LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 9/15 lup. 3-6
  • Eddiini Nze Nsalawo oba Bazadde Bange?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eddiini Nze Nsalawo oba Bazadde Bange?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obuvunaanyizibwa bw’Abaana
  • Obuvunaanyizibwa bw’Abazadde
  • Obuvunaanyizibwa bw’Ekibiina
  • By’Olina Okwesalirawo
  • Okuzimba Amaka Amanywevu mu by’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Abavubuka, Musalewo ku Lwamwe Okuweereza Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 9/15 lup. 3-6

Eddiini Nze Nsalawo oba Bazadde Bange?

ABANTU bangi mu Poland batera okugamba Abajulirwa ba Yakuwa nti, “Eddiini mwe ndi mwe nnazaalirwa era mwe nja okufiira.” Baba ng’abagamba nti eddiini eba ya nsikirano. Abantu b’omu kitundu gy’obeera nabo bwe batyo eby’eddiini bwe babitwala? Kiki ekitera okuva mu kuba n’endowooza ng’eyo? Eddiini efuuka ekintu kye weenyigiramu okutuusa obutuusa omukolo ng’ogoberera ab’omu maka. Kino kiyinza okutuuka ku Bajulirwa ba Yakuwa abaayiga amazima okuva ku bazadde baabwe oba bajjajjaabwe?

Kino Timoseewo, eyasomesebwa maama we ne jjajjaawe abaali baagala ennyo Katonda, yasobola okukyewala. Timoseewo yasomesebwa ebyawandiikibwa ebitukuvu “okuva mu buwere.” Oluvannyuma lw’ekiseera ng’ayigirizibwa maama we ne jjajjaawe, Timoseewo yakiraba nti Obukristaayo ye yali eddiini ey’amazima. ‘Yakkiriza bye yayiga’ ku Yesu Kristo okuva mu Byawandiikibwa nti byali bituufu. (2 Tim. 1:5; 3:14, 15) N’olwekyo, wadde nga leero abazadde Abakristaayo bafuba okuyamba abaana baabwe okufuuka abaweereza ba Yakuwa, kino abaana bennyini be balina okukyesalirawo ku lwabwe.​—Mak. 8:34.

Buli omu alina okuyigirizibwa amazima n’agategeera bulungi bw’aba ow’okuweereza Yakuwa n’okwagala era n’obwesigwa mu mbeera eza buli ngeri. Olwo okukkiriza kwe kuba kunywevu ddala.​—Bef. 3:17; Bak. 2:6, 7.

Obuvunaanyizibwa bw’Abaana

Alberta eyakurira mu maka g’Abajulirwa agamba nti: “Bulijjo nkimanyi nti eddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa ye ntuufu, naye nga sikkiriziganya bulungi na ngeri gye baagala ntambuzeemu obulamu bwange.” Bw’oba oli muvubuka, naawe oyinza okuba ng’olina endowooza y’emu. Naye fuba okumanya ensonga lwaki Katonda atulaga engeri gye tulina okutambuzaamu obulamu bwaffe, tusobole okumuweereza n’essanyu. (Zab. 40:8) Albert agamba nti: “Nnatandika na kusaba. Kino mu kusooka nakyo kyanzibuwalira, era nneewalirizanga bwewaliriza. Naye mu bbanga ttono nnatandika okuwulira nti nnali nja kufuuka muntu wa mugaso nnyo mu maaso ga Katonda bwe nnandifubye okukola ekituufu. Kino kyampa amaanyi okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa.” Naawe bw’ofuba okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, ojja kuba musanyufu okukola by’ayagala.​—Zab. 25:14; Yak. 4:8.

Lowooza ku muzannyo gwe wali ozannyeeko, gamba ng’omweso oba omuzannyo omulala gwonna. Toyinza kugunyumirwa nga tomanyi bwe guzannyibwa, oba ng’okyayiga buyizi okuguzannya. Naye bw’okuguka mu kuguzannya, oba ogunyumirwa nnyo era okozesa buli kakisa okuguzannya. Bwe kityo bwe kiri ne ku buweereza bw’Ekikristaayo. N’olwekyo fuba okwetegekeranga enkuŋŋaana n’okuzeenyigiramu. Wadde ng’okyali muto, oyinza okuba ekyokulabirako ekirungi eri abalala!​—Beb. 10:24, 25.

