‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’
“Mwekuumire mu kwagala kwa Katonda, nga bwe mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo okubaggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.”—YUD. 21.
1, 2. Yakuwa atulaze atya okwagala, era tumanya tutya nti tulina okubaako kye tukola okusobola okusigala mu kwagala kwe?
YAKUWA KATONDA atulaze okwagala mu ngeri nnyingi. Naye ekintu ekisingirayo ddala okulaga nti Yakuwa atwagala kwe kuba nti yatuma Omwana we omwagalwa ku nsi atufiirire. (Yok. 3:16) Kino Yakuwa yakikola olw’okuba ayagala tufune obulamu obutaggwawo era tuganyulwe mu kwagala kwe emirembe gyonna!
2 Naye kino kitegeeza nti Yakuwa ajja kutukuumira mu kwagala kwe, ka tube nga tweyisa nga bwe twagala? N’akatono. Yuda olunyiriri 21 lugamba nti: “Mwekuumire mu kwagala kwa Katonda, nga bwe mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo okubaggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.” Ebigambo “mwekuumire mu kwagala kwa Katonda” biraga nti tulina okubaako kye tukolawo. Kati olwo tulina kukola ki okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda?
Tuyinza Tutya Okusigala mu Kwagala kwa Katonda?
3. Yesu yagamba nti yalina kukola ki okusobola okusigala mu kwagala kwa Kitaawe?
3 Eky’okuddamu tukisanga mu bigambo Yesu bye yayogera mu kiro ekyasembayo eky’obulamu bwe ku nsi. Yagamba nti: “Bwe mukwata ebiragiro byange, mujja kusigala mu kwagala kwange, era nga nze bwe nkutte ebiragiro bya Kitange ne nsigala mu kwagala kwe.” (Yok. 15:10) Kyeyoleka bulungi nti Yesu yali akimanyi nti okusobola okusigala ng’alina enkolagana ennungi ne Kitaawe yalina okukwata ebiragiro bye. Oba ng’Omwana wa Katonda atuukiridde yalina okukwata ebiragiro bya Kitaawe, kati ate olwo ffe?
4, 5. (a) Engeri esingayo obulungi mwe tusobola okulagira nti twagala Yakuwa y’eruwa? (b) Lwaki tetusaanidde kulowooza nti ebiragiro bya Yakuwa bikalubo?
4 Engeri esingayo obulungi mwe tusobola okulagira nti twagala Yakuwa kwe kumugondera. Kino omutume Yokaana yakyogerako bw’ati: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yok. 5:3) Kyo kituufu nti abantu bangi leero tebaagala kubaako gwe bagondera. Naye weetegereze ebigambo: “Ebiragiro bye tebizitowa.” Yakuwa tayinza kutugamba kukola kintu kye tutasobola.
5 Lowooza ku kino: Ggwe oyinza okugamba mukwano gwo nfiira bulago asitule ekintu ky’omanyi nti takisobola? Nedda! Yakuwa wa kisa nnyo okutusinga era amanyi bulungi obusobozi bwaffe we bukoma. Baibuli egamba nti Yakuwa “ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” (Zab. 103:14) Tayinza kutugamba kukola kintu kye tutasobola. N’olwekyo, mu kifo ky’okulowooza nti ebiragiro bya Yakuwa bikalubo, twandifubye okugondera Kitaffe oyo ow’omu ggulu, tukirage nti tumwagala era nti twagala okusigala mu kwagala kwe.
Ekirabo eky’Omuwendo Okuva eri Yakuwa
6, 7. (a) Omuntu ow’omunda kye ki? (b) Waayo ekyokulabirako ku ngeri omuntu waffe ow’omunda gy’ayinza okutuyamba okusigala mu kwagala kwa Katonda.
