LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 8/1 lup. 23-28
  • Yoleka Okukulaakulana Kwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yoleka Okukulaakulana Kwo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obumu mu Kukkiriza n’Okumanya
  • Yoleka ‘Ebibala by’Omwoyo’
  • Kulaakulana olw’Okuweesa Katonda Ekitiibwa
  • Okukulaakulana Kwo ka Kweyolekenga eri Bonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Abavubuka—Mulage Nti Mukulaakulana
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Weeyongere Okukulaakulana
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 8/1 lup. 23-28

Yoleka Okukulaakulana Kwo

“Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okukulaakulana kwo kweyolekenga eri bonna.”​—1 TIMOSEEWO 4:15, NW.

1. Oyinza otya okumanya nti ekibala kyengedde era nga kituuse okuliibwa?

LOWOOZA ku kibala ky’osinga okwagala. Guyinza okuba omuyembe, omucungwa, ennanansi oba ekirala. Oyinza okumanya nti kyengedde era nga kituuse okuliibwa? Mazima ddala oyinza. Akawoowo kaakyo, langi n’enfaanana biraga nti kituuse okulya. Bw’okirya, oyinza okuwulira obuwoomi obw’amaanyi. Ofuna essanyu ppitirivu.

2. Kiki ekiraga nti omuntu akuze mu by’omwoyo, era ekyo kikola ki ku nkolagana ye n’abalala?

2 Ekyokulabirako kino kirina bye kiyinza okugeraageranyizibwako mu bulamu. Ng’ekyokulabirako, okufaananako ekibala ekyengedde, obukulu mu by’omwoyo bweyoleka mu ngeri ezitali zimu. Tumanya nti omuntu akuze mu by’omwoyo bw’ayoleka okutegeera, amagezi n’ebirala. (Yobu 32:7-9) Mazima ddala, kirungi nnyo okubeera awamu era n’okukola n’abantu abooleka engeri ng’ezo mu ndowooza ne mu bikolwa byabwe.​—Engero 13:20.

3. Engeri Yesu gye yayogera ku bantu b’omu kiseera kye, yalaga ki ku bukulu bwabwe mu by’omwoyo?

3 Ku luuyi olulala, omuntu ayinza okuba ng’akuze mu mubiri, naye ng’enjogera ye n’enneeyisa ye biraga nti akyali mu muto mu birowoozo ne mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, ng’ayogera ku bantu abajeemu mu kiseera kye, Yesu Kristo yagamba: “Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti Aliko dayimooni. Omwana w’omuntu yajja ng’alya ng’anywa, ne boogera nti Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu.” Wadde ng’abantu abo baali bakulu mu mubiri, Yesu yagamba nti beeyisa nga ‘abaana abato’​—tebaali bakulu mu birowoozo ne mu by’omwoyo. Bwe kityo yagattako: “Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa byago.”​—Matayo 11:16-19.

4. Okukulaakulana n’okukula mu by’omwoyo byeyoleka mu ngeri ki?

4 Okusinziira ku bigambo bya Yesu, tulaba nti omuntu ayinza okuba n’amagezi, naye ekiraga nti mukulu mu by’omwoyo by’ebintu by’akola n’ebivaamu. Ku nsonga eno, weetegereze okubuulirira kwa Pawulo eri Timoseewo. Oluvannyuma lw’okumenya ebintu Timoseewo bye yandiruubiridde, Pawulo yagamba: “Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okukulaakulana kwo kweyolekenga eri bonna.” (1 Timoseewo 4:15, NW) Yee, okukulaakulana kw’Omukristaayo ‘kweyoleka,’ oba kulabika lwatu. Okukulaakulana kw’Ekikristaayo mu by’omwoyo, okufaananako ekitangaala ekyaka, si ngeri etalabika oba ekwekeddwa. (Matayo 5:14-16) N’olwekyo, tujja kwekenneenya engeri bbiri enkulu okukulaakulana n’okukula mu by’omwoyo gye biyinza okweyoleka: (1) okukula mu kumanya, okutegeera n’amagezi; (2) okwoleka ebibala eby’omwoyo.

