LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w19 Apuli lup. 20-25
  • Kkiriza Obuyambi bwa Yakuwa Osobole Okuziyiza Emyoyo Emibi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kkiriza Obuyambi bwa Yakuwa Osobole Okuziyiza Emyoyo Emibi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENGERI EMYOYO EMIBI GYE GIBUZAABUZAAMU ABANTU
  • ENGERI GYE TUYINZA OKUZIYIZAAMU EMYOYO EMIBI
  • ABO ABAKKIRIZA YAKUWA OKUBAYAMBA BAFUNA EMIKISA
  • Ziyiza Emyoyo Emibi
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Ebitonde eby’Omwoyo—Engeri Gye Bitukwatako
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Muziyizenga Omulyolyomi n’Enkwe Ze Zonna
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Weekuume Emyoyo Emibi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
w19 Apuli lup. 20-25

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 17

Kkiriza Obuyambi bwa Yakuwa Osobole Okuziyiza Emyoyo Emibi

“Tumeggana . . . n’emyoyo emibi egiri mu bifo eby’omu ggulu.”​—BEF. 6:12.

OLUYIMBA 55 Temubatyanga!

OMULAMWAa

1. Nga bwe kiragibwa mu Abeefeso 6:10-13, ekimu ku bintu ebiraga nti Yakuwa atufaako kye kiruwa? Nnyonnyola.

EKIMU ku bintu ebiraga nti Yakuwa atufaako kwe kuba nti atuyamba okuziyiza abalabe baffe. Abalabe baffe abasinga obukulu ye Sitaani ne badayimooni. Yakuwa atulabula ku balabe abo era atuwa bye twetaaga okusobola okubaziyiza. (Soma Abeefeso 6:10-13.) Bwe tukkiriza obuyambi Yakuwa bw’atuwa era ne tumwesiga, tusobola okuziyiza Omulyolyomi. Tusobola okuba n’endowooza ng’eyo omutume Pawulo gye yalina. Yagamba nti: “Katonda bw’aba ku ludda lwaffe, ani ayinza okutulwanyisa?”​—Bar. 8:31.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Abakristaayo ab’amazima tetumalira birowoozo byaffe ku Sitaani ne badayimooni. Ebirowoozo byaffe tubimalira ku kuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumuweereza. (Zab. 25:5) Naye twetaaga okumanya ebimu ku bintu Sitaani by’akola. Lwaki? Aleme kutukwasa. (2 Kol. 2:11) Mu kitundu kino, tugenda kulaba emu ku ngeri enkulu Sitaani ne badayimooni gye bagezaako okubuzaabuza abantu. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuziyizaamu Sitaani ne badayimooni.

ENGERI EMYOYO EMIBI GYE GIBUZAABUZAAMU ABANTU

3-4. (a) Obusamize kye ki? (b) Bantu benkana wa abakkiririza mu by’obusamize?

3 Ekimu ku bintu Sitaani ne badayimooni bye bakozesa okugezaako okubuzaabuza abantu bye by’obusamize. Abo abakola eby’obusamize bagamba nti basobola okumanya oba okukola ebintu abantu bye batasobola kukola mu mbeera eza bulijjo. Ng’ekyokulabirako, abamu bagamba nti basobola okukozesa eby’obulaguzi oba okulaguzisa emmunyeenye ne bamanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Abalala bayinza okwefuula ng’aboogera n’abaafa. Abalala beenyigira mu bikolwa eby’obulogo oba eby’obufuusa, era bayinza okugezaako okuloga abantu abalala.b

4 Abantu benkana wa abakkiririza mu by’obusamize? Okunoonyereza okwakolebwa mu nsi 18 ez’omu Amerika ow’ebukiikaddyo ne ku bizinga ebiri ku Nnyanja Caribbean kwalaga nti ku buli bantu basatu abaabuuzibwa omu ku bo yali akkiririza mu by’obufuusa, mu by’obulogo, oba mu by’obufumu, ate era bangi baali bakkiriza nti kisoboka okuwuliziganya n’emyoyo gy’abafu. Waliwo n’okunoonyereza okulala okwakolebwa mu nsi 18 ez’omu Afirika. Kyazuulibwa nti ku buli bantu babiri omu akkiririza mu by’obulogo. Kya lwatu nti wonna we tubeera, tusaanidde okwekuuma tuleme kwenyigira mu bya busamize. Ekyo kiri kityo kubanga Sitaani ayagala okubuzaabuza “ensi yonna.”​—Kub. 12:9.

