LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 7/1 lup. 17-19
  • Weekuume Emyoyo Emibi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weekuume Emyoyo Emibi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Engeri Emyoyo Emibi gye Gituusa Akabi ku Bantu
  • Manya Obulombolombo Obutasanyusa Katonda
  • Kiki ky’Olina Okukola?
  • Kkiriza Obuyambi bwa Yakuwa Osobole Okuziyiza Emyoyo Emibi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Ziyiza Emyoyo Emibi
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Ebitonde eby’Omwoyo—Engeri Gye Bitukwatako
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Balubaale Bakubiriza Okujeemera Katonda
    Emyoyo gy’Abafu Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 7/1 lup. 17-19

Weekuume Emyoyo Emibi

JAMES yakulira ku kyalo ekyesudde ekiri ku kizinga Malaita, ekimu ku bizinga ebiyitibwa Solomon Islands. Okuviira ddala mu buto bwe, yayigirizibwa okussa ekitiibwa mu balubaale. Agamba nti, “Nnali sikirowoozangako kusaba balubaale okulumya abalala, era nnali sirowooza nti nsobola okuba omusanyufu mu bulamu nga sikozeseza rarafono [obulombolombo obwekuusa ku kusaba obuyambi okuva eri balubaale] okunkuuma obutatuukibwako kabi.”

Nga bwe kiri eri abantu abali mu bitundu by’ensi ebitali bimu, abantu b’omu bizinga ebiyitibwa Solomon Islands bakkiriza nti balubaale basobola okuyamba abantu oba okubalumya. Mu butuufu, abantu bangi ab’omu Melanesia baagala nnyo balubaale abatwalibwa okuba ab’ekisa era tebabatya.

Waliwo engeri nnyingi abantu mwe balagira nti bakkiririza mu maanyi g’emyoyo emibi. Ng’ekyokulabirako, James bwe yali omuto, abakazi ab’oku kyalo ky’ewaabwe baddusanga abaana baabwe okubayingiza mu nju buli lwe baawuliranga akanyonyi akayitibwa korokoro nga kakaaba. Lwaki baakolanga bwe batyo? Baali bakkiriza nti akanyonyi ako bwe kakaaba kiba kitegeeza nti waliwo omuntu agenda okutuukibwako akabi.

Abantu abamu ab’oku kyalo ekyo bateeka akayinja akeeru ek’enjawulo waggulu ku miryango gy’ennyumba zaabwe. James naye kino yakikolako, ng’alowooza nti akayinja ako kayinza okumukuuma emyoyo emibi ne gitamutuusaako kabi. Era ne bwe yabanga ku mulimu, yakuŋŋaanyanga emmere eyabanga efisseewo ng’amaze okulya eky’emisana n’agiteeka mu nsawo ye asobole okugisuula oluvannyuma. Ekyamukozesanga ekyo kwe kuba nti yali atya nti omulogo ayinza okulonda emmere eyo n’agikozesa okumuloga.

Wadde ng’ebintu bino byennyini biyinza okuba nga tebikolebwa nnyo mu kitundu kyammwe, oboolyawo okufaananako James naawe muli owulira nti kikwetaagisa okugoberera obulombolombo bw’omu kitundu kyammwe okusobola okwekuuma emyoyo emibi. Oyinza okulowooza nti bw’otagoberera bulombolombo obwo oyinza okutuukibwako akabi.

Bw’oba ossa ekitiibwa mu Baibuli, awatali kubuusabuusa wandyagadde okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: (1) Emyoyo emibi giyinza gitya okukutuusaako akabi? (2) Ddala okugoberera obumu ku bulombolombo kisobola okukuviirako okubeera wansi w’obuyinza bwa badayimooni? (3) Oyinza otya okwekuuma emyoyo emibi era n’oba musanyufu?

Engeri Emyoyo Emibi gye Gituusa Akabi ku Bantu

Baibuli ekiraga bulungi nti emyoyo emibi si gy’emyoyo gy’abafu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti, “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:⁠5) Mu butuufu, emyoyo emibi be bamalayika abajeemu abeegasse ku Sitaani okulimbalimba abantu.​—Okubikkulirwa 12:⁠9.