Obumu mu Kukkiriza n’Okumanya

5. Obukulu buyinza kunnyonnyolebwa butya?

5 Enkuluze ezisinga obungi zinnyonnyola okuba omukulu, ng’okutuuka ku kigero ekikomererayo eky’okukula oba ekyetaagibwa. Nga bwe kyayogeddwako emabega, ekibala kiba kikuze, oba nga kyengedde bwe kituuka ku ssa lyakyo erikomererayo ery’okukula era ng’endabika yaakyo, langi, akawoowo n’empooma bituuse ku kigero ekyetaagibwa. N’olwekyo, obukulu buyinza okugeraageranyizibwa ku bulungi, obujjuvu n’obutuukirivu.​—Isaaya 18:5; Matayo 5:45-48; Yakobo 1:4.

6, 7. (a) Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala nnyo bonna abamusinza okufuuka abakulu mu by’omwoyo? (b) Obukulu mu by’omwoyo bukwataganyizibwa ku ki?

6 Yakuwa Katonda ayagala nnyo bonna abamusinza okukulaakulana bafuuke abakulu mu by’omwoyo. Okusobozesa ekyo, ataddewo enteekateeka ennungi ennyo mu kibiina Ekikristaayo. Eri Abakristaayo mu Efeso, omutume Pawulo yawandiika: ‘Era oyo n’awa abalala okubeera abatume, n’abalala bannabbi, n’abalala ababuulizi, n’abalala abalunda n’abayigiriza, olw’okutereeza abatukuvu, olw’omulimu ogw’okuweereza, olw’okuzimba omubiri gwa Kristo, okutuusa ffenna lwe tulituuka ku bumu mu kukkiriza, n’okumanya okutuufu okw’Omwana wa Katonda, tutuuke okuba omuntu omukulu mu kigera eky’obukulu obwa Kristo; tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey’okuyigiriza, mu bukuusa bw’abantu, mu nkwe, olw’okugoberera okuteesa okw’obulimba.’​—Abaefeso 4:11-14, NW.

7 Mu nnyiriri zino, Pawulo yawa ensonga ezimu lwaki Katonda yakola enteekateeka ng’ezo ez’eby’omwoyo mu kibiina. Ensonga ezo ziri nti ffenna tusobole ‘okutuuka ku bumu mu kukkiriza, ne mu kumanya okutuufu,’ tufuuke “omuntu omukulu,” era tutuuke ‘mu kigera eky’obukulu obwa Kristo.’ Nga tutuuse ku bintu ebyo, tetujja kuyuuzibwayuuzibwa ng’abato mu by’omwoyo olw’endowooza n’enjigiriza ez’obulimba. Bwe kityo, tulaba akakwate akaliwo wakati w’okukulaakulana n’okufuuka Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo n’okutuuka ku ‘bumu mu nzikiriza ne mu kumanya Omwana wa Katonda.’ Waliwo ensonga eziwera mu kubuulira kwa Pawulo ze tulina okussaako omwoyo.

8. Kyetaagisa ki okusobola okutuuka ku ‘bumu’ mu kukkiriza n’okumanya okutuufu?

8 Okusooka, okuva ‘obumu’ bwe bulina okukuumibwa, Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo ateekwa okuba obumu era ng’atabagana bulungi ne bakkiriza banne ku bikwata ku kukkiriza n’okumanya. Takalambirira ku ndowooza ze oba okuba n’endowooza ezize ku bubwe bwe kituuka ku kutegeera Baibuli. Wabula, aba n’obwesige obujjuvu mu mazima agabikkulibwa Yakuwa Katonda okuyitira mu Mwana we, Yesu Kristo, ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Nga tetwosa kulya mmere ey’eby’omwoyo eweebwa ‘mu kiseera kyayo’ okuyitira mu bitabo byaffe eby’Ekikristaayo, enkuŋŋaana entono n’ennene, tuyinza okuba abakakafu nti tukuuma ‘obumu’ ne Bakristaayo bannaffe mu kukkiriza n’okumanya.​—Matayo 24:45.

