LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • hf essomo 3 1-3
  • Engeri y’Okugonjoolamu Ebizibu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okugonjoolamu Ebizibu
  • Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • 1 MWOGERE KU KIZIBU KYE MULINA
  • 2 WULIRIZA BULUNGI
  • 3 MUKOLERE KU KYE MUBA MUSAZEEWO
  • Okugonjoola Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Mukolere ku Bulagirizi bwa Katonda mu Bufumbo Bwammwe
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
See More
Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
hf essomo 3 1-3
Omwami awuliriza bulungi nga mukyala we amubuulira ekimuli ku mutima

ESSOMO 3

Okugonjoola Ebizibu

“Mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.”​—1 Peetero 4:8

Bwe mufumbiriganwa, musaanidde okukimanya nti mujja kufuna ebizibu ebitali bimu. Biyinza okubaawo olw’okuba ngeri gye mulowoozaamu, oba gye mukolamu ebintu ya njawulo. Ebizibu ebimu biyinza okuva wabweru w’amaka oba okugwaawo obugwi.

Wadde ng’oluusi kiyinza okubazibuwalira okugonjoola ebizibu mu bufumbo, Bayibuli ebakubiriza okufuba okubigonjoola. (Matayo 5:23, 24) Ka tulabe amagezi agali mu Bayibuli agasobola okubayamba nga mufunye ebizibu.

1 MWOGERE KU KIZIBU KYE MULINA

BAYIBULI KY’EGAMBA: Wabaawo “ekiseera eky’okwogereramu.” (Omubuulizi 3:1, 7) Mufune akadde mwogere ku kizibu kye mulina. Buulira munno ky’olowooza ku kizibu ekyo n’engeri gy’owuliramu. Buli omu ‘ayogere amazima’ eri munne. (Abeefeso 4:25) Ne bwe muba mufunye obutakkaanya obw’amaanyi, mwewale okuyomba. Buli omu bw’addamu munne nga mukkakkamu, kijja kubayamba okwewala okuyomba oba okulwana.​—Engero 15:4; 26:20.

Ne bwe muba temukkiriziganyizza ku nsonga gye mubadde mwogerako, musigale nga muli bakkakkamu, era mweyongere okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa. (Abakkolosaayi 4:6) Mufube okugonjoola ensonga eyo amangu ddala nga bwe kisoboka.​—Abeefeso 4:26.

Abafumbo nga boogera ku kizibu kye balina

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Mufuneeyo ekiseera mwogere ku kizibu kye mulina

  • Munno bw’aba ayogera, tomusala kirimi. Mulinde amaleyo naawe olyoke oyogere

2 WULIRIZA BULUNGI

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Abaruumi 12:10) Kikulu nnyo okuwuliriza obulungi. Gezaako okutegeera endowooza ya munno era kirage nti ‘omulumirirwa.’ (1 Peetero 3:8; Yakobo 1:19) Toba ng’amuwuliriza naye ng’ebirowoozo byo biri walala. Bwe kiba kisoboka, leka ky’obadde okola osooke owulirize munno ky’agamba, oba oyinza okumusaba ne mukyogerako oluvannyuma. Munno mu bufumbo bw’oba omutwala nga mukwano gwo so si ng’omulabe wo, tojja ‘kusunguwala mangu.’​—Omubuulizi 7:9.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Weeyongere okuwuliriza munno, ne bwe kiba nti ky’ayogerako tekikusanyusa

  • Gezaako okumanya ky’ategeeza. Wuliriza bulungi eddoboozi ly’akozesa era weetegereze endabika ye ey’oku maaso

3 MUKOLERE KU KYE MUBA MUSAZEEWO

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Kya muganyulo okukola omulimu gwonna ogw’amaanyi, naye okwogera obwogezi kwavuwaza.” (Engero 14:23, NW) Bwe muba mumaze okusalawo eky’okukola, musaanidde okukituukiriza. Kino kiyinza okubeetaagisa okufuba, naye kijja kubaganyula nnyo. (Engero 10:4) Bwe munaakolera awamu, mujja kufuna “empeera ennungi” olw’ekyo kye munaaba mukoze.​—Omubuulizi 4:9.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Musaleewo buli omu ku mmwe ky’anaakola okusobola okugonjoola ekizibu kye mulina

  • Buli luvannyuma lw’ekiseera mukubaganye ebirowoozo mumanye we mutuuse

MUKOLERE WAMU OKUGONJOOLA EBIZIBU

Bwe munaakolera awamu okugonjoola ebizibu, obufumbo bwammwe bujja kubaamu essanyu era bujja kuba bunywevu. (Engero 24:3) Temulowooza ku byayita wabula mulowooze ku biseera byammwe eby’omu maaso. (Engero 17:9) Bwe munaakolera awamu era ne mugoberera amagezi agali mu Bayibuli, musobola okugonjoola ekizibu kyonna kye muba mufunye.

WEEBUUZE . . .

  • Kizibu ki kye nnandyagadde okwogerako ne munnange?

  • Bwe tufuna ekizibu, kiki kye nnyinza okukola okusobola okumanya munnange ky’akirowoozaako?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share