“Mubeere Bulindaala”
“Enkomerero ya byonna esembedde. . . . Mubeere bulindaala ku bikwata ku kusaba.”—1 PEET. 4:7, NW.
1. Omulamwa gw’ebyo Yesu bye yayigiriza gwe guliwa?
YESU KRISTO bwe yali ku nsi, Obwakabaka bwa Katonda gwe gwali omulamwa gw’ebyo bye yayigiriza. Ng’ayitira mu Bwakabaka obwo, Yakuwa ajja kulaga nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna era atukuze erinnya lye. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yayigiriza abayigirizwa be okusaba Katonda nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Mat. 4:17; 6:9, 10) Mu kiseera ekitali kya wala Obwakabaka obwo bujja kuzikiriza ensi ya Setaani era buleetere Katonda by’ayagala okukolebwa mu nsi yonna. Nga Danyeri bwe yalagula, Obwakabaka bwa Katonda ‘bujja kumenyaamenya era buzikirize obwakabaka buno obuliwo bwonna, era bwo bubeerewo emirembe gyonna.’—Dan. 2:44.
2. (a) Abayigirizwa ba Yesu banditegedde batya nti ekiseera ky’okubeerawo kwe mu Bwakabaka kitandise? (b) Bintu ki ebirala akabonero ako bye kandiraze?
2 Olw’okuba abayigirizwa ba Yesu baali batwala okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda ng’ekintu ekikulu, baamubuuza nti: “Kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu?” (Mat. 24:3, NW) Wandibaddewo akabonero akasobola okulabibwa kubanga awatali ekyo, abo abali ku nsi tebanditegedde nti ekiseera ky’okubeerawo kwa Kristo mu Bwakabaka bwe kitandise. Akabonero ako kandibaddemu ebintu ebitali bimu nga bwe kyalagulwa mu Byawandiikibwa. Ekyo kyandiyambye abagoberezi ba Yesu abandibaddewo mu kiseera ekyo okutegeera nti atandise okufuga mu ggulu. Era kyandiraze nti ‘ennaku ez’oluvannyuma’ ez’enteekateeka eno ey’ebintu ezoogerwako mu Baibuli zitandise.—2 Tim. 3:1-5, 13; Mat. 24:7-14.
Mube Bulindaala mu Nnaku ez’Oluvannyuma
3. Lwaki Abakristaayo bandyetaaze okuba obulindaala?
3 Omutume Peetero yawandiika nti: “Enkomerero ya byonna esembedde. N’olwekyo, mubeere n’endowooza ennuŋŋamu, era mubeere bulindaala ku bikwata ku kusaba.” (1 Peet. 4:7, NW) Abagoberezi ba Yesu bandibadde balina okuba obulindaala n’okwekkaanya ebintu ebyandibaddewo mu nsi okusobola okutegeera nti Yesu atandise okufuga nga Kabaka. Kino kyandyetaagisizza nnyo naddala ng’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu eneetera okutuuka. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mutunule[nga]: kubanga temumanyi mukama w’ennyumba w’alijjira [kuzikiriza nsi ya Setaani].”—Mak. 13:35, 36.
4. Abantu abali mu bufuge bwa Setaani baawukana batya ku abo abaweereza Yakuwa. (Yogera ne ku biri mu kasanduuko.)
4 Okutwalira awamu, abantu bonna bali mu bufuge bwa Setaani, era tebafaayo ku makulu gali mu ebyo ebiriwo kati mu nsi. Tebakimanyi nti Kristo yatandika dda okufuga nga Kabaka. Naye abagoberezi ba Kristo ab’amazima bo babadde bulindaala era bamanyi bulungi amakulu agali mu bintu ebibaddewo mu kyasa ekiyise. Okuva mu 1925, Abajulirwa ba Yakuwa babadde bamanyi nti Ssematalo I awamu n’ebintu byonna ebizze bibaawo okuva olwo, biraga nti okubaawo kwa Kristo ng’afuga nga Kabaka mu ggulu kwatandika mu 1914. Era mu kiseera ekyo, ennaku ez’oluvannyuma ez’enteekateeka eno ey’ebintu eri mu buyinza bwa Setaani zaatandika. Wadde ng’abantu tebamanyi makulu gali bintu biriwo, bakiraba nti ensi yakyuka nnyo oluvannyuma lwa Ssematalo I.—Laba akasanduuko “Omulembe gw’Obutabanguko Gwatandika.”
