Yakuwa Ndimusasula Ki?
Byayogerwa Ruth Danner
Mu ngeri ey’olusaago Maama yateranga okugamba nti omwaka 1933 gwali gwa bizibu: Hitler mwe yajjira mu buyinza, ppaapa yagulangirira okuba Omutukuvu, era nange mwe nnazaalirwa.
BAZADDE bange baali babeera mu kibuga Yutz mu kitundu kya Bufalansa ekiyitibwa Lorraine, ekiri okumpi n’ensalo ya Bufalansa ne Bugirimaani. Mu 1921, Maama, eyali Omukatuliki omukuukuutivu, yafumbirwa Kitange eyali Omupolotesitante. Muganda wange omukulu, Helen, yazaalibwa mu 1922 era bazadde bange baamutwala mu Bakatoliki n’abatizibwa nga muwere.
Lumu mu 1925, Taata yafuna ekitabo ekiyitibwa The Harp of God ekyali mu Lugirimaani. Oluvannyuma lw’okukisoma, teyaliimu kubuusabuusa nti yali azudde amazima. Yawandiikira abaakuba ekitabo ekyo ne bamulagirira we yali ayinza okusanga Abajulirwa ba Yakuwa mu Bugirimaani, abaayitibwanga Bibelforscher. Amangu ago Taata yatandika okubuulira abalala ku bye yali ayize, naye ekyo Maama tekyamusanyusa. Maama yagamba Taata nti: “Kola buli ky’oyagala, naye teweegatta ku Bibelforscher!” Kyokka Taata yali amaze okusalawo, era mu 1927 yabatizibwa n’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa.
Ekyo kyaviirako jjajja omukazi azaala maama okutandika okupikiriza Maama agattululwe ne Taata. Lumu omusaseredooti bwe yali asoma Misa, yakubiriza abantu ‘beewale Danner, nnabbi ow’obulimba.’ Ng’akomyewo okuva mu Misa eyo, jjajja yasinziira waggulu mu nnyumba yaffe eyali eya kalina n’akasukira Taata akasuwa omuteekebwa ebimuli ne kamukuba ku kibegabega, era kaabula kata kamukube omutwe. Kino kyaleetera Maama muli okwebuuza nti, ‘Eddiini ekubiriza abantu okukola ebintu eby’ettemu eyinza etya okuba ennungi?’ Bw’atyo yatandika okusoma ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa, era mu bbanga ttono yakizuula nti ago ge gaali amazima, n’abatizibwa mu 1929.
Bazadde baffe baafuba nnyo okutuyamba, nze ne muganda wange, okutegeera obulungi Yakuwa. Baatusomeranga ebyafaayo by’abantu aboogerwako mu Baibuli era baatubuuzanga kye tulowooza ku nneeyisa yaabwe. Mu kiseera ekyo, Taata yagaana okukola ekiro oba akawungeezi nga bwe baali bamwetaagisa ku mulimu, wadde nga kino kyakosa nnyo amaka gaffe mu by’enfuna. Yali ayagala afune ebiseera ebimala okugenda mu nkuŋŋaana, okubuulira, n’okusomesa abaana be.
Ebiseera Ebya Kazigizigi Bitandika
Bazadde bange baakyazanga nnyo abalabirizi abatambula n’Ababeseri okuva e Switzerland ne Bufalansa, abaatubuuliranga ebizibu bakkiriza bannaffe bye baali boolekagana nabyo mu Bugirimaani, eggwanga eryatuli okumpi ddala. Gavumenti y’Abanazi yali ekwata Abajulirwa ba Yakuwa n’ebatwala mu nkambi z’abasibe, era ng’abaana babawula ku bazadde baabwe.
Nze ne Helen bazadde baffe baali batutendese bulungi okwaŋŋanga embeera yonna enzibu. Bazadde baffe baatuyamba okukwata ebyawandiikibwa ebyandituyambye okumanya eky’okukola. Ng’ekyokulabirako baatugamba nti: “Bwe mubanga temumanyi kya kukola, mufumiitirizenga ku Engero 3:5, 6. Bwe mubanga mutidde olw’okugezesebwa nga muli ku ssomero, mujjukirenga 1 Abakkolinso 10:13. Bwe batwawulanga ne musigala mwekka, mufumiitirizenga ku bigambo ebiri mu Engero 18:10.” Zabbuli 23 ne 91 nnazikwata bukusu era nnayiga okwesiga Yakuwa okunkuuma.
