Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Waliwo essuubi lyonna nti omwana eyafiira mu lubuto lwa nnyina alizuukira?
Eri abo abatafiirwangako mwana mu ngeri eno, bayinza obutamanya nneewulira y’abo be kyali kituuseeko. Abazadde abamu banyolwa nnyo bwe bafiirwa abaana baabwe mu ngeri eno. Omukyala omu yafiirwa abaana be bataano nga tebannatuuka kuzaalibwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, yafuna essanyu lingi olw’okukuza abaana babiri abalamu obulungi. Wadde kyali kityo, yali akyajjukira abaana be be yali afiiriddwa. Mu bulamu bwe bwonna, yalowoozanga ku baana be bwe bandibadde benkana singa baali tebafudde. Abakristaayo ng’abo balina kwe basinziira okuba n’essuubi nti abaana baabwe abo balizuukira?
Eky’okuddamu kiri nti tetumanyi. Baibuli teyogera butereevu ku kuzuukizibwa kw’abaana abaafa nga tebannatuuka kuzaalibwa. Wadde kiri kityo, Ekigambo kya Katonda kirimu emisingi egikwata ku kibuuzo ekyo egisobola okutubudaabuda.
Ka twekenneenye ebibuuzo bibiri ebikwata ku nsonga eno. Ekisooka, okusinziira ku ndaba ya Yakuwa, obulamu bw’omuntu butandika ddi—ng’omukazi yakafuna olubuto oba ng’omwana yakazaalibwa? Eky’okubiri, Yakuwa atwala atya omwana atannazaalibwa—ng’omuntu yennyini oba ng’obutoffaali obuli awamu mu lubuto lw’omukazi? Emisingi gya Baibuli giwa eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo ebyo byombi.
Amateeka ga Musa gaakiraga bulungi nti obulamu butandika ng’omukazi yakafuna olubuto, so si ng’omwana azaaliddwa. Mu ngeri ki? Gaakiraga bulungi nti singa omuntu yabanga asse omwana akyali mu lubuto, yasalirwanga gwa kufa. Weetegereze etteeka lino: “Owangayo obulamu olw’obulamu.”a (Kuv. 21:22, 23) Bwe kityo, omwana atannazaalibwa aba mulamu era aba muntu yennyini. Okutegeera amazima gano kiyambye Abakristaayo bangi okwewala ekikolwa eky’okuggyamu embuto, era bakitwala nga kibi kya maanyi eri Katonda.
Kyo kituufu nti omwana atannazaalibwa aba mulamu, naye obulamu obwo Yakuwa abatwala nga bwa muwendo kwenkana wa? Etteeka eryogeddwako waggulu lyakiraga nti omuntu eyabanga aviiriddeko okufa kw’omwana atannazaalibwa naye yabanga wa kuttibwa. N’olwekyo, kyeyoleka bulungi nti obulamu bw’omwana atannazaalibwa bwa muwendo nnyo mu maaso ga Katonda. Ate era, waliwo ebyawandiikibwa ebirala bingi ebiraga nti Yakuwa atwala omwana atannazaalibwa ng’omuntu yennyini. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Wambikkako mu lubuto lwa mmange. . . . Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa, ebyabumbibwanga buli lunaku, bwe byali nga tebinnabaawo n’ekimu.”—Zab. 139:13-16; Yob. 31:14, 15.
Yakuwa era akimanyi nti omwana atannazaalibwa alina engeri ez’enjawulo era ng’ayinza okubaako ky’akola mu biseera eby’omu maaso. Lebbeeka, mukyala wa Isaaka bwe yali olubuto lwa balongo, Yakuwa yawa obunnabbi obukwata ku balenzi ababiri abaali bakonaganira mu lubuto lwe, nga kino kiraga nti yali amaze okubalabamu engeri ezandibaddeko ekya maanyi kye zikola ku bantu abalala bangi mu biseera eby’omu maaso.—Lub. 25:22, 23; Bar. 9:10-13.
N’ebyo ebikwata ku Yokaana Omubatiza bituyamba okutegeera nti omwana atannazaalibwa aba muntu yennyini. Ebyo ebiri mu Njiri bigamba nti: “Erizabeesi bwe yawulira okulamusa kwa Maliyamu, omwana n’abuukabuuka mu lubuto lwe; Erizabeesi n’ajjuzibwa omwoyo omutukuvu.” (Luk. 1:41) Ng’ayogera ku nsonga eno, omusawo Lukka yakozesa ekigambo eky’Oluyonaani ekitegeeza omwana atannazaalibwa oba oyo eyakazaalibwa. Era yakozesa ekigambo kye kimu ng’ayogera ku Yesu eyali omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba ensolo mwe ziriira.—Luk. 2:12, 16; 18:15.
