LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 4/1 lup. 4-9
  • Ebiyinza Okumalawo Okwemulugunya Okutera Okubaawo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebiyinza Okumalawo Okwemulugunya Okutera Okubaawo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyama eky’Okufuna Essanyu
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda mu Bufumbo Bwammwe
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Oluvannyuma lw’Okugattibwa
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 4/1 lup. 4-9

Ebiyinza Okumalawo Okwemulugunya Okutera Okubaawo

BAYIBULI tegamba nti obufumbo bwangu. Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa Katonda okuwandiika nti abafumbo bandibadde boolekagana ‘n’ebizibu ebya buli lunaku.’ (1 Abakkolinso 7:28, Today’s English Version) Naye abafumbo balina kye basobola okukola okukendeeza ku bizibu bye boolekagana nabyo ne kibayamba okwongera okufuna essanyu. Lowooza ku bintu mukaaga abaami n’abakyala bye batera okwemulugunyako, era olabe engeri okukolera ku magezi agali mu Bayibuli gye kiyinza okubayamba.

1

OKWEMULUGUNYA:

“Nze ne munnange tetukyalina kadde kubeerako wamu.”

BAYIBULI KY’EGAMBA:

‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’​—ABAFIRIPI 1:10.

Obufumbo bwo kye kimu ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu bwo. Osaanidde okubukulembeza. N’olwekyo, weekebere olabe obanga engeri gy’okozesaamu ebiseera byo y’eviirako munno okwemulugunya. Wadde nga waliwo ebintu ebikulu by’okola, tobikkiriza kukulemesa kufuna kiseera kubeerako wamu ne munno. Kyo kituufu nti omulimu n’embeera endala eziteewalika biyinza okukulemesa okubeerako awamu ne munno okumala ekiseera ekitonotono. Naye osaanidde okukendeeza ku biseera by’omala ng’okola ebintu ebitali bimu gamba ng’okwesanyusaamu oba okubeerako awamu ne mikwano gyo.

Kyokka, abafumbo abamu basalawo okufuna omulimu ogw’okubiri oba okumala ebiseera bingi nga beesanyusaamu baleme kubeerako wamu ne bannaabwe. Abantu ng’abo baba tebakikola lwa kwagala kweyawula ku bannaabwe, wabula baba beewala bizibu. Bwe kiba nti ggwe oba munno mu bufumbo agwa mu kiti ekyo, mwetaaga okumanya obuzibu we buva era mubugonjoole. Okubeerako awamu ne munno y’engeri yokka ejja okubasobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ‘n’okuba omubiri gumu.’​—Olubereberye 2:24.

Engeri abamu gye bakoledde ku magezi gano: Andrewa ne Tanji, ababeera mu Australia, bamaze emyaka kkumi nga bafumbo. Andrew agamba nti: “Kye njize kiri nti okukola ennyo n’okumalira ebiseera ku bintu gamba ng’okwesanyusaamu kiyinza okwonoona obufumbo. N’olwekyo, nze ne mukyala wange tufuba okufuna ekiseera ne twogera era buli omu ne yeeyabiza munne.”

Dave ne Jane ababeera mu Amerika era nga bamaze emyaka 22 mu bufumbo, bakozesa eddakiika 30 ezisooka buli kawungeezi okwogera ku ebyo bye bayiseemu mu lunaku n’ebyo ebibali ku mitima. Jane agamba nti: “Ekiseera kino tukitwala nga kikulu nnyo ne kiba nti tetukkiriza kintu kyonna kutaataaganya nteekateeka yaffe eyo.”

2

OKWEMULUGUNYA:

“Obufumbo buno sikyabufunamu kye njagala.”

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye ebigasa abalala.”​—1 ABAKKOLINSO 10:24.

Omuntu assa essira ku ekyo ye kennyini ky’afunamu mu bufumbo tasobola kufuna ssanyu lya nnamaddala, ne bw’aba awasizza oba afumbiddwa enfunda eziwera. Obufumbo bubaamu essanyu singa buli omu essira asinga kulissa ku kuwa okusinga okuweebwa. Yesu awa ensonga: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—Ebikolwa 20:35.

Engeri abamu gye bakoledde ku magezi gano: Maria ne Martin ababeera mu Mexico, bamaze emyaka 39 mu bufumbo. Naye ebiseera ebimu tekibabeeredde kyangu. Waliwo ekiseera ekyali ekizibu ennyo kye bajjukira. Maria agamba nti, “Bwe twali tuyomba nnayogera ekintu ekyali kifeebya Martin. Yanyiiga nnyo. Nnagezzaako okumunnyonnyola nti nnali sikigenderedde, era nti obusungu bwe bwandeetera okukyogera. Naye nga tampuliriza.” Martin agamba nti, “Bwe twali tuyomba, nnatandika okulowooza nti twali tetukyasobola kubeera wamu, era nti nnali sikyetaaga kukola kintu kyonna kutereeza bufumbo bwaffe.”