6 Mu nsi eno enzibu mwe tuli, tulina ebintu bingi bye tusalawo ne biraga obanga ddala tuli bawulize eri Katonda. Tuyinza tutya okumanya obanga bye tusalawo bituukagana ne Katonda by’ayagala? Yakuwa yatuwa ekirabo ekisobola okutuyamba okusalawo obulungi. Ekirabo ekyo ye muntu waffe ow’omunda. Omuntu ow’omunda kye ki? Bwe busobozi obw’enjawulo bwe tulina okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Omuntu ow’omunda akola ng’omulamuzi, n’atuyamba okwekenneenya bye twagala okusalawo oba okulaba obanga bye tukoze birungi oba bibi, bituufu oba bikyamu.—Soma Abaruumi 2:14, 15.
7 Tuyinza tutya okukozesa obulungi omuntu waffe ow’omunda? Lowooza ku kyokulabirako kino. Oliko gy’ogenda naye nga tomanyiiyo. Ofuna omuntu amanyi obulungi ekkubo erituukayo n’akulagirira. Bw’otokola otyo, oba ojja kubula. Mu ngeri y’emu, bwe tutagoberera bulagirizi bwa muntu waffe ow’omunda, tujja kulemererwa okusalawo obulungi bwe kituuka ku mitindo gy’obutuukirivu ne ku nneeyisa yaffe.
8, 9. (a) Lwaki tusaanidde okwegendereza nga tugoberera omuntu waffe ow’omunda? (b) Tuyinza tutya okukakasa nti omuntu waffe ow’omunda atuyamba okusalawo obulungi?
8 Kyokka oluusi omuntu waffe ow’omunda ayinza okutuwabya. Mu ngeri ki? Lowooza ku kyokulabirako kye tulabye waggulu. Omuntu akulagirira singa awubwa, osobola okubula. Mu ngeri y’emu, okugoberera okwegomba kw’omutima gwaffe kijja kukyamya omuntu waffe ow’omunda. Baibuli etulabula nti “omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka.” (Yer. 17:9; Nge. 4:23) Ate era bw’oba tewawulirizza bulungi nga bakulagirira, obulagirizi obwakuweereddwa tebujja kukuyamba. Mu ngeri y’emu, singa tetussaayo mwoyo ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, Baibuli, omuntu waffe ow’omunda ayinza obutatuyamba. (Zab. 119:105) Eky’ennaku, abantu bangi basinga kugoberera kwegomba kwa mitima gyabwe mu kifo ky’okugoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. (Soma Abeefeso 4:17-19.) Eno ye nsonga lwaki abantu bangi bakola ebintu ebibi ennyo so ng’ate balina omuntu ow’omunda.—1 Tim. 4:2.
9 Tetwandyagadde kuba nga bantu bo! Mu kifo ky’ekyo, ka twongere okukozesa Ekigambo kya Katonda okutendeka omuntu waffe ow’omunda asobole okuba ow’omugaso gye tuli. Tulina okukolera ku ekyo omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa Baibuli ky’aba atugamba mu kifo ky’okugoberera obugoberezi okwegomba kw’omutima gwaffe. Kyokka tusaanidde okussa ekitiibwa mu ebyo Bakristaayo bannaffe bye baba basazeewo nga basinziira ku muntu waabwe ow’omunda. Tusaanidde okufuba okulaba nti tetubeesittaza, nga tujjukira nti omuntu waabwe ow’omunda ayinza obutabakkiriza kukola ffe kye tuba tukoze.—1 Kol. 8:12; 2 Kol. 4:2; 1 Peet. 3:16.
10. Tugenda kwetegereza ngeri ki essatu mwe tulagira nti twagala Yakuwa?
10 Kati ka twetegereze engeri ssatu mwe tuyinza okulagira nti twagala Yakuwa nga tumugondera. Kya lwatu nti mu buli emu ku ngeri zino, tulina okukozesa omuntu waffe ow’omunda, naye ng’okusobola okutuyamba, alina okuba ng’atendekeddwa bulungi okusinziira ku mitindo gya Baibuli egy’empisa. Tusobola okukiraga nti twagala Yakuwa nga: (1) Twagala abo Yakuwa b’ayagala, (2) Tussa ekitiibwa mu abo abatukulembera, era (3) Tufuba okusigala nga tuli bayonjo mu maaso ga Katonda.
