LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 10/15 lup. 22-25
  • Engeri Enkuŋŋaana Ennene Ssatu Gye Zaakyusaamu Obulamu Bwange

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Enkuŋŋaana Ennene Ssatu Gye Zaakyusaamu Obulamu Bwange
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Njiga Okuba Omuvumu
  • Njiga Okuba Omumativu
  • Tukubirizibwa Okugaziya Obuweereza Bwaffe
  • Nziramu Okusisinkana Mikwano Gyange
  • Yakuwa Annyambye Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yakuwa Ndimusasula Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Sirekeranga Awo Kuyiga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Nnyumiddwa Okuyiga n’Okuyigiriza Abalala Ebikwata ku Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 10/15 lup. 22-25

Engeri Enkuŋŋaana Ennene Ssatu Gye Zaakyusaamu Obulamu Bwange

Byayogerwa George Warienchuck

WALI owulidde ekintu mu lukuŋŋaana olunene ne kikukwatako nnyo era ne kikuleetera okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwo? Ekyo kyennyini kye kyantuukako. Bwe ntunula emabega mu bulamu bwange, waliwo enkuŋŋaana ennene ssatu ezaakyusa ennyo obulamu bwange. Olusooka lwannyamba okulekera awo okwetya; olw’okubiri lwannyamba okuba omumativu ne bye nnina; olw’okusatu lwannyamba okugaziya obuweereza bwange. Naye nga sinnayogera ku nkyukakyuka ze nnakola, ka nsooke mbabuulire ebimu ku byaliwo mu bulamu bwange nga ndi muto, ng’enkuŋŋaana zino tezinnabaawo.

Nnazaalibwa mu 1928, era twazaalibwa abaana basatu nga nze nsembayo obuto. Nze ne bannyinaze, Margie ne Olga twakulira mu kibuga South Bound Brook eky’omu ssaza ly’e New Jersey mu Amerika, nga kyalimu abantu nga 2,000 bokka. Wadde nga twali baavu, Maama yalina omutima omugabi. Buli lwe yafunanga ku ssente eziwerako, yafumbanga ekijjulo n’ayita ab’omuliraano. Bwe nnali mpeza emyaka mwenda, omukyala Omujulirwa yakyalira Maama n’amubuulira obubaka bwa Baibuli, era Maama yamuwuliriza olw’okuba yamubuulira mu lulimi lwe. Oluvannyuma, Bertha, Omujulirwa eyali wakati w’emyaka 20 ne 25, yayiga ne Maama Baibuli okutuusa lwe yatandika okuweereza Yakuwa.

Obutafaananako Maama, nze nnali nneetya nnyo era nga nnina ensonyi. Ate ne Maama yennyini yayogeranga nnyo mu ngeri enfeebya. Bwe nnakaabanga era ne mmubuuza lwaki buli kiseera aba ankolokota, yagambanga nti anjagala nnyo naye tayagala kunkola kyejo. Wadde ng’ekigendererwa kye kyali kirungi, obutasiima birungi bye nnali nkola kyandeetera okuwulira ng’atalina mugaso.

Waliwo omukyala eyayogeranga obulungi nange era lumu yansaba ŋŋende ne batabani be okusaba mu kkanisa ku ssande. Nnali nkimanyi nti okukikola tekyandisanyusizza Yakuwa, naye nnatya okunyiiza muliraanwa waffe oyo eyali ow’ekisa ennyo. Mu butuufu nnamalira ddala emyezi egiwera nga ŋŋenda mu kkanisa, wadde nga nnali nkimanyi nti kibi. Ne ku ssomero okutya abantu kyanviirangako okukola ebintu bye nnali mmanyi nti bikyamu. Omukulu w’essomero yali musajja ataddibwamu era yali yalagira abasomesa okukakasanga nti buli muyizi akubira bendera saluti. Nange saluti nnagikubanga. Kino nnakikola okumala omwaka nga mulamba, naye oluvannyuma wajjawo enkyukakyuka.

