Engeri y’Okufuna Essanyu mu Maka
Okugonjoola Ebizibu
Omwami abuuza: “Abawala bali ludda wa?”
Omukyala amuddamu: “Baagenze kugula ngoye.”
Omwami agamba: [Ng’anyiize era ng’ayogerera waggulu] “Kiki ky’otegeeza nti ‘bagenze kugula ngoye’? Abaakagula engoye jjuuzi wano omwezi oguwedde!”
Omukyala agamba: [Munyiivu era yeewolereza] “Engoye baazisaze ebbeeyi. Ate baasoose kunsaba nga tebannagenda.”
Omwami agamba: [Ng’asunguwadde era ng’aboggoka] “Okimanyi nti ssaagala baana abo kukozesa ssente nga sibakkirizza! Oyinza otya okusalawo nga tosoose kunneebuuzaako?”
OLOWOOZA bizibu ki abafumbo abo aboogeddwako waggulu bye balina okugonjoola? Kyeyoleka bulungi nti omwami kimuzibuwalira okufuga obusungu bwe. Ng’oggyeko ekyo, kirabika nti abafumbo bano tebakkiriziganya ku ddembe baana baabwe lye basaanidde kuba nalyo. Ate era kirabika tebategeeragana bulungi.
Teriiyo bufumbo butuukiridde. Abafumbo bonna bafuna ebizibu. Ka bibe binene oba bitono, kikulu nnyo omwami n’omukyala okuyiga engeri y’okubigonjoolamu. Lwaki?
Ebizibu bwe bimala ekiseera nga tebigonjoddwa biyinza okulemesa abafumbo okuba n’enkolagana ennungi. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba nti, ‘Waliwo ennyombo eziringa ebisiba eby’ekigo.’ (Engero 18:19) Oyinza kukola ki okusobola okuteekawo embeera ennungi bwe muba mugonjoola ebizibu?
Ng’omutima n’amawuggwe bwe biyamba omusaayi okutambula obulungi, okwagala n’okuwaŋŋana ekitiibwa nabyo bwe bityo biyamba okuleetawo enkolagana ennungi mu bufumbo. (Abaefeso 5:33) Abafumbo bwe baba bagonjoola ebizibu, okwagala kujja kubayamba okussa essira ku kizibu ekirina okugonjoolwa, n’obutatunuulira nsobi ezaakolebwa emabega n’ebizibu ebyavaamu. (1 Abakkolinso 13:4, 5; 1 Peetero 4:8) Abafumbo bwe baba bawaŋŋana ekitiibwa buli omu aleka munne okwogera ekimuli ku mutima, era afuba okumanya munne ky’aba ategeeza.
Emitendera Ena Egiyitirwamu Okugonjoola Ebizibu
Lowooza ku mitendera gino ena egyogerwako wammanga, era weetegereze engeri emisingi gya Baibuli gye giyinza okukuyamba okugonjoola ebizibu.
1. Musseewo ekiseera eky’okwogera ku kizibu. “Buli kintu kiriko entuuko yaakyo, . . . ekiseera eky’okusirikiramu, n’ekiseera eky’okwogereramu.” (Omubuulizi 3:1, 7) Nga bwe kiragiddwa mu ntandikwa, ebizibu ebimu biyinza okuleetera omuntu okuwulira obusungu. Singa ekyo kibaawo, kiba kirungi ne musooka muyimiriza kye mubadde mwogerako—‘musirikemu’—nga temunnasunguwala nnyo. Mujja kwewala ebizibu bingi mu bufumbo bwe munaagoberera okubuulirira kwa Baibuli kuno: “Okutanula okuyomba kuli ng’omuntu bw’aggulira amazzi: kale olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba.”—Engero 17:14.
Kyokka, waliwo ‘n’ekiseera eky’okwogereramu.’ Ebizibu bwe bitagonjoolwa, bikula mangu ng’omuddo. N’olwekyo, temulowooza nti ekizibu kiyinza okuvaawo kyokka. Singa osalawo okuyimiriza kye mubadde mwogerako, laga nti owa munno ekitiibwa ng’omubuulira ddi lwe munaddamu okukyogerako. Ekyo kijja kubayamba okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli kuno: “Enjuba eremenga okuggwa ku busungu bwammwe.” (Abaefeso 4:26) Kiba kirungi okutuukiriza ky’osuubizza.
