Okukulaakulana Kwo ka Kweyolekenga eri Bonna
“Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.”—1 TIM. 4:15.
1, 2. Kiki kye tumanyi ku Timoseewo ng’akyali muto, era nkyukakyuka ki eyajjawo nga wa myaka nga 20?
BWE yali omuto, Timoseewo yabeeranga mu ssaza ly’e Ggalatiya, kati awali ensi eyitibwa Butuluuki. Ekitundu ekyo kyalimu ebibiina Ebikristaayo ebiwerako ebyatandikibwawo oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu. Timoseewo, maama we, ne jjajjaawe baali mu kimu ku bibiina ebyo nga bafuuse Abakristaayo, era baali baweereza n’obunyiikivu. (2 Tim. 1:5; 3:14, 15) Bwe yali omuto, Timoseewo alina okuba nga yanyumirwanga obuweereza bwe obw’Ekikristaayo ng’ali mu kitundu ky’amanyidde obulungi. Naye wajjawo enkyukakyuka ez’amangu.
2 Kino kyaliwo omutume Pawulo bwe yakyalira ekitundu kyabwe ng’ali ku lugendo lwe olw’okubiri. Mu kiseera ekyo, Timoseewo alabika yali anaatera okuweza emyaka 20 oba nga agisussizzaamuko. Kirabika Pawulo yali Lusitula we yamanyira nti Timoseewo ‘ab’oluganda baali bamwogerako bulungi’ mu bibiina by’omu kitundu ekyo. (Bik. 16:2) Wadde nga yali muvubuka, Timoseewo ateekwa okuba nga yali yeeyisa ng’omuntu omukulu. Nga bakubirizibwa omwoyo omutukuvu, Pawulo n’abakadde b’omu kitundu ekyo baateeka emikono ku Timoseewo ne bamulonda okukola omulimu ogw’enjawulo mu kibiina.—1 Tim. 4:14; 2 Tim. 1:6.
3. Timoseewo yaweebwa nkizo ki ey’enjawulo ennyo?
3 Timoseewo yaweebwa enkizo ey’enjawulo ennyo—okutambulanga n’omutume Pawulo ku ŋŋendo ze! (Bik. 16:3) Kino kirina okuba nga kyasanyusa nnyo Timoseewo! Okumala emyaka mingi, Timoseewo yatambula ne Pawulo era n’abalala ng’akola emirimu egitali gimu abatume n’abakadde gye baamuwanga. Omulimu gw’okukyalira ebibiina Pawulo ne Timoseewo gwe baakola gwazimba nnyo ab’oluganda mu by’omwoyo. (Soma Ebikolwa 16:4, 5.) Bwe kityo Timoseewo yamanyibwa Abakristaayo bangi olw’okukulaakulana kwe mu by’omwoyo. Oluvannyuma lw’emyaka nga kkumi ng’aweereza ne Timoseewo, omutume Pawulo yawandiikira Abafiripi nti: “Sirina mulala alina ndowooza [nga ya Timoseewo] ajja okubafaako mu bwesimbu. . . . Mumanyi engeri gye yalagamu nti agwanidde; okufaananako omwana ne kitaawe, yakolera wamu nange okubunyisa amawulire amalungi.”—Baf. 2:20-22.
4. (a) Timoseewo yaweebwa buvunaanyizibwa ki obw’amaanyi? (b) Pawulo bye yayogera mu 1 Timoseewo 4:15 bituleetera kwebuuza bibuuzo ki?
4 Mu kiseera Pawulo we yawandiikira ebbaluwa eri Abafiripi, yawa Timoseewo obuvunaanyizibwa obw’amaanyi alonde abakadde n’abaweereza. (1 Tim. 3:1; 5:22) Awatali kubuusabuusa, Timoseewo yali afuuse mulabirizi eyeesigika. Kyokka mu bbaluwa y’emu eyo, Pawulo yakubiriza Timoseewo okulaba nti ‘okukulaakulana kwe kweyoleka eri abantu bonna.’ (1 Tim. 4:15) Timoseewo yali tamaze okwoleka okukulaakulana okw’ekika ekya waggulu? Kati olwo okwogera atyo, Pawulo yali ategeeza ki, era tuyinza tutya okuganyulwa mu magezi ge yawa?
