Okuba Omunyiikivu era Omusanyufu ng’Oweereza Katonda
YAKUWA ayagala nnyo obe musanyufu. (Zab. 100:2) Ng’omu ku baweereza be, oteekwa okuba ng’olina eby’okukola bingi. Osanga tekyali bwe kityo mu kiseera we watandikira okuweereza Katonda. Naye kati okukwataganya emirimu gyo egya bulijjo n’obuvunaanyizibwa bwo obw’eby’omwoyo kiyinza okukuzibuwalira. Oyinza n’okuba ng’owulira bubi olw’obutasobola kutuukiriza buli kimu nga bw’okyagala. Kiki ekinaakuyamba okukwataganya obulungi obuvunaanyizibwa obwo era n’osigala ng’olina ‘essanyu lya Yakuwa’?—Nek. 8:10.
Olw’okuba tuli mu biseera bizibu nnyo era nga n’ebitunyigiriza bingi, twetaaga okuba n’enteekateeka ennungi. Ku nsonga eno omutume Pawulo yagamba: “Mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu; temutambula ng’abatalina magezi naye ng’abalina amagezi, nga mukozesa bulungi buli kakisa ke mufuna kubanga ennaku mbi.”—Bef. 5:15, 16.
Oyinza otya okukolera ku magezi ago n’otuuka ku biruubirirwa byo gamba ng’okwesomesa, okulabirira amaka go, okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, n’okukola emirimu gyo?
Ojjukira essanyu lye wafuna bwe weewaayo eri Katonda era n’obatizibwa? Essanyu eryo lyava mu kuba nti wayiga ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye. Kyandiba nti okubiyiga n’okufuna essanyu eryo kyakutwalira ebbanga. Naye okufuba okwo tekwali kwa bwereere. Bye wayiga byakuyamba okukola enkyukakyuka ennungi mu bulamu bwo.
Okusobola okukuuma essanyu lyo, weetaaga okwongera okweriisa mu by’omwoyo. Bw’oba ozibuwalirwa okufuna ebiseera okwesomesa Baibuli, lowooza ku ngeri gy’okozesaamu ebiseera byo. Ne bw’omala eddakiika entono buli lunaku ng’osoma era ng’ofumiitiriza, ojja kunyweza enkolagana yo ne Yakuwa, era kino kijja kukuleetera essanyu.
Okusobola okufuna ebiseera, abaweereza ba Katonda abasinga bakendeeza ku biseera bye bamala ku bintu ebitali bikulu nnyo basobole okukola ku bintu ebisinga obukulu. Weebuuze, ‘Biseera byenkana wa bye mmala nga nsoma magazini n’amawulire, nga ndaba ttivi, nga mpuliriza ennyimba, oba nga nzannya emizannyo eginnyumira ennyo?’ Ebintu ng’ebyo ku bwabyo si bibi bwe bikolebwa ku kigero ekisaanira. (1 Tim. 4:8) Singa okizuula nti obuzibu buva ku ngeri gy’okozesaamu ebiseera byo, baako ky’okolawo.
Adam, ssemaka, ng’alina abaana basatu, era nga mukadde mu kibiina, annyonnyola ekimuyamba: “Nfuba okulaba nti sibeera na bintu bingi mu bulamu. Nneewala okukola ebintu ebitwala obudde obungi. Kino tekitegeeza nti sifunayo kiseera kwesanyusaamu—nneessanyusaamu ku kigero ekisaana.”
Bw’ofumiitiriza ku birungi ebivudde mu bintu by’ozze osalawo, kisobola okukuyamba okuddamu okufuna essanyu lyo n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Ng’ekyokulabirako Mariusz, omukadde mu kibiina era ng’alina abaana basatu agamba: “Bwe nnatandika okuyiga Baibuli, nnafuna essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Ntera okufuna ebizibu, nga bingi ku byo Yakuwa yekka y’abimanya. Naye olw’obuyambi bw’ampa, nsobodde okusigala nga ndi musanyufu.”
Okufaananako Mariusz, okuba n’endowooza ennuŋŋamu tekiyinza kumalirawo ddala kweraliikirira, naye kikuyamba okusigala ng’oli mukkakkamu n’osobola okugumira ebizibu. Baibuli egamba nti: “Ennaku zonna ez’abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo alina omutima ogujaguza alya embaga etevaawo.” (Nge. 15:15) Ate era bw’ofumiitiriza ku kwagala Yakuwa kw’akulaze, kijja kukuleetera okumwagala era kikuwe n’essanyu.—Mat. 22:37.
Okukulembeza Yakuwa by’ayagala kireetera amaka okubaamu essanyu. Okwoleka engeri z’Ekikristaayo kikendeeza ku bukuubagano mu maka era ne gaba bumu. Bwe kityo amaka go gajja kubaamu emirembe n’obumu.—Zab. 133:1.
Ab’omu maka bwe beenyigira mu bintu eby’omwoyo kyongera ku ssanyu mu maka. Mariusz agamba nti: “Ekiseera kye tumala nga tuli wamu ng’amaka nkitwala nga kya muwendo. Mukyala wange ampagira nnyo mu bye nkola. Buli lwe kiba kisobose, abeera wamu nange mu buweereza bw’ennimiro oba mu kulongoosa nga twetegekera olukuŋŋaana olunene era amperekerako nga ŋŋenda okuwa emboozi mu bibiina ebirala. Ekyo kinzizaamu nnyo amaanyi.”