9. Nnyonnyola amakulu g’ekigambo ‘okukkiriza’ Pawulo kye yakozesa mu bbaluwa gye yawandiikira Abaefeso.

9 Eky’okubiri, ekigambo ‘okukkiriza’ tekitegeeza ebyo buli Mukristaayo kinnoomu by’akkiriza, naye byonna bye tukkiriza awamu, ‘obugazi, obuwanvu, obugulumivu n’okugenda wansi,’ obw’ebintu ebyo. (Abaefeso 3:18; 4:5; Abakkolosaayi 1:23; 2:7) Mu butuufu, Omukristaayo ayinza atya okuba obumu ne bakkiriza banne singa takkiriza ‘okukkiriza’ kwonna? Kino kitegeeza nti tetwandikomye ku kumanya obumanya enjigiriza ezisookerwako ez’omu Baibuli oba okumanyako ekitono ku mazima. Wabula, twandyagadde okweyambisa enteekateeka za Yakuwa zonna okuyitira mu ntegeka ye okunoonyereza mu Kigambo kye. Tuteekwa okufuba nga bwe kisoboka okutegeera mu bujjuvu Katonda by’ayagala n’ebigendererwa bye. Kino kizingiramu okuwaayo ebiseera okusoma n’okuyiga Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako, okusaba Katonda obuyambi n’obulagirizi bwe, obutayosa kubaawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abayigirizwa.​—Engero 2:1-5.

10. Ebigambo ‘okutuusa ffenna lwe tulituuka’ ebikozeseddwa mu Abaefeso 4:13 birina makulu ki?

10 Eky’okusatu, mu kunnyonnyola kwe, ensonga essatu Pawulo yazikwataganya n’ebigambo ‘okutuusa fenna lwe tulituuka.’ Ku bikwata ku kigambo ‘ffenna,’ ekitabo ekimu ekyogera ku Baibuli kigamba nti tekitegeeza ‘nga twawukanye ku balala, wabula ffenna awamu.’ Kwe kugamba, buli omu ku ffe yandifubye okukulaakulana afuuke Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo ng’ali wamu n’oluganda lwonna. The Interpreter’s Bible egamba: “Tetuyinza kufuuka bakulu mu by’omwoyo ku lwaffe, nga twawukanye ku balala, ng’ekitundu ekimu eky’omubiri bwe kitayinza kukula ku bwakyo okuggyako nga kikulira wamu n’omubiri gwonna.” Pawulo yajjukiza Abakristaayo Abaefeso nti nga bali wamu ‘n’abatukuvu bonna’ bandifubye okutegeera okukkiriza kwonna.​—Abaefeso 3:18a.

11. (a) Kiki okukulaakulana mu by’omwoyo kye kutategeeza? (b) Kiki kye twetaaga okukola okusobola okukulaakulana?

11 Kyeyoleka bulungi mu bigambo bya Pawulo nti okukulaakulana mu by’omwoyo tekitegeeza kujjuza birowoozo byaffe kumanya n’okusoma okungi. Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo si y’oyo awuniikiriza abalala n’amagezi ge. Wabula, Baibuli egamba: “Naye ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.” (Engero 4:18) Yee, ‘ekkubo,’ so si omuntu kinnoomu, lye ‘lyakaayakana.’ Singa tufuba okutuukana n’okutegeera kw’Ekigambo kya Katonda, Yakuwa kw’awa abantu be era okugenda kweyongera, tujja kuba tukulaakulana mu by’omwoyo. Ku nsonga eno, okutuukana kitegeeza okweyongera mu maaso, era ekyo kintu ffenna kye tuyinza okukola.​—Zabbuli 97:11; 119:105.

Yoleka ‘Ebibala by’Omwoyo’

12. Lwaki okwoleka ebibala eby’omwoyo kikulu mu kukulaakulana mu by’omwoyo?

12 Wadde kikulu okutuuka ku ‘bumu mu kukkiriza ne mu kumanya okutuufu,’ era kikulu okwoleka ebibala by’omwoyo gwa Katonda mu bulamu bwaffe bwonna. Lwaki? Kino kiri kityo kubanga obukulu mu by’omwoyo tebwekweka naye bulabika era buyinza okuganyula n’okuzimba abalala. Kya lwatu nti bwe tufuba okukulaakulana mu by’omwoyo tuba tetwagala kweraga bwerazi. Wabula, singa tweyongera okukula mu by’omwoyo nga tugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda, tujja kukola enkyukakyuka ey’ekitalo mu ndowooza n’ebikolwa byaffe. Omutume Pawulo yagamba: “Mutambulirenga mu Mwoyo, kale temuutuukirizenga kwegomba kwa mubiri.”​—Abaggalatiya 5:16.