Engeri gye Twolekamu Okukulaakulana Kwaffe
5, 6. Kabi ki akaali koolekedde ekibiina ky’omu Efeso, era Timoseewo yalina kukola ki okutereeza embeera?
5 Ka twetegereze ennyiriri eziriraanye 1 Timoseewo 4:15. (Soma 1 Timoseewo 4:11-16.) Ebigambo ebyo Pawulo yabiwandiika agenze Makedoni, ate nga Timoseewo amugambye asigale mu Efeso. Lwaki? Abamu mu kibuga ekyo baali baleese enjawukana mu kibiina olw’enjigiriza zaabwe enkyamu. Timoseewo yaweebwa obuvunaanyizibwa okukuuma ekibiina ekyo nga kiyonjo mu by’omwoyo. Kino yali wa kukikola atya? Ekintu ekimu kye yalina okukola kwe kuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi.
6 Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Beeranga kyakulabirako eri abeesigwa, mu kwogera, mu nneeyisa, mu kwagala, mu kukkiriza, ne mu bulongoofu.” Yagattako nti: “Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.” (1 Tim. 4:12, 15) Wano Timoseewo yali akubirizibwa kukulaakulana mu ngeri za Kikristaayo so si kubaako kifo kya buvunaanyizibwa ky’aluubirira. Buli Mukristaayo asaanidde okukulaakulana mu ngeri eyo.
7. Kiki bonna mu kibiina kye balina okukola?
7 Nga bwe kyali mu kiseera kya Timoseewo, ne leero waliwo ebifo eby’obuvunaanyizibwa bingi mu kibiina. Ab’oluganda abamu bakola ng’abakadde oba abaweereza. Abalala baweereza nga bapayoniya. Waliwo n’abo abaweereza ng’abalabirizi abatambula, abaminsani, oba Ababeseri. Abakadde baweebwa enkizo okuyigiriza, gamba nga mu nkuŋŋaana ennene. Naye Abakristaayo bonna—abasajja, abakazi n’abato—basobola okwoleka okukulaakulana kwabwe. (Mat. 5:16) Mu butuufu, okufaananako Timoseewo, Abakristaayo abalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa balina okwoleka okukulaakulana kwabwe eri bonna.
Beera Kyakulabirako mu Kwogera
8. Kakwate ki akali wakati w’ebyo bye twogera n’okusinza kwaffe?
8 Engeri emu Timoseewo mwe yalina okuba ekyokulabirako ekirungi ye njogera. Tuyinza tutya okwoleka okukulaakulana kwaffe mu kwogera? Ebintu bye twogera biraga ekyo kye tuli. Eno ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti: “Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Mat. 12:34) Yakobo muganda wa Yesu naye yalaga akakwate akali wakati w’ebyo bye twogera n’okusinza kwaffe. Yawandiika nti: “Omuntu yenna bw’alowoozanga nti asinza Katonda mu ngeri entuufu, kyokka n’atafuga lulimi lwe, naye n’agenda ng’alimbalimba omutima gwe, okusinza kw’omuntu oyo tekugasa.”—Yak. 1:26.
9. Tuyinza tutya okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwogera?
9 Bye twogera bisobola okulaga abalala mu kibiina obanga tukula mu by’omwoyo. Abakristaayo abakuze mu by’omyoyo boogera ebintu ebizimba, ebizzaamu amaanyi, era ebibudaabuda abalala, so si ebitasaana, ebikolokota, oba ebirumya. (Nge. 12:18; Bef. 4:29; 1 Tim. 6:3-5, 20) Okwogera n’abalala ku bintu ebinyweza okukkiriza kwaffe ne ku bulungi bw’emisingi gya Katonda kiraga nti twemalidde ku Katonda. (Bar. 1:15, 16) Abantu ab’emitima emirungi bakiraba bwe tuteekawo ekyokulabirako ekirungi mu kwogera era bayinza okutukoppa.—Baf. 4:8, 9.