5. Yakuwa atwala atya eby’obusamize?

5 Yakuwa ye “Katonda ow’amazima.” (Zab. 31:5, laba obugambo obuli wansi.) Kati olwo atwala atya eby’obusamize? Abikyawa! Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti: “Tewalabikanga mu ggwe omuntu yenna ayokya mutabani we oba muwala we mu muliro, oba akola eby’obulaguzi, oba akola eby’obufumu, oba anoonya obubonero okulagulwa, oba omusamize, oba omulogo, oba eyeebuuza ku mulubaale, oba alagula ebiribaawo mu maaso, oba eyeebuuza ku bafu. Kubanga buli akola ebintu ebyo Yakuwa amukyayira ddala.” (Ma. 18:10-12) Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri. Naye tukimanyi nti endowooza Yakuwa gy’alina ku busamize tekyuka.​—Mal. 3:6.

6. (a) Sitaani akozesa atya eby’obusamize okulumya abantu? (b) Okusinziira ku Omubuulizi 9:5, abafu bali mu mbeera ki?

6 Yakuwa atulabula ku by’obusamize kubanga akimanyi nti Sitaani abikozesa okulumya abantu. Sitaani akozesa eby’obusamize okubunyisa obulimba, omuli n’obwo obugamba nti abafu basigala balamu naye nga bali mu kifo kirala. (Soma Omubuulizi 9:5.) Sitaani era akozesa eby’obusamize okukuumira abantu mu kutya n’okubaggya ku Yakuwa. Ayagala abantu beenyigire mu by’obusamize basse obwesige bwabwe mu myoyo emibi mu kifo ky’okubussa mu Yakuwa.

ENGERI GYE TUYINZA OKUZIYIZAAMU EMYOYO EMIBI

7. Biki Yakuwa by’atutegeeza?

7 Nga bwe twalabye, Yakuwa atutegeeza ebintu bye twetaaga okumanya okusobola okwewala okubuzaabuzibwa Sitaani ne badayimooni. Kati ka tulabe ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okusobola okuziyiza Sitaani ne badayimooni.

8. (a) Engeri enkulu gye tusobola okuziyizaamu emyoyo emibi y’eruwa? (b) Zabbuli 146:4 eyanika etya obulimba bwa Sitaani obukwata ku mbeera y’abafu?

8 Soma Ekigambo kya Katonda era okifumiitirizeeko. Eno ye ngeri esingayo obukulu gye tuyinza okwewalamu okubuzaabuzibwa obulimba emyoyo emibi gye bubunyisa. Ekigambo kya Katonda kyanika obulimba bwa Sitaani. (Bef. 6:17) Ng’ekyokulabirako, kituyamba okukimanya nti endowooza egamba nti abafu basobola okwogera n’abalamu si ntuufu. (Soma Zabbuli 146:4.) Era kituyamba okukimanya nti Yakuwa yekka y’asobola okutubuulira ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Is. 45:21; 46:10) Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era ne tukifumiitirizaako, tujja kusobola okukyawa n’okuziyiza obulimba emyoyo emibi bwe gyagala tukkirize.

9. Bintu ki ebirina akakwate n’eby’obusamize bye twewala?

9 Weewalire ddala okukola ekintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obusamize. Abakristaayo ab’amazima twewalira ddala okwenyigira mu by’obusamize eby’engeri yonna. Ng’ekyokulabirako, tetugenda mu basamize oba okugezaako okuwuliziganya n’abafu mu ngeri yonna. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, twewala okwenyigira mu bulombolombo obwesigamiziddwa ku ndowooza egamba nti abafu bakyali balamu. Tetukozesa bya bulaguzi kugezaako kumanya binaabawo mu biseera eby’omu maaso. (Is. 8:19) Tukimanyi nti ebintu ng’ebyo bya kabi kubanga bireetera omuntu okukolagana ne Sitaani ne badayimooni.