Martin yali ayagala munne amusseemu ekitiibwa. Ate ye Maria ng’ayagala munne amutegeere bulungi. Buli omu yali tafuna ky’ayagala.

Baagonjoola batya ekizibu ekyo? Martin agamba nti, “Nnasooka kukiwa kiseera nsobole okukkakkana, era ffembi twasalawo okukolera ku kubuulirira okuli mu Bayibuli okukwata ku kuwaŋŋana ekitiibwa n’okuba ab’ekisa. Oluvannyuma lw’emyaka egiwerako, tuyize nti ne bwe tufuna ebizibu enfunda n’enfunda, tusobola okubigonjoola singa tusaba Katonda okutuwa obuyambi era ne tukolera ku magezi agali mu Bayibuli.”​—Isaaya 48:17, 18; Abeefeso 4:31, 32.

3

OKWEMULUGUNYA:

“Munnange mu bufumbo tatuukiriza buvunaanyizibwa bwe.”

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Buli omu ku ffe alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.”​—ABARUUMI 14:12.

Kya lwatu, obufumbo tebujja kuba bulungi nnyo singa omu ku bafumbo y’afuba yekka okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Kyokka, embeera eba mbi nnyo n’okusingawo singa bombi balagajjalira obuvunaanyizibwa bwabwe, nga buli omu anenya munne.

Bwe kiba nti buli kiseera oba olowooza ku ekyo munno ky’asaanidde okukola, tojja kuba musanyufu, naddala singa olemererwa n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo nga weekwasa ensobi za munno. Ku luuyi olulala, bw’ofuba okuba omwami omulungi oba omukyala omulungi, obufumbo bwo buyinza okulongooka. (1 Peetero 3:1-3) N’ekisinga obukulu, oba olaga nti ossa ekitiibwa mu nteekateeka ya Katonda ey’obufumbo era ebikolwa byo bijja kumusanyusa nnyo.​—1 Peetero 2:19.

Engeri abamu gye bakoledde ku magezi gano: Kim n’omwami we ababeera mu Korea, baakamala emyaka 38 mu bufumbo. Kim agamba nti: “Ebiseera ebimu omwami wange annyiigira nnyo ne kiba nti tayagala na kwogera nange, kyokka n’ensonga eba emunyiizizza mba sigimanyi. Ekyo kindeetera okuwulira nti takyanjagala. Ebiseera ebimu kindeetera okwebuuza nti, ‘Lwaki ayagala nze ntegeere engeri gye yeewuliramu so ng’ate ye tafaayo kutegeera ngeri gye nneewuliramu?’”

Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo bye ku mbeera etali nnungi eriwo mu bufumbo bwe n’ebyo mwami we by’alemereddwa okukola, Kim abaako ne ky’akolawo okutereeza embeera. Kim agamba nti: “Mu kifo ky’okusiba ekiruyi, njize nti kiba kirungi okubaako kye nkolawo okuleetawo emirembe. N’ekivaamu ffembi tukkakkana era ne tugonjoola ensonga mu mirembe.”​—Yakobo 3:18.

4

OKWEMULUGUNYA:

“Mukyala wange taŋŋondera.”

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Omutwe gw’omusajja ye Kristo.”​—1 ABAKKOLINSO 11:3.

Omwami awulira nti mukyala we tamugondera asaanidde okusooka okwekebera alabe obanga ye agondera Omutwe gwe, Yesu Kristo. Omwami ayinza okukiraga nti agondera Yesu ng’agoberera ekyokulabirako kye yassaawo.

Omutume Pawulo yawandiika ng’agamba nti, “Abaami mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo.” (Abeefeso 5:25) Yesu ‘teyakajjala’ ku bayigirizwa be. (Makko 10:42-44) Yawa abagoberezi be obulagirizi obutegeerekeka obulungi era yabagololanga bwe kyabanga kyetaagisizza. Naye teyabakambuwaliranga. Yabayisanga mu ngeri ey’ekisa era yamanyanga obusobozi bwabwe we bukoma. (Matayo 11:29, 30; Makko 6:30, 31; 14:37, 38) Yafangayo nnyo ku byabwe mu kifo ky’okukulembeza ebibye.​—Matayo 20:25-28.