13. Nkyukakyuka ki eraga obulungi nti omuntu akulaakulana?

13 Awo, Pawulo yamenya ‘ebikolwa eby’omubiri,’ ebingi era ‘eby’olwatu.’ Ng’omuntu tannategeera bukulu bw’ebyo Katonda by’atwetaagisa, aba akyagoberera amakubo g’ensi era ayinza okuba akyenyigira mu bintu Pawulo bye yamenya: “Obwenzi, empitambi, obukaba, okusinza ebifaananyi, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebiri ng’ebyo.” (Abaggalatiya 5:19-21) Naye omuntu bw’agenda ng’akulaakulana mu by’omwoyo, mpolampola avvuunuka ‘ebikolwa ebyo eby’omubiri’ era n’atandika okwoleka ‘ebibala eby’omwoyo.’ Enkyukakyuka ng’eyo erabika eraga bulungi nti omuntu akulaakulana afuuke Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo.​—Abaggalatiya 5:22.

14. Nnyonnyola ebigambo ‘ebikolwa eby’omubiri’ ‘n’ebibala eby’omwoyo.’

14 Twetaaga okwetegereza ebigambo ‘ebikolwa eby’omubiri’ ne ‘ebibala eby’omwoyo.’ ‘Ebikolwa’ bye biva mu ekyo omuntu ky’akola. Kwe kugamba, ebintu Pawulo bye yamenya ng’ebikolwa eby’omubiri bye biva mu ebyo omuntu by’akola olw’okusalawo kwe oba olw’obutali butuukirivu. (Abaruumi 1:24, 28; 7:21-25) Ku luuyi olulala, ebigambo ‘ebibala by’omwoyo’ biraga nti engeri ezimenyeddwa, teziva mu kufuba kw’omuntu okuziraga, naye ziva ku mwoyo gwa Katonda omutukuvu okukolera ku muntu oyo. Ng’omuti bwe gujja okubala ebibala nga gulabiriddwa bulungi, n’omuntu ajja kwoleka ebibala by’omwoyo omutukuvu singa omwoyo gukolera mu bulamu bwe.​—Zabbuli 1:1-3.

15. Lwaki kikulu nnyo okussaayo omwoyo ku ‘bibala byonna eby’omwoyo omutukuvu’?

15 Ensonga endala ey’okwetegereza y’engeri Pawulo gye yakozesamu ekigambo ‘ebibala’ okuzingiramu engeri zonna ennungi ze yamenya. Omwoyo teguleeta bibala bya njawulo ffe twerobozeemu bye twagala. Ebibala byonna Pawulo bye yamenya, ng’okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, n’okwefuga, bikulu. Era byonna awamu bitusobozesa okwambala omuntu omuggya ow’Ekikristaayo. (Abaefeso 4:24; Abakkolosaayi 3:10) N’olwekyo, wadde tuyinza okukisanga nti ezimu ku ngeri ezo zeeyoleka nnyo mu bulamu bwaffe, kikulu nnyo okussaayo omwoyo ku bibala byonna Pawulo bye yamenya. Bwe tukola tutyo, tuyinza okwoleka engeri za Kristo mu bulamu bwaffe mu ngeri esingawo.​—1 Peetero 2:12, 21.

16. Tuba na kigendererwa ki mu kwagala okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo, era kino tuyinza kukituukako tutya?