Beera Kyakulabirako mu Mpisa ne mu Bulongoofu
10. Lwaki okukkiriza okutaliimu bukuusa kwetaagisa bwe tuba ab’okwoleka okukulaakulana kwaffe?
10 Okusobola okuba ekyokulabirako ekirungi, Omukristaayo talina kukoma ku kwogera bintu bizimba. Omuntu ayogera ebintu ebirungi naye nga by’akola tebisaana aba munnanfuusi. Pawulo yali amanyi bulungi obunnanfuusi bw’Abafalisaayo era yali amanyi akabi akabulimu. Emirundi egisukka mu gumu, yakuutira Timoseewo obutakola bintu bya bunnanfuusi. (1 Tim. 1:5; 4:1, 2) Kyokka Timoseewo teyali munnanfuusi. Mu bbaluwa ye ey’okubiri eri Timoseewo, Pawulo yagamba nti: “Nzijukira okukkiriza okuli mu ggwe okutaliimu bukuusa.” (2 Tim. 1:5) Wadde kyali kityo, Timoseewo yali yeetaaga okulaga abalala nti yali Mukristaayo wa namaddala. Yalina okuba ekyokulabirako ekirungi mu mpisa.
11. Pawulo yagamba atya Timoseewo ku by’obugagga?
11 Mu bbaluwa ze zombi eri Timoseewo, Pawulo yawa amagezi ku mpisa mu ngeri eziwerako. Ng’ekyokulabirako, Timoseewo yalina okwewala okukolerera eby’obugagga. Pawulo yawandiika nti: “Okwagala ssente ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri era olw’okuzaagala abamu bakyamiziddwa okuva mu kkiriza ne beereetera obulumi bungi.” (1 Tim. 6:10) Okwagala eby’obugagga kaba kabonero akalaga nti omuntu mulwadde mu by’omwoyo. Ku luuyi olulala, Abakristaayo abaagala okuba n’obulamu obwangu, nga bamativu “n’eby’okulya n’eby’okwambala” bye balina, baba booleka nti bakuze mu by’omwoyo.—1 Tim. 6:6-8; Baf. 4:11-13.
12. Tuyinza tutya okukyoleka mu bulamu bwaffe nti tukulaakulana?
12 Pawulo yagamba Timoseewo nti kyali kikulu nnyo abakazi Abakristaayo ‘okwambala ebyambalo ebisaana, ebiweesa ekitiibwa era nga beegendereza.’ (1 Tim. 2:9) Abakazi abambala era abeekolako mu ngeri eweesa ekitiibwa era abalaga nti beegendereza ne mu bintu ebirala, bassaawo ekyokulabirako ekirungi. (1 Tim. 3:11) Omusingi guno gukwata ne ku basajja Abakristaayo. Pawulo yakubiriza abalabirizi okuba ‘n’empisa ezisaana, endowooza era n’enkola ennuŋŋamu.’ (1 Tim. 3:2) Bwe tunaakola ebintu bino mu bulamu bwaffe obwa bulijjo, okukulaakulana kwaffe kujja kweyoleka eri abantu bonna.
13. Tuyinza tutya okuba ekyokulabirako mu bulongoofu nga Timoseewo?
13 Timoseewo yalina okuba ekyokulabirako ekirungi ne mu bulongoofu. Okukozesa ekigambo ekyo, Pawulo yali ayogera ku nneeyisa esaanidde okuba wakati w’abasajja n’abakazi. Timoseewo yalina okuba omwegendereza, naddala ng’akolagana n’abakazi. Yalina okuyisa ‘abakazi abakulu nga bamaama be, abakazi abato nga bannyina, ng’ababuulirira mu bulongoofu bwonna.’ (1 Tim. 4:12; 5:2) Ebikolwa eby’obugwenyufu ne bwe bikolerwa mu kyama Katonda aba abiraba, era oluvannyuma lw’ekiseera n’abantu babimanya. Kyokka n’ebikolwa ebirungi Omukristaayo by’akola byeyoleka. (1 Tim. 5:24, 25) Bonna mu kibiina basobola okwoleka okukulaakulana kwabwe mu mpisa ne mu bulongoofu.
Okwagala n’Okukkiriza Bikulu Nnyo
14. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti tulina okwagalana?
14 Okwagala ngeri nkulu nnyo mu Bakristaayo ab’amazima. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:35) Tuyinza tutya okwoleka okwagala ng’okwo? Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘buli omu okuzibiikiriza munne mu kwagala, okubeera ab’ekisa buli muntu eri munne, okusaasiragana, okusonyiwagana’ n’okusembeza abalala. (Bef. 4:2, 32; Beb. 13:1, 2) Pawulo yawandiika nti: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka.”—Bar. 12:10.