Okwagala Abo Yakuwa b’Ayagala
11. Lwaki tusaanidde kwagala abo Yakuwa b’ayagala?
11 Okusookera ddala, tulina okwagala abo Yakuwa b’ayagala. Bwe kituuka ku mikwano, abantu bafaananako ppamba anywa buli kintu ky’aba annyikiddwamu. Tutera okutwalirizibwa engeri z’abantu be tubeeramu. Omutonzi waffe akimanyi bulungi nti emikwano gisobola okuba egy’akabi oba egy’omuganyulo gye tuli. N’olwekyo, atuwa amagezi gano amalungi: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi: naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” (Nge. 13:20; 1 Kol. 15:33) Tewali n’omu ku ffe ayagala ‘kubalagalwa,’ ffenna twagala ‘kubeera ba magezi.’ Tewali asobola kwongera ku Yakuwa magezi oba okumwonoona. Wadde kiri kityo, atuteereddewo ekyokulabirako ekirungi ennyo ku ngeri y’okulondamu emikwano. Kirowoozeeko—mu bantu abatatuukiridde, baani Yakuwa b’alondawo okubeera mikwano gye?
12. Bantu ba ngeri ki Yakuwa baalonda okuba mikwano gye?
12 Yakuwa yayita Ibulayimu “mukwano gwange.” (Is. 41:8) Omusajja oyo yali mwesigwa, mutuukirivu, era nga muwulize—yalina okukkiriza okw’amaanyi. (Yak. 2:21-23) Abantu ng’abo Yakuwa b’afuula mikwano gye. Kati bwe kiba nti abalinga abo Yakuwa b’alondawo okuba mikwano gye, tekiba kya magezi ffe abantu abatatuukiridde okulonda obulungi emikwano, era ne tutambula n’abantu ab’amagezi naffe tusobole okubeera ab’amagezi?
13. Kiki ekinaatuyamba okufuna emikwano emirungi?
13 Kiki ekinaakuyamba okufuna emikwano emirungi? Kiyinza okuba eky’omuganyulo okusoma ku byokulabirako ebiri mu Baibuli. Lowooza ku mukwano Luusi gwe yalina ne nnyazaala we Nawomi, Dawudi gwe yalina ne Yonasaani, n’ogwo Timoseewo gwe yalina ne Pawulo. (Luus. 1:16, 17; 1 Sam. 23:16-18; Baf. 2:19-22) Ensonga enkulu eyaleetera abantu abo bonna okwagalana ennyo bwe batyo eri nti buli omu ku bo yali ayagala nnyo Yakuwa. Osobola okufuna emikwano egyagala Yakuwa nga naawe bw’omwagala? Ba mukakafu nti mu kibiina Ekikristaayo mulimu abantu ng’abo b’osobola okufuula mikwano gyo. Emikwano ng’egyo tegijja kukuleetera kukola kintu kyonna kiyinza kwonoona nkolagana yo ne Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, gijja kukuyamba okugondera Yakuwa n’okukula mu by’omwoyo. (Soma Abaggalatiya 6:7, 8.) Emikwano ng’egyo gijja kukuyamba okusigala mu kwagala kwa Katonda.
Okussa Ekitiibwa mu Abo Abatukulembera
14. Lwaki oluusi kitubeerera kizibu okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera?
14 Engeri ey’okubiri gye tuyinza okukyolekamu nti twagala Yakuwa kwe kussa ekitiibwa mu abo abatukulembera. Naye lwaki oluusi kino kitubeerera kizibu? Ensonga emu eri nti abo abatukulembera tebatuukiridde. Ate era, naffe ffennyini tetutuukiridde. Tulwanagana n’omwoyo gw’obujeemu gwe twazaalibwa nagwo.
15, 16. (a) Lwaki kikulu okussa ekitiibwa mu abo Yakuwa b’akwasizza obuvunaanyizibwa okulabirira abantu be? (b) Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yatwalamu eky’Abaisiraeri okujeemera Musa?
