Ba Muwulize era Muvumu nga Kristo bwe Yali
“Mugume! Nze mpangudde ensi.”—YOK. 16:33.
1. Yesu yalaga obuwulize eri Katonda kutuuka wa?
YESU KRISTO bulijjo yakolanga Katonda by’ayagala. Tafunangako kirowoozo kujeemera Kitaawe ow’omu ggulu wadde omulundi ogumu. (Yok. 4:34; Beb. 7:26) Naye okusinziira ku mbeera mwe yaweerereza ng’ali ku nsi tekyali kyangu kuba muwulize. Okuviira ddala lwe yatandika omulimu gwe ogw’okubuulira, abalabe ba Yesu, omwali ne Sitaani, baagezaako okumusendasenda, okumukaka, oba okumutega emitego bamulemese okuba omwesigwa eri Katonda. (Mat. 4:1-11; Luk. 20:20-25) Abalabe bano baaleetera Yesu okuwulira ennaku empitirivu era baamutuusaako obulumi obw’amaanyi ennyo. Ku nkomerero ya byonna, baamukomerera ku muti ogw’okubonaabona ne bamutta. (Mat. 26:37, 38; Luk. 22:44; Yok. 19:1, 17, 18) Wadde bino byonna bye yayitamu tebyali byangu, era nga kw’otadde n’okubonaabona okw’amaanyi, Yesu yasigala nga ‘muwulize okutuuka okufa.’—Soma Abafiripi 2:8.
2, 3. Kiki kye tuyigira ku Yesu okusigala nga muwulize bwe yali abonyaabonyezebwa?
2 Okubeera ku nsi ng’omuntu kyayamba Yesu okuyiga obuwulize mu ngeri endala nnyingi. (Beb. 5:8) Olw’okuba yali amaze emyaka butabalika ng’abeera ne Yakuwa era nga ye ‘mukozi we omukugu,’ kyangu okulowooza nti tewali kintu kyonna kipya kye yali yeetaaga kuyiga mu kuweereza Yakuwa. (Nge. 8:30, NW) Naye okusigala nga mwesigwa ng’agezesebwa ku nsi kyalaga nti obugolokofu bwe butuukiridde. Bw’atyo Omwana wa Katonda oyo, Yesu, yakula mu by’omwoyo. Biki bye tuyiga mu kyokulabirako kye?
3 Wadde nga yali muntu atuukiridde, Yesu yali akimanyi nti yeetaaga obuyambi okusobola okusigala nga muwulize. Yasabanga Katonda obuyambi asobole okusigala nga muwulize. (Soma Abebbulaniya 5:7.) Naffe okusobola okusigala nga tuli bawulize, twetaaga okuba abeetoowaze, tusabenga Katonda okutuyamba. Eno ye nsonga lwaki omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo nti: ‘Mubeerenga n’endowooza eno Kristo Yesu gye yalina, eyeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa.’ (Baf. 2:5-8) Ekyokulabirako kya Yesu kyalaga nti abantu basobola okuba abawulize ne bwe baba nga beetooloddwa abantu ababi. Ekituufu kiri nti Yesu yali atuukiridde, naye ffe abantu abatatuukiridde ekyo tusobola okukikola?
Tusobola Okuba Abawulize Wadde Tetutuukiridde
4. Kitegeeza ki okuba nti twatondebwa nga tulina eddembe okusalawo kye twagala okukola?
4 Katonda yatonda Adamu ne Kaawa nga bategeera era nga be beesalirawo kye baagala okukola. Olw’okuba tuli bazzukulu baabwe, naffe ffe twesalirawo kye twagala okukola. Kino kitegeeza ki? Kitegeeza nti tuyinza okusalawo okukola ebintu ebirungi oba ebibi. Mu ngeri endala, Katonda yatuwa eddembe okusalawo okumugondera oba okumujeemera. Kyokka eddembe lino era lituleetera obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Mu butuufu, bye tusalawo okukola biyinza okutuviiramu okufuna obulamu oba okubufiirwa, era bikwata ne ku abo be tubeera nabo.
