Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Kulina Kigendererwa Ki?
BANGI balowooza nti omuntu alina kuzaalibwa mulundi gwa kubiri okusobola okufuna obulokozi obw’olubeerera. Naye, weetegereze ekyo Yesu kennyini kye yayogera ku bikwata ku kigendererwa ky’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Yagamba nti: “Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri, tasobola kulaba bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:3) Bwe kityo, omuntu kimwetaagisa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda, so si okufuna obulokozi. ‘Naye,’ abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Ebigambo bino—okuyingira mu Bwakabaka n’okufuna obulokozi—tebitegeeza kufuna mpeera y’emu?’ Nedda. Okusobola okutegeera enjawulo eriwo wakati w’ebigambo bino byombi, ka tusooke twetegereze amakulu g’ebigambo “bwakabaka bwa Katonda.”
Obwakabaka gavumenti. N’olwekyo, ebigambo ‘obwakabaka bwa Katonda’ bitegeeza “gavumenti ya Katonda.” Baibuli eyigiriza nti Yesu Kristo, “omwana w’omuntu,” ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda era nti Kristo alina bajja okufuga nabo. (Danyeri 7:1, 13, 14; Matayo 26:63, 64) Okugatta ku ekyo, okwolesebwa omutume Yokaana kwe yafuna kwalaga nti abo abagenda okufugira awamu ne Kristo bantu abaalondebwa okuva “mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga” era bajja ‘kufuga nga bakabaka ku nsi.’ (Okubikkulirwa 5:9, 10; 20:6) Ekigambo kya Katonda era kyongera okulaga nti abo abanaafuga nga bakabaka be bakola “ekisibo ekitono” eky’abantu 144,000 “abaagulibwa mu nsi.”—Lukka 12:32; Okubikkulirwa 14:1, 3.
Obwakabaka bwa Katonda bufugira wa? ‘Obwakabaka bwa Katonda’ era buyitibwa ‘obwakabaka obw’omu ggulu,’ ekiraga nti Yesu n’abo banaafuga nabo nga bakabaka bajja kufugira mu ggulu. (Lukka 8:10; Matayo 13:11) Bwe kityo, Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya mu ggulu ekolebwa Yesu Kristo awamu n’abo abanaafugira awamu naye abaalondebwa okuva mu bantu.
Kati olwo, kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti omuntu kimugwanira okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola ‘okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda’? Yali ategeeza nti omuntu kimwetaagisa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okusobola okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Kino kiba kitegeeza nti ekigendererwa ky’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kwe kuteekateeka ekibinja ky’abantu abatonotono abajja okufugira mu ggulu.
Kati tukitegedde nti kikulu nnyo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri, Katonda y’asalawo omuntu okuzaalibwa mu ngeri eyo, era nti ye kennyini y’ateekateeka ekibinja ky’abo abanaafugira mu ggulu. Naye omuntu azaalibwa atya omulundi ogw’okubiri?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 7]
Ekigendererwa ky’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kwe kuteekateeka ekibinja ky’abantu abatonotono abajja okufugira mu ggulu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Yesu Kristo awamu n’abo abanaafugira awamu naye abaalondebwa okuva mu bantu be bakola Obwakabaka bwa Katonda