Abanaafuga Batono, Abanaaganyulwa Bangi
OKUVA mu kiseera ky’abatume, Katonda abadde alonda Abakristaayo abeesigwa abatonotono n’abafuula abaana be. Enkyukakyuka abantu bano gye bafuna y’amaanyi nnyo ne kiba nti Ekigambo kya Katonda kigyogerako ng’okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Ekigendererwa ky’okuzaalibwa kuno kwe kuteekateeka abaweereza ba Katonda ababa bazaaliddwa omulundi ogw’okubiri okufuuka abafuzi mu ggulu. (2 Timoseewo 2:12) Okusobola okuba abafuzi, baba balina kusooka kuzuukizibwa ne baweebwa obulamu obw’omu ggulu. (Abaruumi 6:3-5) Nga bali wamu ne Kristo mu ggulu, “bajja kufuga ensi nga bakabaka.”—Okubikkulirwa 5:10; 11:15.
Wadde kiri bwe kityo, Ekigambo kya Katonda era kiraga nti waliwo abalala abajja okufuna obulokozi obw’olubeerera ng’oggyeko abo abazaalibwa omulundi ogw’okubiri. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya awamu ne by’Oluyonaani, Baibuli eyogera ku kigendererwa kya Katonda eky’okulokola ebibinja by’abantu bibiri—ekibinja ekitono eky’abo abanaafugira mu ggulu n’ekibinja ekinene eky’abo abanaabeera ku nsi. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ekyo omutume Yokaana kye yagamba bakkiriza banne abaali bazaaliddwa omulundi ogw’okubiri. Yayogera bw’ati ku Yesu: “Era ye ye ssaddaaka y’ebibi byaffe etutabaganya ne Katonda, naye si byaffe byokka [ekibinja ekitono], wabula n’eby’ensi yonna [ekibinja ekinene].”—1 Yokaana 2:2.
Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo yagamba nti: “Ebitonde [ekibinja ekinene] byesunga nnyo nga birindirira okubikkulwa kw’abaana ba Katonda [ekibinja ekitono].” (Abaruumi 8:19-21) Makulu ki agali mu bigambo ebyo eby’omutume Yokaana n’omutume Pawulo? Ebigambo ebyo biraga nti abo abaazaalibwa omulundi ogw’okubiri bajja kuba abamu ku abo abanaaba mu gavumenti ey’omu ggulu. Banaaba na buvunaanyizibwa ki mu gavumenti eyo? Bajja kusobozesa obukadde n’obukadde bw’abantu abanaabeera wansi w’obufuzi bwa Katonda ku nsi okufuna emiganyulo egy’olubeerera. N’olw’ensonga eyo, Yesu yayigiriza abayigirizwa be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—Matayo 6:10.
Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya nabyo byogera ku bibinja ebyo ebibiri ebijja okulokolebwa. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ekyo Yakuwa kye yagamba Ibulayimu, jjajja wa Yesu: “Mu zzadde lyo [ekibinja ekitono] amawanga gonna ag’omu nsi [ekibinja ekinene] mwe galiweerwa omukisa.” (Olubereberye 22:18) Bwe kityo, amawanga gonna gaali gaakufuna emikisa okuyitira mu “zadde” lya Ibulayimu.
“Ezadde” eryo ye ani? Ye Yesu Kristo awamu n’abo abaazaalibwa omulundi ogw’okubiri era ne bafuulibwa abaana ba Katonda. Omutume Pawulo agamba nti: “Bwe kiba nti muli ba Kristo, ddala muli zzadde lya Ibulayimu.” (Abaggalatiya 3:16, 29) Naye mikisa ki eginaafunibwa abantu ab’amawanga gonna okuyitira mu “zzadde” eryo? Bajja kuba n’enkizo ey’okuddamu okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda era n’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Dawudi omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29; Isaaya 45:18; Okubikkulirwa 21:1-5.
Mu butuufu, abanaafugira mu ggulu bajja kuba batono, naye abanaafuna emiganyulo gy’obufuzi obwo, kwe kugamba, abanaafuna obulamu obutaggwaawo ku nsi awamu n’emikisa emirala, bajja kuba bangi. Ggwe n’ab’omu maka go muyinza okuba abamu ku abo abanaafuna emiganyulo eginaaleetebwa Obwakabaka bwa Katonda.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Obukadde n’obukadde bw’abantu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. Onooba omu ku abo?