MUGEZEEKO OKUKOLA BWE MUTI: Musseewo ekiseera eky’okwogera ku bizibu by’omu maka gammwe buli wiiki. Bwe wabaawo ebiseera bye mulaba nti muyomba mangu—ka tugambe nga mwakadda okuva ku mulimu oba ng’enjala ebaluma—mukkiriziganye obutayogera ku bizibu byammwe mu biseera ng’ebyo. Mufune ekiseera ekirala nga mwembi muli bakkakkamu.
2. Yogera ekizibu kyo mu ngeri eraga nti owa munno ekitiibwa. “Mwogerenga amazima buli muntu ne munne.” (Abaefeso 4:25) Bw’oba oli mufumbo, mwami wo oba mukyala wo y’asingayo okuba munno. N’olwekyo bw’oba oyogera naye mubuulirire ddala ekikuli ku mutima. Margaretaa eyaakamala emyaka 26 mu bufumbo agamba nti: “Bwe nnali nnaakafumbirwa, nnali nsuubira nti baze ajja kumanya engeri gye mpisibwamu nga wazeewo ekizibu wadde nga sirina kyenjogedde. Naye nnakizuula nti endowooza yange yali nkyamu. Kati nfuba okumubuulira ekindi ku mu mutima.”
Bwe muba mulina ekizibu kye mwogerako, jjukira nti ekigendererwa kyo si kuwangula mpaka, wabula kutegeeza munno ky’olowooza. Ekyo okusobola okukikola obulungi, yogera ky’olowooza nti kye kizibu, ddi lwe kibaawo, era nnyonnyola engeri gye kikuyisaamu. Ng’ekyokulabirako, singa munno akunyiiza olw’okumala gateeka bintu buli w’asanze, mu ngeri eraga nti omuwa ekitiibwa oyinza okumugamba bw’oti, ‘Bw’okomawo okuva ku mulimu n’omala gasuula engoye buli w’osanze [ddi lwe kibaawo ne ky’olowooza nti kye kizibu], muli mpulira nti tosiima ngeri gye nfuba kuyonja waka [engeri gye kikuyisaamu].’ Kati olwo mu ngeri ey’amagezi, mubuulire ky’olowooza nti kye kinaagonjoola ekizibu ekyo.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Okusobola okusengeka obulungi ebirowoozo byo nga tonnayogera ne munno, wandiika ky’olowooza nti kye kizibu, n’engeri gye wandyagadde kigonjoolwemu.
3. Wuliriza era fuba okutegeera engeri munno gy’awuliramu. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti Abakristaayo balina okuba ‘abangu okuwulira, abalwawo okwogera, era abalwawo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) Ekimu ku bisinga okumalawo essanyu mu bufumbo kwe kuba nti munno tategeera ngeri gy’oyisibwamu nga waliwo ekizibu. N’olwekyo, beera mumalirivu obutaleetera munno kulowooza nti totegeera ngeri gy’awuliramu!—Matayo 7:12.
Wolfgang, amaze emyaka 35 nga mufumbo, agamba nti, “Bwe tuba twogera ku bizibu, mpulira obusungu naddala bwe ndaba nga mukazi wange tategeera kye mba ngezaako kumunnyonnyola.” Dianna, amaze emyaka 20 mu bufumbo, agamba nti, “Ntera okwemulugunyiza mwami wange olw’obutampuliriza bwe tuba twogera ku bizibu.” Bw’oba olina ekizibu kino, oyinza kukola ki okukigonjoola?
Tomala galowooza nti otegeera munno ky’alowooza oba engeri gy’awuliramu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Amalala galeeta okuwakana okwereere: naye amagezi gaba n’abo abateesa obulungi.” (Engero 13:10) Kirage nti munno omuwa ekitiibwa ng’omuleka okwogera ky’alowooza. Okukakasa nti by’ayogedde obitegedde bulungi, biddemu mu bigambo byo, naye nga tomujerega oba okumukambuwalira. Muleke akugolole bw’oba wamufunye bubi. Teweefuga mboozi. Kola bw’otyo okutuusa nga buli omu ategeede bulungi endowooza n’enneewulira ya munne ku nsonga gye mwogerako.
