Bw’Okuuma Obugolokofu Osanyusa Omutima gwa Yakuwa
“Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.”—NGE. 27:11.
1, 2. (a) Okusinziira ku kitabo kya Yobu, Setaani yaleetawo kusoomooza ki? (b) Kiki ekiraga nti Setaani yayongera okusoomooza Yakuwa luvannyuma lw’ekiseera kya Yobu?
YAKUWA yakkiriza Setaani okugezesa obugolokofu bw’omuweereza we Yobu, era ekyo kyaviirako Yobu okufiirwa ebisolo bye byonna, abaana be, era n’okulwala. Naye Setaani yali tayagala kukoma ku kugezesa bugolokofu bwa Yobu yekka. Yagamba nti: “Eddiba olw’eddiba, weewaawo, byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.” Ebigambo ebyo biraga nti ng’oggyeko Yobu, okusoomooza okwo kwali kuzingiramu n’abalala, era nti kwagenda mu maaso ng’amaze okufa.—Yobu 2:4.
2 Nga wayise emyaka nga 600, Sulemaani yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.” (Nge. 27:11) Kino kiraga nti ne mu kiseera ekyo Setaani yali akyasoomooza Yakuwa. Ate era mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba Setaani ng’ayogera eby’obulimba ku baweereza ba Katonda oluvannyuma lw’okugobebwa mu ggulu ng’Obwakabaka bwa Katonda butandise okufuga mu 1914. Yee, ne mu kiseera kino ng’ensi eno embi eneetera okuzikirizibwa, Setaani akyagezesa obugolokofu bw’abaweereza ba Katonda!—Kub. 12:10.
3. Bya kuyiga ki eby’omuwendo ebiri mu kitabo kya Yobu?
3 Kati ka tulabeyo ebintu bisatu bye tuyiga okuva mu kitabo kya Yobu. Ekisooka, ebyatuuka ku Yobu bikyoleka bulungi nti Setaani Omulyolyomi ye mulabe w’abantu bonna era nti y’ali emabega w’okuyigganyizibwa kw’abantu ba Katonda. Ekyokubiri, ka twolekagane na bizibu bya ngeri ki, okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kituyamba okukuuma obugolokofu bwaffe. Ekyokusatu, bwe tufuna ebizibu, oba ne tugezesebwa mu ngeri endala yonna, Katonda atuyamba okuba abanywevu nga bwe yakola ku Yobu. Kino Yakuwa akikola ng’ayitira mu Kigambo kye, mu kibiina kye, ne mu mwoyo gwe omutukuvu.
Teweerabira Ani Mulabe
4. Ani ali emabega w’embeera embi eziriwo mu nsi leero?
4 Abantu bangi leero tebakkiriza nti Setaani gy’ali. Wadde ng’embeera embi eriwo mu nsi eyinza okubeeraliikiriza, tebakimanyi nti eva ku Setaani Omulyolyomi. Kyo kituufu nti ebizibu ebimu abantu bennyini be babireeta. Bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baasalawo ne beewaggula ku Mutonzi waabwe, era okuva olwo abantu bonna babadde beeyisa nga bwe balaba. Kyokka tetulina kukyerabira nti Omulyolyomi ye yalimba Kaawa n’ajeemera Katonda. Ye nnannyini nteekateeka eno embi mw’ayitira okufuga abantu abatatuukiridde. Olw’okuba Setaani ye “katonda ow’emirembe gino,” abantu okutwalira awamu booleka engeri ng’ezize, gamba ng’amalala, empaka, obuggya, omululu, obulimba, era n’obwakyeggula. (2 Kol. 4:4; 1 Tim. 2:14; 3:6; soma Yakobo 3:14, 15.) Engeri ng’ezo ze zivaako entalo mu mawanga ne mu madiini, obukyayi, obulyi bw’enguzi, n’obutali butebenkevu, ebintu ebireetedde abantu okubonaabona ennyo.
5. Ebintu eby’omuwendo bye tumanyi byanditukubirizza kukola ki?
5 Nga twesiimye nnyo okuba nti ng’abaweereza ba Yakuwa tumanyi ebintu eby’omuwendo bwe bityo! Yee, tumanyi ani aleetedde embeera y’ensi eno okwonooneka okutuuka wano. Kino tekyanditukubirizza okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira ne tuyamba abantu okutegeera ani avaako emitawaana egisinga obungi mu nsi? Era tekituwa essanyu lya maanyi okukiikirira Yakuwa, Katonda ow’amazima, n’okunnyonnyola abalala engeri gy’agenda okuzikirizaamu Setaani n’okumalawo ebizibu byonna?
