Lwaki Obufumbo Busasika?
‘Abafalisaayo bajja eri Yesu nga baagala okumukema ne bamugamba nti: “Kikkirizibwa omusajja okugattululwa ne mukazi we ku buli nsonga yonna?”’—Matayo 19:3.
ABANTU abaaliwo mu kiseera kya Yesu baamubuuza obanga ddala obufumbo busaanidde okuba obw’olubeerera. Yesu yabaddamu nti: “Temusomangako nti oyo eyabatonda okuva ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi n’agamba nti, ‘Olw’ensonga eno omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’abeera ne mukazi we era bombi banaabanga omubiri gumu’? Nga tebakyali babiri naye nga bali omubiri gumu. N’olwekyo, Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga.”a (Matayo 19:4-6) Kya lwatu nti Katonda yassaawo enteekateeka y’obufumbo ng’erina kuba ya lubeerera.
Mu nsi nnyingi leero, abafumbo 40 ku buli kikumi n’okusingawo be ‘baawukana,’ n’ekivaamu bagattululwa. Ddala amagezi agakwata ku bufumbo Bayibuli g’ewa gaava ku mulembe? Kyandiba nti obufumbo busasika olw’okuba nti enteekateeka ey’obufumbo Katonda gye yatandikawo y’eriko obuzibu?
Lowooza ku kyokulabirako kino: Abafumbo ba mirundi ebiri bagula emmotoka nga za kika kimu. Abafumbo abasooka balabirira bulungi emmotoka yaabwe era bagivuga n’obwegendereza. Emmotoka yaabwe teyonooneka. Abafumbo ab’okubiri tebafaayo kulabirira mmotoka yaabwe, era tebagivuga na bwegendereza. Emmotoka eyo eyonooneka era tebaddamu kugikozesa. Kati olwo, obuzibu buba buvudde ku ki—ku mmotoka oba ku bannyini yo? Awatali kubuusabuusa, bannyini yo be baba bavuddeko obuzibu.
Mu ngeri y’emu, eky’okuba nti obufumbo bw’abantu bangi busasika tekitegeeza nti enteekateeka y’obufumbo Katonda gye yatandikawo y’eriko obuzibu kubanga waliwo obukadde n’obukadde bw’abantu abali mu bufumbo obulungi. Obufumbo ng’obwo buleetera abantu kinnoomu, amaka, n’abantu abalala essanyu n’emirembe. Kyokka okufaananako emmotoka eyeetaaga okulabirira n’okuddaabirizibwa, abafumbo balina okufuba okunyweza obufumbo bwabwe bwe buba bwa kuwangaala.
Ka kibe nti obufumbo obumazeemu ebbanga ttono oba ddene, amagezi agali mu Bayibuli agakwata ku kukuuma n’okunyweza obufumbo gakola. Weetegereze agamu ku magezi agali ku mpapula eziddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Baibuli ekkiriza abafumbo okugattululwa singa omu ku bo aba ayenze.—Matayo 19:9.