Abakristaayo abasooka nga bakuŋŋaanyizza ebitabo bye baakozesanga mu by’obusamize era nga babyokya

Koppa Abakristaayo abaasooka nga weggyako ekintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obusamize era nga weewala eby’okwesanyusaamu byonna ebirimu eby’obusamize (Laba akatundu 10-12)

10-11. (a) Kiki abamu ku bantu abaaliwo mu kyasa ekyasooka kye baakola nga bayize amazima? (b) Okusinziira ku 1 Abakkolinso 10:21, lwaki tusaanidde okukoppa Abakristaayo abasooka, era tuyinza kubakoppa tutya?

10 Weggyeeko ekintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obusamize. Abantu abamu abaali mu Efeso mu kyasa ekyasooka beenyigiranga mu by’obusamize. Naye bwe baayiga amazima baakola enkyukakyuka ez’amaanyi. Bayibuli egamba nti: “Bangi ku abo abaakolanga eby’obufumu baaleeta ebitabo byabwe ne babyokera mu maaso g’abantu bonna.” (Bik. 19:19) Abantu abo baali bamalirivu okuziyiza emyoyo emibi. Ebitabo byabwe bye baakozesanga mu by’obusamize byali bya ssente nnyingi. Naye mu kifo ky’okubigabira abalala oba okubitunda, baabyokya. Kye baatwala ng’ekisinga obukulu kwe kusanyusa Yakuwa, so si bbeeyi ya bitabo ebyo.

11 Tuyinza tutya okukoppa Abakristaayo abo abaaliwo mu kyasa ekyasooka? Tusaanidde okweggyako ekintu kyonna kye tuyinza okuba nakyo ekirina akakwate n’eby’obusamize. Muno mwe muli ebintu gamba ng’ensiriba, yirizi, n’ebintu ebirala abantu bye batera okwambala oba okuba nabyo, nga bagezaako okwekuuma emyoyo emibi.​—Soma 1 Abakkolinso 10:21.

Ow’oluganda ng’asuula ensiriba mu kasasiro; omwami ne mukyala we nga bayita ku bipande ebiranga firimu ezirimu eby’obusamize

12. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza ku by’okwesanyusaamu bye tulondawo?

12 Weegendereze eby’okwesanyusaamu by’olondawo. Weebuuze: ‘Nsoma ebitabo oba magazini, oba ebitundu ku Intaneeti ebirimu eby’obusamize? Ate zo ennyimba ze mpuliriza, firimu ne programu za ttivi ze ndaba, awamu n’emizannyo gya kompyuta gye nzannya? Waliwo ekimu ku byo ekirimu eby’obusamize? Kyandiba nti ebimu ku byo birimu ebintu gamba ng’emirambo gye balaga nti gizuukuka ne ginywa omusaayi oba ebintu ebirala ebifaananako bwe bityo? Biraga nti eby’obufuusa, eby’obulogo, n’ebirala ebiri ng’ebyo tebirina mutawaana gwonna?’ Kyokka tekiri nti buli firimu oba nti buli kitabo ekirimu ebintu ebitasoboka kubaawo mu mbeera eza bulijjo nti kirina akakwate n’eby’obusamize. Bw’oba olondawo eby’okwesanyusaamu, ba mumalirivu okwesambira ddala ekintu kyonna ekirina akakwate n’ebintu Yakuwa by’akyawa. Tulina okufuba “okuba n’omuntu w’omunda omuyonjo” mu maaso ga Katonda waffe.​—Bik. 24:16.c