5. Lwaki kikulu nnyo okuba obulindaala?
5 Okumala emyaka kati kumpi kikumi, wabaddewo ebintu eby’entiisa bingi mu nsi ebiraga nti ddala tuli mu nnaku ez’oluvannyuma. Ebula ekiseera kitono nnyo Yakuwa alagire Kristo okuduumira eggye lya bamalayika lizikirize ensi ya Setaani. (Kub. 19:11-21) N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima ffenna tukubirizibwa okuba obulindaala nga bwe twetegekera enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu. (Mat. 24:42) Tulina okutunula ennyo n’okugoberera obulagirizi bwa Kristo, tusobole okutuukiriza omulimu ogwatulagirwa okukola mu nsi yonna.
Omulimu Ogukolebwa mu Nsi Yonna
6, 7. Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gweyongeddeyongedde gutya mu nnaku ez’oluvannyuma?
6 Kyalagulwa nti omulimu abaweereza ba Yakuwa gwe bandikoze gwandibadde kitundu kya kabonero akalaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ez’enteekateeka eno ey’ebintu. Yesu yannyonnyola ebikwata ku mulimu guno ogwandikoleddwa mu nsi yonna bwe yali ayogera ku bintu ebyandibaddewo mu kiseera ky’ennaku ez’oluvannyuma. Mu bino mwe muli obunnabbi buno: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Mat. 24:14.
7 Lowooza ku ebyo ebibaddewo nga bituukiriza obunnabbi bwa Yesu obwo. Omuwendo gw’abantu abaali balangirira amawulire amalungi gwali mutono nnyo ng’ennaku ez’oluvannyuma zitandika mu 1914. Naye guzze gweyongera mu ngeri eyeewuunyisa, era nga kati Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 7,000,000, mu bibiina ebisukka 100,000, be babuulira mu nsi yonna. Mu 2008, abantu nga 10,000,000 beegatta ku Bajulirwa ba Yakuwa ku mukolo gw’Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo. Okwo kwali kweyongerayongera kwa maanyi bw’okugeraageranya n’omwaka ogwayita.
8. Lwaki omulimu gw’okubuulira gweyongera kukula wadde nga guziyizibwa?
8 Ng’obujulirwa bwa maanyi nnyo obuweereddwa ku Bwakabaka bwa Katonda ng’enkomerero y’enteekateeka eno tennatuuka! Kino kisobodde okubaawo wadde nga Setaani ye “katonda ow’emirembe gino.” (2 Kol. 4:4) Y’alina obuyinza ku by’obufuzi, ku by’eddiini, ne ku by’obusuubuzi by’ensi eno, ssaako n’emikutu gyayo egy’empuliziganya. Kati kiki ekisobozesezza omulimu gw’okuwa obujulirwa okukula okutuuka awo? Kivudde ku kuba nti Yakuwa aguwagira. N’olweyo, omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gujja kugenda mu maaso wadde nga Setaani afuba okulaba nti gukoma.
9. Lwaki okukulaakulana kwaffe mu by’omwoyo kuyinza okwogerwako ng’ekyamagero?
9 Okuba nti omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gweyongedde okukolebwa, n’abantu ba Yakuwa okuba nti beeyongera obungi n’okukula mu by’omwoyo, kiyinza okwogerwako ng’ekyamagero. Awatali buwagizi bwa Katonda, ng’omwo mw’otwalidde obulagirizi n’obukuumi by’awa abantu be, omulimu ogwo tegwandisobose. (Soma Matayo 19:26.) Tuli bakakafu nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gujja kwongera okuyamba abantu abali obulindaala era abeetegefu okuweereza basobole okumaliriza obulungi omulimu gw’okubuulira, ‘olwo enkomerero eryoke ejje.’ Ekiseera ekyo kinaatera okutuuka.