Mu 1940, Abagirimaani baawamba ekitundu ky’e Alsace-Lorraine, era ne balagira abantu bonna abakulu okwewandiisa bafuuke bamemba b’ekibiina ky’Abanazi. Kino Taata yakigaana, era abaserikale ba Gestapo baatiisatiisa okumukwata. Maama naye bwe yagaana okutunga yunifoomu z’amagye, abaserikale abo baatandika okumutiisatiisa.
Ekiseera kyatuuka nga sikyayagala kugenda ku ssomero. Buli ku makya nga tetunnatandika kusoma, lyalinga tteeka abayizi ffenna okusabira Hitler, okwogera nti “Heil Hitler,” n’okuyimba oluyimba lw’eggwanga nga buli omu agolodde omukono gwe ogwa ddyo. Mu kifo ky’okuŋŋamba obugambi nti sirina kukubira Hitler saluti, bazadde bange bannyamba okutendeka omuntu wange ow’omunda. Bwe ntyo nnasalawo ku lwange obutakuba saluti y’Abanazi. Abasomesa bankubanga empi era baatiisatiisanga okungoba mu ssomero. Lumu nnasimbibwa mu maaso g’abasomesa 12 ku ssomero ne bagezaako okunkaka okukuba saluti y’Abanazi. Kyokka Yakuwa yannyamba ne nsigala nga ndi mugumu. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka musanvu gyokka.
Omu ku basomesa yagezaako okunsendasenda ng’agamba nti yali anjagala nnyo olw’okuba nnali muyizi mulungi, era nti yali ajja kuwulira bubi nga ngobeddwa mu ssomero. Yaŋŋamba nti: “Tekikwetaagisa kugolola mukono gwo gwonna wabula oguwanikako katono. Era tolina kwogera nti, ‘Heil Hitler!’ wabula weefuula bwefuuzi akyogera.”
Bwe nnabuulirako Maama omusomesa oyo kye yali aŋŋambye, yanzijukiza abavubuka Abebbulaniya abasatu bwe baali mu maaso g’ekifaananyi kabaka wa Babulooni kye yakola. Yambuuza nti: “Baalina kukola ki?” Kko nze nti: “Kuvunnama.” Yaŋŋamba nti: “Singa mu kaseera ak’okuvunnama baasalawo okukutama basibe engatto zaabwe, bandibadde bakoze kituufu? Kirowoozeemu era osalewo ky’olaba nti kye kituufu.” Okufaananako Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, nnasalawo obwesige bwange okubuteeka mu Yakuwa.—Dan. 3:1, 13-18.
Abasomesa bangoba mu ssomero emirundi egiwerako era batiisatiisa okunzigya ku bazadde bange. Kino kyali kinneeraliikirizza nnyo, naye bazadde bange baŋŋumya. Bwe nnabanga ŋŋenda ku ssomero, Maama yampitanga ne tusaba, era yasabanga Yakuwa okunkuuma. Nnabanga mukakafu nti Yakuwa ajja kunnyamba okukola ekituufu. (2 Kol. 4:7) Taata yaŋŋamba nti saalina kutya kudda waka nga mpulira nti mpikirizibwa ekisusse. Yankakasa nti: “Oli muwala waffe era tukwagala nnyo. Ensonga eyo eri wakati wo na Yakuwa.” Ebigambo ebyo byaŋŋumya era nnamalirira okusigala nga ndi mwesigwa.—Yobu 27:5.
Abaserikale ba Gestapo bajjanga nnyo ewaffe okubaako bye babuuza bazadde bange n’okwaza balabe obanga tulina ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa. Oluusi baatwalanga maama wange okumala essaawa eziwerako, era ne taata ne muganda wange baabakimanga ku mirimu gye baalinga bakola. Bwe nnabanga nkomawo okuva ku ssomero, nnabanga simanyi oba Maama awaka nnaamusangawo. Emirundi egimu ab’oku muliraano be baŋŋambanga nti: “Maama wo baamututte.” Bwe kyabanga kityo, nga nneekweka mu nnyumba ne mbeera omwo nga nneebuuza nti: ‘Kati oba bamutulugunya? Oba nnaddamu okumulaba?’