Njiga Okuba Omuvumu

Mu 1939, olukuŋŋaana lw’ekibiina olw’okusoma ekitabo twatandika okulufunira mu nnyumba yaffe. Lwakubirizibwanga ow’oluganda Ben Mieszkalski omuvubuka eyali aweereza nga payoniya. Twali twamukazaako erinnya Big Ben​—era lyali limusaanira. Yali muwanvu era nga munene ng’abulako katono butayita mu luggi lwaffe. Kyokka wadde nga yali muwagguufu, yali wa kisa nnyo era nnali mmwewa olw’okuba yabanga n’akaseko ku matama buli kiseera. Lumu yansaba tugende tubuulire ffembi, era nnakkiriza n’essanyu. Twafuuka ba mukwano nnyo. Bwe nnabanga omunakuwavu, yankwatanga bulungi era yambudaabudanga nga muganda we omuto. Kino kyandeeteranga okuwulira obulungi era nnali mmwagala okufa obufi.

Mu 1941, Ben yatusaba ffenna ab’omu maka gaffe tugende naye mu mmotoka ye ku lukuŋŋaana olunene olwali e St. Louis mu ssaza ly’e Missouri. Teeberezaamu essanyu lye nnawulira! Omuntu eyali tatambulangako lugendo lusukka mayiro 50, kati nnali ŋŋenda mu kifo ekyesudde mayiro ezisoba mu 900! Naye nno wajjawo obuzibu mu St. Louis gye twali tugenda. Abakulembeze b’amadiini baalagira abantu b’omu kitundu ekyo abaali bakkirizza okusuza Abajulirwa mu maka gaabwe okubisazaamu, era bangi baakikola. Kyokka wadde nga n’abo abaali bagenda okutusuza baatiisibwatiisibwa, baasalawo okutwaniriza. Baagamba nti baali tebayinza kumenya kisuubizo kye baakola. Obuvumu bwe baalaga bwankwatako nnyo.

Bannyinaze bombi baabatizibwa mu lukuŋŋaana olwo. Ku lunaku olwo, Ow’oluganda Rutherford eyali avudde ku Beseri e Brooklyn yawa emboozi ebuguumiriza ennyo era n’asaba abaana bonna abaali baagala okuweereza Katonda bayimirire. Abaana nga 15,000 baayimirira, nga nange mw’ontwalidde. Yatusaba ffenna abaali baagala okukola ekisingawo mu mulimu gw’okubuulira tugambe nti, “Yee.” Nnayogerera waggulu wamu n’abaana abalala bonna nti, “Yee!” Abantu bonna baakuba mu ngalo era nnawulira nga nzenna mbuguumiridde.

Nga tuvudde ku lukuŋŋaana, twakyalira ow’oluganda omu mu West Virginia. Yatunyumiza nti lumu bwe yali abuulira, yalumbibwa ekibinja ky’abantu ne bamukuba, era nti baamusiiga ebisandasanda yenna ne bamutimbako n’ebyoya. Bye yali anyumya byantiisa nnyo. Kyokka ow’oluganda oyo yagamba nti, “Oba kiba kibe, nja kweyongera okubuulira.” Twagenda okuva ewuwe nga ndi mugumu okukira Dawudi. Nange nnali mwetegefu okwaŋŋanga Goliyaasi​—omukulu w’essomero lyaffe.

Olwali okudda ku ssomero ne ntuukirira omukulu w’essomero. Yansimba amaaso era mu kaseera ako nnasaba Yakuwa annyambe. Nnamugamba nti: “Nnaakava mu lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa. Sijja kuddamu kukubira bendera saluti!” Waaliwo akasiriikiriro akawera. Oluvannyuma yayimuka mpola n’atambula ng’ajja gye ndi era nga yenna aswakidde. Yamboggolera nti: “Oteekwa okukubira bendera saluti oba toyagala ng’essomero olifuluma!” Ku luno nnagaana okwekkiriranya, era nnawulira essanyu mu mutima lye nnali siwulirangako.