Ebyawandiikibwa bikubiriza Abakristaayo okulabirira ab’omu maka gabwe mu by’omubiri. (1 Tim. 5:8) Kyokka singa omulimu gwo gukutwalira ebiseera bingi n’amaanyi mangi, oyinza okubulwa essanyu mu buweereza bwo eri Katonda. Mu mbeera ng’eyo tuukirira Yakuwa mu kusaba akuyambe. (Zab. 55:22) Abamu beesanga nga balina okukyusa omulimu basobole okukulembeza Obwakabaka bwa Katonda. Ne bwe kiba nti omulimu Omukristaayo gw’akola gumuwa ssente nnyingi, tasaanidde kugukkiriza kumuziba maaso bwe guba tegumusobozesa kukola ku bintu ebisinga obukulu—ebintu eby’omwoyo.—Nge. 22:3.
Kiyinza okukuyamba bw’owandiika ebirungi n’ebibi ebiri mu mulimu gw’oyagala okufuna oba ogwo gw’oliko kati. Kyo kituufu nti buli omu yandyagadde okukola omulimu ogusasula obulungi era ogumatiza. Naye, omulimu gw’okola gukusobozesa okufuna ebiseera okukola ku byetaago by’ab’omu maka go eby’omwoyo? Weetegereze ensonga ezo mu bwesimbu era osalewo mu ngeri eraga nti enkolagana yo ne Yakuwa ogitwala nga kye kintu ekisinga obukulu.
Omulimu gw’olina kati bwe guba tegukuganya kukulaakulana mu by’omwoyo, weetaaga okukyusa. Abakristaayo bangi bakoze enkyukakyuka ez’amaanyi basobole okufuna ebiseera okukola ku bintu eby’omwoyo. Ow’oluganda omu ow’omu Poland agamba nti: “Nnakiraba nti nnalina okuleka omulimu gwa kampuni gye nnali nkolera olw’okuba ebiseera ebisinga gwannetaagisanga okutambula. Nnali sikyalina biseera kukola ku bya mwoyo oba ku byetaago by’ab’omu maka gange.” Kati ow’oluganda oyo yeeyimirizaawo ng’akola omulimu ogutamutwalira biseera bingi na maanyi mangi.
Funa Essanyu mu Kuyamba Abalala
Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Waliwo engeri nnyingi Abakristaayo gye basobola kino okukikolamu. Okussaako akamwenyumwenyu, okukwatako omuntu mu ngalo ng’omubuuza, oba okwebaza oyo aba awadde emboozi mu kibiina kye kiyinza mwembi okubaleetera essanyu.
Omutume Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne ‘okubudaabuda abennyamivu n’okuyamba abanafu.’ (1 Bas. 5:14) Abantu abennyamivu bayinza okuwulira nti ebizibu bibayitiriddeko era nga beetaaga omuntu okubayamba. Osobola okuyamba abalinga abo? Bw’okiraba nti waliwo ow’oluganda atakyalina ssanyu mu buweereza bwe eri Yakuwa, gezaako okumuzzaamu amaanyi. Bw’okola bw’otyo naawe kijja kukuzaamu amaanyi. Ebizibu ebimu tebisobola kugonjoolwa bantu. Kyokka, osobola okubudabuda muganda wo ng’omusaasira era ng’omukubiriza okwesiga Yakuwa, oyo atayinza kumwabulira. Abo abamwesiga tebasobola kwejjusa.—Zab. 27:10; Is. 59:1.
Ekirala ky’oyinza okukola kwe kusaba oyo atakyalina ssanyu ne mukola mwenna mu buweereza bw’ennimiro. Bwe yali atuma abayigirizwa 70, Yesu yabatuma “babiri babiri.” (Luk. 10:1) Kino kirina okuba nga kyabasobozesa okuzziŋŋanamu amaanyi. Naawe osobola okuyamba abamu abatalina ssanyu ng’obasaba bakoleko naawe mu buweereza?
Kyo kituufu nti waliwo ebintu ebyeraliikiriza bingi. Naye Pawulo atukubiriza nti: “Musanyukirenga mu Mukama waffe. Nziramu nate okugamba nti, Musanyuke!” (Baf. 4:4) Obulamu bwo bulina ekigendererwa olw’okuba oyagala Katonda, omugondera era omuweereza n’obunyiikivu. Ekyo kikuleetera essanyu. N’ekirala, Yakuwa ajja kukuyamba ng’oyolekaganye n’ebizibu.—Bar. 2:6, 7.
Tuli bakakafu nti ensi empya Yakuwa gye yasuubiza eneetera okutuuka. Mu nsi eyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi era tujja kuba mu ssanyu jjereere! (Zab. 37:34) N’olwekyo, tusobola okusigala nga tuli basanyufu nga tetubuusa maaso birungi Yakuwa by’atukolera ne mu kiseera kino. Yee, tusobola ‘okuweereza Yakuwa n’essanyu.’—Zab. 100:2.
[Ekipande ekiri ku lupapula 8]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Okusobola okusigala ng’oli musanyufu, kiyinza okukwetaagisa okukola enkyukakyuka mu ngeri gy’okozesaamu ebiseera byo
EBY’OKWESANYUSAAMU
OKULABIRIRA AMAKA
OMULIMU
ENKUŊŊAANA Z’EKIKRISTAAYO
OKWESOMESA
OBUWEEREZA BW’ENNIMIRO
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
Osobola okuyamba abalala okuddamu okufuna essanyu?