Ebyawandiikibwa biraga bulungi nti twetaaga okwekuuma emyoyo emibi. Omutume Pawulo yawandiikira bw’ati Abakristaayo ab’omu Efeso: “Tetumeggana na musaayi na mubiri, naye . . . n’emyoyo emibi egiri mu bifo eby’omu ggulu.” Omutume Peetero yagamba nti omufuzi w’emyoyo emibi, Sitaani Omulyolyomi, alinga ‘empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.’​—Abeefeso 6:​12; 1 Peetero 5:⁠8.

Sitaani atuusa akabi ku bantu ng’abalimbalimba oba ng’abakema okukola ekintu ekinyiiza Katonda. Baibuli egamba nti Sitaani “yeefuula malayika ow’ekitangaala.” (2 Abakkolinso 11:14) Yeefuula malayika asobola okuwa abantu obukuumi, so ng’ate, mu butuufu, alina ekigendererwa kikyamu. Sitaani aziba amaaso g’okutegeera kw’abantu ne balema okumanya amazima agamukwatako ye kennyini awamu n’ago agakwata ku Katonda. (2 Abakkolinso 4:⁠4) Alina kigendererwa ki mu kulimbalimba abantu?

Sitaani ayagala nnyo okusinzibwa era ayagala abantu bamusinze ka kibe nti bakimanyi nti bamusinza oba nedda. Omwana wa Katonda, Yesu, bwe yali ku nsi, Sitaani yali ayagala ‘avunname amusinze.’ Yesu yamugamba nti, “Genda Sitaani! Kubanga kyawandiikibwa nti, Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza.” (Matayo 4:​9, 10) Yesu yagaana okukola ekintu kyonna ekyandiraze nti asinza Sitaani.

Yakuwa y’asinga ebitonde byonna eby’omwoyo amaanyi era tajja kukkiriza kabi konna ak’enkalakkalira okutuuka ku abo abamugondera. (Zabbuli 83:18; Abaruumi 16:20) Naye bwe tuba twagala okusanyusa Yakuwa Katonda nga Yesu bwe yakola, tulina okwewala ekikolwa kyonna ekiraga nti tuli wansi w’obuyinza bwa Sitaani oba badayimooni be. N’olwekyo, twetaaga okumanya obulombolombo obwekuusa ku kusinza emyoyo emibi n’okugiwa ekitiibwa. Ekyo oyinza kukikola otya?

Manya Obulombolombo Obutasanyusa Katonda

Yakuwa Katonda yalabula abantu be ab’edda, Abaisiraeri, okwewala okukoppa obumu ku bulombolombo bw’amawanga agaali gabeetoolodde. Yagamba nti: “Tewalabikanga gy’oli muntu yenna . . . akola eby’obufumu, newakubadde alaguza ebire, newakubadde omulogo, newakubadde omuganga, newakubadde omusawo.” Ng’eyogera ku abo abakola ebintu ebyo, Baibuli egamba nti: “Buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama.”​—Ekyamateeka 18:​10-​12.

N’olwekyo, bw’oba ng’olowooza ku bulombolombo obuli mu kitundu kyammwe, weebuuze ebibuuzo bino: Akalombolombo kano kakubiriza abantu okwenyigira mu by’obulaguzi? Kakubiriza abantu okukozesa ebintu ebitalina bulamu okufuna obukuumi? Kazingiramu okuloga abalala oba okweganga? Kazingiramu okwessa wansi w’obuyinza bw’emyoyo emibi mu kifo ky’okubeera wansi w’obuyinza bwa Yakuwa ne Yesu?​—Abaruumi 14:11; Abafiripi 2:​9, 10.

Kikulu nnyo okwewala obulombolombo bwonna obukubiriza okwenyigira mu bintu ng’ebyo. Lwaki? Omutume Pawulo yagamba nti: “Temuyinza kulya ku ‘mmeeza ya Yakuwa’ ne ku mmeeza ya dayimooni.” Yalabula nti abo abagezaako okusanyusa Katonda ne balubaale baba ‘bakwasa Katonda obuggya.’ (1 Abakkolinso 10:​20-​22) Yakuwa Katonda y’agwanidde okusinzibwa yekka.​—Okuva 20:​4, 5.

