Ettemu Eryali ku Ssomero Engeri Bantu Gye Baabudabudibwamu Oluvanyuma—
OMUKOogusooka ogw’olupapula lw’amawulire gwonna gwali mu langi nzirugavu era nga guwandiikiddwako ekigambo kimu ekinene: “Lwaki?” Kino kye kibuuzo abantu kye beebuuza enfunda n’enfunda oluvannyuma lw’omulenzi ow’emyaka 17 okukuba abantu 15 amasasi n’abatta mu kibuga Winnenden ekiri mu maserengeta ga Bugirimaani era oluvannyuma naye ne yeekuba essasi n’afa. Okwetooloola Bugirimaani yenna, bendera zassibwa era amawulire agakwata ku ttemu lino gaabuna mangu mu nsi yonna.
Winnenden kibuga kigagga era kifaanana bulungi nnyo, era kirimu ensuku z’emizabbibu n’ez’emizeyituuni. Nga Maaki 11, 2009, obudde bwakya bulungi nga bulijjo ku ssomero erya siniya eriyitibwa Albertville era embeera yali nnungi. Kyokka, ku ssaawa 3:30 ez’oku makya, waabalukawo ekibambulira.
Omulenzi eyali aswakidde yajja mu ssomero lino lye yasomerangamu ng’alina emmundu gye yali aggye mu kisenge kya bazadde be. Mu kaseera mpa we kaaga, yakuba abayizi mwenda amasasi n’abasomesa basatu mu bibiina bisatu n’abattirawo era n’atuusa n’ebisago eby’amaanyi ku bantu abalala abawerako abaali mu lukuubo. Mu ddakiika ntono, poliisi yali etuuse. Omutemu ono yaddukira mu kifo ekiri okumpi n’eddwaliro ly’abalwadde b’obwongo. Awo yattirawo omukozi addaabiriza ebintu. Oluvannyuma lw’ekyo, yawamba emmotoka era n’ateeka omuvuzi waayo ku mudumu gw’emmundu. Oluvannyuma lw’okuvuga mayiro nga 25, omuvuzi w’emmotoka oyo yasobola okwemulula ku mutemu oyo. Mu kifo we batundira emmotoka, omutemu ono yattirawo omusajja omutunzi w’emmotoka n’omusajja eyali azze okugula era n’atuusa ebisago eby’amaanyi ku ba poliisi babiri abaali bagezaako okumukwata. Bwe yalaba abapoliisi nga banaatera okumukwata, yeekuba essasi ku mutwe.
Abaali bamanyi omutemu ono bagamba nti yali mulenzi mukkakkamu era ng’ayagala nnyo okuba n’emikwano. Naye kiki ekyamuleetera okukola ekyo? Yandiba nga yali yeekyaye, era nga yazannyisanga ebibundubundu ebikozesa empewo oba okuzannya emizannyo gya kompyuta egyoleka ebikolwa eby’ettemu. Era abantu abamu bagamba nti waliwo n’abavubuka abalala nkumi na nkumi abazannya emizannyo ng’egyo. Ate abo be yatta ne be yatuusaako ebisago? Yabeerobozaamu bweroboza, oba yamala gakuba bukubi masasi? Waaliwo okuteebereza ku nsonga lwaki yatta abawala munaana n’omulenzi omu. Naye tewali n’omu yawa nsonga yennyini entuufu eyamuviirako okukola ekyo.
Ebyo Ebyakolebwa mu Bwangu
Omukyala omu ayitibwa Heike agamba nti: “Mutabani waffe bwe yankubira essimu n’antegeeza ku abo abaali bakubiddwa amasasi ku ssomero, saasooka kukikkiriza. Naye bwe nnawulira emmotoka za poliisi n’ezo ezitwala abalwadde nga ziyitawo ku misinde egya yiriyiri, nnatya nnyo.” Poliisi yadduukirira mu bwangu, era kirabika kye kyalemesa omutemu oyo okutta abantu abalala bangi ku ssomero. Ng’abayizi bamaze okutwalibwa mu kifo ekirala, abasawo ne bannaddiini bagenda mu kifo ekyo ne bakola butaweera okubayamba.
Bannamawulire bangi bajja mangu ku ssomero ne bagezaako okubuuza abayizi ebibuuzo, kyokka abayizi bangi baali bakyali mu kikangabwa. Omuyizi omu yabala emmotoka 28 ez’ebitongole bya ttivi 26 eby’enjawulo ezaali zisimbye mu maaso g’essomero. Waaliwo okuvuganya kwa maanyi nnyo mu bannamawulire era ekyo kyabaviirako okufulumya amawulire agataliiko bukakafu. Munnamawulire omu yagenda mu maka g’abazadde b’omuwala omu eyali attiddwa ku lunaku olwo lwennyini ng’asaba bamuwe ebifaananyi by’omuwala oyo, ate bannamawulire abalala baawa abayizi ssente basobole okubakuba ebifaananyi. Olw’embeera enzibu eyaliwo, kirabika bannamawulire abamu baazibuwalirwa okulaba engeri gye bayinza okusooka bannaabwe okufuna amawulire ageesigika nga tebawadde kifaananyi nti tebafaayo ku abo abaali bafiiriddwa abantu baabwe.