15 Kati oyinza okwebuuza, ‘Bwe kiba nga kitubeerera kizibu okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera, lwaki ate tulina okukikola?’ Tulina okukikola kubanga kizingiramu obufuzi bwa Katonda. Ggwe ani gw’oyagala abe omufuzi wo? Bwe tuba twagala Yakuwa okuba Omufuzi waffe, tuba tulina okussa ekitiibwa mu bukulembeze bwe. Ekyo bwe tulemererwa okukikola, tetusobola kugamba nti Yakuwa ye Mufuzi waffe. Okugatta ku ekyo, Yakuwa atukulembera ng’ayitira mu bantu abatatuukiridde b’akwasizza obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abantu be. Kati singa tujeemera abantu abo, ekyo Yakuwa akitwala atya?—Soma 1 Abassessaloniika 5:12, 13.
16 Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe beemulugunya era ne bajeemera Musa, Yakuwa yakitwala nti ye kennyini gwe baali bajeemedde. (Kubal. 14:26, 27) Katonda takyukanga. Bwe tujeemera abo b’atadde mu bifo eby’obuvunaanyizibwa, tuba tujeemedde ye kennyini!
17. Tusaanidde kutunuulira tutya abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina?
17 Omutume Pawulo atulaga engeri gye tusaanidde okutunuuliramu abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo. Yagamba nti: “Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga, kubanga batunula olw’obulamu bwammwe ng’abo abaliwoza; kino balyoke bakikole n’essanyu so si na kusinda, kubanga ekyo kiba kya kabi gye muli.” (Beb. 13:17) Kyo kituufu nti tuba tulina okufuba ennyo okusobola okulaga obuwulize. Naye tulina okukijjukira nti twagala kusigala mu kwagala kwa Katonda. Ekyo kiba kitwetaagisa okufuba ennyo.
Okusigala nga Tuli Bayonjo mu Maaso ga Yakuwa
18. Lwaki Yakuwa ayagala tusigale nga tuli bayonjo?
18 Engeri ey’okusatu mwe tusobola okukyolekera nti twagala Yakuwa kwe kufuba okusigala nga tuli bayonjo mu maaso ge. Abazadde bafuba nnyo okulaba nti abaana baabwe baba bayonjo. Lwaki? Kubanga omwana bw’aba omuyonjo kimusobozesa okwewala endwadde era bw’atyo abeera n’obulamu obulungi. Okugatta ku ekyo, omwana omuyonjo aweesa ekitiibwa ab’omu maka mw’abeera, era endabika ye ennungi eraga nti bazadde be bamwagala era bamufaako. Bw’atyo ne Yakuwa ayagala tubeere bayonjo. Akimanyi bulungi nti bwe tubeera abayonjo, kitusobozesa okuba n’obulamu obulungi. Era akimanyi nti obuyonjo bwaffe bumuweesa ekitiibwa nga Kitaffe ow’omu ggulu. Kino kikulu nnyo okuva bwe kiri nti abantu basobola okusikirizibwa okuweereza Katonda bwe batulaba nga tuli ba njawulo ku bantu b’ensi eno ennyonoonefu.
19. Tumanya tutya nti kikulu nnyo okuba abayonjo mu mubiri?
19 Mbeera ki mwe twetaagira okuba abayonjo? Mu mbeera zaffe zonna ez’obulamu. Mu Isiraeri ey’edda, Yakuwa yalaga abantu be nti kikulu okuba abayonjo mu mubiri. (Leev. 15:31) Mu Mateeka ga Musa mwalimu agoogera ku bintu gamba ng’okuziika kazambi, okwoza ebintu, okunaaba mu ngalo, okunaaba ebigere, awamu n’okwoza engoye. (Kuv. 30:17-21; Leev. 11:32; Kubal. 19:17-20; Ma. 23:13, 14) Abaisiraeri bajjukizibwanga nti Katonda waabwe, Yakuwa, mutukuvu, kwe kugamba “muyonjo” era “mulongoofu.” Abaweereza ba Katonda omutukuvu nabo kibagwanira okuba abatukuvu.—Soma Eby’Abaleevi 11:44, 45.