15. Lwaki kikulu Abakristaayo bonna okulaga okwagala, naddala abalabirizi?
15 Singa Timoseewo yali ayisizza bubi Bakristaayo banne, ekyo kyandibuutikidde ebirungi byonna bye yakola ng’omuyigiriza era ng’omulabirizi. (Soma 1 Abakkolinso 13:1-3.) Naye okuba nti yabalaga okwagala, yabaaniriza era yabakolera ebirungi, kyalaga nti yali akulaakulanye mu by’omwoyo. Bwe kityo bwe yawandiikira Timoseewo, Pawulo yamugamba nti okulaga okwagala y’emu ku ngeri Timoseewo mwe yalina okuba ekyokulabirako ekirungi.
16. Lwaki Timoseewo yalina okulaga okukkiriza okw’amaanyi?
16 Okukkiriza kwa Timoseewo kwagezesebwa nnyo ng’ali mu Efeso. Abamu baali batumbula enjigiriza ezikontana n’ez’Ekikristaayo. Abalala baali balaalaasa ‘engero ez’obulimba’ oba nga banoonyereza ku bintu ebitazimba kibiina mu by’omwoyo. (Soma 1 Timoseewo 1:3, 4.) Pawulo yagamba nti abantu ng’abo baali ‘ba malala, abatalina kye bategeera, era abalimu akazoole ku bikwata ku kukuba empaka n’okuwakana ku bigambo.’ (1 Tim. 6:3, 4) Timoseewo naye yali ayinza okulowooza ku bintu ng’ebyo ebya kabi ebyali bisensedde ekibiina? Yali tasobola, kubanga Pawulo yamukubiriza ‘okulwana olutalo olulungi olw’okukkiriza,’ okwewala ‘ebigambo ebitaliimu ebityoboola ebintu ebitukuvu, n’endowooza ezikontana, mu bukyamu ze bayita “okumanya.”’ (1 Tim. 6:12, 20, 21) Tewali kubuusabuusa nti Timoseewo yagoberera amagezi ago amalungi Pawulo ge yamuwa.—1 Kol. 10:12.
17. Okukkiriza kwaffe kuyinza kutya okugezesebwa leero?
17 Timoseewo yategeezebwa nti “mu biseera eby’omu maaso abamu [bandivudde] mu kukkiriza, olw’okuwuliriza ebigambo ebibuzaabuza ebiva eri emyoyo, n’okuyigiriza kwa dayimooni.” (1 Tim. 4:1) Bonna mu kibiina, omuli n’abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa, beetaaga okulaga okukkiriza okw’amaanyi nga Timoseewo bwe yakola. Bwe twewala enjigiriza za bakyewaggula, tuba twoleka okukulaakulana kwaffe era tuba kyakulabirako kirungi mu kukkiriza.
Fuba Okwoleka Okukulaakulana Kwo
18, 19. (a) Oyinza otya okwoleka okukulaakulana kwo eri bonna? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
18 Kya lwatu nti Omukristaayo okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo tekisinziira ku ndabika ye, ku busobozi bwe, oba ku kifo ky’alina. Oluusi tekiva na ku myaka gy’amaze ng’aweereza mu kibiina. Mu kifo ky’ekyo, okukulaakulana kwaffe kuva ku kuba nti tugondera Yakuwa mu birowoozo byaffe, mu njogera yaffe, ne mu nneeyisa yaffe. (Bar. 16:19) Tusaanidde okugondera ekiragiro eky’okwagalana n’okunyweza okukkiriza kwaffe. Yee, ka tweyongere okufumiitiriza n’okwemalira ku bigambo bya Pawulo eri Timoseewo, okukulaakulana kwaffe kusobole okweyoleka eri abantu bonna.
19 Ekintu ekirala ekyoleka nti tukulaakulana mu by’omwoyo kwe kuba nti tulina essanyu, ng’essanyu kye kimu ku biri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Bag. 5:22, 23) Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri gye tuyinza okufunamu essanyu n’okulikuuma mu biseera ebizibu.
Wandizzeemu Otya?
• Enjogera yaffe ekwata etya ku balala?
• Okukulaakulana kwaffe kweyolekera kutya mu mpisa zaffe ne mu bulongoofu?
• Lwaki Abakristaayo balina okuba ekyokulabirako mu kwagala ne mu kukkiriza?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Timoseewo yali muvubuka naye nga yeeyisa ng’omuntu omukulu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Okukulaakulana kwo kweyoleka eri abalala?