Nga bwe kitera okuba mu mbeera ng’ezo, abantu beettanira eddiini nga balowooza nti y’esobola okubabudaabuda n’okubayamba okutegeera ensonga lwaki akatyabaga ako kaagwawo. Ku lunaku ettemu eryo we lyabeererawo, abantu ab’eddiini ez’enjawulo beegattira wamu mu mukolo gw’okusaba. Ekyo bangi baakisiima. Naye abo abaali baagala okufuna okubudaabudibwa okuva mu Kigambo kya Katonda n’okuddibwamu ebibuuzo ebyali bibabobbya omutwe, kyabamalamu amaanyi. Amaka agamu gaagenda ku mukolo gw’okuziika omwana eyali asoma ne mutabani waabwe. Maama yagamba nti: “Bisopu yayogera ku kubonaabona kwa Yobu. Nnalindirira mpulire ng’annyonnyola eky’okuyiga ekiri mu kubonaabona kwa Yobu oba engeri gy’abudaabudamu abawuliriza, naye teyakikola. Talina kye yayogera ku nsonga lwaki Yobu yabonaabona oba ku ebyo ebyavaamu oluvannyuma.”
Omusajja omu yagwamu amaanyi olw’ebigambo bye yawulira ebitaliimu nsa. Omusajja oyo yali yasomako Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa emyaka nga 30 emabega naye n’alekera awo. Kati yaddamu okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa.
Valisa, omuwala ow’emyaka 14 egy’obukulu asoma Baibuli obutayosa n’Abajulirwa ba Yakuwa, yali mu kibiina okumpi n’awaali ettemu eryo. Bwe yawulira amasasi, yatandika okusaba Yakuwa. Oluvannyuma bwe yabuuzibwa ekimuyambye okuyita mu mbeera eyo, yagamba nti ebyo ebyaliwo byamuleetera okukakasa ebyo bye yali ayize mu Baibuli ebikwata ku nnaku zino embi ez’oluvannyuma. (2 Timoseewo 3:1-5) Abajulirwa ba Yakuwa babiri bwe baali babuulira baliraanwa baabwe obubaka obubudaabuda, omukyala omu nnamukadde yabatuukirira n’abagamba nti: “N’abantu abalala bangi basaanidde okukola omulimu guno gwe mukola.” Wadde ng’abantu bangi baafuna ekikangabwa era nga baanakuwala nnyo olw’ettemu eryo, kyaviirako abamu okutandika okuwuliriza obubaka obuwa essuubi era obubudaabuda obuli mu Kigambo kya Katonda.
Baalwawo Okwerabira Ekikangabwa
Kya lwatu, ebigambo ka bibe nga bibudaabuda bitya, tebisobola kumalirawo ddala kikangabwa n’ennaku ey’amaanyi eyafunibwa abo abaafiirwa abantu baabwe. Tewali bigambo biyinza kumalirawo ddala bulumi omuzadde eyafiirwa omwana we bw’alina oba ennaku ey’amaanyi owa poliisi gye yafuna bwe yayanguwa okugenda ku ssomero okuyamba abaana kyokka n’asanga nga mukyala we y’omu ku abo abattiddwa.
Abayizi abaawonawo, awamu n’ab’omu maka gaabwe, baafuna ekikangabwa kya maanyi, naye buli omu yayisibwa bubwe. Vassilios yabuuka n’ayita mu ddirisa amangu ddala nga yaakawulira amasasi. Agamba nti: “Bwe nnatuuka ebweru, nnasaba Yakuwa. Nnalowooza nti nnali ŋŋenda kufa. Nnali mukakafu nti kuno kwe kwali okusaba kwange okusembayo.” Mu wiiki ezaddirira, yafunanga ebirooto ebitiisa, era nga tayagala kwogera na muntu yenna. N’ekyasinga okumunakuwaza, kwe kulaba engeri bannamawulire gye bayaayaanangamu okufuna amawulire agakwata ku ttemu lino basobole okufuna ssente era n’obuteefiirayo bw’abo abaali baagala okumanya ebisingawo. Oluvannyuma lw’ekiseera, yakitegeera nti obulamu bwe butyo bwe buba.
Jonas yali mu kibiina kye kimu ne Vassilios era yalabira ddala ng’abayizi banne bataano battibwa. Yagamba nti: “Amangu ddala ng’ekyo kyakabaawo, nnali nsobola bulungi okuttottola ebyaliwo; byali biringa firimu erimu ebikolwa eby’ettemu. Naye kati kinzibuwalira okwogera ku ngeri gye nneewuliramu. Embeera zange zikyukakyuka. Oluusi mba saagala kwogera ku bintu ebyo; ate ebiseera ebimu mbyogerako nnyo.” Era naye afuna ebirooto ebitiisa era teyeebaka bulungi.
