Okuzuula eby’Obugagga Ebyakwekebwa
WALI osanze eby’obugagga awantu we wali tobisuubira? Kino kye nnyini kye kyaliwo ku nga Maaki 27, 2005, Ivo Laud, Omujulirwa wa Yakuwa abeera mu Estonia, bwe yali ayamba ku Mujulirwa munne nnamukadde ayitibwa Alma Vardja okumenyawo ekiyumba ekikadde omwali muterekebwa ebintu. Bwe baali bamenya ekisenge, baatuuka ku mpagi eyali yakomererwako olubaawo ku luuyi olumu. Bwe baggyawo olubaawo olwo, munda mu mpagi mwalimu olukonko oluweza inci nga 50 obuwanvu, 4 obugazi ne 4 okuyingira munda, nga lubikkiddwako bulungi akabaawo. (1) Mwalimu eby’obugagga ebyakwekebwa! Bya bugagga ki ebyo? Ani yabikwekamu?
Mu lukonko olwo mwalimu ebipakiti nga bisabikiddwa mu bipapula ebigumu ddala. (2) Mu bipakiti ebyo mwalimu ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa, ng’ebisinga byali bitundu eby’okusoma ebyafulumiranga mu magazini ya Watchtower, ng’ebimu byaggibwa mu ezo ezaafuluma mu 1947. (3) Byali byawandiikibwa na mukono mu lulimi Olusitoniya. Ebiwandiiko ebyali mu bipakiti ebimu byali biraga eyakweka ebintu ebyo. Byalimu ebibuuzo ab’obuyinza bye baabuuzanga Villem Vardja eyali bba wa Alma, ne bye yabaddangamu. Ebirala byali byogera ku byamutuukako ng’ali mu kkomera. Kiki ekyamuviirako okusibibwa?
Villem Vardja yali omu ku b’oluganda abaalina obuvunaanyizibwa mu kibiina ky’e Tartu, n’oluvannyuma mu ky’e Otepää mu Estonia, erimu ku mawanga agaali gafugibwa Russia. Kirabika amazima yagayiga nga Ssematalo II tannatandika. Waayita emyaka mitono, gavumenti y’Abakomunisiti n’ekwata Ow’oluganda Vardja nga Ddesemba 24, 1948 olw’obuweereza bwe. Poliisi yamubuuza akana n’akataano era yamutulugunya nnyo ng’eyagala ayogere amannya ga Bajulirwa banne. Yasalirwa ekibonerezo kya kuggalirwa mu nkambi z’abasibe ez’omu Russia okumala emyaka kkumi, nga taweereddwa mukisa kwewozaako mu kkooti.
Villem Vardja yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuusa lwe yafa nga Maaki 6, mu 1990. Mukyala we yali tamanyi kintu kyonna ku bitabo ebyo. Kirabika Villem yali tayagala mukyala we afune buzibu bwonna nga poliisi emukutte n’ebaako by’emubuuza. Lwaki yakweka ebitabo ebyo? Yabikweka kubanga ab’ekitongole ekikessi ekyayitibwanga KGB baateranga okuzinda amaka g’Abajulirwa ba Yakuwa ne bawamba ebitabo byabwe. Kirabika Ow’oluganda Vardja yakweka ebitabo ebyo akakase nti basinza banne bafuna emmere y’eby’omwoyo, ab’ekitongole ekikessi ne bwe bandiwambye ebitabo byabwe byonna. Emabegako mu 1990, waliwo ebitabo ebirala ebyali byazuulibwa. Ebimu ku byo byasangibwa mu Tartu, mu bukiika ddyo bwa Estonia, nga nabyo byali byakwekebwa Villem Vardja.
Lwaki ebitabo ebyo tubiyita eby’obugagga? Kubanga kyali kyetaagisa okufuba ennyo okubiwandiika n’okubikweka, nga kino kiraga nti Abajulirwa ba Yakuwa baali batwala emmere ey’eby’omwoyo eyabaweebwanga mu kiseera ekyo nga ya muwendo nnyo. (Mat. 24:45) Naawe emmere ey’eby’omwoyo gy’ofuna mu kitundu kyo ogitwala nga ya muwendo? Mu mmere eyo ey’eby’omwoyo mwe muli Watchtower efulumira mu Lusitoniya ne mu nnimi endala ezisukka 170.