LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 9/15 lup. 16-20
  • Okwagala kwa Kristo Kutukubiriza Okulaga Okwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwagala kwa Kristo Kutukubiriza Okulaga Okwagala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Laga Okwagala ng’Okwa Kristo eri Abakoze Ebibi
  • Laga Okwagala ng’Okwa Kristo mu Kiseera Kino eky’Enkomerero
  • Laga Abalwadde Okwagala ng’Okwa Kristo
  • Fuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Laga Endowooza ya Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Okwagala—Ngeri Nkulu Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Muzimbibwe Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 9/15 lup. 16-20

Okwagala kwa Kristo Kutukubiriza Okulaga Okwagala

“[Yesu] yayagala ababe abaali mu nsi, era yeeyongera okubaagala okutuukira ddala ku nkomerero.”​—YOK. 13:1.

1, 2. (a) Mu ngeri ki okwagala Yesu kwe yalaga gye kwali okw’enjawulo? (b) Tugenda kwetegereza ki ku kulaga okwagala mu kitundu kino?

YESU yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’okwagala. Yalaga okwagala mu buli kintu​—mu njogera ye, mu nneeyisa ye, mu bye yayigiriza, ne mu kuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Mu bulamu bwe bwonna ku nsi, Yesu yalaganga abantu okwagala, naddala abayigirizwa be.

2 Ekyokulabirako eky’okwagala Yesu kye yateekawo kiraga omutindo ogwa waggulu ennyo abagoberezi be kwe balina okutambulira. Era kitukubiriza okulaga okwagala ng’okwa Yesu eri Bakristaayo bannaffe n’eri abantu abalala bonna. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri abakadde mu kibiina gye bayinza okulagamu okwagala ng’okwa Yesu eri abo ababa bakoze ebibi, ka bibe bya maanyi nnyo. Tujja kulaba n’engeri okwagala Yesu kwe yalaga gye kukubirizaamu Abakristaayo okuyamba baganda baabwe n’abantu abalala nga bagwiriddwa obutyabaga, nga balwadde, oba nga balina ebizibu ebirala.

3. Wadde nga Peetero yalina obunafu obw’amaanyi, Yesu yamuyisa atya?

3 Mu kiro kya Yesu ekyasembayo amale attibwe, omutume Peetero yamwegaana emirundi esatu. (Mak. 14:66-72) Kyokka nga Yesu bwe yali alagudde, Peetero yeenenya era Yesu yamusonyiwa. Yesu yakwasa Peetero obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. (Luk. 22:32; Bik. 2:14; 8:14- 17; 10:44, 45) Kiki kye tuyiga mu ngeri Yesu gy’atwalamu abo abalina obunafu obw’amaanyi?

Laga Okwagala ng’Okwa Kristo eri Abakoze Ebibi

4. Mbeera ki eyetaagisa ennyo okulaga okwagala ng’okwa Kristo?

4 Waliwo embeera nnyingi mwe twetaagira okulaga okwagala ng’okwa Kristo, naye tuyinza okuzibuwalirwa okukikola ng’omuntu akoze ekibi eky’amaanyi mu maka gaffe oba mu kibiina. Kya nnaku nti enkomerero y’enteekateeka ya Sitaani gy’ekoma okusembera, omwoyo gw’ensi gye gukoma okuyingira mu bantu. Kyangu nnyo abantu b’ensi eno ababi oba abateefiirayo okutuleetera okuva ku kkubo ery’obutuukirivu, ka tube bato oba bakulu. Mu kyasa ekyasooka, abamu baalina okugobebwa mu kibiina Ekikristaayo, n’abalala okukangavvulwa. Ne leero bwe kityo bwe kiri. (1 Kol. 5:11-13; 1 Tim. 5:20) Wadde kiri kityo, abakadde bwe bakwata ensonga zino mu ngeri eraga okwagala ng’okwa Kristo kiyinza okuyamba ennyo oyo akoze ekibi.