Lowooza ne ku kibuuzo kino: Akalombolombo kano katumbula endowooza egamba nti omuntu tavunaanyizibwa olw’enneeyisa ye? Okugeza, abantu bangi bakitwala nti obwenzi n’okwetaba nga tonnayingira bufumbo si kibi so ng’ate Baibuli ebivumirira. (1 Abakkolinso 6:​9, 10) Kyokka, abantu abamu ababeera mu bizinga ebiri mu nnyanja ennene eyitibwa Pacific, bagamba nti kiyinza okukkirizibwa singa omuwala agamba nti baamukolera eddagala eryamuleetera okwenyigira mu kikolwa eky’okwetaba.

Wadde kiri kityo, Baibuli eyigiriza nti tuvunaanyizibwa olw’enneeyisa yaffe. (Abaruumi 14:12; Abaggalatiya 6:⁠7) Ng’ekyokulabirako, Kaawa, omukazi eyasooka, yalowooza nti Sitaani ye yamulimbalimba ne kimuviirako okujeemera Katonda, bwe yagamba nti: “Omusota gunsezesenze, ne ndya.” Kyokka, Yakuwa yavunaana Kaawa olw’ekyo kye yakola. (Olubereberye 3:​13, 16, 19) Era naffe tuvunaanyizibwa olw’enneeyisa yaffe.​​—⁠Abebbulaniya 4:​13.

Kiki ky’Olina Okukola?

Bw’oba oyagala okusanyusa Katonda era n’okugoberera emisingi gya Baibuli, osaanidde okubaako ky’okolawo mu bwangu. Abantu abeesimbu abaali babeera mu Efeso mu kyasa ekyasooka, baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno. Okusobola okwewala emyoyo emibi, baakuŋŋaanya ebitabo byabwe byonna eby’obusamize ne ‘babyokera mu maaso g’abantu bonna.’​—Ebikolwa 19:⁠19.

Nga tebannayokya bitabo ebyo, abantu abo “bajja ne bakkiriza ensobi zaabwe era ne baatula ebikolwa byabwe ebibi mu lujjudde.” (Ebikolwa 19:18) Olw’okuba baali bakwatiddwako ebyo Pawulo bye yali abayigirizza, baayokya ebitabo byabwe eby’obusamize era ne bakyusa endowooza ze baalina ezikwata ku bulombolombo bwabwe.

Kyo kituufu nti kiyinza obutaba kyangu okulekayo obulombolombo obutasanyusa Katonda. Era bwe kityo bwe kyali eri James eyayogeddwako waggulu. Yatandika okusoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era yali ayagala nnyo ebyo bye yali ayiga. Kyokka, yeeyongera okugoberera akalombolombo akayitibwa rarafono. Bwe yeekebera, yakizuula nti yali akkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa eby’omu biseera eby’omu maaso naye nga muli alowooza nti okusobola okufuna obukuumi mu kiseera kino, akyetaaga okugoberera obulombolombo obwo.

Kiki ekyayamba James okukyusa endowooza ye? Agamba: “Nnasaba Yakuwa ampe obukuumi bwe era annyambe nsobole okumwesiga. Mu kiseera kye kimu, nnalekayo obulombolombo bwe nnali ngoberera.” Waliwo akabi konna k’afunye? James agamba nti “tewali kabi konna ke nfunye, naye njize okwesiga Yakuwa. Nkirabye nti Yakuwa asobola okuba mukwano gwange ow’oku lusegere ennyo.” Mu butuufu, okumala emyaka musanvu, James abadde mubuulizi ow’ekiseera kyonna ng’ayamba abantu okuyiga Baibuli ky’eyigiriza.

Lwaki naawe togoberera ekyokulabirako kya James? Wekkaanye obulombolombo obugobererwa mu kintu kyo era ‘okozese amagezi’ go okusobola okutegeera oba nga ddala butuukagana n’ebyo ‘Katonda by’ayagala.’ (Abaruumi 12:​1, 2) Era beera mumalirivu okwekutula ku bikolwa byonna eby’obusamize. Bw’okola bw’otyo, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja ‘kukusembeza’ era akukuume. (2 Abakkolinso 6:​16-​18) Okufaananako James, ojja kutegeera obutuufu bw’ekisuubizo kya Baibuli kino: “Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: Omutuukirivu addukira omwo n’aba mirembe.”​—Engero 18:⁠10.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

“Korokoro”

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Courtesy of Dr. Bakshi Jehangir

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Omuwala ng’akuŋŋaanya emmere efisseewo ng’amaze okulya ereme okukozesebwa okumuloga

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share