Weeyongere Okukulaakulana
BWE watandika okussa mu nkola emisingi gya Baibuli, endowooza yo, enjogera yo, n’engeri gye weeyisaamu byagenda bikyuka. Nnyingi ku nkyukakyuka ezo wazikola nga tonnayingira na mu Ssomero lya Mulimu gwa Katonda. Era kati oyinza okuba nga wamala dda okuwaayo obulamu bwo eri Yakuwa n’obatizibwa. Ekyo kitegeeza nti tokyetaaga kukulaakulana? Nedda. Okubatizibwa eba ntandikwa butandikwa.
Omuyigirizwa Timoseewo, yali aweereza ng’omukadde Omukristaayo Pawulo we yamugambira ‘okulowoozanga’ ku kubuulirira okwamuweebwa awamu n’enkizo ez’obuweereza bwe. Ate era yamukubiriza ‘okubyemalirako, okukulaakulana kwe kulabikenga eri bonna.’ (1 Tim. 4:12-15) K’obe ng’otandika butandisi okutambulira mu bulamu obw’Ekikristaayo oba ng’obuluddemu, osaanidde okweyongera okukulaakulana.
Okumanya n’Okukola Enkyukakyuka
Abeefeso 3:14-19, walaga nti omutume Pawulo yasabira bakkiriza banne basobole ‘okutegeerera ddala obugazi, obuwanvu, n’obugulumivu’ bw’amazima. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yassaawo ebirabo mu bantu basobole okuyigiriza, okutereeza n’okuzimba ekibiina. Okufumiitirizanga ku Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, awamu n’obulagirizi bw’abasomesa abalina obumanyirivu, bisobola okutuyamba ‘okukulaakulana’ mu by’omwoyo.—Bef. 4:11-15.
Okukulaakulana okwo kutwaliramu ‘okufuuka omuggya mu birowoozo byo.’ Ekyo kyetaagisa okuba n’endowooza ng’eya Katonda ne Kristo. Kyetaagisa okumanya endowooza yaabwe, okusobola ‘okwambala omuntu omuggya.’ (Bef. 4:23, 24) Bw’osoma mu Njiri ebikwata ku bulamu bwa Kristo, obitwala ng’ekyokulabirako eky’okugoberera? Ofuba okumanya engeri ezimu Yesu ze yayoleka era n’ofuba okuzikoppa mu bulamu bwo?—1 Peet. 2:21.
By’otera okunyumyako bisobola okulaga engeri gy’okulaakulanyemu. Abo abambadde omuntu omuggya teboogera bya bulimba, ebivuma, eby’obugwenyufu, n’ebirala ebitazimba. Wabula, bye boogera ‘bizimba abawuliriza.’ (Bef. 4:25, 26, 29, 31; 5:3, 4; Yuda 16) Bye boogera nga bali bokka oba nga bali mu nkuŋŋaana z’ekibiina byoleka nti amazima gakyusizza obulamu bwabwe.
Bw’oba nga ‘tokyatwalibwa buli mpewo ey’okuyigiriza,’ obwo nabwo buba bujulizi obulaga nti weeyongedde okukulaakulana. (Bef. 4:14) Ng’ekyokulabirako, otwala otya endowooza n’eby’amasanyu ebiri mu nsi? Weesanga ng’ebiseera bye wandimalidde ku bintu eby’omwoyo obimalira ku bintu ng’ebyo? Bwe kiba bwe kityo, oyinza okulemererwa okukulaakulana mu by’omwoyo. Nga kyandibadde kya magezi okugula ebiseera osobole okwenyigira mu bintu eby’eby’omwoyo!—Bef. 5:15, 16.
Engeri gy’okolaganamu n’abantu abalala, nayo esobola okulaga okukulaakulana kwo mu by’omwoyo. Oyize ‘okulaga ekisa, era n’okusonyiwa’ baganda bo ne bannyoko?—Bef. 4:32.
Okukulaakulana kw’otuuseeko mu kukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala kusaanidde okweyoleka mu kibiina n’awaka. Era kulina okweyoleka ng’oli ku ssomero, ng’oli mu bifo eby’olukale, era ne ku mulimu gy’okolera. (Bef. 5:21–6:9) Bw’oba ng’oyoleka engeri za Katonda mu bujjuvu mu mbeera ezo, kiba kiraga nti okukulaakulana.
Kozesa Ebitone Byo
Buli omu Yakuwa yamuwa ebitone n’obusobozi. Atusuubira okubikozesa okuyamba abalala. Bwe tubikozesa okuyamba abalala, aba ayitidde mu ffe okwoleka ekisa kye. Ku nsonga eno, omutume Peetero yawandiika: ‘Nga buli muntu bwe yaweebwa ekitone, akikozese mu kuweereza abalala, ng’abawanika abalungi ab’ekisa kya Katonda.’ (1 Peet. 4:10) Obuwanika bwo obutuukiriza bulungi?
Peetero ayongerako: “Omuntu yenna bw’ayogeranga, ayogerenga ng’ebiragiro bya Katonda bwe biri.” (1 Peet. 4:11) Olunyiriri luno luggumiza obuvunaanyizibwa obw’okwogera mu ngeri etuukana n’Ekigambo kya Katonda, Katonda asobole okugulumizibwa. Engeri gye twogeramu erina okuba ng’eweesa Yakuwa ekitiibwa. Okutendekebwa kw’ofuna okuyitira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, kusobola okukuyamba okukozesa ebitone byo okugulumiza Katonda ng’oyamba abalala. Ng’olina ekiruubirirwa ekyo, onoomanya otya engeri gy’okulaakulanamu mu Ssomero lino?