“Ekibonyoobonyo Ekinene”
10. Yesu yayogera ki ku kibonyoobonyo ekinene?
10 Enteekateeka eno ey’ebintu ejja kutuuka ku nkomerero yayo mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Kub. 7:14, NW) Baibuli tetubuulira buwanvu bwa kiseera ekyo, naye Yesu yagamba nti: “Mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.” (Mat. 24:21) Okubonaabona kwonna okwali kubaddewo mu nsi eno, gamba ng’okwo okwaliwo mu Ssematalo II omwafiira abantu abaali wakati w’obukadde 50 ne 60, kutono nnyo bw’okugeraageranya ku kibonyoobonyo ekinene. Ekibonyoobonyo ekyo kijja kutuuka ku ntikko yakyo mu lutalo Kalumagedoni. Mu lutalo olwo Yakuwa ajja kuyungula eggye lye lizikirize enteekateeka ya Setaani yonna.—Kub. 16:14, 16.
11, 12. Ekibonyoobonyo ekinene kinaatandika kitya?
11 Wadde ng’obunnabbi bwa Baibuli tebwogera lunaku ki ekitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekinene lwe kinaatandika, bukyoleka bulungi nti kijja kutandika ng’abafuzi b’ensi eno bazikiriza eddiini zonna ez’obulimba. Mu bunnabbi obuli mu Okubikkulirwa essuula 17 ne 18, eddiini ez’obulimba zoogerwako ng’omukazi ayenda n’abafuzi b’ensi eno. Okubikkulirwa 17:16 walaga nti ekiseera kijja kutuuka abafuzi ‘bakyawe omukazi omwenzi, bamuzikiririze, bamuleke bwereere, balye omubiri gwe era bamwokere ddala omuliro.’
12 Ekiseera ekyo bwe kinaatuuka, Katonda ajja ‘kussa kye yateesa mu mitima gy’abafuzi b’ensi’ bazikirize eddiini zonna ez’obulimba. (Kub. 17:17) Eyo ye nsonga lwaki kigambibwa nti okuzikiriza okwo kuva eri Katonda. Ekyo kye kibonerezo kye yasalira eddiini ez’obulimba olw’okumala ebbanga ddene nga ziyigiriza ebintu ebikontana ne Katonda by’ayagala, nga kw’otadde n’okuyigganya abaweereza be. Okutwalira awamu, abantu tebalowooza nti eddiini ez’obulimba zigenda kuzikirizibwa. Naye abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bo bakimanyi, era kino babadde bakitegeeza abantu mu nnaku zino zonna ez’oluvannyuma.
13. Kiki ekiraga nti okuzikirizibwa kw’eddiini ez’obulimba kujja kutwala ekiseera kitono?
13 Okuzikirizibwa kw’eddiini ez’obulimba kijja kukuba nnyo abantu entiisa. Baibuli eraga nti bwe zinaazikirizibwa, ne “bakabaka b’ensi” abamu bajja kugamba nti: “Zikisanze, zikisanze, . . . kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse!” (Kub. 18:9, 10, 16, 19) Ebigambo “essaawa emu” Baibuli by’ekozesa biraga nti kino kijja kutwala ekiseera kitono.
14. Yakuwa anaakola ki ng’abalabe be balumbye abaweereza be?
14 Tumanyi nti eddiini ez’obulimba bwe zinaamala okuzikirizibwa, wajja kubaawo obulumbaganyi ku baweereza ba Yakuwa ababadde babuulira obubaka bwe obw’omusango. (Ez. 38:14-16) Abo abanaakola obulumbaganyi buno bajja kuba balumbye Yakuwa, kubanga asuubiza okukuuma abantu be abeesigwa. Agamba nti: ‘Nja kwogeza obuggya bwange n’omuliro ogw’obusungu bwange. Kale balimanya nga nze Yakuwa.’ (Soma Ezeekyeri 38:18-23.) Katonda agamba mu Kigambo kye nti: “Abakomako mmwe [abaweereza be abeesigwa] akoma ku mmunye y’eriiso lye.” (Zek. 2:8) N’olwekyo, abalabe bwe banaalumba abaweereza be okwetooloola ensi, Yakuwa ajja kusitukiramu abalwanirire, era eno y’ejja okuba entandikwa y’ekitundu ekisembayo eky’ekibonyoobonyo ekinene—olutalo Kalumagedoni. Nga likulemberwa Kristo, eggye lya bamalayika lijja kussa mu nkola emisango Yakuwa gye yasalira ensi ya Setaani.