Bwe kityo bwe kiri bwe kituuka ku kubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yo. Nakyo olina okukikola kyeyagalire awatali kukakibwa. Weebuuze: ‘Lwaki njagala okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa? Lwaki mmwagala?’ Weetaaga okukimanya nti Yakuwa ye Kitaffe ow’okwagala. Yayogera bw’ati okuyitira mu Yeremiya: “Mulinnoonya ne mundaba, bwe [mulinnoonya] n’omutima gwammwe gwonna.” (Yer. 29:13, 14) Kino kiyinza kukwetaagisa kukola ki? Jakub agamba nti: “Nnalina okukyusa endowooza yange. Mbadde ŋŋenda mu nkuŋŋaana ne mu buweereza bw’ennimiro okuviira ddala mu buto, naye nga ntuusa butuusa mukolo. Nnamala kutegeerera bulungi Yakuwa era ne nfuna enkolagana ennungi naye ne ndyoka ntandika okutambulira mu mazima.”

Emikwano emirungi era egizimba gijja kukuyamba okunyumirwa obuweereza bwo. Baibuli egamba nti: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi.” (Nge. 13:20) N’olwekyo, kola omukwano n’abo abalina ebiruubirirwa eby’omwoyo era abafuna essanyu mu kuweereza Yakuwa. Jola agamba nti: “Nnakola omukwano n’abavubuka bangi abaagala eby’omwoyo era banzizaamu nnyo amaanyi. Nnatandika okufuna essanyu mu buweereza bw’ennimiro.”

Obuvunaanyizibwa bw’Abazadde

Jola agamba nti: “Nneebaza nnyo bazadde bange olw’okunjigiriza ebikwata ku Yakuwa.” Yee, abazadde balina kinene nnyo kye basobola okukola mu kuyamba abaana baabwe okusalawo obulungi. Omutume Pawulo yawandiika nti: ‘Bataata, mukuze abaana bammwe mu kukangavvula kwa Yakuwa.’ (Bef. 6:4) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti abazadde basaanidde okuyigiriza abaana baabwe okukola Yakuwa by’ayagala, so si bo bye baagala. Mu kifo ky’okukubiriza omwana wo okukolerera ebyo ggwe bye wali oyagala okutuukako mu bulamu, kiba kya magezi okumuyamba okuba n’ebiruubirirwa ebituukana n’ebigendererwa bya Yakuwa!

Osobola okuyigiriza abaana bo ebikwata ku Yakuwa era ‘n’obyogerangako nga mutudde mu nnyumba, nga mutambula mu kkubo, nga mugalamidde, era nga mugolokose.’ (Ma. 6:6, 7) Ryszard ne mukyala we Ewa abalina abaana abasatu bagamba nti: “Twayogera nnyo ku buweereza obw’ekiseera kyonna obutali bumu.” Kiki ekyavaamu? “Abaana baffe baayingira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda nga bakyali bato ddala, baafuuka ababuulizi, era beesalirawo ku lwabwe okubatizibwa. Oluvannyuma, baaweereza ku Beseri oba nga payoniya.”

Kikulu nnyo abazadde okuteekawo ekyokulabirako ekirungi. Ryszard agamba, “Twafuba okulaba nti engeri gye tweyisaamu nga tuli mu kibiina teyawukana ku eyo gye tweyisaamu nga tuli awaka.” N’olwekyo weebuuze: ‘Abaana bange bafuna kifaananyi ki bwe balaba bye nkola mu bulamu? Bakiraba nti ddala njagala Yakuwa? Okwagala okwo bakulaba mu kusaba kwange ne mu nteekateeka yange ey’okwesomesa? Era bakulaba mu buweereza bwange obw’ennimiro, mu by’okwesanyusaamu, mu bye njogera ku b’oluganda ne mu ngeri gye ntwalamu eby’obugagga?’ (Luk. 6:40) Abaana bwe batunuulira by’okukola mu bulamu basobola okulaba obanga by’obayigiriza naawe by’otambulirako.

Okusobola okukuza abaana obulungi kyetaagisa okubagolola. Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘okumanyiiza omwana mu kkubo erimugwanidde okutambuliramu.’ (Nge. 22:6) Ryszard ne Ewa bagamba: “Buli mwana twasomanga naye Baibuli ku lulwe.” Kiri eri abazadde okusalawo obanga buli mwana yeetaaga kusomesebwa ku lulwe. Naye kikulu okukijjukira nti buli mwana aba n’obwetaavu obubwe. Kino kitegeeza nti abazadde balina okuyamba buli mwana nga bwe kiba kyetaagisa. Mu kifo ky’okugamba obugambi abaana bo nti ennyimba ezimu mbi, lwaki tobayigiriza engeri gye basobola okumanya ennyimba ennungi n’embi, era n’obalaga emisingi gya Baibuli egizingirwamu?