Mu kifo ky’okulowooza ku nsonga mmeka z’omalirizza okukolako, oba ebika by’emboozi z’ozze owa, lowooza ku ngeri okutendekebwa kw’ofunye gye kukuyambyemu okukulaakulana mu kutendereza Katonda. Essomero lituteekateeka okukola obulungi mu buweereza bw’ennimiro. N’olwekyo, weebuuze: ‘Ddala nteekateeka bulungi bye ŋŋenda okwogera mu buweereza obw’ennimiro? Njize okufaayo ku abo be mpa obujulirwa? Nteekawo omusingi kwe nnaatandikira nga ndeka ekibuuzo kye tunaakubaganyako ebirowoozo omulundi ogunaddako? Bwe mba nnina gwe nsomesa Baibuli, nfuba okukulaakulana nsobole okufuuka omusomesa atuuka ku mutima gw’omuntu?’
Totunuulira kukulaakulana kwo ng’osinziira ku nkizo ez’obuweereza ezikuweereddwa. Okuweebwa obuweebwa emboozi si kye kyoleka okukulaakulana kwo, wabula engeri gy’ogiwaamu. Bw’oba oweereddwa emboozi, weebuuze: ‘Nnayigirizza mu ngeri ennungi? Nnagitegese bulungi ne kiba nti yakutte ku bulamu bw’abo abampulirizza?’
Okukubirizibwa okukozesa ekitone kyo kizingiramu okubaako ky’okolawo. Otwala omutawaana okukola n’abalala mu buweereza bw’ennimiro? Okozesa buli kakisa k’ofuna okuyamba abappya, abato n’abalema abali mu kibiina kyo? Okola nga nnakyewa mu kulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka oba okuyamba mu ngeri ezitali zimu mu nkuŋŋaana ennene? Oyinza okuweereza nga payoniya omuwagizi ebiseera ebimu? Osobola okuweereza nga payoniya owa bulijjo oba okuyambako mu bibiina omuli obwetaavu obusingawo? Bw’oba ng’oli wa luganda, ofuba okutuukiriza ebisaanyizo eby’omu Byawandiikibwa eby’okubeera omuweereza oba omukadde? Bw’obeera omwetegefu okuyamba era n’okukkiriza obuvunaanyizibwa, ako kaba kabonero akalaga nti okulaakulana.—Zab. 110:3.
Omugaso gw’Obumanyirivu
Bw’oba ng’owulira nti tolina kinene ky’oyinza kukola olw’okuba tolina bumanyirivu mu bulamu obw’Ekikristaayo, ba mugumu. Ekigambo kya Katonda ‘kiwa abatalina bumanyirivu amagezi.’ (Zab. 19:7; 119:130; Nge. 1:1-4) Okugoberera okubuulirira okuli mu Baibuli kituyamba okuganyulwa mu magezi agava eri Yakuwa, agasingira ewala okumanya kwonna n’obumanyirivu bye tuzze tufuna mu bulamu. Kyokka, bwe tugenda tukulaakulana mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, tufuna obumanyirivu bungi. Tuyinza tutya okubweyambisa mu ngeri ey’omuganyulo?
Oluvannyuma lw’okuyita mu mbeera ezitali zimu mu bulamu, omuntu ayinza okugamba nti: ‘Nnali njolekaganyeko n’embeera eno. Mmanyi eky’okukola.’ Naye kyandibadde kya magezi okuba n’endowooza ng’eyo? Engero 3:7 wagamba: “Tobanga na magezi mu maaso go ggwe.” Omuntu bw’aba n’obumanyirivu, aba n’ebintu bingi eby’okusinziirako ng’alina by’asalawo mu bulamu. Naye bwe tuba abantu abakulaakulana mu by’omwoyo, obumanyirivu bwe tuba nabwo bwandituyambye okutegeera nti twetaaga obulagirizi bwa Yakuwa okusobola okutuuka ku buwanguzi. N’olwekyo, okukulaakulana kwaffe tekweyolekera ku bumalirivu bwe tuba nabwo nga twaŋŋanga ebizibu, wabula mu ngeri gye twesigamu Yakuwa okutuwa obulagirizi. Kweyoleka bwe tubeera abagumu nti tewali kiyinza kututuukako nga Kitaffe ow’omu ggulu takikkirizza era nga tweyongera okumwesiga n’okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere naye.
Luubirira Ebiri mu Maaso
Wadde ng’omutume Pawulo yali Mukristaayo akuze mu by’omwoyo era nga yali omu ku baafukibwako amafuta, yakimanya nti yali yeetaaga ‘okuluubirira ebiri mu maaso’ okusobola okutuuka ku kiruubirirwa eky’obulamu. (Baf. 3:13-16) Naawe olina endowooza bw’etyo?
Okulaakulanye kutuuka wa? Pima okukulaakulana kwo ng’osinziira ku wa w’otuuse mu kwambala omuntu omuggya, ku ngeri gye weemalidde ku bufuzi bwa Yakuwa, era ne ku ngeri gy’okozesaamu ebitone by’olina okuweesa Yakuwa ekitiibwa. Nga weeyongera okuganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, engeri ennungi ezoogerwako mu Kigambo kya Katonda zandyeyolese mu ngeri gy’oyogeramu ne gy’oyigirizaamu. Ssaayo omwoyo ku ngeri zino ezooleka okukulaakulana kwo. Yee, zisseeko nnyo essira era okukulaakulana kwo kujja kweyoleka.