Engeri Y’okufuna Essanyu Mu Maka
Munno mu Bufumbo bw’Aba Yeetaaga Obuyambi obw’Enjawulo
Okuva bwe kyazuulibwa nti nnina obulwadde obuyitibwa chronic fatigue syndrome (obulwadde obw’olukonvuba obuleetera omuntu okuwulira nga mukoowu buli kiseera), omwami wange y’abadde akola emirimu gyonna egivaamu ssente. Naye tambuulirako ssente ze tusaasaanya. Lwaki tantegeezaako ku by’enfuna yaffe? Eby’enfuna yaffe biteekwa okuba nga bibi nnyo era ng’alowooza nti singa nkimanya nnyinza okuyisibwa obubi.—Nancy.a
OBUFUMBO buyinza okubaamu ebizibu, naye ate omu ku bafumbo bw’afuna obulwadde obw’olukonvuba ng’ate omulala mulamu bulungi, ebizibu bisobola okweyongera.b Olina munno mu bufumbo omulwadde? Bwe kiba bwe kityo, wandiba nga weebuuza ekimu ku bibuuzo bino: ‘Nnaakola ntya singa obulwadde bwa munnange bweyongera? Kinaantwalira bbanga ki okulabirira munnange nga kw’otadde okufumba emmere, okuyonja awaka, era n’okukola emirimu egivaamu ssente? Lwaki mpulira nga kinnumiriza olw’okuba nze ndi mulamu?’
Ku luuyi olulala, bw’oba nga ggwe mulwadde, oyinza okuba nga weebuuza ebibuuzo bino: ‘Nnyinza ntya okwewa ekitiibwa bwe mba nga sikyasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwange? Munnange mu bufumbo takyanjagala olw’okuba ndi mulwadde? Tetukyali basanyufu nga bwe twali?’
Eky’ennaku, obufumbo obumu busasise olw’ebizibu ebibaawo ng’omu ku bafumbo alina obulwadde obw’olukonvuba. Kyokka, kino tekitegeeza nti n’obubwo bujja kusasika.
Obufumbo bungi tebusasise wadde ng’abamu ku bafumbo balina obulwadde obw’olukonvuba. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Yoshiaki ne Kazuko. Yoshiaki yafuna ekizibu ku nkizi n’aba nga takyasobola na kutambula awatali muntu amuyamba. Kazuko agamba: “Mwami wange yeetaaga okuyambibwako mu buli kimu. Olw’okuba mba mulabirira buli kiseera, kindeetedde okulumizibwa ensingo, ekibegabega, n’emikono, era nange ntera okugenda okufuna obujjanjabi mu ddwaliro erikola ku balwadde b’amagumba. Oluusi mpulira nga tekinnyanguyira kumulabirira.” Wadde kiri kityo, Kazuko agamba nti: “Obufumbo bwaffe bweyongedde okunywera.”
Kiki ekisobola okuyamba abafumbo abali mu mbeera ng’ezo okuba abasanyufu? Ekimu ku ebyo ebisobola okubayamba kwe kutunuulira obulwadde ng’ekizibu ekyabwe bombi so si eky’oyo yekka omulwadde. Gw’ate oba, omu bw’alwala, bombi bakosebwa, ne bwe kiba mu ngeri za njawulo. Enkolagana eno ebaawo wakati w’omwami n’omukyala eyogerwako bw’eti mu Olubereberye 2:24: ‘Eyo y’ensonga lwaki omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, era anaanywereranga ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.’ N’olwekyo, omu ku bafumbo bw’abeera n’obulwadde obw’olukonvuba, kiba kikulu nnyo bombi omwami n’omukyala okukolera awamu okusobola okwaŋŋanga ekizibu ekyo.
Okugatta ku ekyo, okunoonyereza okumu okukoleddwa kulaga nti abafumbo abeeyongera okuba n’enkolagana ennungi wadde ng’omu ku bo alina obulwadde obw’olukonvuba beebo abakkiriza embeera gye balimu era ne bamanya engeri gye bayinza okutuukana nayo. Ebyo bye bakoze okwaŋŋanga embeera gye balimu bituukagana bulungi n’amagezi agali mu Baibuli. Lowooza ku magezi gano ag’emirundi essatu agaweereddwa wammanga.