6, 7. (a) Ani avunaanyizibwa ku kuyigganyizibwa kw’abasinza ab’amazima? (b) Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Eriku?
6 Setaani takomye ku kuleetawo bizibu mu nsi, naye era y’avunaanyizibwa ku kuyigganyizibwa kw’abantu ba Katonda. Mumalirivu okulaba nti atugezesa. Yesu Kristo yagamba omutume Peetero nti: “Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng’eŋŋaano.” (Luk. 22:31) N’olwekyo, ffenna abatambulira mu bigere bya Yesu tujja kuyigganyizibwa mu ngeri emu oba endala. Peetero yageraageranya Omulyolyomi ku ‘mpologoma ewuluguma, ng’enoonya gw’eneerya.’ Ne Pawulo yagamba nti: “Bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.”—1 Peet. 5:8; 2 Tim. 3:12.
7 Tuyinza tutya okulaga nti tetwerabidde mulabe waffe nga waliwo mukkiriza munnaffe afunye ebizibu? Mu kifo ky’okwesamba ow’oluganda oyo, twandikoze nga Eriku bwe yakola ne tufuba okumuyamba. Twandifubye okudduukirira muganda waffe ng’alwanyisa omulabe waffe ffenna, Setaani. (Nge. 3:27; 1 Bas. 5:25) Ekigendererwa kyaffe kwe kukola buli ekisoboka okulaba nti mukkiriza munnaffe akuuma obugolokofu bwe, asobole okusanyusa omutima gwa Yakuwa.
8. Lwaki Setaani teyalemesa Yobu kugulumiza Yakuwa?
8 Ekintu Setaani kye yasooka okuggya ku Yobu bye bisolo bye. Ebisolo ebyo byali bya mugaso nnyo gy’ali, era osanga bye byali bimuyimirizaawo. Ate era ku bisolo ebyo Yobu kwe yaggyanga bye yawangayo nga ssaddaaka. Bwe yabanga amaze okutukuza abaana be, Yobu ‘yagolokokanga ku makya n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bonna bwe gwali: kubanga Yobu yagambanga nti Osanga batabani bange baayonoonye ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe. Bw’atyo Yobu bwe yakolanga olutata.’ (Yobu 1:4, 5) Kino kiraga nti Yobu bulijjo yawangayo ssaddaaka z’ensolo eri Yakuwa. Okugezesebwa bwe kwatandika, ekyo yali takyasobola kukikola kubanga yali tasigazza ‘bintu’ by’ayinza kukozesa kugulumiza Yakuwa. (Nge. 3:9) Naye yali akyasobola okugulumiza Yakuwa n’emimwa gye, era bw’atyo bwe yakola!
Nyweza Enkolagana Yo ne Yakuwa
9. Kiki kye tusinga okutwala ng’eky’omuwendo?
9 Ka tube bagagga oba baavu, bakulu oba bato, balwadde oba balamu, ffenna tusobola okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ka twolekagane na kugezesebwa kwa ngeri ki, okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kijja kutuyamba okukuuma obugolokofu bwaffe, tusanyuse omutima gwa Yakuwa. N’abantu abaakatandika okutegeera amazima basobola okulaga obuvumu ne bakuuma obugolokofu bwabwe.
10, 11. (a) Mwannyinaffe omu yakola ki ng’agezesebwa? (b) Kino kyalaga ki ku ebyo Setaani bye yayogera?
10 Lowooza ku kyokulabirako kya Mwannyinaffe Valentina Garnovskaya, omu ku Bajulirwa abangi ab’omu Russia abaakuuma obwesigwa nga Yobu nga bagezesebwa. Mu 1945, nga wa myaka nga 20, ow’oluganda omu yamuwa obujulirwa. Oluvannyuma lw’okwogera naye ku Baibuli emirundi emirala ebiri, teyaddayo kumulaba. Wadde kyali kityo, Valentina yatandika okubuulira baliraanwa be. Kino kyamuviirako okukwatibwa n’asibibwa emyaka munaana. Olwali okumuta mu 1953 n’addamu okubuulira. Yakwatibwa n’asibibwa nate, nga ku luno yaweebwa emyaka kkumi. Yaggibwa mu nkambi emu nga yaakamalayo emyaka mitono n’atwalibwa mu ndala. Eyo Valentina gye yasanga bannyinaffe abaalina Baibuli, era lumu omu ku bo yagimuggirayo n’agimulaga. Nga kino kyamuleetera essanyu lya nsusso! Ggwe ate oba Baibuli endala yokka Valentina gye yali yalabako yeeyo ow’oluganda gye yalina ng’amuwa obujulirwa mu 1945!