Omwami yeetaaga okwebuuza ekibuuzo kino, ‘Endowooza gye nnina ku bukulembeze ne ku bakyala yeesigamiziddwa ku bulombolombo bw’omu kitundu mwendi oba ku kubuulirira ne ku byokulabirako ebiri Bayibuli?’ Okugeza, wanditutte otya omukyala atakkiriziganyizza n’ekyo bba ky’agamba kyokka mu ngeri ey’ekitiibwa n’amubuulira ensonga lwaki takkiriziganyizza naye? Saala mukyala wa Ibulayimu, ayogerwako mu Bayibuli ng’ekyokulabirako ekirungi eky’omukyala agondera bba. (1 Peetero 3:1, 6) Kyokka, yawa endowooza ye bwe kyali nga kyetaagisa gamba nga kw’olwo Ibulayimu lwe yalemererwa okulaba ebyo ebyali bigenda okwonoona amaka gaabwe.​—Olubereberye 16:5; 21:9-12.

Kyeyoleka kaati nti, Ibulayimu teyayisanga Saala mu ngeri eyandimuleetedde okutya okuwa endowooza ye. Teyali nnaakyemalira. Mu ngeri y’emu omwami akolera ku kubuulirira kwa Bayibuli tajja kukaka mukyala we kumugondera, ng’agamba nti alina okukkiriza buli kimu ky’aba agambye. Singa omwami akozesa obuyinza bwe mu ngeri ey’ekisa, mukyala we ajja kumussaamu ekitiibwa.

Engeri abamu gye bakoledde ku magezi gano: James, abeera mu Bungereza era ng’amaze emyaka munaana mu bufumbo, agamba nti: “Nfuba okwebuuza ku mukyala wange nga sinnasalawo ku bintu ebikulu. Mu kifo ky’okwerowoozaako nzekka, ngezaako okukulembeza ebyetaago bye.”

George, abeera mu Amerika yaakamala emyaka 59 mu bufumbo. Agamba nti: “Nfuba obutayisa mukyala wange ng’omuntu atalina ddembe lye, wabula muyisa ng’omukyala ategeera era omwegendereza.”​—Engero 31:10.

5

OKWEMULUGUNYA:

“Omwami wange mugayaavu mu ngeri gy’akulemberamu amaka.”

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Buli mukazi ow’amagezi azimba ennyumba ye, naye omusirusiru agyabya n’emikono gye ye.”​—ENGERO 14:1.

Omwami wo bw’aba nga mugayaavu ku bikwata ku kusalawo ku nsonga z’amaka oba mu ngeri gy’agakulemberamu, oyinza okwesanga ng’osazeewo okukola ekimu ku bintu bino ebisatu wammanga. (1) Oyinza okutandika okwogera ku nsobi ze buli kiseera oba (2) oyinza okwewa obuyinza okukulembera amaka oba (3) oyinza okumusiima mu bwesimbu olw’ekyo kyonna ky’aba akoze. Singa osalawo okukola ekimu ku bintu ebibiri ebisooka, ojja kwabya oba okumenya ennyumba yo n’emikono gyo. Bw’osalawo okukola ekintu ekyokusatu ojja kuzimba, oba okunyweza obufumbo bwo.

Abasajja bangi okuweebwa ekitiibwa bakitwala nga kikulu nnyo okusinga okwagalibwa. N’olwekyo, bw’owa omwami wo ekitiibwa ng’osiima okufuba kw’akola okukulembera amaka, ajja kufuba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwe. Kyo kituufu nti ebiseera ebimu muyinza obutakkaanya ne mwami wo ku nsonga ezimu. Mwembi muba mwetaaga okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezo. (Engero 18:13) Naye ebigambo n’eddoboozi by’okozesa bijja kukuleetera okumenya oba okuzimba obufumbo bwo. (Engero 21:9; 27:15) Bw’oba owa mwami wo endowooza yo, yogera mu ngeri eraga nti omussaamu ekitiibwa, oboolyawo kijja kumuyamba obutaba mugayaavu mu kukulembera amaka.

Engeri abamu gye bakoledde ku magezi gano: Michele abeera mu Amerika era ng’amaze emyaka 30 nga mufumbo, agamba nti: “Olw’okuba maama yatukuza nze ne baganda bange ng’ali yekka, yali mukyala wa maanyi nnyo, era nga yeemalirira. Oluusi nkola ebintu mu ngeri gye yabikolangamu. N’olwekyo kineetaagisa okufuba bulijjo okugondera omwami wange. Okugeza, njize okumwebuuzaako nga sinnabaako kye nsalawo mu kifo ky’okumala gasalawo ku lwange.”

Rachel abeera mu Australia eyaakamala emyaka 21 ne Mark mu bufumbo, naye yeeyisanga mu ngeri etali nnungi mu bufumbo bwe olw’embeera gye yakuliramu. Agamba nti: “Maama teyagonderanga taata, baayombanga bulijjo era nga tebawaŋŋana kitiibwa. Mu myaka egyasooka egy’obufumbo bwange, nneeyisanga nga maama. Kyokka, emyaka bwe gizze giyitawo, nkirabye nti kikulu okukolera ku magezi agali mu Bayibuli agakwata ku kuwaŋŋana ekitiibwa. Kati nze ne Mark tuli basanyufu mu bufumbo bwaffe.”