Buli Omu Afeeyo ku Munne
Omubuulizi 4:9 lugamba nti: “Babiri basinga omu.” Lwaki? Kubanga, olunyiriri 10 lugamba nti, ‘omu bw’agwa, omulala amuyimusa.’ ‘Oyimusa munno’ ng’okozesa ebigambo ebimusiima?
Waliwo engeri yonna buli omu ku mmwe gy’ayinza okuyambamu munne? Yong, alina omukyala eyasannyalala oludda olumu agamba nti: “Buli kiseera, nfuba okulaba nti nfaayo ku mukyala wange. Buli lwe mpulira ng’ennyonta ennuma, muli mba ndowooza nti oboolyawo ne mukyala wange emuluma. Bwe mba nga njagala okufulumako ebweru okulaba ku bifo ebirabika obulungi, mubuuza obanga yandyagadde tugende ffembi. Tulumirwa wamu era embeera eyo tugyaŋŋanga ffembi.”
Ku luuyi olulala, bw’oba nga gwe mulwadde, waliwo by’oyinza okwekolera nga tokosezza bulamu bwo? Bwe kiba bwe kityo, kino kiyinza okukuleetera okwongera okuwulira ng’oli wa mugaso era kiyinza okuleetera munno okwongera okukulabirira.
Mu kifo ky’okulowooza nti omanyi engeri esingayo obulungi ey’okufaayo ku munno, lwaki tomubuuza n’akubuulira ekyo kye yandisinze okwagala omukolere? Nancy, eyayogeddwako waggulu, oluvannyuma yategeeza mwami we engeri gye yayisibwangamu olw’obutamanya mbeera y’amaka gaabwe ey’eby’enfuna. Kati omwami we afuba nnyo okumubuulira ebikwata ku nsonga eno.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Kola olukalala lw’ebyo by’olowooza nti munno bye yandikoze okusobola okuwewula ku mbeera gy’olimu, era saba munno naye akole kye kimu. Oluvannyuma, buli omu awe munne olukalala lw’akoze. Buli omu afuneyo ekintu kimu oba bibiri ebiri ku lukalala lw’afunye by’ayinza okuteeka mu nkola.
Beera n’Eteekateeka Etagudde Lubege
Kabaka Sulemaani yagamba nti, ‘Buli kintu kiriko ekiseera kyakyo.’ (Omubuulizi 3:1) Kyokka, kiyinza okulabika ng’ekizibu okuba n’enteekateeka etagudde lubege, okuva bwe kiri nti obulwadde obw’olukonvuba buyinza okutaataaganya enteekateeka y’amaka yonna. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuba n’enteekateeka etagudde lubege?
Mwembi muyinza okufunayo ekiseera ne mulowooza ku bintu ebirala mu kifo ky’okweraliikira obulwadde. Musobola okukola ebimu ku bintu bye mwanyumirwanga okukolera awamu ng’omu ku mmwe tannalwala? Bwe kiba tekisoboka, kiki kati kye musobola okugezaako okukola? Muyinza okukola ekintu ekitonotono gamba, nga buli omu abaako ky’asomera munne oba okukola ekintu ekizibuko gamba ng’okuyiga olulimi olulala. Singa wabaawo ebintu bye musobola okukolera awamu wadde ng’omu mulwadde, kijja kunyweza obufumbo bwammwe mweyongere okuba “omubiri gumu”—era kino kijja kwongera ku ssanyu lyammwe.
Ekirala ekinaabayamba obutagwa lubege bwe buteeyawula ku balala. Baibuli egamba bw’eti mu Engero 18:1: “Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, era alalukira amagezi gonna amatuufu.” Okyetegerezza mu kyawandiikibwa ekyo nti okweyawula kusobola okubaako ekikyamu kye kukola ku ndowooza yammwe? Okwawukana ku ekyo, oluusi n’oluusi okubeerako awamu n’abalala kisobola okubazzaamu amaanyi era ne kibayamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Lwaki temubaako be muyita ne babakyalirako?