Engeri Gye Twandikwatiddwako
15. Okukimanya nti enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu ebindabinda kyanditukutteko kitya?
15 Okukimanya nti enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu ebindabinda kyanditukutteko kitya? Omutume Peetero yawandiika nti: “Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda?” (2 Peet. 3:11) Ebigambo ebyo biraga nti tulina okufuba okulaba nti enneeyisa yaffe etuukana bulungi n’emitindo gya Yakuwa, era nti n’ebikolwa byaffe biraga okutya Katonda n’okumwagala. Ebikolwa ng’ebyo bizingiramu okunyiikirira okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ng’enkomerero tennatuuka. Peetero era yawandiika nti: “Enkomerero ya byonna esembedde. . . . Mubeere bulindaala ku bikwata ku kusaba.” (1 Peet. 4:7, NW) Okwogera ne Yakuwa buli kiseera nga tumusaba atuwe obulagirizi okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu ne mu kibiina kye ku nsi kiba kiraga nti tumwagala, era kituyamba okumusemberera.
16. Lwaki tulina okunywerera ku kubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda?
16 Mu biseera bino ebizibu ennyo, tulina okunywerera ku kubuulirira kuno okuli mu Kigambo kya Katonda: “Mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng’abatalina magezi, naye ng’abalina amagezi; nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi.” (Bef. 5:15, 16) Obubi bungi nnyo mu nsi kati okusinga bwe kyali kibadde. Setaani ataddewo emitego mingi okulaba nti abantu balemesebwa okukola Yakuwa by’ayagala oba nti babibuusa amaaso. Kino ffe abaweereza ba Katonda tukimanyi, era tetwagala kintu kyonna kutuleetera kusuula bwesigwa bwaffe eri Katonda. Era olw’okuba tumanyi ekigenda okubaawo mu kiseera ekitali kya wala, obwesige bwaffe tubutadde mu Yakuwa ne mu bigendererwa bye.—Soma 1 Yokaana 2:15-17.
17. Abo abanaawonawo ku Kalumagedoni banaawulira batya ng’abafu bazuukiziddwa?
17 Katonda kye yasuubiza nti abafu bajja kuddamu okuba abalamu kijja kutuukirira kubanga “wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Bik. 24:15, NW) Weetegereze nti ekisuubizo ekyo kigamba nti: “Wajja kubaawo okuzuukira”! N’olwekyo, tewali kubuusabuusa kwonna kubanga Yakuwa bw’atyo bwe yasuubiza! Isaaya 26:19 wagamba nti: “Abafu bo baliba balamu. . . . Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu. . . . Ettaka liriwandula abafu.” Ebigambo ebyo byatuukirizibwa mu ngeri ey’akabonero ng’abantu ba Katonda ab’edda bazzeeyo ku butaka, ekyo ne kiraga nti mu nsi empya bijja kutuukiririzibwa ddala nga bwe biri. Ng’essanyu liriba lya nsusso ng’abo abazuukiziddwa bazzeemu okubeera n’abaagalwa baabwe nate! Yee, enkomerero y’ensi ya Setaani esembedde, era ensi ya Katonda empya eri kumpi okutuuka. Nga kikulu nnyo okusigala nga tuli bulindaala!
Ojjukira?
• Omulamwa gw’ebyo Yesu bye yayigiriza gwe guliwa?
• Amawulire g’Obwakabaka gabuuliddwa kutuuka wa?
• Lwaki kikulu nnyo okuba obulindaala?