Nnali nneesunga okulaba Ben mmubulire ebyali bibaddewo. Era olwamulaba nga ntuuse mu Kizimbe ky’Obwakabaka nnayogerera waggulu nti: “Munnange bangobye mu ssomero olw’okuba nnagaanye okukubira bendera saluti!” Ben yanteeka omukono ku kibegabega nga bw’amwenya n’aŋŋamba nti: “Nkubuulire, Yakuwa akwagala nnyo.” (Ma. 31:6) Ebigambo ebyo nga byanzizaamu nnyo amaanyi! Nnabatizibwa nga 15 Jjuuni 1942.

Njiga Okuba Omumativu

Ssematalo II bwe yaggwa, eby’enfuna mu ggwanga byalongooka mangu era omwoyo gw’okwagala okugaggawala gwabuna mu bantu. Nnalina omulimu omulungi era nga nsobola okwetuusaako ebintu bye nnali sirowooza nti ndibifuna. Mikwano gyange abamu beegulira ppikipiki n’abalala baalongoosa amayumba gaabwe. Nze nneegulira emmotoka empya ttuku era mu bbanga ttono ebirowoozo byandi ku kweyongera kufuna bintu, so si ku Bwakabaka. Kyokka muli nnali nkimanyi nti ekkubo lye nkutte kkyamu. Eky’omukisa omulungi, olukuŋŋaana olunene olwali mu kibuga New York mu 1950 lwannyamba okukola enkyukakyuka.

Mu lukuŋŋaana olwo, aboogezi abatali bamu baatukubiriza okunyiikirira omulimu gw’okubuulira. Omu yatugamba nti, “Mweggyeko buli kintu ekiteetaagisa musobole okudduka obulungi empaka.” Yalinga agambira ddala nze. Nnatunuulira ab’oluganda abaali baakafuluma mu Ssomero lya Giriyadi, muli ne ŋŋamba nti, ‘Obanga Abajulirwa bano abali mu myaka gyange beefiirizza okufuna ebintu ne beewaayo okuweereza mu nsi endala, lwaki nange sikola kye kimu wano ewaffe.’ Nnagenda okuva ku lukuŋŋaana olwo nga nsazeewo okufuuka payoniya.

Mu kiseera ekyo nnali ntandise okwogereza Evelyn Mondak eyali mu kibiina kyange era nga munyiikivu mu buweereza bwe. Maama wa Evelyn, eyakuza abaana omukaaga, yali mukazi muvumu. Yateranga nnyo okuyimirira mu maaso ga Kkeleziya y’Abakatuliki eyali ennene n’abuulira abantu abaabanga bayitawo. Kino abasaseredooti kyabanyiizanga nnyo naye nga ne bwe bamutiisatiisa tavaawo. Okufaananako nnyina, Evelyn naye yali tatya bantu.​—Nge. 29:25.

Mu 1951, nze ne Evelyn twafumbiriganwa, era twaleka emirimu gyaffe ne tutandika okuweereza nga bapayoniya. Omulabirizi w’ekitundu yatutegeeza ku bwetaavu bw’ababuulizi obwaliwo mu Amagansett, ekyalo ekiri ku lubalama lw’Ennyanja Atalantika ekyesudde mayiro nga kikumi okuva mu kibuga New York. Olw’okuba ab’omu kibiina kyayo tebaalina we basobola kutusuza, twagezaako okugula ekyana ky’emmotoka mwe tuyinza okusula naye nga kiri ku bbeeyi nnene. Oluvannyuma twafuna ekikaddekadde era nnyini kyo yakituguza doola 900​—ssente zennyini ezaali zituweereddwa ng’ekirabo nga tufumbiriganwa. Twakiddaabiriza era ne tukikulula okukituusa mu kitundu gye twali tugenda okubuulira. Kyokka twagenda okutuukayo nga tetusigazza wadde ennusu era nga tetumanyi bwe tugenda kweyimirizaawo.