11 Mu 1967, Valentina yasumululwa, era yabatizibwa okulaga nti yali yeewaayo eri Yakuwa. Yakola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira okutuusa mu 1969. Mu mwaka ogwo yaddamu okukwatibwa n’asibibwa emyaka essatu. Naye era Valentina teyalekayo kubuulira. We yafiira mu 2001, yali ayambye abantu 44 okuyiga amazima. Emyaka gye yamala mu makomera ne mu nkambi ezitali zimu gyonna awamu gyali 21. Yalaga nti yali mumalirivu okugumira ekintu kyonna, omwali n’okusibibwa, okusobola okukuuma obugolokofu bwe. Ng’agenda okufa, Valentina yagamba nti: “Sibeerangako na nnyumba yange ku bwange. Wadde ng’ebintu byange byonna bigya mu ssanduuko emu yokka, mbadde musanyufu nnyo era mumativu okuweereza Yakuwa.” Nga Valentina yakyoleka bulungi nti Setaani bye yayogera byali bya bulimba bwe yagamba nti abantu tebasobola kunywerera ku Katonda nga bagezesebwa! (Yobu 1:9-11) Tuli bakakafu nti yasanyusa omutima gwa Yakuwa, era nti ekiseera bwe kinaatuuka, Yakuwa ajja kuba musanyufu okuzuukiza Valentina wamu n’abalala abaafa nga beesigwa.—Yobu 14:15.
12. Okwagala Yakuwa kituyamba kitya mu nkolagana yaffe naye?
12 Enkolagana gye tulina ne Yakuwa eva ku kuba nti tumwagala. Engeri Katonda z’alina zitusikiriza era tukola buli kye tusobola okutuukanya obulamu bwaffe n’ebigendererwa bye. Okwawukanira ddala n’ebyo Omulyolyomi bye yayogera, ffe twesalirawo ffekka okwagala Yakuwa awatali kakwakkulizo konna. Okwagala kuno okuviira ddala mu mutima kutuyamba okukuuma obugolokofu bwaffe nga tugezesebwa. Yakuwa atusuubiza nti ‘ajja kukuuma ekkubo ly’abatukuvu be.’—Nge. 2:8; Zab. 97:10.
13. Yakuwa atwala atya bye tumukolera?
13 Okwagala kutusobozesa okugulumiza erinnya lya Yakuwa, ne bwe tuba mu mbeera enzibu ennyo. Amanyi bulungi ebigendererwa byaffe era tatusalira musango nga tetulina busobozi kutuukiriza bye twagala. Tatunuulira bye tukola byokka, wabula n’ensonga lwaki tubikola. Wadde nga Yobu yali mu nnaku ya maanyi era yabonaabona nnyo, yalaga abo abaali bamuwaayiriza nti yali ayagala amakubo ga Yakuwa. (Soma Yobu 10:12; 28:28.) Mu ssuula y’Ekitabo kya Yobu esembayo, Katonda yalaga nti yanyiigira Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali olw’okwogera eby’obulimba. Era yakiraga nti yasiima Yobu ng’amuyita “omuddu wange” emirundi ena, era yamugamba asabire abasajja abo ababi. (Yobu 42:7-9) Ka naffe tufube okukola ebintu ebinaatuleetera okusiimibwa Yakuwa.
Yakuwa Ayamba Abaweereza Be Abeesigwa
14. Yakuwa yayamba atya Yobu okutereeza endowooza ye?
14 Yobu yakuuma obugolokofu bwe wadde nga yali tatuukiridde. Kyokka emirundi egimu, okubonaabona ennyo kwamuleetera okuba n’endowooza enkyamu. Ng’ekyokulabirako, yagamba Yakuwa nti: “Nkukaabirira so tonziramu . . . olw’amaanyi ag’omukono gwo onjigganya.” Yobu era yagezaako okulaga nti ye yali omutuufu ng’agamba nti: “Ssiri mubi,” era nti “mu ngalo zange temuli bikolwa bya ttemu era okusaba kwange kulongoofu.” (Yobu 10:7; 16:17, NW; 30:20, 21) Wadde yali ayogedde bubi, Yakuwa yamukwata n’ekisa n’amubuuza ebibuuzo ebyamuyamba okukiraba nti okulowooza ennyo ku mbeera ye kyali kimuleetedde okugwa olubege. Ebibuuzo ebyo era byayamba Yobu okukiraba nti omuntu wa wansi nnyo bw’omugeraageranya ku Katonda. Yobu yakkiriza okuwabulwa okwo era yatereeza endowooza ye.—Soma Yobu 40:8; 42:2, 6.