Kyo kituufu nti kyetaagisa obuwombeefu n’obugumiikiriza okusobola okuwuliriza obulungi n’okutegeera munno ky’agamba. Naye singa ofuba okuwa munno ekitiibwa mu ngeri eyo, naye kijja kumusikiriza okukuwa ekitiibwa.—Matayo 7:2; Abaruumi 12:10.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Bw’oba oddamu munno ky’agambye, toddamu buzi bigambo byennyini by’ayogedde. Mu ngeri ey’ekisa, gezaako okunnyonnyola ky’olowooza nti ky’abadde ategeeza n’engeri gy’awuliramu.—1 Peetero 3:8.
4. Mukkiriziganye ku ngeri y’okugonjoolamu ekizibu. “Babiri basinga omu; kubanga baba n’empeera ennungi olw’okutegana kwabwe. Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne.” (Omubuulizi 4:9, 10) Ebizibu bitono nnyo mu bufumbo ebiyinza okugonjoolwa ng’abafumbo bombi tebakoledde wamu.
Kituufu nti Yakuwa yateekawo omusajja okuba omutwe gw’amaka. (1 Abakkolinso 11:3; Abaefeso 5:23) Naye ekyo tekitegeeza nti omusajja alina kuba nnaakyemalira. Omusajja ow’amagezi tajja kusalawo nga tafuddeyo ku mukazi we ky’alowooza. David, amaze emyaka 20 mu bufumbo, agamba nti, “Nfuba okusalawo ng’ansinziira ku ebyo nze ne mukazi wange bye tukkiriziganyaako.” Tanya, eyaakamala emyaka musanvu mu bufumbo, agamba nti: “Ekikulu si kwe kumanya ani mutuufu oba ani mukyamu. Oluusi wayinza okubaawo engeri ezitali zimu ez’okugonjoolamu ekizibu. Nkizudde nti kirungi obutaba mukakanyavu.”
MUGEZEEKO OKUKOLA BWE MUTI: Mutuule wamu muwandiike buli kye mulowooza nga kye kinaagonjoola ekizibu. Bwe mumala okukola ekyo, mwekenneenye olukalala lwe mukoze era mukkiriziganye ku ky’okukola. Oluvannyuma, musalewo ddi lwe munaddamu okulaba obanga kye musazeewo munaaba mukitadde mu nkola era oba nga kibayambye okugonjoola ekizibu.
Musse Kimu
Ng’ayogera ku bufumbo, Yesu yagamba nti: “Katonda kye yagatta awamu omuntu, omuntu takyawulangamu.” (Matayo 19:6) Ebigambo ‘okugatta awamu’ bikyusibwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza ‘okusibibwa awamu mu kikoligo.’ Mu biseera bya Yesu, ekikoligo kyabanga kiti ekyakozesebwanga okugatta awamu ensolo ebbiri zisobole okubaako emirimu gye zikola. Ensolo bwe zaabanga tezikoledde wamu, zaabanga teziyinza kukola bulungi mirimu era ekikoligo kyazinyiganga ensingo. Bwe zaakoleranga awamu, zaasobolanga okuwalula ebintu ebizito oba okulima.
Mu ngeri y’emu, omwami n’omukyala bwe batassa kimu, obufumbo bwabwe bubaamu ebizibu bingi. Ku luuyi olulala, bwe bayiga okussa ekimu, basobola okugonjoola kumpi buli kizibu, era ne batuuka ku birungi bingi. Kalala, omusajja ali mu bufumbo obw’essanyu awumbawumbako bw’ati ensonga eno, “Okumala emyaka 25, nze ne mukyala wange tusobodde okugonjoola ebizibu byaffe nga tubyogerako mu bwesimbu, nga buli omu afuba okutegeera endowooza ya munne, nga tusaba Yakuwa okutuyamba, era nga tussa mu nkola emisingi gya Baibuli.” Naawe osobola okukola kye kimu?
WEEBUUZE . . .
▪ Kizibu ki kye nsinga okwagala okwogerako ne munnange mu bufumbo?
▪ Nnyinza kukola ki okukakasa nti ntegeera bulungi engeri munnange gy’awuliramu ku nsonga eno?
▪ Okukalambira ku kye njagala buli kiseera kiyinza kuvaamu bizibu ki?
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.