6

OKWEMULUGUNYA:

“Sikyasobola kugumiikiriza munnange olw’empisa ze.”

BAYIBULI KY’EGAMBA:

“Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.”​—ABAKKOLOSAAYI 3:13.

Bwe mwali nga mukyayogerezeganya, oboolyawo essira walissanga ku ngeri ze ennungi so si ku bunafu bwe. Osobola okukola kye kimu leero? Awatali kubuusabuusa, waliwo ebintu omwami wo by’akola ebikuleetera okwemulugunya. Wadde kiri kityo, weebuuze, ‘Ngeri ki munnange mu bufumbo z’alina ze ŋŋenda okussaako essira​—ennungi oba embi?’

Yesu yakozesa ekyokulabirako ekirungi ennyo ekiraga nti twetaaga okubuusa amaaso obunafu bw’abalala. Yabuuza nti, “Lwaki otunuulira akasubi akali mu liiso lya muganda wo naye n’otofaayo ku kisiki ekiri ku liiso lyo?” (Matayo 7:3) Akasubi kaba katono nnyo bw’okageerageeranya ku kisiki. Yesu yali ategeeza ki? “Sooka oggye ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi bw’onoggya akasubi ku liiso lya muganda wo.”​—Matayo 7:5.

Nga tannawa kyakulabirako ekyo, Yesu yasooka kuwa kulabula kuno: “Mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe guleme okubasalirwa; kubanga nga bwe musala emisango, nammwe bwe mulisalirwa.” (Matayo 7:1, 2) Bw’oba nga wandyagadde Katonda abuuse amaaso obunafu bwo​—ekisiki ekiri ku liiso lyo​—kiba kirungi n’obuusa amaaso obunafu bwa munno mu bufumbo.​—Matayo 6:14, 15.

Engeri abamu gye bakoledde ku magezi gano: Jenny abeera mu Bungereza era nga ye ne Simon bamaze emyaka mwenda mu bufumbo, agamba nti: “Ekitera okunnyiiza kwe kuba nti omwami wange alina omuze ogw’obutateekateeka bintu nga bukyali ne kiba nti abikola ku ddakiika esembayo. Kyewuunyisa, kubanga bwe twali twogerezeganya, yakolanga ebintu bye yabanga teyeetegekedde era ekyo nnakyagalanga. Kyokka, nange kati nkiraba nti nnina ensobi ze nkola, gamba ng’okwagala akole ebintu nga bwe mba njagala oba nga bwe ndowooza. Nze ne Simon buli omu ayize okubuusa amaaso ensobi za munne.”

Curt, bba wa Michele eyayogeddwako, agamba nti: “Bw’ossa ennyo essira ku ngeri za munno ezitali nnungi, kijja kukuleetera okulaba nti engeri ezo zeeyongera kuba mbi. Njagala nnyo okussa essira ku ngeri ezansikiriza okwagala Michele.”

Ekyama eky’Okufuna Essanyu

Ebyokulabirako ebitonotono bye tulabye biraga nti ebizibu mu bufumbo tebyewalika naye bisobola okugonjoolwa. Kiki ekinaakuyamba okufuna essanyu? Kulaakulanya okwagala eri Katonda era beera mwetegefu okukolera ku kubuulirira okuli mu Kigambo kye, Bayibuli.

Alex ne Itohan, ababeera mu Nigeria era nga bamaze emyaka 20 mu bufumbo bayize ekyama ekyo. Alex agamba nti: “Nkizudde nti kumpi buli kizibu ekijjawo mu bufumbo kisobola okugonjoolwa singa abafumbo bakolera ku misingi egiri mu Bayibuli.” Mukyala we agamba nti: “Tuyize nti kikulu okusabira awamu obutayosa n’okukolera ku magezi agali mu Bayibuli agakwata ku kwagalana n’okugumiikirizagana. Kati tetulina bizibu bingi ng’ebyo bye twalina nga twakafumbiriganwa.”

Wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri amagezi agali mu Kigambo kya Katonda gye gasobola okuganyula amaka go? Bwe kiba bwe kityo, saba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akubaganye naawe ebirowoozo ku essuula 14 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?b

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Tufissaawo akadde okubeerako awamu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Nfuba okugaba okusinga okuweebwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Mbaako ne kye nkolawo okugonjoola obutakkaanya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Nneebuuza ku mukyala wange nga sinnasalawo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Nteeka essira ku ngeri ennungi munnange z’alina?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share