5. Buzibu ki ffenna bwe twolekagana nabwo, era tuyinza tutya okubuvvuunuka?
5 Olw’okuba tetutuukiridde, kituzibuwalira okuba bawulize era okugondera mateeka ga Katonda buli kiseera si kyangu. Kino Pawulo yali akimanyi bulungi era yawandiika nti: “Mu mubiri gwange ndaba etteeka eddala erirwanyisa etteeka ery’omu birowoozo byange, era linfuula omuddu w’etteeka ly’ekibi eriri mu mubiri gwange.” (Bar. 7:23) Kya lwatu nti twanguyirwa okuba abawulize nga kye tulina okukola tekizingiramu kwefiiriza, kulumwa, oba kukaluubirizibwa. Naye kiba kitya ng’okulaga obuwulize kitwetaagisa okulwanyisa “okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso”? Okwegomba kuno okubi kuva ku butali butuukirivu bwaffe ne ku ‘mwoyo gw’ensi’ ogutwetoolodde, nga bino byombi bintu bya maanyi nnyo. (1 Yok. 2:16; 1 Kol. 2:12) Okusobola okubirwanyisa, tulina ‘okutegeka emitima gyaffe’ nga tetunnaba kwolekagana na bizibu oba kukemebwa, era ne tusalawo nti tujja kugondera Yakuwa, ka embeera ebe nzibu etya. (Zab. 78:8) Baibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abaasobola okulaga obuwulize olw’okuba baateekateeka omutima gwabwe.—Ezer. 7:10; Dan. 1:8.
6, 7. Laga engeri okwesomesa gye kutuyambamu okulaba kye tusaanidde okukola.
6 Engeri emu gye tuyinza okutegekamu emitima gyaffe kwe kunyiikira okusoma Baibuli n’ebitabo ebituyamba okugitegeera. Kuba akafaananyi ng’oli mu mbeera eno: Ekiseera kye wasalawo okusomerangamu kituuse era omaze okusaba Yakuwa akuwe omwoyo gwe gukuyambe okussa mu nkola by’ogenda okusoma mu Kigambo kye. Olina ne firimu gy’oyagala okulaba ku ttivi akawungeezi ku lunaku oluddako. Wawuliddeko nti firimu eyo okutwalira awamu nnungi, naye era okimanyi erimu eby’obugwenyufu n’ettemu.
7 Olowooza ku kubuulira kwa Pawulo okuli mu Abeefeso 5:3: “Obwenzi n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri n’omululu tebirina na kwogerwako mu mmwe, nga bwe kigwanira abantu abatukuvu.” Ojjukira n’amagezi Pawulo ge yawa mu Abafiripi 4:8. (Soma.) Nga bw’ofumiitiriza ku byawandiikibwa ebyo, muli weebuuza, ‘Ddala singa ndaba ebintu ng’ebyo, mba ngoberera ekyokulabirako kya Yesu eky’okugondera Katonda mu buli kimu?’ Onookola ki? Olowooza kiba kya magezi okulaba firimu eyo?
8. Lwaki tekiba kya magezi okuleka omutindo gwaffe ogw’empisa n’ogw’eby’omwoyo okukka?
8 Tekiba kya magezi okuleka omutindo gwaffe ogw’empisa n’ogw’eby’omwoyo okukka nga tulowooza nti ne bwe tuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’emikwano emibi, omuli eby’okwesanyusaamu eby’obugwenyufu n’ettemu, tejja kutuviiramu kabi konna. Mu kifo ky’ekyo, tulina okufuba okwekuuma awamu n’abaana baffe ebintu byonna ebiyinza okutuleetera okuba n’omwoyo gw’ensi ya Sitaani. Ng’abantu bwe bafuba okwekuuma obulwadde obuyinza okubakwata okuva ku bantu abalala, naffe tusaanidde okufuba okwekuuma “enkwe” za Sitaani.—Bef. 6:11.
9. Lwaki tulina okuba abamalirivu okugondera Yakuwa buli lunaku?
9 Kumpi buli lunaku twesanga nga tulina okusalawo obanga tunaakola ebintu mu ngeri Yakuwa gy’asiima. Bwe tuba ab’okufuna obulokozi, tulina okugondera Katonda n’okutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Bwe tukoppa ekyokulabirako kya Kristo ne tuba bawulize ne bwe kiba ‘kutuuka ku kufa,’ tuba tulaga okukkiriza okwa namaddala. Yakuwa ajja kutuwa empeera olw’obwesigwa bwaffe. Yesu yagamba nti: “Oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.” (Mat. 24:13) Kino kitwetaagisa okuba abavumu nga Yesu bwe yali.—Zab. 31:24.
Yesu—Ekyokulabirako eky’Obuvumu
10. Mbeera ki enzibu ze twolekagana nazo, era tusaanidde okukola ki?
10 Okusobola okwewala okutwalirizibwa endowooza n’enneeyisa z’abantu abatwetoolodde, kitwetaagisa okuba abavumu. Waliwo ebintu bingi ebiyinza okuviirako Abakristaayo okuva ku kkubo ery’obutuukirivu; omutindo gw’empisa omubi, abantu be babeeramu, embeera y’eby’enfuna n’ebirala. Bangi baziyizibwa ab’omu maka gaabwe. Mu nsi ezimu, amasomero geeyongedde okutumbula enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa wabula byajja bifuukafuuka, era abantu abatakkiriza nti Katonda gy’ali bagenda beeyongera bungi. Ebintu eby’akabi ng’ebyo tetuyinza kubitunuulira butunuulizi. Tulina okubaako kye tukolawo okusobola okubyekuuma. Ekyokulabirako kya Yesu kitulaga engeri kino gye tuyinza okukikola.
11. Okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu kiyinza kitya okutuyamba okuba abavumu?
11 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mu nsi mulina ennaku, naye mugume! Nze mpangudde ensi.” (Yok. 16:33) Teyakkiriza bintu bya nsi eno kumutwaliriza. Teyakkiriza nsi kumulemesa kukola mulimu gwe ogw’okubuulira oba kumuleetera kussa mutindo gwe ogw’empisa n’ogw’okusinza; tusaanidde okumukoppa. Yesu yayogera bw’ati ku bayigirizwa ng’asaba: “Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yok. 17:16) Okusoma ku buvumu Kristo bwe yalaga kituyamba naffe okuba abavumu ne twewala okutwalirizibwa ensi.
Koppa Obuvumu bwa Yesu
12-14. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Yesu yali muvumu.
12 Yesu yayoleka obuvumu obw’ekitalo mu buweereza bwe bwonna. Yakozesa obuyinza bwe ng’Omwana wa Katonda “n’ayingira mu yeekaalu n’agobamu abo bonna abaali batundiramu ebintu n’abo abaali babigula, n’avuunika emmeeza z’abo abaali bawaanyisa ssente n’entebe z’abo abaali batunda amayiba.” (Mat. 21:12) Abaserikale bwe bajja okumukwata mu kiro kye ekyasembayo ku nsi, yeewaayo awatali kutya ataase abayigirizwa be ng’agamba nti: “Bwe muba nga munoonya nze, bano mubaleke bagende.” (Yok. 18:8) Yalagira Peetero azzeeyo mangu ekitala mu kiraato kyakyo, ng’alaga nti yali yeesiga Yakuwa so si byakulwanyisa bya bantu.—Yok. 18:11.
13 Nga taliimu kutya kwonna, Yesu yayanika abayigiriza ab’obulimba ab’omu kiseera kye awamu n’enjigiriza zaabwe enkyamu. Yabagamba nti: “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muggalirawo abantu enzigi ez’obwakabaka obw’omu ggulu. . . . [Temu]tuukiriza bintu ebisinga obukulu mu Mateeka, ng’obwenkanya, obusaasizi, n’obwesigwa. . . . Muyonja ebikopo n’ebibya kungulu naye nga munda mujjudde omunyago n’obuteefuga.” (Mat. 23:13, 23, 25) Abayigirizwa ba Yesu kyandibeetaagisizza okulaga obuvumu ng’obwo kubanga abakulembeze b’eddiini ez’obulimba bandibayigganyizza era ne batta abamu ku bo.—Mat. 23:34; 24:9.
14 Yesu yalaga obuvumu ne bwe yali ng’ayolekaganye ne dayimooni. Lumu, yasanga omusajja aliko dayimooni era nga wa maanyi ennyo nga ne bw’asibibwa enjegere azikutula. Kino Yesu tekyamutiisa era dayimooni zonna ezaali zitawaanya omusajja oyo yazigoba. (Mak. 5:1-13) Leero, Katonda tawa Bakristaayo maanyi ga kukola byamagero ng’ebyo. Naye bwe tukola omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abalala, naffe tuba tulwana olutalo olw’eby’omwoyo ne Sitaani, oyo ‘azibye amaaso g’okutegeera kw’abo abatakkiriza.’ (2 Kol. 4:4) Okufaananako Yesu, eby’okulwanyisa bye tukozesa “si bya mubiri, naye byakulwanyisa eby’amaanyi Katonda by’atuwadde okusiguukulula ebintu ebyasimba amakanda”—enjigiriza ez’obulimba. (2 Kol. 10:4) Tulina bingi bye tusobola okuyigira ku Yesu mu ngeri y’okukozesaamu ebyokulwanyisa ebyo eby’omwoyo.
15. Lwaki Yesu yali muvumu?
15 Yesu yali muvumu lwa kuba yalina okukkiriza okw’amaanyi, so lwa kuba yali muzira. Naffe bwe tutyo bwe tulina okuba. (Mak. 4:40) Tuyinza tutya okuba n’okukkiriza okwa namaddala? Ne mu kino ekyokulabirako Yesu kye yatuteerawo kituyamba. Yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa era ng’abikkiririzaamu nnyo. Ekyokulwanyisa Yesu kye yakozesanga kye kitala eky’omwoyo, oba Ekigambo kya Katonda. Emirundi n’emirundi yajulizanga Ebyawandiikibwa okulaga nti bye yali ayigiriza bituufu. Bwe yabanga ayigiriza, yateranga okusoosa ebigambo: “Kyawandiikibwa,” kwe kugamba, mu Kigambo kya Katonda.a