• Lwaki ekisuubizo ekiri mu Ebikolwa By’Abatume 24:15 kikuzzaamu amaanyi?
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16, 17]
EKISEERA KY’OBUTABANGUKO KYATANDIKA
Mu 2007, Alan Greenspan yawandiika akatabo akalina omutwe, Ekiseera ky’Obutabanguko: Ensi Empya Ekola Buli ky’Esanga. Okumala emyaka kumpi 20, omusajja oyo ye yali ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku nzirukanya ya banka zonna mu Amerika. Greenspan ayogera bw’ati ku mbeera eyaliwo mu nsi ng’omwaka 1914 tegunnatuuka, n’eyo eyaddawo oluvannyuma lwagwo:
“Alipoota zonna ezoogera ku byaliwo ng’omwaka 1914 tegunnatuuka ziraga nti mu kiseera ekyo waaliwo enkolagana ennungi mu bantu era ne wakati w’amawanga, gattako n’okukulaakulana mu bintu ebitali bimu; kyali kirabika ng’abantu basobola okutuuka ku bulamu obutuukiridde. Mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda, okugula n’okutunda abaddu kwakomezebwa. Ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu byali byeyongera kukendeera. . . . Mu kyasa ekyo kyonna waaliwo okuyiiya n’okukola ebintu ebitali bimu mu nsi yonna, gamba ng’eggaali ez’omukka, essimu, amasannyalaze, sineema, emmotoka, n’ebintu ebikozesebwa awaka. Abantu beeyongera okuwangaala olw’okuba baali balya bulungi, nga banywa amazzi amayonjo, era nga bajjanjabibwa bulungi . . . Buli omu yali amanyi nti embeera egenda kweyongera kutereera mu nsi yonna.”
Naye . . . “Ssematalo I yayonoona nnyo enkolagana mu bantu ne wakati w’amawanga okusinga Ssematalo II eyalimu ennyo okufiirwa obulamu n’ebintu: olutalo olwo olwasooka lwayonoonera ddala endowooza y’abantu. Siyinza kwerabira birungi ebyaliwo nga Ssematalo I tannabaawo, we kyalabirikira ng’abantu boolekedde okuba n’ebiseera by’omu maaso ebitangaavu. Naye engeri gye tutunuuliramu ebintu kati ya njawulo nnyo ku eyo eyaliwo ekyasa kimu emabega, era kino kituukana bulungi n’embeera nga bw’eri leero. Kati ekyebuuzibwa kiri nti, ebikolwa by’obutujju, okubuguma kw’ensi, n’obufuzi obubi obuli mu mawanga agamu, binaayonoona omulembe guno oguliwo ogw’amawanga okukolagana mu by’obusuubuzi, nga Ssematalo I bwe yayonoona omulembe guli? Ekituufu tewali akimanyi.”
Greenspan ajjukira nti bwe yali ku yunivasite, Profesa w’eby’enfuna Benjamin M. Anderson (1886-1949) yagamba bw’ati: “Abo abaali abakulu era abaali bategeera obulungi ebyaliwo nga Ssematalo I tannabaawo, bawulira ensaalwa bwe babijjukira. Mu kiseera ekyo, abantu baali bawulira ng’embeera eri mu nteeko, naye kati ebintu byakyuka.”—Economics and the Public Welfare.
Ekitabo ekiyitibwa A World Undone, ekyawandiikibwa G. J. Meyer mu 2006 nakyo kyogera ekintu kye kimu. Kigamba: “Kitera okugambibwa nti ebyafaayo ‘bikyusa buli kintu.’ Kino kituufu ddala bwe kituuka ku Lutalo Ssematalo [1914-1918]. Olutalo olwo lwakyusiza ddala buli kintu: ensalo z’amawanga, gavumenti, awamu n’engeri abantu gye batunuuliramu ensi. Olutalo olwo lwaleetawo olukonko olwayawulira ddala omulembe ogwaliwo nga terunnabaawo n’ogwo ogwatandikawo nga luwedde.”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Ku Kalumagedoni, Yakuwa ajja kuyungula eggye lya bamalayika