13. Kiki kye tusaanidde okwewala?

13 Weewale okunyumya ku ebyo badayimooni bye bakola. Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. (1 Peet. 2:21) Bwe yali tannajja ku nsi, yali abeera mu ggulu, era yali amanyi ebintu bingi ebikwata ku Sitaani ne badayimooni. Naye Yesu teyanyumyanga ku bintu badayimooni bye baali baakola. Yesu yali ayagala kuwa bujulirwa ku Yakuwa so si ku Sitaani. Tusobola okukoppa Yesu nga twewala okubunyisa oba okubuulira abalala ebikwata ku ebyo badayimooni bye baakola. Mu kifo ky’ekyo, tukyoleka mu bigambo byaffe nti ‘omutima gwaffe gubuguumirira olw’ekintu ekirungi,’ nga gano ge mazima.​—Zab. 45:1.

Yesu, Kabaka waffe ow’omu ggulu ow’amaanyi, ng’akulembedde eggye lya bamalayika

Tetusaanidde kutya myoyo mibi. Yakuwa, Yesu, ne bamalayika ba maanyi okugisinga (Laba akatundu 14-15)d

14-15. (a) Lwaki tetusaanidde kutya myoyo mibi? (b) Bukakafu ki obulaga nti Yakuwa akuuma abantu be leero?

14 Totya myoyo mibi. Mu nsi eno embi, ebintu ebibi biyinza okututuukako. Tuyinza okugwa ku kabenje, okulwala, oba okufa. Naye tetusaanidde kulowooza nti emyoyo emibi gye giba gituleetedde ebintu ebyo. Bayibuli egamba nti “ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa” bisobola okutuuka ku muntu yenna. (Mub. 9:11) Yakuwa akiraze kaati nti alina amaanyi mangi okusinga badayimooni. Ng’ekyokulabirako, Katonda teyakkiriza Sitaani kutta Yobu. (Yob. 2:6) Mu kiseera kya Musa, Yakuwa yakyoleka nti wa maanyi okusinga bakabona b’e Misiri abaakolanga eby’obufumu. (Kuv. 8:18; 9:11) Ate era Yakuwa yawa Yesu amaanyi n’agoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu n’abasuula ku nsi. Ate mu kiseera ekitali kya wala Sitaani ne badayimooni bajja kusuulibwa mu bunnya, era nga bali eyo, bajja kuba tebasobola kutuusa bulabe ku muntu yenna.​—Kub. 12:9; 20:2, 3.

15 Tulina obukakafu bungi obulaga nti Yakuwa akuuma abantu be leero. Lowooza ku kino: Tubuulira era tuyigiriza amazima mu nsi yonna. (Mat. 28:19, 20) Bwe kityo, twanika ebikolwa bya Sitaani ebibi. Mu butuufu, singa Sitaani yali asobola, yandibadde akomya omulimu gwaffe, naye ekyo tasobola kukikola. N’olwekyo tetulina kutya myoyo mibi. Tukimanyi nti “amaaso ga Yakuwa gatambulatambula mu nsi yonna okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Byom. 16:9) Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, badayimooni tebasobola kututuusaako kabi ka lubeerera.

ABO ABAKKIRIZA YAKUWA OKUBAYAMBA BAFUNA EMIKISA

16-17. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti twetaaga okuba abavumu okusobola okuziyiza emyoyo emibi.

16 Kitwetaagisa okuba abavumu bwe tuba ab’okuziyiza emyoyo emibi, naddala nga mikwano gyaffe oba ab’eŋŋanda zaffe batuziyiza nga balowooza nti bwe tuteenyigira mu bulombolombo obumu, emyoyo emibi gijja kututuusaako obulabe. Naye Yakuwa awa omukisa abo bonna abooleka obuvumu ne basigala nga beesigwa gy’ali. Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Erica abeera mu Ghana. Erica yatandika okuyiga Bayibuli nga wa myaka 21. Olw’okuba taata we yali musamize, Erica yali asuubirwa okwenyigira mu kalombolombo ak’okulya ennyama eyali eweereddwayo eri bakatonda ba kitaawe. Ekyo Erica bwe yagaana okukikola, ab’eŋŋanda ze baakitwala nti yali anyiizizza bakatonda abo. Ab’eŋŋanda ze baagamba nti bakatonda baali bajja kubabonereza nga babasuula eddalu oba nga babalwaza.