Abaana bo bayinza okuba nga bamanyi bulungi by’oyagala bakole era nga bakuwa ekifaananyi nti ebyo bye bakola. Kyokka, olina okufuba okubatuuka ku mitima. Jjukira nti “okuteesa kw’omutima gw’omuntu kulinga amazzi ag’omu luzzi oluwanvu, naye omuntu alina okutegeera alikusena.” (Nge. 20:5) Olina okukiraba amangu nga abaana bo baba bafunye emize era n’obagolola awatali kulwa. Tekiba kirungi kubamulumiriza, naye bategeeze ekikweraliikiriza era oyinza n’okubaako ebibuuzo by’olina okubabuuza. Naye era kyagala ebibuuzo ng’ebyo ne biba bya kigero. Bw’onoobakwata obulungi ojja kusobola okubatuuka ku mutima era ojja kumanya engeri y’okubayambamu.

Obuvunaanyizibwa bw’Ekibiina

Ng’omu ku baweereza ba Katonda, olina ky’oyinza okukola okuyamba abavubuka okukiraba nti amazima kintu kya muwendo nnyo? Wadde ng’abazadde be bavunaanyizibwa okutendeka abaana baabwe, ab’oluganda abalala mu kibiina basobola okubayambako, naddala abakadde. Okusingira ddala kikulu okuyamba abaana abava mu maka ng’omu ku bazadde si mukkiriza.

Abakadde bayinza kukola ki okuyamba abavubuka okwagala Yakuwa n’okuwulira nti ba mugaso? Mariusz aweereza ng’omulabirizi mu kibiina ekimu mu Poland agamba nti: “Abakadde balina okufuba kwogera n’abavubuka awatali kukoowa. Kino kiba kirungi okukikola, si lwe waba wabaddewo ekizibu lwokka, wabula ne mu biseera ebirala​—nga bali mu buweereza, oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, oba nga babakyazizza.” Babuuze engeri gye bawuliramu okuba nti bali mu kibiina. Okubalaga nti ba ddembe okwogera ekibali ku mutima kiyamba abavubuka okwenyumiriza mu kibiina.

Bw’oba oli mukadde, ofuba okukola omukwano n’abavubuka mu kibiina kyammwe? Wadde nga Albert eyayogeddwako waggulu kati aweereza ng’omukadde, yafuna ebizibu bingi ng’akyali muvubuka. Agamba nti, “Bwe nnali omuvubuka, nnali nneetaaga nnyo obuyambi bw’abakadde.” Abakadde era balaga nti bafaayo ku bavubuka nga babasabira babeere banywevu mu by’omwoyo.​—2 Tim. 1:3.

Kiba kirungi abavubuka okwenyigira mu mirimu gy’ekibiina. Bwe kitaba kityo, bayinza okudda mu kwenoonyeza ebintu by’ensi. Lwaki mwe abakulu temukola nteekateeka ne mubuulirako nabo era ne mubakolako omukwano? Funayo ekiseera obayite bakukyalire musobole okufuna omukwano omunywevu. Jola agamba nti: “Muganda wange omu payoniya yankolako omukwano. Ye muntu gwe nnasooka okugenda naye mu buweereza bw’ennimiro nga mpulira nti kye nkola nkyagala.”

By’Olina Okwesalirawo

Abavubuka mwebuuze: ‘Nnina biruubirirwa ki? Bwe kiba nti sinnabatizibwa, okubatizibwa kye kimu ku biruubirirwa byange?’ Okusalawo okubatizibwa kirina kuva mu mutima ogujjudde okwagala Yakuwa, so si ku kwagala kusanyusa bazadde bo.

Yee, Yakuwa mufuule Mukwano gwo owa namaddala, era amazima gafuule ekintu eky’omuwendo mu bulamu bwo. Ng’ayitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yagamba nti: “Tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.” Yee, Yakuwa tayinza kukwabulira ng’oli mukwano gwe. Ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga era ‘ajja kuwanirira n’omukono gwe ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.’​—Is. 41:10.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya agamu gakyusiddwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Fuba okumanya ekiri mu mutima gw’omwana wo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Okusalawo okubatizibwa kirina kuva mu mutima ogujjudde okwagala Yakuwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share