa mukama waffe nti “Heil Hitler!” ng’abalala bwe baali bakola, era nnagaana okuyingira ekibiina ky’abanazi eky’eby’obufuzi. Bwe ntyo nnakwatibwa aba Gestapo ku lunaku olwaddako. Baagezaako nnyo okumpaliriza njogere amannya ga Bajulirwa bannange naye nnagaana. Kino kyanyiiza nnyo eyali ambuuza ebibuuzo era yankuba ekigala ky’emmundu ku mutwe ne ngwa eri n’enzirika. Nga Ssebutemba 11, 1942, nnasimbibwa mu kkooti y’Abanazi ey’enjawuo eyitibwa Sondergericht eyatuula mu kibuga Metz, ne nsarirwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka esatu mu kkomera “olw’okusaasaanya pokopoko w’ekibiina kya Abajulirwa ba Yakuwa.”
Nga wayise wiiki bbiri, nnaggibwa mu kkomera ly’e Metz ne nsibirwako mu bifo ebirala nga biibyo, oluvannyuma ne ntwalibwa e Zweibrücken mu nkambi y’abasibe abakola akasanvu. Nga ndi eyo, nnateekebwa ku kabinja akaali kaddaabiriza oluguudo lw’eggaali y’omukka. Oluusi twalinanga okukyusa n’okusiba ebyuma ebizitowa ennyo, ssaako okuttaanya amayinja agaabanga ku luguudo olwo. Ku mulimu ogw’amaanyi bwe gutyo gwe twakolanga, ku makya buli omu yaweebwanga ekikopo kya kaawa kimu ne ttoosi z’omugaati nga bbiri, ate mu ttuntu n’akawungeezi n’afuna ebbakuli ya ssupu. Oluvannyuma nnatwalibwa mu kkomera eryali mu kabuga akaliraanywewo, ne nkolanga mu kakolero k’engatto. Nnakolayo emyezi nga giigyo, ne banzizaayo e Zweibrücken, kyokka ku luno banteeka mu nnimiro.
Nnali Mulamu Naye si lwa Mmere Yokka
Mu kaduukulu nnasulangamu n’omuvubuka eyali ava mu Netherlands. Nnafuba okuyiga olulimi lwe ne nsobola okumubuulira ku nzikiriza yange. Yakulaakulana mangu mu by’omwoyo, era yansaba mmubatize mu mugga. Olwali okuva mu mazzi bw’ati, n’angwa mu kifuba n’agamba nti, “Joseph, kati ndi muganda wo!” Oluvannyuma nnazzibwayo okukola ku luguudo lw’eggaali y’omukka, era bwe tutyo ne twawukana.
Ku luno gwe nnali nsula naye mu kaduukulu yali Mugirimaani. Lumu akawungeezi yajjayo akatabo n’atandika okukasoma—yali Baibuli! Ku olwo lwe yagamba okumpa Baibuli bwe nnandikkirizza okumuwa emigaati gye nnali nfuna okumala wiiki nnamba. Nnamuddamu nti: “Kale!” Wadde ng’obutakomba ku mugaati okumala wiiki kwali kwefiiriza kwa maanyi, saakyejjusa. Awo we nnategeerera amakulu agali mu bigambo bya Yesu bino: “Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.”—Matayo 4:4.
Wadde nga kati nnali nfunye Baibuli, nnalina ekizibu ky’okufuna we njikweka. Abasibe abalala baali bakkirizibwa okuba ne Baibuli, naye nga ffe Abajulirwa ba Yakuwa tetukkirizibwa. N’olwekyo, eyange nnagisomanga kiro nga nneebisse munda mu bulangiti. Emisana nnagikwekanga munda w’essaati yange ne mpita nayo. Nnali sigireka mu kaduukulu kubanga baayazangamu nnyo.
Lumu twali tukuŋŋaanyiziddwa tubalibwe ne nzijukira nti Baibuli yange nnali njerabiddeyo. Ku olwo akawungeezi nnayanguwa mangu okuddayo mu kaduukulu naye ssagisangayo. Nga mmaze okusaba Katonda, nnatuukirira omuserikale eyali atukuuma ne mmugamba nti waliwo eyali atutte akatabo kange, era nti nnali nkeetaaga. Kino teyakitwala nga kikulu, era bwe ntyo Baibuli yange nnagifuna. Nneebaza Yakuwa n’omutima gwange gwonna!
Olulala bwe nnasindikibwa okugenda okunaaba, Baibuli yange nnagisuula wansi mu ngeri ey’amagezi nga nneeyambula. Nnagera omuserikale atunudde eri, ne ngisindika mu kinaabiro n’ekigere. Eyo gye nnagikweka okutuusa lwe nnamala okunaaba. Bwe nnali nvaayo, nnasala amagezi ne ngisindika wansi mu ngoye ezitukula ezaali awo.
