Okusiima Ekikuweebwa Gaba n’Omutima Gumu
YAKUWA Kitaffe ow’omu ggulu atufaako nnyo. Baibuli egamba nti afaayo nnyo ku baweereza be. (1 Peet. 5:7) Yakuwa alaga nti atufaako ng’atuyamba mu ngeri ezitali zimu tusobole okumuweereza n’obwesigwa. (Is. 48:17) Ayagala nnyo tukozese obuyambi bw’atuwa, naddala bwe tuba nga twolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi. Kino Amateeka ga Musa gakyoleka bulungi.
Mu Mateeka ga Musa, Yakuwa yalagira abantu be okuyambanga omuntu “omunaku,” gamba nga mulekwa, nnamwandu, oba omugwira. (Leev. 19:9, 10, NW; Ma. 14:29) Akimanyi bulungi nti abaweereza be oluusi beetaaga okuyambibwa bakkiriza bannaabwe. (Yak. 1:27) N’olwekyo, abaweereza be tebasaanidde kutya kukkiriza buyambi Yakuwa bw’abawa okuyitira mu baweereza be. Wadde kiri kityo, tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku buyambi obutuweebwa.
Ku luuyi olulala, Ekigambo kya Katonda kiraga nti abantu ba Katonda basaanidde okuba abagabi. Jjukira “nnamwandu omwavu” Yesu gwe yalaba mu yeekaalu e Yerusaalemi. (Luk. 21:1-4) Oboolyawo yaweebwanga obuyambi ng’Amateeka bwe gaali galagira. Kyokka wadde nga yali mwavu, nnamwandu oyo tumuyigirako kya kuba nti yali mugabi, so si kya kuba nti yaweebwanga obuyambi. Ateekwa okuba nga yafunanga essanyu lya maanyi mu kugaba kubanga Yesu yagamba nti, “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Kati olwo naawe oyinza otya okufuna essanyu eriva mu ‘kugaba’?—Luk. 6:38.
‘Kiki Kye Ndisasula Yakuwa?’
Omuwandiisi wa Zabbuli yeebuuza nti: “Kiki kye ndisasula Mukama olw’ebirungi bye byonna eri nze?” (Zab. 116:12) Birungi ki bye yali afunye? Yakuwa yali amuyambye mu biseera ‘eby’ennaku n’okutegana,’ era yali ‘awonyezza emmeeme ye okufa.’ Bw’atyo yali ayagala abeeko ky’akola ‘okusasula’ Yakuwa. Kiki omuwandiisi wa Zabbuli oyo kye yali ayinza okukola? Yagamba nti: “Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama.” (Zab. 116:3, 4, 8, 10-14) Yee, yamalirira okutuukiriza ebintu byonna bye yali yeeyama mu maaso ga Yakuwa.
Naawe osobola okukola kye kimu. Otya? Ng’ofuba okutambulira ku mateeka ga Katonda n’emisingi gye. N’olwekyo, fuba okulaba nti okusinza Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwo, era nti okkiriza omwoyo gwa Katonda okukukulembera mu byonna by’okola. (Mub. 12:13; Bag. 5:16-18) Kyo kituufu nti tewali ngeri gy’oyinza kusasula Yakuwa mu bujjuvu olw’ebirungi byonna by’akukoledde. Naye okumuweereza n’omutima gwo gwonna ‘kisanyusa omutima gwe.’ (Nge. 27:11) Ng’eba nkizo ya maanyi okusanyusa Yakuwa mu ngeri eno!
Olina by’Osobola Okukolera Ekibiina
Tewali kubuusabuusa nti ekibiina Ekikristaayo kikuganyudde mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, ekibiina Yakuwa mw’ayitira okugaba emmere ey’eby’omwoyo ekuyambye okuyiga amazima, n’osobola okuva mu ddiini ez’obulimba. (Yok. 8:32) Okuyitira mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene ezitegekebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” oyize amazima agajja okukuyamba okufuna obulamu obutaggwawo mu lusuku lwa Katonda, omutajja kuba kulumwa wadde okubonaabona. (Mat. 24:45-47) Tolina ngeri gy’oyinza kubalamu mikisa gyonna gy’ofunye, awamu ne gy’onoofuna, okuyitira mu kibiina kya Katonda? Naye kiki ky’oyinza okukolera ekibiina olw’ebirungi by’okifunyeemu?
Omutume Pawulo yawandiika nti: “Omubiri gwonna gugattibwa wamu era gukolera wamu okuyitira mu buli nnyingo ekola ebintu ebyetaagisa, okusinziira ku ngeri entuufu buli kitundu gye kikolamu, omubiri ne gusobola okukula n’okuzimbibwa mu kwagala.” (Bef. 4:15, 16) Wadde ng’ekyawandiikibwa ekyo okusinga kikwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, kikwata ne ku Bakristaayo bonna okutwalira awamu. Yee, buli omu alina ky’asobola okukola ku lw’obulungi bw’ekibiina n’okukulaakulana kwakyo. Mu ngeri ki?