5. Abakadde bayinza batya okulaga omuntu akoze ekibi okwagala ng’okwa Kristo?

5 Okufaananako Yesu, abakadde balina okunywerera ku misingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu mu buli nsonga. Kino basaanidde okukikola mu ngeri eyoleka engeri za Yakuwa gamba ng’obuteefu, ekisa n’okwagala. Omuntu bw’aba nga yeenenyezza, ‘amenyese mu mutima’ era ‘ng’alaze omwoyo oguboneredde’ olw’ekibi kye yakola, abakadde bayinza obutazibuwalirwa ‘kutereeza muntu ng’oyo mu mwoyo omukkakkamu.’ (Zab. 34:18; Bag. 6:1) Naye watya ng’omuntu gwe bagezaako okuyamba takkiriza nsobi ye oba ng’agaanye okwekuba mu kifuba?

6. Abakadde balina kwewala ki nga bayamba omuntu akoze ekibi, era lwaki?

6 Omuntu bw’akola ekibi n’agaana okumugolola oba ne yeekwasa abalala, abakadde n’abantu abalala bayinza okukwatibwa obusungu. Bayinza okumwogerera obubi olw’enneeyisa ye embi n’emitawaana egiba gizzeewo olw’ekibi ky’akoze. Naye okulaga obusungu kiba kya kabi era tekiraga ‘ndowooza ng’eya Kristo.’ (1 Kol. 2:16; soma Yakobo 1:19, 20.) Bwe yali ku nsi, Yesu alina abantu bangi be yalabula nga talumye mu bigambo, naye tewali na lumu lwe yayogera kintu kyonna ng’agenderera okubalumya oba okubalaga obukyayi. (1 Peet. 2:23) Mu kifo ky’ekyo, yalaga nti aboonoonyi baali basobola okwenenya era ne bakola Yakuwa by’asiima. Mu butuufu, “okulokola aboonoonyi” y’emu ku nsonga enkulu ezaaleeta Yesu ku nsi.​—1 Tim. 1:15.

7, 8. Abakadde balina kuba na kigendererwa ki nga bayamba oyo aba akoze ekibi?

7 Ekyokulabirako ekyo Yesu kye yateekawo kituyamba kitya mu ngeri gye tutunuuliramu abo abakangavvulwa ekibiina? Tukijjukire nti enteekateeka y’omu Byawandiikibwa ey’okukangavvula abakoze ebibi eyamba okuwa abali mu kibiina obukuumi era eyinza okuleetera oyo akangavvuddwa okwenenya. (2 Kol. 2:6-8) Kya nnaku nti abamu bagaana okwenenya ne bagobwa mu kibiina, naye ekirungi kiri nti bangi ku bo oluvannyuma bakomawo eri Yakuwa n’ekibiina kye. Abakadde bwe balaga okwagala ng’okwa Kristo, kiba kyangu oyo agobeddwa okwekuba mu kifuba era oluvannyuma n’akomawo. Bwe wayita ekiseera, abamu ku baali baagobwa mu kibiina bayinza obutajjukira bakadde bye baababuulirira okuva mu Byawandiikibwa, naye tebayinza kwerabira nti abakadde baabakwata mu ngeri ey’okwagala era ebawa ekitiibwa.

8 N’olwekyo, abakadde bateekwa okwoleka “ebibala by’omwoyo,” naddala okwagala ng’okwa Kristo, ka kibe nti gwe bagezaako okuyamba tawulira. (Bag. 5:22, 23) Omuntu aba akoze ekibi tebasaanidde kwanguyiriza kumugoba mu kibiina. Balina okufuba okumulaga nti baagala kumuyamba akomewo eri Yakuwa. Bwe kityo, omwonoonyi bw’amala ne yeenenya, nga bangi bwe batera okukola, ayinza okusiima olw’engeri Yakuwa ‘n’abantu abalinga ebirabo’ gye baba bamuyambyemu okukomawo mu kibiina.​—Bef. 4:8, 11, 12.