16. Tuyinza tutya okuba n’okukkiriza okw’amaanyi?
16 Okusobola okuzimba okukkiriza okunaatuyamba okugumira ebizibu bye tufuna olw’okuba tuli bagoberezi ba Yesu, tulina okusoma Baibuli buli lunaku n’okubaawo mu nkuŋŋaana, tutegeere bulungi amazima. (Bar. 10:17) Tuteekwa okufumiitiriza ne ku bintu bye tusoma, bisobole okututuuka ku mutima. Okukkiriza okw’amaanyi kwokka kwe kusobola okutuyamba okuba abavumu. (Yak. 2:17) Ate era tuteekwa okusaba Katonda okutuwa omwoyo omutukuvu, kubanga okukkiriza kye kimu ku bibala by’omwoyo omutukuvu.—Bag. 5:22.
17, 18. Mwannyinaffe omu omuto yalaga atya obuvumu ku ssomero?
17 Mwannyinaffe omu omuto ayitibwa Kitty lumu yakitegeera nti okukkiriza okunywevu kuleeta obuvumu. Okuviira ddala nga muto, yali akimanyi nti ‘amawulire amalungi tegalina kumukwasa nsonyi’ ng’ali ku ssomero, era yali ayagala nnyo okuwa bayizi banne obujulirwa. (Bar. 1:16) Yamala emyaka egiwerako ng’ayagala okubuulira bayizi banne amawulire amalungi, naye nga yeetya. Bwe yali anaatera okuva mu myaka gy’obutiini, yakyusa n’adda mu ssomero eddala. Yagamba nti, “Ku luno ŋŋenda kubuulira nsasule emirundi gyonna gye nnafiirwa emabega.” Kitty yasaba Yakuwa amuyambe okufuna obuvumu n’amagezi, awamu n’akakisa ak’okubuulira.
18 Olunaku lwe yasooka okugenda ssomero, abayizi baasabibwa buli omu yeeyanjulire banne. Abamu ku bo baayogera eddiini zaabwe, naye nga bagattako nti tebazitwala nga kikulu. Kitty yakiraba nti ako ke kakisa ke yali asabye okufuna. Bwe yatuuka okweyanjula, yayogera n’obuvumu nti, “Ndi omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, era okusinza kwange n’emitindo gyange egy’empisa byesigamiziddwa ku Baibuli.” Bwe yali ayogera, abayizi abamu baamutunuulira nga bwe bamuziimuula. Naye abalala baawuliriza bulungi era oluvannyuma baamubuuza ebibuuzo. Omusomesa yagamba nti Kitty yali ateereddewo banne ekyokulabirako ekirungi olw’okuba yannyonnyola ebikwata ku nzikiriza ye. Kitty musanyufu okuba nti yayiga okulaga obuvumu ng’obwa Yesu.
Laga Okukkiriza n’Obuvumu nga Kristo
19. (a) Okuba n’okukkiriza okwa namaddala kizingiramu ki? (b) Tuyinza tutya okusanyusa Yakuwa?
19 Abatume nabo baakiraba nti okusobola okulaga obuvumu baalina okuba n’okukkiriza okunywevu. Bwe batyo baagamba Yesu nti: “Twongere okukkiriza.” (Soma Lukka 17:5, 6.) Okusobola okuba n’okukkiriza okwa namaddala, omuntu talina kukkiririza bukkiriza nti eriyo Katonda. Kizingiramu okufuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa, okufaananako eyo eba wakati w’omwana ne kitaawe amwagala. Sulemaani yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Mwana wange, omutima gwo oba nga gwa magezi, omutima gwange gunaasanyuka, ogwange: Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka, emimwa gyo bwe gyogera eby’ensonga.” (Nge. 23:15, 16) Bwe kityo, bwe tulaga obuvumu ne tunywerera ku misingi egy’obutuukirivu kisanyusa Yakuwa, era kino okukimanya kitwongera okuba abavumu. N’olwekyo, ka bulijjo tufube okukoppa ekyokulabirako kya Yesu, nga tuba bavumu mu kunywerera ku misingi gy’obutuukirivu!
[Obugambo obuli wansi]
a Ng’ekyokulabirako, laba Matayo 4:4, 7, 10; 11:10; 21:13; 26:31; Makko 9:13; 14:27; Lukka 24:46; Yokaana 6:45; 8:17.
Osobola Okunnyonnyola?
• Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli bawulize wadde nga tetutuukiridde?
• Okukkiriza okwa namaddala kuva ku ki, era kino kituyamba kitya okuba abavumu?
• Okuba abawulize n’okulaga obuvumu ng’obwa Kristo kivaamu ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
‘Oteekateeka omutima gwo’ osobole okuziyiza ebikemo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Okufaananako Yesu, tusobola okulaga obuvumu obwesigamiziddwa ku kukkiriza