Evelyn yafuna omulimu ogw’okuyonja amayumba, ate nze ne nfuna ogw’okuyonja ekiro mu kawooteeri akaali ak’Abayitale. Nnannyini ko yaŋŋamba nti, “Emmere eba efisseewo oli wa ddembe okugitwalira mukyala wo.” Bwe kityo, bwe nnakomangawo mu kiyumba kyaffe ku ssaawa munaana ogw’ekiro, nga kyonna kijjula akawoowo ka ppiza n’amakolooni. Twabibugumyanga ne tulya, era ekyo kyatuyambanga n’okukendeeza ku bunnyogovu obwabanga mu kiyumba kyaffe, naddala mu biseera by’obutiti. Oluusi ab’oluganda baatuleeteranga ebyennyanja ne babituteera awo ku mulyango. Emyaka gye twamala nga tuweereza n’ab’oluganda b’omu Amagansett gyatuyamba okulaba nti omuntu aba mumativu nnyo bwe yeemanyiiza okuba n’ebintu bye yeetaaga mu bulamu byokka. Emyaka egyo gyatuleetera essanyu lya nsusso.

Tukubirizibwa Okugaziya Obuweereza Bwaffe

Mu Jjulaayi 1953, twanyumyako n’abaminsani bangi nnyo abaali bazze mu lukuŋŋaana lw’ensi yonna olwali mu kibuga New York. Baatunyumiza ebintu ebirungi bingi, era naffe twabuguumirira olw’essanyu lye baalina. Ng’oggyeko ekyo, omwogezi omu bwe yakiggumiza nti ensi nnyingi zaali tezinnabuulirwamu mawulire ga Bwakabaka, twategeera kye tulina okukola​—twalina okugaziya obuweereza bwaffe. Era nga tetunnava mu lukuŋŋaana olwo twajjuza foomu ne tusaba okuyingira obuminsani. Mu mwaka ogwo gwennyini twayitibwa okutendekebwa mu Ssomero lya Giriyadi mu mugigi ogwa 23 ogwatandika mu Febwali 1954. Eno yali nkizo ya kitalo!

Twasanyuka nnyo bwe twasindikibwa okuweereza e Brazil. Nga tetunnatandika lugendo lwaffe olwatutwalira ennaku 14 ku mmeeri, ow’oluganda omu alina obuvunaanyibwa mu Beseri yanziza ebbali n’aŋŋamba nti: “Ggwe ne mukyala wo mugenda kugenda e Brazil wamu ne bannyinaffe abalala mwenda abatali bafumbo. Fuba okubalabirira obulungi!” Kuba akafaananyi engeri abantu gye bantunuuliramu bwe nnalinnya emmeeri nga ndi n’abawala kkumi ddamba. Naye bo bannyinaffe ekyo tebaakifunamu buzibu bwonna. Wadde kyali kityo, nnawulira obuweerero bwa maanyi nga tutuuse e Brazil.

Nga mmaze okuyiga Olupotugo, nnasindikibwa okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu Rio Grande do Sul, essaza eriri mu bukiika ddyo bwa Brazil. Ow’oluganda gwe nnaddira mu bigere era eyali obwannamunigina yatugamba nze ne mukyala wange nti: “Kinneewuunyisizza okuIaba nti baweerezza omuntu omufumbo. Ekitundu kino nga kya nsozi nnyo.” Ebibiina by’omu kitundu ekyo byonna byali byesudde, era ng’ebimu gye biri wagendayo loole zokka. Kasita omugoba wamuguliranga eby’okulya, ng’akukkiriza okulinnya emmotoka. Okufaananako abeebagala embalaasi, twatuulanga waggulu ku migugu ng’amagulu tugatadde eruuyi n’eruuyi waagyo, ng’eno bwe twekutte ku miguwa egyabanga gisibye ebintu. Buli loole lwe yawetanga ekkoona ery’amaanyi, omuntu eyabanga teyeenywezezza nga tawona kubanga emigugu gyewunzikiranga ku ludda lumu, ne tulengera ne wansi mu biwonvu. Kyokka essanyu ab’oluganda lye baatulaganga lyatwerabizanga ebizibu bye twabanga tuyiseemu okubatuukako.