Laga Okwagala ng’Okwa Kristo mu Kiseera Kino eky’Enkomerero

9. Yesu yalaga atya abayigirizwa be okwagala.

9 Lukka yawandiika ku ngeri Yesu gye yayolekamu okwagala. Olw’okuba yali akimanyi nti amagye g’Abaruumi gaali ga kujja gazingize ekibuga Yerusaalemi wabe nga tewali muntu n’omu asobola kukiddukamu, Yesu yalabula abayigirizwa be nti: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa amagye, awo mumanyanga nti okuzikirizibwa kwakyo kunaatera okutuuka.” Olwo baalina kukola ki? Yesu yagamba nti: “Abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi, abalikibaamu bakivangamu, n’abo abaliba mu byalo tebakiyingirangamu; kubanga zino nnaku za kuwoolera ggwanga, ebintu byonna ebyawandiikibwa bisobole okutuukirizibwa.” (Luk. 21:20-22) Amagye g’Abaruumi bwe gajja ne gazingiza Yerusaalemi mu 66 E.E., abo abaali abawulize baakolera ku bulagirizi obwo.

10, 11. Okwetegereza ebyaliwo ng’Abakristaayo badduka mu Yerusaalemi kituyamba kitya okwetegekera “ekibonyoobonyo ekinene”?

10 Bwe baali badduka mu Yerusaalemi, Abakristaayo baalina okulagaŋŋana okwagala ng’okwo Kristo kwe yali abalaze. Buli omu yalina okukozesa kye yalina ne banne. Naye obunnabbi obwo tebwali bwa kutuukirizibwa ku kibuga ekyo kyokka. Yagamba nti: “Walibaawo ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde nsi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.” (Mat. 24:17, 18, 21) Naffe tuyinza okwesanga mu buzibu n’obwetaavu obw’amaanyi nga twolekera “ekibonyoobonyo ekinene” ekyo era n’oluvannyuma nga kitandise. Okulaga okwagala ng’okwa Kristo kijja kutuyamba okuyita mu kiseera ekyo.

11 Mu kiseera ekyo tujja kwetaaga okukoppa ekyokulabirako kya Yesu nga tulaga okwagala okutaliimu kwerowoozaako. Pawulo yabuulirira bw’ati ku nsonga eno: “Buli omu ku ffe asanyuse munne mu kintu ekirungi olw’okumuzimba. Ne Kristo teyeesanyusa yekka . . . Kaakano, Katonda awa obugumiikiriza n’okubudaabuda k’abasobozese okuba n’endowooza ng’eya Kristo Yesu.”​—Bar. 15:2, 3, 5.

12. Kwagala kwa ngeri ki kwe twetaaga okuba nakwo, era lwaki?

12 Peetero eyaganyulwa ennyo mu kwagala kwa Yesu naye yakubiriza Abakristaayo okuba “n’okwagalana okw’ab’oluganda” ‘n’okugondera amazima.’ Balina ‘okwagalananga ennyo okuviira ddala mu mutima.’ (1 Peet. 1:22) Leero, twetaaga okukulaakulanya engeri za Kristo ezo okusinga bwe kyali kibadde. Ebizibu abantu ba Katonda bye boolekagana nabyo bigenda byeyongera bweyongezi. Okugootaana kw’eby’enfuna mu nsi gye buvuddeko awo kukyolese bulungi nti tekiba kya magezi kussa bwesige bwaffe mu bintu bya nsi eno. (Soma 1 Yokaana 2:15-17.) Olw’okuba tusemberedde enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno, tulina okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era ne Bakristaayo bannaffe, nga tukola emikwano egya namaddala mu kibiina. Pawulo yabuulirira nti: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Bar. 12:10) Peetero naye yanogaanya ensonga y’emu bwe yagamba nti: “N’okusinga byonna, mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.”​—1 Peet. 4:8.

13-15. Ab’oluganda abamu balaze batya okwagala ng’okwa Kristo nga waguddewo obutyabaga?

13 Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi bamanyiddwa olw’okulaga okwagala ng’okwa Kristo. Lowooza ku Bajulirwa abeewaayo okudduukirira abantu b’omu bitundu by’omu bukiika ddyo bw’Amerika ebyakubibwa omuyaga mu 2005. Nga bagoberera ekyokulabirako kya Yesu, Abajulirwa abasukka mu 20,000, ng’abamu baali balese amayumba gaabwe n’emirimu gyabwe, baagenda okuyamba baganda baabwe.

14 Mu kitundu ekimu, omuyaga gwaleeta amayengo g’ennyanja agaweza ffuuti 30 obugulumivu ne gakuba olukalu okutuuka mayiro 50 munda. Amazzi gaagenda okuggwawo nga kimu kya kusatu eky’amayumba n’ebizimbe ebirala bisaanyeewo. Abajulirwa bannakyewa okuva mu mawanga agawerako baatwala ebintu eby’okukozesa n’okuzimbisa, era baakola buli mulimu nga bwe kyali kyetaagisa. Abakyala babiri ab’oluganda era nga bannamwandu baateeka ebyabwe byonna mu mmotoka kabangali ne bavuga mayiro ezisukka mu 2,000 basobole okuyamba. Omu ku bannyinaffe bano akyaliyo mu kitundu ekyo, nga kati ayamba ku b’akakiiko akagaba obuyambi era aweereza nga payoniya owa bulijjo.

15 Amayumba agasoba mu 5,600 ag’Abajulirwa n’abantu abalala mu kitundu ekyo gazimbiddwa buggya oba gaddaabiriziddwa. Abajulirwa b’omu kitundu ekyo baawulira batya olw’okwagala kuno okutalojjeka okwabalagibwa? Oluvannyuma lw’ennyumba ye okusaanawo, mwannyinaffe omu yatandika okusula mu kyana kya mmotoka ekyali ekitono ennyo, nga kitonnya, era nga talina na w’afumbira. Ab’oluganda baamuzimbira ennyumba entonotono era nga nnungi. Bwe yayimirira mu maaso g’ennyumba ye empya, amaziga gaamuyunguka olw’essanyu eringi n’okusiima ebyo Yakuwa n’ab’oluganda bye baali bamukoledde. Abajulirwa bangi ab’omu kitundu beeyongera okusula mu buyumba mwe baali babudamye okumala omwaka mulamba n’omusobyo, wadde ng’ennyumba zaabwe zaali zaggwa dda okuzimbibwa. Lwaki? Baganda baabwe abajja okubadduukirira bagire nga basula omwo. Mazima ddala baayoleka okwagala kwa Kristo mu ngeri ey’ekitalo!

Laga Abalwadde Okwagala ng’Okwa Kristo

16, 17. Tuyinza tutya okulaga abalwadde obusaasizi ng’obwa Kristo?

16 Batono nnyo ku ffe abaali babaddeko mu kitundu ne kigwamu akatyabaga. Naye kumpi buli omu ku ffe amanyi obulwadde bwe buluma, nga ye kennyini ye yalwala oba omu ku b’eŋŋanda ze. Engeri Kristo gye yayisaamu abalwadde etuwa ekyokulabirako ekirungi. Okwagala kwamuleetera okubakwatirwa ekisa. Ebibiina bwe byamuleeteranga abalwadde, ‘yawonya bonna abaali obubi.’​—Mat. 8:16; 14:14.

17 Leero, Abakristaayo tebasobola kuwonya balwadde nga Yesu bwe yakola, naye basobola okukoppa engeri gye yabalagamu obusaasizi. Kino bayinza kukikola batya? Abakadde balaga obusaasizi ng’obwa Kristo nga bakola enteekateeka ey’okuyamba n’okulambula abalwadde mu kibiina, nga kino kituukana n’omusingi oguli mu Matayo 25:39, 40.a (Soma.)