Tutwalibwa mu Nkambi
Nga Jjanwali 28, 1943, abaserikale ba Gestapo baatulumba ku ssaawa mwenda n’ekitundu ez’ekiro. Baatugamba nti singa ffenna tukkiriza okuyingira mu kibiina ky’Abanazi, twali tetujja kutwalibwa mu nkambi. Baatuwa essaawa ssatu zokka okweteekateeka. Kino Maama yali yakyetegekera dda era nga yamala n’okuteeka engoye ne Baibuli mu nsawo zaffe. Bwe kityo ekiseera ekyo twakimala tusaba, era nga buli omu agumya munne. Taata yatujjukiza nti ‘tewali kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda.’—Bar. 8:35-39.
Twali tuli awo ng’abaserikale ba Gestapo bakomyewo. Sigenda kwerabira Anglade, Omujulirwa nnamukadde eyatusiibula nga yenna ajjudde ebiyengeyenge mu maaso. Abaserikale baatuvuga ne batutwala e Metz we twalinnyira eggaali y’omukka. Oluvannyuma lw’okutambulira ennaku ssatu, twatuuka mu nkambi y’e Kochlowice mu Poland, eyali wansi w’enkambi ennene ennyo ey’e Auschwitz. Nga twakamalayo emyezi ebiri, twakyusibwa ne tutwalibwa mu nkambi y’e Gliwice, nga kino mu kusooka kyali kigo kya babiikira. Abanazi baagamba nti baali beetegefu okututa n’okutuddiza ebyaffe byonna bwe twandikkirizza okuteeka omukono ku kiwandiiko ekigamba nti tuvudde mu nzikiriza yaffe. Kino Taata ne Maama baakigaana, era abaserikale baatugamba nti, “Mulifa temuzze wammwe.”
Mu Jjuuni twakyusibwa nate ne tuzzibwa e Swietochlowice, ng’eyo omutwe gye gwatandikira okunnuma, era nga na buli kati gukyantawaanya. Nnalwala engalo, era nzijukira omusawo yankuulamu enjala eziwera nga tansannyalazza. Kyokka kyansanyusanga okuba nti abaserikale abakuumi nze gwe baatumanga okubagulira ebintu, era nnateranga okugenda ku bbekeeri y’emigaati awaali omukyala eyampanga eby’okulya.
Okuva lwe twakwatibwa, ffenna abana twabeeranga wamu era tetwagattibwa na basibe balala. Mu Okitobba 1943 twasindikibwa mu nkambi y’e Ząbkowice. Eyo twasulanga ku bitanda bya kalina mu kiyumba ekiterekebwamu emmere, era twasulangamu n’abantu abalala nga 60, omwali abasajja, abakazi n’abaana. Emmere abaserikale Abanazi gye baatuwanga yabanga egaze nga kumpi tekyaliika.
Wadde ng’embeera eyo yali nzibu nnyo, tetwaggwamu ssuubi. Twali tusomye mu magazini ya Watchtower nti omulimu gw’okubuulira gwali gugenda kukolebwa na maanyi ng’olutalo luwedde. Kale twali tumanyi ensonga lwaki tubonyaabonezebwa, era nti ebyo byonna byandikomye mu bbanga ttono.
Twawulira nti ab’amagye g’omukago baali basembedde, era nti Abanazi baali boolekedde okuwangulwa. Awo nga 1945 gwakatandika, abaserikale Abanazi baayabulira enkambi mwe twali. Nga Febwali 19, abaserikale baatuwaliriza okutindigga olugendo lwa mayiro 150. Oluvannyuma lw’okutambulira wiiki nnya, twatuuka e Steinfels mu Bugirimaani, era abasibe ffenna twakuŋŋaanyizibwa mu kirombe ekimu. Bangi baalowooza nti okufa kwali kutuuse, naye ku olwo lwennyini ab’amagye g’omukago lwe baatuuka ne batununula, abaserikale Abanazi ne badduka.
Ntuuka ku Biruubirirwa Byange
Nga Maayi 5, 1945, oluvannyuma lw’emyaka kumpi ebiri n’ekitundu, twatuuka ewaffe mu kibuga Yutz, nga ffenna tujjudde ensekere era nga tuddugala. Okuva mu Febwali twali tetukyusanga ku ngoye, era olwali okuziggyamu twayokya ngyokye. Nzijukira nga Maama atugamba nti: “Luno lwe lunaku olulina okusingayo obulungi mu bulamu bwammwe. Wadde nga tetulina kantu konna era n’engoye ze twambadde si zaffe, ffenna abana tukomyewo nga tukyali beesigwa. Tewali n’omu yekkiriranyizza.”