Twasulanga mu maka g’ab’oluganda. Baali baavu nnyo, naye nga batuwa buli ke balina. Mu kitundu ekimu ekyali kyesudde ennyo, ab’oluganda bonna baali bakola mu kampuni etunda ennyama. Olw’okuba baali bafuna omusaala mutono, baali balya omulundi gumu olunaku. Olunaku lwe bataakolanga nga tebasasulwa. Kyokka bwe twakyaliranga ekibiina kyabwe, tebaakolanga okumala ennaku bbiri basobole okuwagira enteekateeka y’ekibiina. Obwesige bwabwe bwali mu Yakuwa. Tetugenda kwerabira bye twayigira ku b’oluganda abo abaali abeetoowaze, olw’engeri gye beefiirizanga basobole okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Ekiseera kye twamala nabo twayiga ebintu ebitasobola kuyigirwa mu ssomero lyonna. Na buli kati bwe ndowooza ku b’oluganda abo, essanyu lye nfuna lindeetera okuyunguka amaziga.

Mu 1976, twaddayo mu Amerika okulabirira mmange eyali mu mbeera embi. Wadde nga kyatunakuwaza okuva mu Brazil, tuli basanyufu olw’enkizo gye twafuna okuyamba mu kukulaakulanya omulimu gw’Obwakabaka mu ggwanga eryo. Buli lwe tufuna ebbaluwa okuva e Brazil, nzijukira ebintu bingi ebyatuleeteranga essanyu mu kiseera ekyo eky’obulamu bwaffe.

Nziramu Okusisinkana Mikwano Gyange

Ng’oggyeko okulabirira Maama, twaweerezanga nga bapayoniya era nga bwe tukola emirimu egy’okuyonja amayumba. Maama yafa mu 1980 ng’akyaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Oluvannyuma nnasabibwa okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu Amerika. Mu 1990, nze ne mukyala wange twakyalira ekibiina ekimu mu Connecticut ne tusangayo omuntu ow’enjawulo ennyo. Omu ku bakadde abaali mu kibiina ekyo yali Ben, nga y’oli eyannyamba okufuuka omuweereza wa Yakuwa emyaka 50 emabega. Essanyu lye twalina nga tugwaŋŋana mu kifuba terirojjeka.

Mu 1996, nze ne Evelyn twasindikibwa mu kibiina ky’olulimi Olupotugo mu kibuga Elizabeth eky’omu New Jersey okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo abakaddiye. Obulwadde bugenda buŋŋonza, naye mukyala wange annyamba okukola buli kye nsobola mu buweereza bw’ennimiro. Evelyn alina ne nnamukadde omulala atuli okumpi gw’alabirira. Nnamukadde oyo ye Bertha, nga y’oli eyayamba maama wange okufuuka omuweereza wa Yakuwa emyaka nga 70 emabega! Kituwa essanyu okukozesa akakisa ako okumulaga okusiima olw’ebyo bye yakolera ab’omu maka gaffe ng’abayamba okuyiga amazima.

Ndi musanyufu nnyo olw’enkuŋŋaana ezo ezannyamba okunywerera mu kuweereza Yakuwa, okufuula obulamu bwange obwangu, n’okugaziya obuweereza bwange. Yee, enkuŋŋaana ezo ennene zaakyusa nnyo obulamu bwange.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Maama wa Evelyn (ku kkono) ne maama wange

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Mukwano gwange Ben

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Nga tuli mu Brazil

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Nze ne Evelyn leero

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share