Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Kubaawo Kutya?
YESU bwe yali ayogera ne Nikoodemo ku bikwata ku kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri teyakoma ku kwogera ku bukulu bwakwo, oyo akuleetawo, n’ekigendererwa kyakwo naye era yayogera ne ku ngeri gye kuyinza okubaawo. Yesu yagamba nti: “Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’omwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:5) Bwe kityo, ekisobozesa omuntu okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri ge mazzi n’omwoyo. Naye ebigambo “amazzi n’omwoyo” bitegeeza ki?
“Amazzi n’Omwoyo”—Bye Biki?
Olw’okuba yali muyigiriza w’eddiini y’Ekiyudaaya, Nikoodemo ateekwa okuba nga yali amanyi bulungi engeri Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya gye bikozesaamu ebigambo “omwoyo gwa Katonda”—amaanyi ga Katonda agakola agaleetera abantu okukola ebintu ebyewuunyisa. (Olubereberye 41:38; Okuva 31:3; 1 Samwiri 10:6) N’olwekyo, Yesu bwe yakozesa ekigambo “omwoyo,” Nikoodemo ateekwa okuba nga yakitegeera nti yali ayogera ku mwoyo omutukuvu, amaanyi ga Katonda agakola.
Ate Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku mazzi? Lowooza ku ebyo ebyali byakabaawo nga Yesu tannayogera ne Nikoodemo era n’ebyo ebyaddirira oluvannyuma lw’okwogera naye. Bino biraga nti Yokaana Omubatiza n’abayigirizwa ba Yesu baali babatiza abantu mu mazzi. (Yokaana 1:19, 31; 3:22; 4:1-3) Ekikolwa kino kyamanyika nnyo mu Yerusaalemi. N’olwekyo, Yesu bwe yayogera ku mazzi, Nikoodemo yakitegeera bulungi nti Yesu yali tayogera ku mazzi gonna okutwalira awamu, wabula yali ayogera ku mazzi ag’okubatiza.a
Okubatizibwa “n’Omwoyo Omutukuvu”
Bwe kiba nti “okuzaalibwa amazzi” kirina akakwate n’okubatizibwa mu mazzi, kati olwo kitegeeza ki ‘okuzaalibwa omwoyo’? Nikoodemo bwe yali nga tannayogera ne Yesu, Yokaana Omubatiza yali akyogeddeko nti omuntu tabatizibwa na mazzi gokka naye era n’omwoyo. Yagamba nti: “Nze nababatiza n’amazzi, naye ye [Yesu] ajja kubabatiza n’omwoyo omutukuvu.” (Makko 1:7, 8) Makko omuwandiisi w’Enjiri ayogera ku kiseera okubatizibwa okw’engeri eyo lwe kwasookera ddala okubaawo. Agamba nti: “Mu nnaku ezo, Yesu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, Yokaana n’amubatiza mu Yoludaani. Amangu ddala nga yaakava mu mazzi, yalaba eggulu nga libikkuka, era n’omwoyo nga gumukkako nga gulinga ejjiba.” (Makko 1:9, 10) Yesu bwe yannyikibwa mu mugga Yoludaani, yabatizibwa n’amazzi. Ate bwe yafuna omwoyo omutukuvu okuva mu ggulu, awo yali abatiziddwa n’omwoyo omutukuvu.
Oluvannyuma lw’emyaka ng’esatu nga Yesu amaze okubatizibwa, yagamba abagoberezi be nti: “Mmwe mujja kubatizibwa n’omwoyo omutukuvu mu nnaku ntono.” (Ebikolwa 1:5) Ekyo kyaliwo ddi?
Ku lunaku lwa Pentekoote mu mwaka 33 E.E. [Embala Eno], abayigirizwa ba Yesu nga 120 baali bakuŋŋaanidde mu maka agamu mu Yerusaalemi. “Awo ku lunaku lw’embaga ya Pentekooti bonna baali bakuŋŋaanidde mu kifo kimu, amangu ago ne wabaawo okuwuuma okw’amaanyi okwava mu ggulu nga kulinga okw’embuyaga ey’amaanyi, ne kujjula enju yonna mwe baali batudde. Ne balaba ennimi eziringa ez’omuliro. . . Bonna ne bajjula omwoyo omutukuvu.” (Ebikolwa 2:1-4) Ku lunaku olwo lwennyini, abantu abalala abaali mu Yelusaalemi bakubirizibwa okubatizibwa mu mazzi. Omutume Peetero yagamba ekibiina ky’abantu nti: “Mwenenye, era buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musobole okusonyiyibwa ebibi byammwe, era mujja kufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu.” Kiki kye baakola? “Abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa, era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne beeyongerako.”—Ebikolwa 2:38, 41.
Okubatizibwa okw’Engeri Ebbiri
Okubatizibwa kuno kulaga ki ku kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri? Kulaga nti omuntu okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri aba alina kubatizibwa mu ngeri bbiri. Weetegereze nti Yesu yasooka kubatizibwa na mazzi, oluvannyuma n’alyoka afuna omwoyo omutukuvu. Mu ngeri y’emu, abayigirizwa ab’omu kyasa ekyasooka, baasooka kubatizibwa n’amazzi (abamu nga babatizibwa Yokaana omubatiza ), oluvannyuma ne balyoka bafuna omwoyo omutukuvu. (Yokaana 1:26-36) Era n’abayigirizwa abapya 3,000 baasooka kubatizibwa mu mazzi oluvannyuma ne balyoka bafuna omwoyo omutukuvu.
Okusinziira ku kubatizibwa okwaliwo mu Pentekoote 33 E.E., omuntu ayinza atya okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri leero? Asobola okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri nga bwe kyali eri abatume ba Yesu n’abayigirizwa be ab’omu kyasa ekyasooka. Okusookera ddala, omuntu yeenenya ebibi bye, n’akyusa empisa ze embi, ne yeewaayo okusinza Yakuwa n’okumuweereza era ne yeewaayo mu lujjudde ng’abatizibwa. Katonda bw’amulonda okufuga nga kabaka mu Bwakabaka bwe, amufukako omwoyo omutukuvu. Okubatizibwa okusooka (okubatizibwa n’amazzi) omuntu y’akwesalirawo; okubatizibwa okw’okubiri (okubatizibwa n’omwoyo) Katonda y’akusalawo. Omuntu bw’abatizibwa mu ngeri zino zombi, aba azaaliddwa omulundi ogw’okubiri.
Kati olwo Yesu bwe yali ayogera ne Nikoodemo, lwaki yakozesa ebigambo ‘okuzaalibwa amazzi n’omwoyo’? Kino yakyogera okusobola okukiggumiza nti abo abazaalibwa amazzi n’omwoyo baba balina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. Ekitundu ekiddako kyogera ku nsonga eyo ekwata ku kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu ngeri y’emu, omutume Peetero yayogera bw’ati ku abo abaali bagenda okubatizibwa: “Waliwo ayinza okugaana abantu bano okubatizibwa n’amazzi?”—Ebikolwa 10:47.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Yokaana yabatiza n’amazzi Abaisiraeri abaali beenenyeza