17 Ab’eŋŋanda za Erica baagezaako okumukaka yeenyigire mu kalombolombo ako naye n’agaana, era ekyo ne kimuviirako okugobwa awaka. Waliwo Abajulirwa ba Yakuwa abaamusenza mu maka gaabwe. Mu ngeri eyo Yakuwa yawa Erica ab’eŋŋanda ze abaggya, nga bano be bakkiriza banne abaafuuka nga baganda be ne bannyina. (Mak. 10:29, 30) Wadde ng’ab’eŋŋanda ze baamugoba era ne bookya n’ebintu bye, Erica yasigala mwesigwa eri Yakuwa, n’abatizibwa, era kati aweereza nga payoniya owa bulijjo. Tatya badayimooni. Erica agamba nti: “Nsabira nnyo ab’eŋŋanda zange nabo basobole okuyiga ebikwata ku Yakuwa, basobole okufuna eddembe eriva mu kuweereza Katonda waffe atwagala ennyo.”

18. Birungi ki ebivaamu bwe twesiga Yakuwa?

18 Tekiri nti buli omu ku ffe okukkiriza kwe kujja kugezesebwa mu ngeri eyo. Naye ffenna tulina okuziyiza emyoyo emibi era tulina okwesiga Yakuwa. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi, era kijja kutuyamba obutabuzaabuzibwa bulimba bwa Sitaani. Ate era tujja kuweereza Yakuwa nga tetutya badayimooni. N’ekisinga obukulu, kijja kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Mugonderenga Katonda, naye muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga. Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”​—Yak. 4:7, 8.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Emyoyo emibi gibuzaabuza gitya abantu?

  • Yakuwa atuyamba atya okuziyiza emyoyo emibi?

  • Birungi ki ebivaamu bwe tuziyiza emyoyo emibi?

OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule

a Yakuwa atulabula ku myoyo emibi ne ku kabi ke giyinza okutuleetako. Emyoyo emibi gigezaako gitya okubuzaabuza abantu? Biki bye tuyinza okukola okusobola okuziyiza emyoyo emibi? Ekitundu kino kijja kulaga engeri Yakuwa gy’atuyambamu okwewala okubuzaabuzibwa emyoyo emibi.

b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Eby’obusamize ze njigiriza n’ebikolwa ebirina akakwate ne badayimooni. Bizingiramu enjigiriza egamba nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gumuvaamu ne gufuuka omuzimu ne gwogeranga n’abantu, naddala okuyitira mu musamize. Obusamize era buzingiramu ebikolwa gamba ng’obulogo n’obulaguzi. Mu kitundu kino ekigambo eby’obufuusa kikozeseddwa okutegeeza ebikolwa ebizingiramu okukozesa amaanyi agatali ga bulijjo. Bizingiramu okukolima, okuloga, oba okuvumula eddogo. Tebizingiramu bukodyo abantu abamu bwe bakola nga bakyusakyusa engalo ku sipiidi okusanyusa abalala.

c Abakadde tebalina buyinza kuteerawo bakkiriza bannaabwe mateeka gakwata ku byakwesanyusaamu. Buli Mukristaayo alina okukozesa omuntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli ng’asalawo by’anaasoma, by’anaalaba, oba emizannyo gy’anaazannya. Emitwe gy’amaka ab’amagezi bakakasa nti eby’okwesanyusaamu ab’omu maka gaabwe bye balondawo tebikontana na misingi gya Bayibuli.​—Genda ku jw.org® wansi wa ABOUT US > FREQUENTLY ASKED QUESTIONS olabe ekitundu “Do Jehovah’s Witnesses Ban Certain Movies, Books, or Songs?”

d EBIFAANANYI: Yesu, Kabaka waffe ow’omu ggulu ow’amaanyi, ng’akulembedde eggye lya bamalayika. Entebe ya Yakuwa eri waggulu waabwe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share