LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 3/15 lup. 19-23
  • “Abatuukirivu Balyakaayakana ng’Enjuba”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Abatuukirivu Balyakaayakana ng’Enjuba”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Olugero lw’Eŋŋaano n’Omuddo
  • “Mubireke Bikulire Wamu Okutuusa ku Makungula”
  • Ekiseera ky’Amakungula Ekyali Kirindirirwa
  • “Balyakaayakana ng’Enjuba ”
  • Olugero lw’Eŋŋaano n’Omuddo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • “Laba! Ndi Wamu Nammwe Ennaku Zonna”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Eddiini emu ey’Ekikristaayo ey’Amazima Weeri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Engero Ezikwata ku Bwakabaka
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 3/15 lup. 19-23

“Abatuukirivu Balyakaayakana ng’Enjuba”

“Mu kiseera ekyo, abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba nga bali mu bwakabaka bwa Kitaabwe.”​—MAT. 13:43.

1. Bintu ki eby’enjawulo ebikwata ku Bwakabaka Yesu bye yannyonnyola ng’akozesa engero?

YESU KRISTO yakozesa engero nnyingi okunnyonnyola ebintu eby’enjawulo ebikwata ku Bwakabaka. ‘Yabuuliranga abantu mu ngero. Mu butuufu, teyayogeranga nabo nga takozesezza ngero.’ (Mat. 13:34) Mu lugero olukwata ku nsigo y’amazima g’Obwakabaka, Yesu yakiraga nti omuntu okusobola okukkiriza amazima kisinziira nnyo ku mbeera y’omutima gwe, era nti ne Yakuwa akola kinene nnyo mu kuyamba omuntu oyo okukula mu by’omwoyo. (Mak. 4:3-9, 26-29) Yesu era yakozesa engero okulaga nti omulimu gw’Obwakabaka gukulaakulana enkya n’eggulo wano ku nsi, wadde ng’okukulaakulana okwo mu kusooka tekutera kulabikirawo. (Mat. 13:31-33) Ate era yakiraga nti si bonna abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka nti basaanira okufugibwa Obwakabaka obwo.​—Mat. 13:47-50.a

2. Mu lugero lwa Yesu olw’eŋŋaano n’omuddo, ensigo ennungi ekiikirira ki?

2 Kyokka, olumu ku ngero za Yesu lukwata ku kukuŋŋaanyizibwa kw’abo abanaafugira awamu naye mu Bwakabaka bwe. Luno lutera okuyitibwa olugero lw’eŋŋaano n’omuddo, olusangibwa mu Matayo essuula 13. Wadde nga mu lumu ku ngero ze, Yesu agamba nti ensigo eyasigibwa kye ‘kigambo ky’obwakabaka,’ mu lugero luno, atutegeeza nti ensingo ennungi ekiikirira kintu kirala, nga bano be “baana b’obwakabaka.” (Mat. 13:19, 38) Bano si be bantu abanaafugibwa Obwakabaka, wabula “baana,” oba basika, b’Obwakabaka.​—Bar. 8:14-17; soma Abaggalatiya 4:6, 7.

Olugero lw’Eŋŋaano n’Omuddo

3. Kizibu ki omuntu ayogerwako mu lugero ky’ayolekaganye nakyo era akikwata atya?

3 Olugero luno lugamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye. Abantu bwe baali beebase, omulabe we n’ajja n’asiga mu ŋŋaano omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano n’agenda. Bwe byakula ne bibala, omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano ne gulabika. Abaddu ba nnannyini nnimiro ne bajja ne bamugamba nti, ‘Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Kati olwo lwaki mulimu omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano?’ N’abagamba nti, ‘Omulabe ye yakikola.’ Ne bamuddamu nti, ‘Oyagala tugende tugukuulemu?’ N’abagamba nti, ‘Nedda; kubanga bwe munaaba mugukuulamu muyinza okukuuliramu eŋŋaano. Mubireke bikulire wamu okutuusa ku makungula; era mu kiseera eky’amakungula ndigamba abakunguzi nti, Musooke mukuŋŋaanye omuddo ogufaanana eŋŋaano, mugusibe mu miganda mugwokye, oluvannyuma mulyoke mukuŋŋaanyize eŋŋaano mu tterekero lyange.’”​—Mat. 13:24-30.

4. (a) Omuntu ayogerwako mu lugero y’ani? (b) Yesu yatandika ddi okusiga ensigo era yakikola atya?