Ebirungi n’Ebibi Bye Nnalabira mu Kkomera
Lumu ku makya mu 1943 ng’abasibe bakuŋŋaanye mu luggya, nnalaba Albin! Naye yali yakwatibwa. Yantunuulira era yasitula omukono gwe n’aguteeka ku kifuba ng’andaga nti twali ba luganda. Oluvannyuma yankolera akabonero akalala akalaga nti yali agenda kumpandiikira. Enkeera yayita kumpi ne we nnali n’ansuulira akabaluwa. Kyokka omuserikale yakalaba, era ne tuweebwa ekibonerezo buli omu kuteekebwa mu kaduukulu ak’enjawulo okumala wiiki bbiri nnamba awatali kulaba ku muntu. Mu bbanga eryo twaweebwanga mazzi gokka n’emigaati egyonoonese, era twasulanga ku mbaawo nga tewali kye twebisse.
Olwaggyibwa eyo ne ntwalibwa mu kkomera ly’e Siegburg, ne ntandika okukola mu kkolero ly’ebyuma. Omulimu guno gwali gukooya nnyo, ate ng’emmere tufuna ntono ddala. Ekiro nnalootanga nga ndya ebintu ebirungi nga keeki n’ebibala, naye nga nzuukuka olubuto lwerere, nga n’emimiro ginkaze. Nnakogga ebitalojjeka. Kyokka, buli lunaku nnasomanga Baibuli yange, era kino kyannyamba okuba n’ekigendererwa mu bulamu.
Kya Ddaaki Nteebwa!
Lumu ku makya mu Apuli 1945, abaserikale abaali bakuuma ekkomera badduka ne balireka nga lyonna liggule. Kati nnali ndya butaala! Naye nnasookera mu ddwaliro, era nnamala ekiseera nga ndi ku kitanda. Maayi y’agenda okuggwako nga nzizeeyo mu maka ga bakadde bange. Baali tebasuubira nti nkyali mulamu. Olw’essanyu eringi, mmange yatulika n’akaaba ng’andabye. Kya nnaku nti wayita ekiseera kitono bazadde bange ne bafa.
Nnaddayo mu kibiina kyange eky’e Thionville. Nga nnasanyuka okuddamu okulaba baganda bange ne bannyinaze mu by’omwoyo! Kyanzizaamu nnyo amaanyi okumanya engeri gye baali balazeemu obwesigwa nga boolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi. Mukwano gwange nfiira bulago Albin yafiira mu kkomera ly’e Straubing mu Bugirimaani. Nnategeezebwa nti Jean Hisiger, mutabani wa taata wange omuto, yali yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, naye nti yattibwa olw’okugaana okuyingira amagye. Jean Queyroi gwe nnakolanga naye ku ofiisi y’ettabi lyaffe e Paris yasibirwa mu nkambi z’Abagirimaani okumala emyaka etaano.a
Mu bbanga ttono nnali nzizeemu okubuulira mu kibuga Metz. Mu kiseera ekyo, nnali nkolagana nnyo n’ab’omu maka g’ow’oluganda Minzani. Muwala waabwe Tina yabatizibwa nga Noovemba 2, 1946. Yali mubuulizi munyiikivu, era nnawulira nga mwagadde nnyo. Twafumbiriganwa nga Ddesemba 13, 1947. Mu Ssebutemba 1967, Tina yayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, era yaweereza awatali kuddirira okutuusa lwe yafa mu Jjuuni 2003, nga wa myaka 98. Yandeka mu kiwuubaalo kya maanyi.
Kati nnina emyaka 90, era nkimanyi bulungi nti Ekigambo kya Katonda kibadde kimpa amaanyi okwaŋŋanga ebizibu n’okubivvuunuka. Wadde ng’oluusi olubuto lwange lwabanga lukalu nga ssirina ke ndidde, omutima gwange nnagujjuzanga Ekigambo kya Katonda. Yakuwa ampadde amaanyi era ‘ekigambo kye kinkuumye nga ndi mulamu.’—Zabbuli 119:50.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebyafaayo by’obulamu bwa Jean Queyroi bisangibwa mu Watchtower eya Okitobba 1, 1989, olupapula 22-26.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Mukwano gwange nfiira bulago Albin Relewicz
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Maryse Anasiak
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Baibuli eyammaza wiiki ennamba nga sikombye ku mugaati
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
1946, nga tunaatera okufumbiriganwa ne Tina
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Jean Queyroi ne mukazi we Titica