Tulina okufuba bulijjo okuzzaamu abalala amaanyi n’okubazimba mu by’omwoyo. (Bar. 14:19) Tuyinza n’okuyamba ‘omubiri okukula’ nga tufuba okwoleka ebibala by’omwoyo gwa Katonda mu nkolagana yaffe ne bakkiriza bannaffe. (Bag. 5:22, 23) Ate era tusaanidde okukozesa buli kakisa ‘okukolera bonna ebirungi, naddala abo be tuli nabo mu kukkiriza.’ (Bag. 6:10; Beb. 13:16) Ffenna abali mu kibiina, ka tube bato oba bakulu, tulina kye tusobola okukola ‘okuzimba omubiri mu kwagala.’
Ng’oggyeko ebyo, tusobola okukozesa ebitone byaffe, amaanyi gaffe, n’eby’obugagga bye tulina okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa ekibiina. Yesu Kristo yagamba nti: “Mwaweebwa buwa.” Kino kyandituleetedde kukola ki? Yatugamba nti: “Nammwe muwenga buwa.” (Mat. 10:8) N’olwekyo, kola buli ky’osobola okulangirira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Kyandiba nti obusobozi bwo butono? Jjukira nti nnamwandu omwavu Yesu gwe yayogerako yawaayo kitono ddala. Kyokka Yesu yagamba nti yakola kinene nnyo okusinga abalala bonna kubanga yawaayo ekisingayo obunene okusinziira ku mbeera ye.—2 Kol. 8:1-5, 12.
Kkiriza Obuyambi mu Mutima Omulungi
Ebiseera ebimu oyinza okwetaaga okufuna obuyambi okuva mu kibiina. Tolonzalonza kukkiriza buyambi bwonna obukuweebwa ekibiina ng’onyigirizibwa embeera y’ensi eno. Yakuwa ataddewo abasajja abalina ebisaanyizo ‘okulunda ekibiina’—okukuyamba ng’olina ebizibu. (Bik. 20:28) Abakadde n’ab’oluganda abalala baagala okukubudaabuda n’okukuyamba mu biseera ebizibu.—Bag. 6:2; 1 Bas. 5:14.
Naye bw’oweebwa obuyambi, bukkirize mu mutima omulungi. Bulijjo laga okusiima olw’obuyambi bwonna obukuweebwa, era jjukira nti obuyambi ng’obwo bakkiriza banno bwe bakuwa buba bwoleka ekisa kya Katonda eky’ensusso. (1 Peet. 4:10) Lwaki kikulu ekyo okukijjukira? Kubanga tetwagala kufaanana ng’abantu abangi mu nsi abatalaga kusiima.
Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu
Mu bbaluwa gye yawandiikira ekibiina ky’e Firipi, Pawulo yayogera bw’ati ku Timoseewo: “Sirina mulala alina ndowooza ng’eyiye ajja okubafaako mu bwesimbu.” Yagattako nti: “Abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe so si bya Kristo Yesu.” (Baf. 2:20, 21) Tuyinza tutya okwewala okwenoonyeza ‘ebyaffe ku bwaffe,’ ng’abo Pawulo be yayogerako bwe baali bakola?
Bwe tuba n’ebizibu nga twagala ab’oluganda batuyambe, tetusaanidde kulowooza nti baliwo kuyamba ffe ffekka. Lwaki tetusaanidde kukikola? Lowooza ku kino: Kituwa essanyu ng’ow’oluganda alina ekintu kyonna ky’atuwadde okutuyamba nga tuli mu kizibu. Naye kiba kituufu bwe tumukanda obukanzi okukituwa? Nedda. Mu ngeri y’emu, wadde nga ab’oluganda beetegefu okutuyamba, tulina okubabalirira nga tubasaba okukozesa ebiseera byabwe okutuyamba. Twandyagadde buli kimu baganda baffe kye bakola okutuyamba bakikole kyeyagalire.
Awatali kubuusabuusa, Bakristaayo bannaffe beetegefu bulijjo okutuyamba. Naye oluusi bayinza okuba nga tebasobola kutukolera buli kimu kye twetaaga. Bwe kiba kityo, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba ng’oyolekaganye n’ebizibu, nga bwe yayamba omuwandiisi wa Zabbuli.—Zab. 116:1, 2; Baf. 4:10-13.
N’olwekyo, kkiriza n’essanyu obuyambi bwonna Yakuwa bw’akuwa, naddala ng’oyolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi. (Zab. 55:22) Asanyuka nnyo bw’okola bw’otyo. Naye era Yakuwa akusuubira ‘okugaba n’essanyu.’ Bwe kityo, ba ‘mumalirivu mu mutima gwo’ okuwagira okusinza okw’amazima ng’owaayo ekyo ekigya mu mbeera yo. (2 Kol. 9:6, 7) Bw’okola bw’otyo, oba olaga nti osiima obuyambi obukuweebwa era nti ogaba n’omutima gwo gwonna.
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
“Kiki kye ndisasula Mukama olw’ebirungi bye byonna eri nze?”—Zab. 116:12
▪ Kozesa buli kakisa ‘okukolera bonna ebirungi’
▪ Zzaamu abalala amaanyi era bazimbe mu by’omwoyo
▪ Kola buli ky’osobola mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa