LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 9/15 lup. 7-11
  • Fuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Kristo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Fuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Kristo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yigira ku Buteefu bwa Kristo
  • Yesu Yakwatanga Abantu n’Ekisa
  • Laga Ekisa mu Nsi Eteriimu Kisa
  • Abantu ba Katonda Bateekwa Okwagala Ekisa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Ekisa—Ngeri Gye Twoleka mu Bigambo ne mu Bikolwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okwagala kwa Kristo Kutukubiriza Okulaga Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Okulaga Ekisa mu Nsi Ejjudde Obukambwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 9/15 lup. 7-11

Fuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Kristo

‘Mubeerenga n’endowooza ng’eya Kristo Yesu.’​—BAR. 15:5.

1. Lwaki tusaanidde okufuba okuba n’endowooza ng’eya Kristo?

YESU KRISTO yagamba nti: “Mujje gye ndi . . . era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.” (Mat. 11:28, 29) Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti alina endowooza ennungi. Tewali muntu ayinza kututeerawo kyakulabirako kirungi kusinga ekyo. Wadde nga yali Mwana wa Katonda era ng’alina obuyinza bungi, Yesu yalaga ekisa n’obusaasizi, naddala eri abo abaali babonaabona.

2. Ngeri ki Yesu ze yayoleka ze tugenda okwetegereza?

2 Mu kitundu kino n’ebirala ebibiri ebiddako, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukulaakulanyaamu “endowooza ng’eya Kristo” era ne tugyoleka mu byonna bye tukola mu bulamu bwaffe. (1 Kol. 2:16) Tugenda kwetegereza engeri ttaano Yesu ze yayoleka: Obuteefu n’obuwombeefu, ekisa, obuwulize eri Katonda, obuvumu, era n’okwagala.

Yigira ku Buteefu bwa Kristo

3. (a) Yesu yayigiriza atya abayigirizwa be obuwombeefu? (b) Yesu yeeyisa atya bwe yasanga abayigirizwa be nga beebase?

3 Yesu, Omwana wa Katonda eyali atuukiridde, yakkiriza okujja ku nsi okuweereza mu bantu abaali batatuukiridde era nga boonoonyi. Abamu ku bo oluvannyuma bandimusse. Wadde kyali kityo, Yesu yaweereza n’essanyu era yalaga okwefuga ng’ayolekaganye n’embeera enzibu. (1 Peet. 2:21-23) ‘Okwekaliriza’ ekyokulabirako kya Yesu kisobola okutuyamba okukola kye kimu ng’abalala batuyisizza bubi. (Beb. 12:2) Yesu yakubiriza abayigirizwa be okwetikka ekikoligo kye, basobole okumuyigirako. (Mat. 11:29) Kiki kye bandimuyigiddeko? Ekimu ku byo kwe kuba nti Yesu yali muteefu, era abayigirizwa be yabakwatanga n’obugumiikiriza wadde baakolanga ensobi. Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yanaaza abayigirizwa be ebigere, mu ngeri eyo n’abayigiriza kye kitegeeza ‘okuba omuwombeefu mu mutima,’ era ekyo baali tebasobola kukyerabira. (Soma Yokaana 13:14-17.) Oluvannyuma, Peetero, Yakobo, ne Yokaana bwe baalemererwa okusigala nga ‘batunula,’ Yesu yakitegeera nti kyali kivudde ku bunafu bwa mubiri. Yagamba nti: “Simooni, weebase? . . . Mutunule, musabe muleme kugwa nga mukemeddwa. Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”​—Mak. 14:32-38.

4, 5. Tuyinza tutya okukoppa Yesu mu ngeri gye tuyisaamu abalala nga bakoze ensobi?

4 Tweyisa tutya singa wabaawo mukkiriza munnaffe ng’ayoleka omwoyo gw’okuvuganya, ng’anyiiga mangu, oba ng’alwawo okukolera ku bulagirizi bw’abakadde oba ‘obw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’? (Mat. 24:45-47) Kiyinza okutwanguyira okusonyiwa abantu abakola ebintu ebitasaana bwe baba nga ba nsi, naye bwe baba baganda baffe, kiyinza okutubeerera ekizibu. Bwe kiba nti tunyiiga mangu olw’ensobi abalala ze bakola, tusaanidde okwebuuza, ‘Nsobola ntya okwoleka “endowooza ng’eya Kristo”?’ Kijjukire nti Yesu teyanyiigira bayigirizwa be, ne bwe baabanga balaze obunafu mu by’omwoyo.

5 Lowooza ku mutume Peetero. Yesu bwe yamuyita okuva mu lyato ajje gy’ali ng’atambulira ku mazzi, mu kusooka Peetero yakikola. Naye oluvannyuma Peetero yatandika okukka mu mazzi bwe yatunuulira omuyaga. Kino kyaleetera Yesu okumukambuwalira oba okumugamba nti: “Olyose! Ekyo ka kikuyigirize”? Nedda! “Amangu ago Yesu [y]agolola omukono gwe n’amukwata n’amugamba nti: ‘Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusabuusizza?’” (Mat. 14:28-31) Singa ow’oluganda akola ekintu ekiraga nti okukkiriza kwe kunafu, tuli beetegefu okumuzzaamu amaanyi, mu ngeri eyo ne tuba ng’abagolodde omukono gwaffe okumuyamba? Naffe tusaanidde okukoppa obuteefu Yesu bwe yalaga ng’ayamba Peetero.

6. Yesu yayigiriza ki abatume be ku bikwata ku kwagala obukulu?

6 Peetero era yeenyigiranga mu kukaayana ne batume banne ku ani ku bo eyali asinga obukulu. Yakobo ne Yokaana baali baagala Yesu abawe ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwe, omu atuule ku mukono gwe ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono. Kino Peetero n’abatume abalala bwe baakiwulira ne banyiiga nnyo. Yesu yakitegeera nti omwoyo ogwo ogw’okuvuganya baagufuna olw’embeera mwe baakulira. Yabayita n’abagamba nti: “Mumanyi nti abo abafuga amawanga babakajjalako n’abakulu babafugisa buyinza. Naye tekirina kuba bwe kityo mu mmwe; buli ayagala okuba omukulu mu mmwe ateekeddwa okubeera omuweereza wammwe.” Awo Yesu kwe kubawa ekyokulabirako kye n’abagamba nti: “Ng’Omwana w’omuntu bw’atajja kuweerezebwa wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.”​—Mat. 20:20-28.

7. Buli omu ku ffe ayinza kukola ki okuyamba mu kuleetawo obumu mu kibiina?

7 Okufumiitiriza ku ngeri Yesu gye yayolekamu obwetoowaze kituyamba ‘okwetwala ng’aba wansi’ nga tukolagana ne baganda baffe. (Luk. 9:46-48) Okweyisa tutyo kiyamba mu kuleetawo obumu mu kibiina. Okufaananako taata alina abantu abangi mu maka ge, Yakuwa ayagala abaana be “okutuula awamu nga batabaganye,” nga bakolagana bulungi. (Zab. 133:1) Yesu yasaba Kitaawe nti Abakristaayo bonna ab’amazima babe bumu, ‘ensi etegeere nti Ye yamutuma era nti abaagala nga bw’amwagala.’ (Yok. 17:23) N’olwekyo, bwe tuba obumu kiraga nti tuli bagoberezi ba Kristo ab’amazima. Okusobola okukuuma obumu obwo, tuteekwa okutunuulira obutali butuukirivu bw’abalala nga Yesu bwe yabutunuuliranga. Yesu yali asonyiwa, era yayigiriza nti awatali kusonyiwa abalala, naffe tetuyinza kusonyiyibwa.​—Soma Matayo 6:14, 15.

8. Tuyigira ki ku abo abaweerezza Katonda okumala ebbanga eddene?

8 Waliwo ne birala bingi bye tusobola okuyigira ku abo abamaze emyaka mingi nga bakoppa Kristo. Okufaananako Yesu, abaweereza ba Katonda bano bagumiikiriza obutali butuukirivu bw’abalala. Bakimanyi nti okwoleka obusaasizi ng’obwa Kristo tekikoma ku kutuyamba ‘kwettika bunafu bw’abo abatali ba maanyi,’ naye era kireetawo obumu. Ate era, kiyamba ab’omu kibiina bonna okukoppa endowooza ya Kristo. Ab’oluganda abo baagaliza baganda baabwe ekintu kye kimu ng’omutume Pawulo kye yali ayagaliza Abakristaayo b’e Rooma: “Katonda awa obugumiikiriza n’okubudaabuda k’abasobozese okuba n’endowooza ng’eya Kristo Yesu, mwenna wamu musobole okugulumiza Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo n’akamwa kamu.” (Bar. 15:1, 5, 6) Yee, obumu bwaffe mu kusinza buleetera Yakuwa ettendo.

9. Lwaki twetaaga omwoyo omutukuvu okusobola okukoppa ekyokulabirako kya Yesu?

9 Okuba ‘omuwombeefu mu mutima’ Yesu yakikwataganya n’obuteefu oba obukkakkamu, nga kino kye kimu ku bibala by’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. N’olwekyo, ng’oggyeko okwesomesa ebikwata ku Yesu, twetaaga omwoyo gwa Katonda okusobola okugoberera ekyokulabirako kye obulungi. Tusaanidde okusaba Katonda okutuwa omwoyo omutukuvu era tufube okukulaakulanya ebibala byagwo​—‘okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, n’okwefuga.’ (Bag. 5:22, 23) Bwe kityo, bwe tugoberera ekyokulabirako Yesu kye yatuteerawo eky’obwetoowaze n’obukkakkamu, tujja kusanyusa Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu.

Yesu Yakwatanga Abantu n’Ekisa

10. Yesu yayoleka atya ekisa?

10 Ekisa nakyo kimu ku bibala by’omwoyo omutukuvu. Yesu yakwatanga abantu n’ekisa. Abo bonna abagendanga gy’ali ‘yabaanirizanga n’essanyu.’ (Soma Lukka 9:11.) Kiki kye tuyigira ku kuba nti Yesu yali wa kisa? Omuntu ow’ekisa aba mwangu okutuukirira, mukwata mpola, musaasizi era aba wa ggonjebwa. Yesu bw’atyo bwe yali. Yakwatirwanga abantu ekisa “kubanga baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.”​—Mat. 9:35, 36.

11, 12. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yesu gye yalagamu ekisa. (b) Kiki ky’oyiga mu kyokulabirako ekyo?

11 Yesu teyakomanga ku kukwatirwa bukwatirwa bantu kisa, wabula yabangako ky’akolawo okubayamba. Lowooza ku kyokulabirako kino. Waaliwo omukazi eyali amaze emyaka 12 miramba nga mulwadde wa kikulukuto ky’omusaayi. Yali akimanyi nti okusinziira ku Mateeka ga Musa, teyali mulongoofu era n’omuntu yenna eyandimukutteko, yandifuuse atali mulongoofu. (Leev. 15:25-27) Naye olw’okuba yali amanyi nti Yesu wa kisa era ng’ayambye abantu bangi, yakimanya nti alina obusobozi obw’okumuwonya. Yagamba mu mutima gwe nti: “Ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye eky’okungulu nja kuwona.” Yafuna obuvumu n’akwata ku kyambalo kye era amangu ago n’awulira nga awonye.

12 Yesu yakitegeera nti waliwo omuntu eyali amukutteko era yamagamaga amulabe. Kirabika olw’okutya nti baali bagenda kumunenya olw’okumenya Amateeka, omukazi oyo yagwa ku bigere bya Yesu nga yenna akankana, n’amubuulira amazima gonna. Yesu yanenya omukazi oyo eyali mu mbeera enzibu? N’akatono! Yamugamba bugambi nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe.” (Mak. 5:25-34) Ng’ebigambo ebyo eby’ekisa birina okuba nga byamuleetera okuwulira obuweerero obw’amaanyi!

13. (a) Mu ngeri ki Yesu gye yali ow’enjawulo ku Bafalisaayo? (b) Yesu yayisa atya abaana abato?

13 Obutafaananako Abafalisaayo abaali tebalumirirwa balala, Kristo teyakozesa buyinza bwe kunyigiriza bantu. (Mat. 23:4) Mu kifo ky’ekyo, yayolekanga ekisa n’obugumiikiriza ng’abayigiriza amakubo ga Yakuwa. Yesu yalaga abagoberezi be omukwano ogwa namaddala. (Nge. 17:17; Yok. 15:11-15) N’abaana abato baawuliranga bulungi okubeera awali Yesu era naye yali abeewa. Teyalonzalonzanga kuyimiriza mu bye yabanga akola asobole okwogerako nabo. Lumu abayigirizwa be, nga bakyetwalira waggulu ng’abakulembeze b’eddiini bwe baali, baagezaako okugaana abantu okuleeta abaana baabwe eri Yesu okubakwatako. Kino Yesu tekyamusanyusa. Yabagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi; temubagaana, kubanga obwakabaka bwa Katonda bw’abo abalinga abaana abato.” Era abaana abo yabakozesa ng’ekyokulabirako n’abagamba nti: “Mazima mbagamba nti, Omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu.”​—Mak. 10:13-15.

14. Abaana baganyulwa batya bwe balagibwa okwagala?

14 Lowooza ku ngeri abaana abo gye bandiwuliddemu nga bakuze bwe bandijjukidde nti Yesu Kristo ‘yabawambaatira n’abawa omukisa ng’abassaako emikono gye.’ (Mak. 10:16) Ne leero abaana bangi bajja kuwulira essanyu bwe balijjukira engeri abakadde n’ab’oluganda abalala gye baabalaga okwagala nga bakyali bato. N’ekisinga obukulu, abaana abalagibwa okwagala ng’okwo mu kibiina baviira ddala buto nga bakimanyi nti omwoyo gwa Yakuwa gukolera mu bantu be.

Laga Ekisa mu Nsi Eteriimu Kisa

15. Lwaki tekitwewuunyisa nti abantu bangi tebalina kisa leero?

15 Abantu bangi leero bawulira nti tebalina biseera bya kulaga balala kisa. N’olwekyo, abantu ba Yakuwa buli lunaku beesanga mu bantu abooleka omwoyo gw’ensi ku ssomero, ku mirimu, oba mu buweereza bw’ennimiro. Wadde nga kino kituyisa bubi, tekitwewuunyisa. Yakuwa yaluŋŋamya Pawulo okutulabula nti mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma’ Abakristaayo ab’amazima bandibadde mu bantu ‘abeeyagala bokka era abatayagala ba luganda.’​—2 Tim. 3:1-3.

16. Tuyinza tutya okwoleka ekisa ng’ekya Kristo mu kibiina?

16 Ku luuyi olulala, embeera eri mu kibiina Ekikristaayo ya njawulo nnyo ku eyo eri mu nsi eno eteriimu kisa. Bwe tukoppa Yesu, buli omu ku ffe alina ky’asobola okukola okulaga abalala ekisa. Kino tuyinza kukikola tutya? Mu kibiina mulimu bangi abeetaaga okuyambibwa n’okuzzibwamu amaanyi nga boolekagana n’obulwadde oba ebizibu ebirala eby’amaanyi. Mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma,’ ebizibu ng’ebyo biyinza okweyongera obungi, naye si bipya. Abakristaayo babadde babifuna okuva edda n’edda. Bwe kityo, kikulu nnyo okuyambagana leero ng’Abakristaayo abaasooka bwe baakolanga. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okubudaabuda abennyamivu, okuyamba abanafu, n’okugumiikiriza bonna.’ (1 Bas. 5:14) Ekyo kitwetaagisa okwoleka ekisa ng’ekya Kristo.

17, 18. Ezimu ku ngeri mwe tuyinza okulagira ekisa ng’ekya Yesu ze ziruwa?

17 Abakristaayo balina ‘okusembeza ab’oluganda mu ngeri ey’ekisa,’ nga babayisa nga Yesu bwe yandibayisizza, nga bafaayo ku buli omu, ka babe bamumanyidde ebbanga ddene oba nga tebamulabangako. (3 Yok. 5-8) Nga Yesu bwe yafuba okulaga abalala obusaasizi, naffe ka tufubenga okuzzaamu abalala amaanyi.​—Is. 32:2; Mat. 11:28-30.

18 Buli omu ku ffe asobola okulaga ekisa ng’afaayo ku mbeera y’abalala. Fuba okulaba engeri gy’oyinza okuyambamu abalala. Pawulo yatukubiriza nti: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka.” Yagattako nti: “Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Bar. 12:10) Ekyo kitegeeza nti tulina okukoppa ekyokulabirako kya Kristo, nga tuyisa abalala mu ngeri ennungi era eraga ekisa, nga twoleka “okwagala okutaliimu bukuusa.” (2 Kol. 6:6) Okwagala okw’engeri eyo Pawulo yakwogerako bw’ati: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekukwatibwa buggya, tekwewaana, tekwegulumiza.” (1 Kol. 13:4) Mu kifo ky’okusibira baganda baffe ne bannyinnaffe ekiruyi, ka tukolere ku kubuulirira kuno: “Mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana, nga musonyiwagana nga Katonda bwe yabasonyiwa okuyitira mu Kristo.”​—Bef. 4:32.

19. Birungi ki ebiva mu kulaga abalala ekisa ng’ekya Kristo?

19 Bwe tufuba okukulaakulanya n’okulaga ekisa ng’ekya Kristo buli kiseera ne mu mbeera zonna kituviiramu emikisa mingi. Ekibiina kijja kubaamu omwoyo gwa Yakuwa, era ebibala byagwo bijja kweyoleka. Okugatta ku ekyo, bwe tugoberera ekyokulabirako kya Yesu era ne tuyamba abalala okukola kye kimu, tusinza Katonda waffe nga tuli bumu, ekyo ne kimuleetera essanyu. N’olwekyo, ka bulijjo tufube okuba abateefu, era ab’ekisa mu nkolagana yaffe n’abalala.

Osobola Okunnyonnyola?

• Yesu yalaga atya nti yali “muteefu era muwombeefu mu mutima”?

• Yesu yalaga atya ekisa?

• Ezimu ku ngeri mwe tusobola okulagira obuteefu n’ekisa ng’ebya Kristo mu nsi eno embi ze ziruwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Okukkiriza kw’ow’oluganda bwe kuddirira nga bwe kyali ku Peetero, tuli beetegefu okumuyamba?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Oyinza otya okulaga abalala ekisa mu kibiina?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share