15, 16. Yakuwa ayamba atya abaweereza be leero?
15 N’abaweereza be leero Yakuwa abakwata na kisa ng’abawa obulagirizi. Era waliwo n’ebintu ebirala eby’omuganyulo ennyo gye tuli. Ng’ekyokulabirako, Yesu Kristo yawaayo ssaddaaka y’ekinunulo etusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe. Ssaddaaka eyo era etusobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Katonda wadde nga tetutuukiridde. (Yak. 4:8; 1 Yok. 2:1) Bwe tuba tugezesebwa, tusobola okusaba Katonda okutuwa omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okuba abanywevu. Ate era tulina Baibuli gye tuyinza okusoma n’okufumiitirizaako, n’etuyamba okwetegekera ebintu ebigezesa okukkiriza kwaffe. Okwesomesa kutuyamba okutegeera ensonga ekwata ku Katonda ng’omufuzi w’obutonde bwonna ne ku bugolokofu bwa buli muntu.
16 Ng’oggyeko ekyo, tuganyulwa nnyo olw’okubeera mu kibiina kya Yakuwa ky’aliisa obulungi ennyo mu by’omwoyo ng’ayitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45-47) Mu nkuŋŋaana eziba mu buli kimu ku bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisoba mu 100,000, tuyigirizibwa ebintu ebituyamba okuba abanywevu nga twolekaganye n’ebizibu ebigezesa okukkiriza kwaffe. Bwe kityo bwe kyali ku Sheila, Omujulirwa omutiini abeera mu Bugirimaani.
17. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti kirungi okukolera ku bulagirizi obutuweebwa mu kibiina kya Yakuwa.
17 Lumu Sheila yali mu kibiina ne bayizi banne naye nga temuli musomesa. Abayizi abo baggyayo akabaawo akakozesebwa mu bintu by’ekisamize. Sheila teyalonzalonza n’afuluma ekibiina, era oluvannyuma yakitegeera nti kye yali akoze kyali kya magezi. Bwe baali bakozesa akabaawo ako, abamu ku bayizi abo baawulira dayimooni nga zizze ne batya nnyo era ne badduka. Naye kiki ekyayamba Sheila okusalawo okufuluma amangu ekibiina? Agamba nti: “Emabegako, twali tuyize mu nkuŋŋaana nti kya kabi okukozesa akabaawo ako. N’olwekyo, nnali mmanyi bulungi eky’okukola. Nnasalawo okusanyusa Yakuwa, nga Baibuli bw’etukubiriza mu Engero 27:11.” Ng’okubaawo mu lukuŋŋaana olwo n’okuwuliriza obulungi kyayamba nnyo Sheila!
18. Omaliridde kukola ki?
18 Ka ffenna tube bamalirivu okunywerera ku bulagirizi bw’ekibiina kya Katonda. Ka tufube okubangawo mu nkuŋŋaana, okusoma Baibuli era n’ebitabo ebiginnyonnyola, okusaba, n’okukola emikwano n’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo, kituyambe okufuna obulagirizi n’obuyambi bye twetaaga. Yakuwa ayagala nnyo tukuume obugolokofu bwaffe, era atulinamu obwesige nti tujja kukikola. Nga nkizo ya maanyi okugulumiza erinnya lya Yakuwa, n’okukuuma obugolokofu bwaffe, ne tusanyusa omutima gwe!
Ojjukira?
• Setaani aleeseewo mbeera ki mu nsi era atugezesa atya?
• Kintu ki ekisingayo okuba eky’omuwendo kye tulina?
• Kiki ekitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?
• Yakuwa atuyamba atya leero?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Owulira ng’oyagala okubuulira abalala amazima g’omanyi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Tusobola okuyamba bakkiriza bannaffe okukuuma obugolokofu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Valentina yalaga nti mwetegefu okwefiiriza buli kimu okusobola okukuuma obugolokofu bwe