Nnamala emyezi esatu nga mpummuddeko mu Switzerland, oluvannyuma ne nziramu okusoma nga sikyalimu kutya nti bajja kungoba mu ssomero. Kati twali tusobola okukuŋŋaana ne bakkiriza bannaffe era n’okubuulira nga tewali atukomako. Waali wayise emyaka egiwera bukya nneewaayo eri Yakuwa, era nga Agusito 28, 1947, Taata yambatiza mu Mugga Moselle nga nnina emyaka 13. Nnali njagala kutandikirawo okuweereza nga payoniya, naye Taata yandagira nsooke mbeeko omulimu gw’emikono gwe nsomerera, bwe ntyo ne nsoma eby’okutunga. Mu 1951 nga mpeza emyaka 17, nnafuuka payoniya era ne nsindikibwa okuweereza mu kitundu ky’e Thionville ekyali okumpi ne we twali tubeera.
Mu mwaka ogwo nnagenda mu lukuŋŋaana olunene olwali e Paris era nnasaba okuweereza ng’omuminsani. Emyaka egyetaagisa nnali sinnagiweza, naye Ow’oluganda Nathan Knorr yankakasa nti ebbaluwa yange yali agenda “kugitereka.” Mu Jjuuni 1952, nnayitibwa okutendekebwa mu mugigi ogwa 21 ogw’Essomero lya Giriyadi eriri mu South Lansing, mu kibuga New York eky’omu Amerika.
Giriyadi n’Okweyongerayo
Siyinza kwerabira byaliwo mu ssomero eryo! Okwogera eri abantu abangi kyali kinzibuwalira ne mu lulimi olwange lwennyini, kyokka kati nnali nnina okukikola mu lulimi Olungereza. Naye abasomesa bannyamba nnyo. Ow’oluganda omu yampitanga Kingdom Smile olw’engeri gye nnamwenyanga nga nkwatiddwa ensonyi.
Omukolo ogw’okumaliriza emisomo gyaffe gwaliwo nga Jjulaayi 19, 1953, mu kisaawe ekiyitibwa Yankee Stadium eky’omu New York, era nnasindikibwa ne Ida Candusso (oluvannyuma eyayitibwa Seignobos) okuweereza mu kibuga Paris. Okubuulira abantu b’omu Paris abagagga tekyali kyangu, naye nnafuna abantu abeetoowaze bangi be nnasomesa Baibuli. Ida yafumbirwa mu 1956 n’agenda okuweereza mu Afirika, nze ne nsigala mu Paris.
Mu 1960, nnafumbirwa ow’oluganda eyali aweereza ku Beseri, era ffembi twaweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu kitundu ky’e Chaumont ne Vichy. Waayita emyaka etaano ne nkwatibwa obulwadde bw’akafuba, era nnalekera awo okuweereza nga payoniya. Kino kyampisa bubi nnyo kubanga ekiruubirirwa kyange okuva obuto kyali kya kuba muweereza ow’ekiseera kyonna, obulamu bwange bwonna. Oluvannyuma omwami wange yandekawo n’afuna omukazi omulala. Baganda bange ne bannyinaze bannyamba nnyo mu myaka egyo egyali emizibu ddala, era Yakuwa yasitula omugugu gwange.—Zab. 68:19.
Kati mbeera Louviers, e Normandy, okumpi ne ofiisi y’ettabi mu Bufalansa. Wadde nga mbadde ndwalalwala, ndi musanyufu olw’engeri Yakuwa gy’annyambyemu mu bulamu bwange. Eky’okuba nti nnakuzibwa bulungi kinnyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Bazadde bange bannyamba okutegeera nti Yakuwa Muntu wa ddala gwe nsobola okwagala, okwogera naye, era nti asobola okuddamu essaala zange. Mazima ddala, simanyi “kye ndisasula [Yakuwa] olw’ebirungi bye byonna eri nze?”—Zab. 116:12.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]
“Ndi musanyufu olw’engeri Yakuwa gy’annyambye mu bulamu bwange”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ku myaka mukaaga nga nkutte ekiziyiza okussa omukka ogw’obutwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ku myaka 16 nga ndi n’abaminsani ne bapayoniya mu kubuulira okw’enjawulo e Luxembourg
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Nga ndi ne Taata ne Maama ku lukuŋŋaana olunene mu 1953