Weewale Ebintu Ebikuwugula mu ‘Lunaku olw’Amawulire Amalungi’
ABAGENGE abana baanoonya eky’okukola nga tebakiraba. Tewali muntu yali abawadde buyambi bwonna nga batudde ku mulyango gw’ekibuga. Enjala yali ya maanyi mu kibuga Samaliya olw’okuba Abasuuli baali bakizingizza. Okuyingira mu kibuga kyali tekibayamba; ebbeeyi y’emmere yali waggulu nnyo. Waliwo n’omukazi eyali afumbye omwana gwe yeezaalira n’amulya.—2 Bassek. 6:24-29.
Abagenge bano baatandika okwebuuza, ‘Lwaki tetugenda mu lusiisira lw’Abasuuli? Ndaba ne wano tetulina kye tugenda kufunawo.’ Obudde bwe bwaziba ne batambula. Baagenda okutuuka mu lusiisira nga teri kanyego. Tewaali mukuumi yenna. Embalaasi n’endogoyi zonna zaali awo nga nsibe, era nga tewaali musirikale n’omu. Baatunulako mu weema emu nga temuli muntu naye nga mulimu emmere nnyingi. Baalya era ne banywa ne bakkuta. Abagenge abo baasangamu ne zaabu, ffeeza, ebyambalo, era n’ebintu ebirala eby’omuwendo bingi. Baabitwala ne babikweka, era ne badda okukima ebirala. Abasuuli olusiisira baali baludduseemu. Yakuwa yali akoze ekyamagero ne bawulira omusinde gw’eggye ery’amaanyi. Baalowooza nti baali bazindiddwa era buli kimu baaleka awo ne badduka!
Kyokka abagenge abo baali bakyali mu kusomba eby’omuwendo n’okubikweka, ne bajjukira abantu b’omu Samaliya abaali bafa enjala. Buli omu yagamba munne nti: “Kino kye tukola si kituufu. Olunaku luno lunaku lwa mawulire malungi!” Amangu ago abagenge baddayo mu Samaliya ne balangirira amawulire amalungi ag’ebyo bye baali balabye.—2 Bassek. 7:1-11, NW.
Naffe tuli mu kiseera ekiyinza okuyitibwa ‘olunaku olw’amawulire amalungi.’ Ng’alaga ekintu ekikulu ekyandibadde mu “kabonero . . . [k’]amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,” Yesu yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Mat. 24:3, 14) Kino kyandituleetedde kukola ki?
Okweraliikirira Kuyinza Okutuleetera Okuddirira
Abagenge baasanyuka nnyo olw’ebyo bye baasanga mu lusiisira, era mu kusooka beerabira ebyali mu Samaliya ne beemalira ku kufuna eby’omuwendo. Ekintu ng’ekyo naffe kiyinza okututuukako? “Enjala” kye kimu ku biri mu kabonero akalaga ekiseera ky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu. (Luk. 21:7, 11) Yesu yalabula abayigirizibwa be nti: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya, ku kunywa, n’okweraliikirira eby’obulamu.” (Luk. 21:34) Ng’Abakristaayo, tulina okufuba okulaba nti okweraliikirira olw’ebintu bye twetaaga mu bulamu tekutuleetera kwerabira nti tuli mu “lunaku lwa mawulire malungi.”
Omukristaayo ayitibwa Blessing teyakkiriza bintu by’ayagala mu bulamu kumuleetera kuddirira mu buweereza bwe. Yaweereza nga payoniya, era bwe yamala emisomo gye n’afumbirwa ow’oluganda aweereza ku Beseri mu Benin. Agamba nti: “Nkola gwa kuyonja, era kino kimpa essanyu lingi.” Blessing awulira nga nkizo ya maanyi okuba nti amaze emyaka 12 ng’ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, kubanga ekyo kimuyambye okukuumira ebirowoozo bye ku ‘lunaku lw’amawulire amalungi’ lwe tulimu kati.