Okusinziira ku ebyo ebyogeddwako waggulu, ddala Baibuli eraga nti waliwo enjawulo wakati w’omwana ali mu lubuto lwa nnyina n’oyo eyakazaalibwa? Nedda. Wabula, kino kituukagana bulungi ne sayansi ow’omu kiseera kino. Ng’ekyokulabirako, abanoonyereza bakizudde nti omwana ali mu lubuto asobola okuwulira ebyo ebikolebwa ebweru w’olubuto lwa nnyina era birina kye bimukolako. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti omukyala ali olubuto atandika okulaga omwana we omukwano ng’omwana oyo akyali mu lubuto.
Abaana bazaalibwa nga bamaze ebiseera bya njawulo mu lubuto. Lowooza ku kyokulabirako kino: Omukyala omu azaala omwana atatuuse, era n’afa oluvannyuma lw’ennaku ntono. Omukyala omulala omwana we afa mu kiseera kyennyini ng’atuusizza okumuzaala. Kati olwo tugambe nti omukyala asoose alina essuubi nti omwana we alizuukira olw’okuba yamuzaala mulamu wadde nga yali tannatuuka kuzaalibwa, ate omukyala ow’okubiri n’aba nti ye talina ssuubi eryo?
Ekituufu kiri nti Baibuli eyigiriza nti obulamu butandika ng’omukazi yakafuna olubuto era nti Yakuwa atwala omwana oyo atannazaalibwa ng’omuntu yennyini era ow’omuwendo. Okusinziira ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno, abamu bayinza okuwulira nti kikontana n’ebyawandiikibwa okulowooza nti omwana aba afudde nga tannazaalibwa tajja kuzuukira. Mu butuufu, bayinza okuwulira nti kino kireetawo okubuusabuusa ku ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku kuggyamu embuto.
Emabegako, magazini eno yalimu ebibuuzo ebirabika ng’ebireetawo okubuusabuusa ku kuzuukira kw’abaana ababa bafudde nga tebannazaalibwa. Ng’ekyokulabirako, mu nsi empya, Katonda alizza omwana mu lubuto lwa nnyina eyafa nga tannatuuka kuzaalibwa? Okwekenneenya ennyo ebyawandiikibwa, okusaba, n’okufumiitiriza biyambye Akakiiko Akafuzi okukiraba nti endowooza ng’ezo tezirina kakwate na ssuubi lya kuzuukira. Yesu yagamba nti: “Byonna biyinzika eri Katonda.” (Mak. 10:27) Ebyo ebyaliwo mu bulamu bwa Yesu biraga obutuufu bw’ebigambo ebyo; obulamu bwe yalina mu ggulu bwakyusibwa ne buteekebwa mu lubuto lw’omuwala eyali embeerera—ekintu ekirabika ng’ekitasoboka mu ndaba ey’obuntu.
Kati olwo tugambe nti Baibuli eyigiriza nti abaana bonna abafa nga tebannazaalibwa bajja kuzuukira? Tukiggumiza nti Baibuli teddamu butereevu kibuuzo ekyo, n’olwekyo tewali muntu wayinza kusinziira kukalambira ku nsonga eno. Ensonga eno eyinza okuleetera abantu okwebuuza ebibuuzo bingi. Mu butuufu, kiba kirungi ne twewala okuteebereza. Kyo kye tumanyi kiri nti: Ensonga eno eri mu buyinza bwa Yakuwa Katonda ajjudde ekisa n’okusaasira. (Zab. 86:15) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yeesunga okuzuukiza abantu abaafa era aggirewo ddala okufa. (Yob. 14:14, 15) Tuli bakakafu nti bulijjo Yakuwa ky’akola kiba kituufu. Ajja kuggyawo obulumi bwonna bwe tufunye mu nteekateeka y’ebintu eno embi ng’akozesa Omwana we ‘okumalawo ebikolwa bya Setaani.’—1 Yok. 3:8.
[Obugambo obuli wansi]
a Oluusi, ekyawandiikibwa kino kivvuunulwa mu ngeri eraga nti okufa kw’omukyala ali olubuto kwe kwokka okuyinza okuviirako omuntu okusalirwa omusango ogw’okufa. Kyokka, ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka biraga nti etteeka eryo lyali likwata ku kufa kw’omukyala ali olubuto oba ku mwana we atannazaalibwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Yakuwa ajja kuggyawo obulumi bwonna bwe tufunye