Oluvannyuma lw’ekiseera, abayizi baddizibwa ebintu byabwe ebyali mu bibiina ebyo. Abo ababudaabuda abantu ababa bafunye ekikangabwa baagamba nti abayizi bwe bandirabye ebintu ebyo kyandibaleetedde okujjukira ebyaliwo. Mu kusooka, Jonas yali tayagala kukwata ku jaketi ye, ensawo ye ey’essomero, n’ekikuufiira ky’ayambala ng’avuga ppikipiki. Era yatyanga nnyo buli lwe yalabanga omuntu afaanana omutemu oli oba oyo asitudde ekisawo ekifaanana n’ekyo omutemu kye yalina. Bazadde be bwe baali balaba firimu, yayisibwa bubi nnyo bwe yawulira essasi nga livuga. Abasawo baagezaako nnyo okuyamba abantu okulekera awo okukwataganya ebintu ebirala n’ekikangabwa ekyaliwo.
Jürgen, taata wa Jonas, akolera mu ddwaliro omutemu we yattira omukozi omu. Yagamba nti abazadde bangi awamu ne bakozi banne beebuuzanga ekibuuzo nti, watya singa nze gwe yali akubye essasi? Ng’ekyokulabirako, omu ku bakozi mu ddwaliro eryo, eyali waggulu ku lubalaza eyalaba omutemu oyo ng’ayitawo, yatawaanyizibwa nnyo olw’endowooza gye yalina nti naye yandibadde attibwa ne kiba nti kyali kimwetaagisa okufuna obujanjabi.
Engeri Abamu gye Baayambibwa
Kiki ekiyambye abamu okwaŋŋanga embeera eyo enzibu? Jürgen agamba nti: “Wadde ng’oluusi tekiba kyangu, kiba kirungi nnyo okubeerako awamu n’abalala. Kya muganyulo nnyo okukimanya nti abalala bafaayo era nti toli wekka.”
Jonas naye asiima nnyo engeri abalala gye bamufaako, agamba nti: “Bangi bampeereza kaadi n’obubaka. Abamu bampa ebyawandiikibwa okuva mu Baibuli, era mbisoma. Ekyo kinsanyusa nnyo.” Kiki ekirala ekimuyamba? Agamba nti: “Bwe nzukuka ekiro nga mpulira ntendewaliddwa, nsaba Yakuwa. Oluusi mpuliriza ennyimba oba Awake! eri ku lutambi.”a Agattako nti Baibuli etubuulira ensonga lwaki bino byonna byabaawo: Sitaani ye mufuzi w’ensi eno, era tuli mu nnaku ez’enkomerero. Kitaawe agamba nti okutegeera ensonga ng’ezo kibayamba okwaŋŋanga embeera eyo.
Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma
Mu nnaku ntono, emisubbaawa, ebimuli, n’amabaluwa byateekebwa mu kifo ekiri mu maaso g’essomero. Kerstin yakyetegereza nti abantu abawerako baawandiika obubaluwa nga beebuuza ensonga lwaki kino kyaliwo era n’ensonga lwaki Katonda yakikkiriza okubaawo. Bwe yamanya nti ebibuuzo ebyo byetaaga okuddibwamu, Kerstin n’Abajulirwa abalala babiri baawandiika ebbaluwa ne bagiteeka mu ezo ezaali ziwandiikiddwa.
Ku mukolo omutongole ogw’okujjukirirako abo abaali bafudde, omukutu gwa ttivi gwalaga ebbaluwa Kerstin gye baawandiika era ennyiriri ezisooka mu bbaluwa eyo ne zisomebwa. Zaali zigamba nti: “Lwaki? Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, abantu beebuuza nnyo ekibuuzo kino, era n’okusingira ddala beebuuza nti: Katonda yali ludda wa nga kino kibaawo? Lwaki yakikkiriza okubaawo?” Eky’ennaku, ebyo byokka bye byasomebwa.
Lwaki kya nnaku? Kubanga ebbaluwa yagenda mu maaso ng’ennyonnyola ensibuko y’okubonaabona era yagamba nti Katonda “ajja kukola kyonna ekisoboka okulaba nti ebizibu byonna abantu bye batuusizza ku bannaabwe biggwaawo.” Era yagattako nti: “Mu kitabo kya Baibuli ekisembayo, Katonda agamba nti alisangula buli zziga mu maaso g’abantu, era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.” Yakuwa Katonda ajja kuzuukiza n’abantu abaafa. Wansi w’Obwakabaka bwe obunaatera okujja, tewajja kubaawo mitawaana, ettemu, oba okubonaabona. Katonda yasuubiza nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.”—Okubikkulirwa 21:4, 5.
[Obugambo obuli wansi]
a Magazini ya Awake! ekubiddwa mu kyapa n’eyo eri ku lutambi, zifulumizibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Jonas yafuna kaadi ng’egamba nti, “Tukulowoozaako”
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Focus Agency/WPN
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
© imagebroker/Alamy
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Foto: picture alliance
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Foto: picture alliance