Weewale Ebintu Ebikumalira Obudde
Yesu bwe yali atuma abayigirizwa be 70 yabagamba nti: “Eby’okukungula bingi naye abakozi batono. Kale musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu makungula ge.” (Luk. 10:2) Ekintu bwe kyengera ne kitakungulwa mangu kiyinza okwonooneka. Mu ngeri y’emu, omulimu gw’okubuulira bwe gugayaalirirwa, abantu bayinza okufiirwa obulamu bwabwe. Bw’atyo Yesu yagattako nti: “Temulwawo mu kkubo nga mulamusa omuntu yenna.” (Luk. 10:4) Ekigambo ekyavvuunulwa ‘okulamusa’ tekitegeeza kugamba bugambi muntu nti “oli otya” oba nti “siiba bulungi.” Kiyinza okutegeeza okugwaŋŋana mu bifuba n’okunyumya olutaggwa, nga bwe kitera okuba ng’ab’omukwano basisinkanye. Yesu kye yava akubiriza abagoberezi be okwewala ebintu ebiyinza okubalwisa, basobole okukozesa obulungi ebiseera byabwe. Obubaka obwabakwasibwa bwalina okutuusibwa ku bantu mu bwangu.
Lowooza ku biseera abantu bye bamala ku bintu ebitali bikulu. Okumala ebbanga ddene, okulaba ttivi kye kintu ekibadde kisinga okumalira ennyo abantu ebiseera. Naye kiri kitya bwe kituuka ku ssimu ez’omu ngalo ne kompyuta. Okunoonyereza okwakolebwa ku bantu 1,000 mu Bungereza kulaga nti “Omuntu w’omu Bungereza okutwalira awamu amala buli lunaku eddakiika 88 ku ssimu ey’omu nnyumba, eddakiika 62 ku ssimu ey’omu ngalo, eddakiika 53 mu kuwandiika amabaluwa ku kompyuta, n’eddakiika endala 22 ng’asindika obubaka ku ssimu.” Eddakiika ezo bw’ozigatta zikubisaamu essaawa payoniya omuwagizi z’alina okubuulira buli lunaku emirundi ebiri n’omusobyo! Ggwe omala ebiseera byenkana wa ku bintu ng’ebyo?
Ernst Seliger ne mukyala we Hildegard baafuba okukozesa obulungi ebiseera byabwe. Bombi awamu baamala emyaka egisukka 40 mu nkambi z’Abanazi ne mu makomera g’Abakomunisiti. Bwe baateebwa, baaweereza nga bapayoniya okutuusa lwe baakomekkereza obulamu bwabwe ku nsi.
Olw’okuba waaliwo abantu bangi nnyo abaali baagala okumanya ebyatuuka ku Ernst ne Hildegard, ebiseera byabwe ebisinga baali basobola okubimala nga bawandiika n’okusoma amabaluwa. Naye baasalawo nti okuweereza Yakuwa kye kyali kisinga obukulu mu bulamu bwabwe.
Kya lwatu nti ffenna twagala okuwuliziganya n’abaagalwa baffe, era ekyo tekiba kibi. Okukozesa ebiseera ebisaanira ku bintu ng’ebyo kivaamu emiganyulo. Kyokka tulina okwewala ebintu ebitumalako ennyo ebiseera mu lunaku luno olw’okubuulira amawulire amalungi.
Buulira Amawulire Amalungi mu Bujjuvu
Nga nkizo ya maanyi okuba abalamu mu ‘lunaku olw’amawulire amalungi.’ Tulina okufuba okulaba nti tetuwugulibwa ng’abagenge abana bwe baali mu kusooka. Jjukira nti nabo baakiraba ne bagamba nti: “Kino kye tukola si kituufu.” Mu ngeri y’emu, naffe tuba tetukola kituufu bwe tudda mu kwekolera ebyaffe, oba bwe tumalira ebiseera ku bintu ebitaliimu, mu kifo ky’okubuulira amawulire amalungi mu bujjuvu.
Ku nsonga eno, tulina ekyokulabirako ekirungi eky’okugoberera. Ng’ayogera ku myaka gy’obuweereza bwe 20 egyasooka, omutume Pawulo yagamba: “Nnabuulira mu bujjuvu amawulire amalungi agakwata ku Kristo.” (Bar. 15:19) Pawulo teyakkiriza kintu kyonna kumuwugula. Naffe ka tulage obunyiikivu ng’obwo nga tulangirira Obwakabaka mu ‘lunaku luno olw’amawulire amalungi.’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Blessing teyakkiriza bintu by’ayagala mu bulamu kumuleetera kuddirira mu buweereza bwe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Seliger ne mukyala we baakozesa bulungi ebiseera byabwe