16 Ekikulu kye tuyiga mu bigambo bya Pawulo kiri nti, nga tugezaako okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo, ekigendererwa kyaffe si kufuna okumanya n’okuyiga eby’ekitalo wadde okufuna engeri ennungi olw’okweraga. Ekigendererwa kwe kufuna omwoyo gwa Katonda mu bulamu bwaffe. Endowooza n’ebikolwa byaffe gye bikoma okukubirizibwa omwoyo gwa Katonda, gye tukoma n’okubeera abakulu mu by’omwoyo. Tuyinza tutya okutuuka ku kiruubirirwa ekyo? Tuteekwa okuggula emitima gyaffe n’endowooza yaffe omwoyo gwa Katonda gusobole okutukolerako. Kino kizingiramu obutayosa kujja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okuzenyigiramu. Era tuteekwa okuyiga n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda obutayosa, mu ngeri eyo ne tuleka emisingi gyakyo okutukulembera mu nkolagana zaffe n’abalala era ne mu bye tulondawo oba bye tusalawo okukola. Mu ngeri eyo, okukulaakulana kwaffe kujja kweyoleka bulungi.

Kulaakulana olw’Okuweesa Katonda Ekitiibwa

17. Okukulaakulana mu by’omwoyo kulina kakwate ki n’okugulumiza Kitaffe ow’omu ggulu?

17 Mu nkomerero, okukulaakulana kwaffe tekutuweesa ffe ffeka kitiibwa naye era ne Kitaffe ali mu ggulu, Yakuwa, atusobozesa okufuuka abakulu mu by’omwoyo. Ekiro ekyasembayo Yesu alyoke attibwe, yagamba abayigirizwa be: “Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange.” (Yokaana 15:8) Olw’okwoleka ebibala eby’omwoyo n’eby’Obwakabaka mu buweereza, abayigirizwa baaweesa Yakuwa ekitiibwa. ​—Ebikolwa 11:4, 18; 13:48.

18. (a) Kukungula ki okw’essanyu okuliwo leero? (b) Okukungula kuno kuleeta kusoomooza ki?

18 Leero, Yakuwa awa emikisa abantu be nga beenyigira mu kukungula okw’eby’omwoyo mu nsi yonna. Kati okumala emyaka egiwera, abantu abappya nga 300,000 buli mwaka, beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa. Kino kitusanyusa era awatali kubuusabuusa kisanyusa Yakuwa. (Engero 27:11) Kyokka, kino okusobola okweyongera okuleeta essanyu n’ettendo eri Yakuwa, abappya abo bonna beetaaga ‘okutambuliranga mu Kristo, nga balina emmizi, era nga bazimbibwa mu ye, era nga banywezebwa mu kukkiriza.’ (Abakkolosaayi 2:6, 7) Kino kireetera abantu ba Katonda okusoomooza kwa mirundi ebiri. Ku luuyi olumu, bw’oba waakabatizibwa, onoofuba nnyo ‘okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna’? Ku luuyi olulala, bw’oba obadde mu mazima okumala ekiseera, onootuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okukola ku mbeera ey’eby’omwoyo ey’abappya? Mu buli ngeri, obwetaavu bw’okukula mu by’omwoyo bweyoleka bulungi.​—Abafiripi 3:16; Abaebbulaniya 6:1.

19. Nkizo ki era mikisa ki gy’onoofuna singa oyoleka okukulaakulana kwo?

19 Emikisa egy’ekitalo girindiridde bonna abakola ennyo okwoleka okukulaakulana kwabwe. Jjukira ebigambo ebizzaamu amaanyi Pawulo bye yayogera ng’akubiriza Timoseewo okukulaakulana: “Weekuumenga wekka n’okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw’okola bw’otyo, olyerokola wekka era n’abo abakuwulira.” (1 Timoseewo 4:16) Ng’onyiikirira okwoleka okukulaakulana kwo, naawe oyinza okuba n’enkizo ey’okugulumiza erinnya lya Katonda era n’ofuna emikisa gye.

Ojjukira?

• Okukula mu by’omwoyo kuyinza kweyoleka mu ngeri ki?

• Kumanya na kutegeera kwa ngeri ki ebyoleka okukula mu by’omwoyo?

• Okwoleka ‘ebibala eby’omwoyo’ kiraga kitya okukulaakulana mu by’omwoyo?

• Twandikkiriza buvunaanyizibwa ki nga tuluubirira okufuuka abakulu mu by’omwoyo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Okwengera, oba okukula mu by’omwoyo, byeyoleka bulungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Tukulaakulana mu by’omwoyo bwe tutuukana n’amazima agabikkuddwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Okusaba kutuyamba okwoleka ‘ebibala by’omwoyo’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share