18. Bannyinaffe ababiri baalaga batya munnaabwe okwagala okwa namaddala, era ekyo kyavaamu ki?

18 Kya lwatu nti omuntu talina kusooka kuba mukadde okusobola okukolera abalala ebirungi. Lowooza ku Charlene kkansa gwe yakuba wansi nga wa myaka 44 era ne bamugamba nti yali asigazza ennaku kkumi zokka okufa. Bwe baalaba obwetaavu bwe yalimu era nga n’omwami we kennyini kimuyitiriddeko, bannyinnaffe babiri, Sharon ne Nicolette, beewaayo okumujjanjaba. Mu kifo ky’ennaku ekkumi, Charlene yafa wayise wiiki mukaaga, naye bannyinnaffe baamulaga okwagala mu kiseera kino kyonna. Sharon agamba nti: “Kimalamu nnyo amaanyi okukimanya nti ojjanjaba omuntu atagenda kuwona. Naye Yakuwa yatugumya. Enkolagana yaffe naye era n’eyaffe ffembi yeeyongera okunywera.” Bba wa Charlene agamba nti: “Sigenda kwerabira kisa bannyinaffe abo ababiri kye bandaga n’engeri gye bannyambamu. Omutima omulungi gwe baalaga n’engeri gye baatugumyangamu byayamba Charlene okuguma mu kaseera ako akazibu, era nange ne kinnyamba okuddamuko ku maanyi. Kye bankolera tekigenda kunva ku mutima. Omwoyo gwabwe ogw’okwerekereza gwannyamba okweyongera okukkiririza mu Yakuwa n’okwagala ab’oluganda bonna.”

19, 20. (a) Ngeri ki ettaano ezooleka endowooza ng’eya Kristo ze twetegerezza? (b) Kiki ky’omaliridde okukola?

19 Mu kitundu kino ne mu bibiri ebyaggwa, tulyabye engeri ttaano ezooleka endowooza ng’eya Kristo n’engeri gye tusobola okuzoolekamu. Ka naffe tufube okuba ‘abateefu era abawombeefu mu mutima’ nga Yesu bwe yali. (Mat. 11:29) Era ka tufube okuyisa abalala mu ngeri ey’ekisa, ne bwe baba nga bakola ensobi oba nga balina obunafu obw’amaanyi. Ka tube bamalirivu okukola Yakuwa by’ayagala, embeera k’ebe nzibu etya.

20 N’ekisembayo, ka tulage ab’oluganda bonna okwagala okwa namaddala “okutuukira ddala ku nkomerero,” nga Kristo kennyini bwe yakola. Okwagala ng’okwo kutwawulawo ng’abagoberezi ba Yesu ab’amazima. (Yok. 13:1, 34, 35) Yee, “mweyongere okwagalana ng’ab’oluganda.” (Beb. 13:1) Tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kukozesa bulamu bwo okutendereza Yakuwa n’okuyamba abalala! Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi bw’onookola bw’otyo.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba ekitundu “Tokoma ku Kugamba Bugambi nti: ‘Buguma era Olye Okkute’” mu Watchtower eya Okitobba 15, 1986.

Osobola Okunnyonnyola?

• Abakadde bayinza batya okulaga okwagala ng’okwa Kristo eri abakoze ebibi?

• Lwaki kikulu nnyo okulaga okwagala ng’okwa Kristo naddala mu kiseera kino eky’enkomerero?

• Tuyinza tutya okulaga okwagala ng’okwa Kristo eri abalwadde?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Abakadde bafuba okuyamba abakoze ebibi okukomawo eri Yakuwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Abakristaayo abadduka mu Yerusaalemi baalaga batya okwagala ng’okwa Kristo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa olw’okuyamba bannaabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share