Oluusi, kiyinza okuba ekizibu eri oyo alabirira munne obutagwa lubege. Abamu bakola emirimu mingi egibaleetera okukoowa ennyo era n’okukosa obulamu bwabwe. Kino kiyinza okubalemesa okweyongera okulabirira abaagalwa baabwe. N’olwekyo, bw’oba ng’olabirira munno alina obulwadde obw’olukonvuba, tolagajjalira bulamu bwo. Funayo ekiseera eky’okuwummulako.c Abamu bakisanze nga kya muganyulo okubuulirako mikwano gyabwe bwe bafaanaganya ekikula ebyo ebiba bibeeraliikiriza.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Wandiika ebizibu by’osanga mu kulabirira munno. Era wandiika ebyo by’oyinza okukola okusobola okugonjoola ebizibu ebyo oba okubyaŋŋanga mu ngeri esingayo obulungi. Mu kifo ky’okubirowoozaako ennyo, weebuuze, ‘Kiki kye nnyinza okukola okusobola okutereeza embeera?’
Fuba Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu
Baibuli erabula nti: “Toyogeranga nti nsonga ki ennaku ez’edda kye zaavanga zisinga zino?” (Omubuulizi 7:10) N’olw’ensonga eyo, weewale okulowooza ennyo ku mbeera gye wandibaddemu nga toli mulwadde. Kijjukire nti essanyu lye tufuna mu nsi lya kaseera buseera. Ensonga esinga obukulu kwe kukkiriza embeera gy’olimu era n’okukola ekyo ky’osobola.
Kiki ekisobola okukuyamba ggwe ne munno nga muli mu mbeera eno? Mwogere ku mikisa gye mufunye. Singa munno omulwadde afuna akalembereza, musanyukire wamu. Mulowooze ku ebyo bye mwesunga era mweteerewo ebiruubirirwa mwembi bye muyinza okutuukako.
Abafumbo Shonji ne Akiko bakoledde ku magezi ago waggulu era ebivuddemu bibadde birungi. Bwe kyazuulibwa nti Akiko alina obuladde obuleeta obulumi obw’amaanyi mu binywa obuyitibwa fibromyalgia, baalina okulekayo obuweereza bwabwe obw’Ekikristaayo obw’ekiseera kyonna. Kino kyabamalamu amaanyi? Awatali kubuusabuusa. Kyokka, Shonji awa amagezi abo bonna abali mu mbeera efaananako bw’etyo nti: “Tewemalaamu maanyi ng’olowooza ku bintu byotakyasobola kukola. Beera n’endowooza ennuŋŋamu. Ka kibe nti mwembi musuubira nti ekiseera kirituuka ne muddamu okukola ebintu bye mwakolanga edda, musse ebirowoozo byammwe ku ebyo bye musobola okukola mu kiseera kino. Ku lwange, ekyo kiba kitegeeza nti nnina okufaayo ennyo ku mukyala wange era n’okumuyamba.” Amagezi ng’ago naawe gasobola okukuyamba bw’oba ng’olina munno mu bufumbo eyeetaaga obuyambi obw’enjawulo.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.
b Ekitundu kino kyogera ku mbeera ebaawo ng’omu ku bafumbo alina obulwadde obw’olukonvuba. Wadde kiri kityo, abafumbo abalina obulemu ku mubiri nga bwava ku bubenje oba abo abennyamivu, nabo basobola okuganyulwa bwe bagoberera amagezi agaweereddwa mu kitundu kino.
c Okusinziira ku mbeera gy’olimu, kiyinza okuba eky’amagezi oluusi n’oluusi okufuna obuyambi okuva eri abasawo oba n’ebitongole ebikola ku mbeera z’abantu bwe biba nga weebiri.
WEEBUUZE . . .
Kiki nze ne munnange mu bufumbo kye twetaaga ennyo okukola kati?
▪ Okwogera ennyo ku bulwadde
▪ Obutabwogerako nnyo
▪ Obuteeraliikirira kisukkiridde
▪ Buli omu okwongera okufaayo ku munne
▪ Okukola ebintu ebirala ng’ogyeko okulowooza ku bulwadde
▪ Okwongera okubeerako awamu n’abalala
▪ Okweteerawo ebiruubirirwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Obutagwa lubege, muyinza okukolerako awamu ebintu ebibanyumira?