20. Mbeera ki mwe twetaagira okusigala nga tuli bayonjo?
20 N’olwekyo, tulina okuba abayonjo kungulu ne munda. Tufube okukuuma ebirowoozo byaffe nga biyonjo. Tunywerere ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa wadde nga tuli mu nsi ejjudde eby’obugwenyufu. N’ekisingira ddala obukulu, tufube okukuuma okusinza kwaffe nga kuyonjo nga twewala ekintu kyonna ekirina akakwate n’eddiini ez’obulimba. Tulina okukolera ku kulabula okuli mu Isaaya 52:11 awagamba nti: “Mugende, mugende, muve omwo, [temukwatanga] ku kintu kyonna ekitali kirongoofu; muve wakati mu ye: mubeerenga balongoofu.” Leero, tusigala nga tuli bayonjo mu by’omwoyo nga twewala okukola ekintu kyonna Kitaffe ow’omu ggulu ky’atwala okuba nga si kirongoofu. Eyo ye nsonga lwaki twewala okukuza ennaku enkulu ezisibuka mu ddiini ez’obulimba. Kyo kituufu nti si kyangu okusigala nga tuli bayonjo. Naye abantu ba Yakuwa bafuba okukikola kubanga kibayamba okusigala mu kwagala kwa Katonda.
21. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti tujja kusigala mu kwagala kwa Katonda?
21 Yakuwa ayagala tusigale mu kwagala kwe emirembe yonna. Kyokka naffe ffenna ng’abantu kinnoomu tulina okufuba okulaba nti tusigala mu kwagala kwa Katonda. Kino tusobola okukikola nga tugoberera ekyokulabirako kya Yesu era nga tukiraga nti twagala Yakuwa nga tugondera ebiragiro Bye. Bwe tunaakola tutyo tujja kuba bakakafu nti tewali kintu na kimu “kijja kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.”—Bar. 8:38, 39.
Ojjukira?
• Omuntu waffe ow’omunda ayinza atya okutuyamba okusigala mu kwagala kwa Katonda?
• Lwaki tusaanidde okwagala abo Yakuwa b’ayagala?
• Lwaki kikulu okussa ekitiibwa mu abo abatukulembera?
• Lwaki obuyonjo kintu kikulu eri abantu ba Katonda?
[Akasanduuko/Ekifaananyi akali ku lupapula 20]
KATABO AKATUYIGIRIZA EMPISA ENNUNGI
Mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2008/2009, akatabo ak’empapula 224 akalina omutwe ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’ kaafulumizibwa. Lwaki akatabo kano kaakubibwa? Kaakubibwa okuyamba Abakristaayo okumanya emitindo gya Yakuwa n’okugyagala, ng’essira okusinga kalissa ku mpisa ez’Ekikristaayo. Okwekenneenya akatabo ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’ kijja kutuyamba okwongera okukiraba nti okutambulira ku mitindo gya Yakuwa kitusobozesa okuba n’obulamu obusingayo obulungi leero n’okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.
Ate era, akatabo kano kaategekebwa okutuyamba okukitegeera nti okugondera Yakuwa si mugugu, wabula ye ngeri gye tulagamu nti tumwagala. Bwe kityo, akatabo kano kajja kutuleetera okwebuuza, ‘Lwaki nsaanidde okugondera Yakuwa?’
Abantu bangi bava mu kwagala kwa Yakuwa lwa mpisa mbi, so si lwa kuba nti waliwo enjigiriza gye batakkiriziganya nayo. N’olwekyo, kikulu nnyo ffe okweyongera okutegeera n’okwagala amateeka ga Yakuwa awamu n’emisingi gye. Tuli bakakafu nti akatabo kano akapya kajja kuyamba nnyo endiga za Yakuwa mu nsi yonna okunywerera ku kituufu, okulaga nti Sitaani mulimba, n’ekisinga byonna, okwekuumira mu kwagala kwa Katonda!—Yud. 21.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
“Bwe mukwata ebiragiro byange, mujja kusigala mu kwagala kwange, era nga nze bwe nkutte ebiragiro bya Kitange ne nsigala mu kwagala kwe”