4 Omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye y’ani? Yesu yaddamu ekibuuzo ekyo ng’agamba abayigirizwa be nti: “Eyasiga ensigo ennungi ye Mwana w’omuntu.” (Mat. 13:37) Yesu, ‘Omwana w’omuntu,’ yateekateeka ennimiro mu myaka esatu n’ekitundu gye yamala mu buweereza bwe ku nsi. (Mat. 8:20; 25:31; 26:64) Kyokka okuva ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E. n’okweyongerayo, yatandika okusiga ensigo ennungi, nga bano be “baana bw’obwakabaka.” Okusiga kuno kwatandika nga Yesu, ng’omubaka wa Yakuwa, atandise okufuka omwoyo omutukuvu ku bayigirizwa be, ng’abalonda okuba abaana ba Katonda.b (Bik. 2:33) Ensigo ennungi zaakula ne zivaamu eŋŋaano enkulu. N’olwekyo, ekigendererwa ky’okusiga ensigo ennungi kyali kukuŋŋaanya abo bonna abandifugidde awamu ne Yesu mu Bwakabaka bwe.

5. Omulabe ayogerwako mu lugero y’ani, era omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano gukiikirira baani?

5 Omulabe y’ani, era omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano be baani? Yesu yagamba nti omulabe “ye Mulyolyomi.” Omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano be “baana b’omubi.” (Mat. 13:25, 38, 39) Omuddo Yesu gwe yali ayogerako wano bwe guba gukyali muto guba gufaananako eŋŋaano naye ng’ate gwa bulabe. Nga gukiikirira bulungi abo abeeyita abaana bw’Obwakabaka naye nga tebabala bibala birungi! Bannanfuusi bano abeeyita abagoberezi ba Kristo, ddala ‘zzadde’ lya Sitaani Omulyolyomi.​—Lub. 3:15.

6. Omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano gwatandika ddi okulabika, era abantu baali “beebase” batya mu kiseera ekyo?

6 Abakristaayo bano abalinga omuddo baalabika ddi? Yesu yagamba nti: “Abantu bwe baali beebase.” (Mat. 13:25) Kino kyaliwo ddi? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo by’omutume Pawulo eri abakadde b’omu Efeso: “Nkimanyi nti bwe ndimala okugenda, emisege emikambwe giriyingira mu mmwe era tegiriyisa bulungi kisibo, era mu mmwe mwennyini muliva abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” (Bik. 20:29, 30) Yakubiriza abakadde abo okusigala nga batunula mu by’omwoyo. Oluvannyuma lw’abatume ‘abaaziyizanga’ obwa kyewaggula okutandika okwebaka mu kufa, Abakristaayo bangi baatandika okwebaka mu by’omwoyo. (Soma 2 Abassessaloniika 2:3, 6-8.) Mu kiseera ekyo obwakyewaggula we bweyolekera.

7. Waliwo eŋŋaano eyafuuka omuddo? Nnyonnyola.

7 Yesu teyagamba nti eŋŋaano yandifuuse omuddo, wabula yagamba nti omuddo gwasigibwa mu ŋŋaano. N’olwekyo, olugero luno terukwata ku Bakristaayo abava mu mazima, wabula lulaga ekyo Sitaani ky’akola okusobola okwonoona ekibiina Ekikristaayo ng’akireetamu abantu ababi. Omutume eyasembayo okufa, Yokaana, we yakaddiyira, obwakyewaggula bwali bumaze okweyolekera ddala.​—2 Peet. 2:1-3; 1 Yok. 2:18.

“Mubireke Bikulire Wamu Okutuusa ku Makungula”

8, 9. (a) Lwaki abo abaali bawuliriza Yesu baategeera bulungi ekyo nnannyini nnimiro kye yagamba? (b) Eŋŋaano n’omuddo okukulira awamu kyatuukirizibwa kitya?

8 Abaddu baabuulira Mukama waabwe ekizibu ekyaliwo era ne bamubuuza nti: ‘Oyagala tugende tukuulemu omuddo?’ (Mat. 13:27, 28) Kye yaddamu kiyinza okukwewuunyisa. Yabagamba okuleka eŋŋaano ekulire wamu n’omuddo ogwo okutuusa ku kiseera eky’amakungula. Kino abayigirizwa ba Yesu balina okuba nga baakitegeera bulungi olw’okuba nabo baali bakiraba nti tekyali kyangu kwawula ŋŋaano ku muddo ogwo ogufaanana ng’eŋŋaano. Abamu ku abo abaali abalimi mu kiseera ekyo, baali bakimanyi bulungi nti emirandira gy’omuddo ogwo gyasibagananga nnyo n’egy’eŋŋaano.c Eyo y’ensonga lwaki Mukama waabwe yabalagira okulindako.

9 Mu ngeri y’emu, okumala emyaka mingi, amadiini ga Kristendomu agatali gamu​—omuli eddiini y’Ekikatuliki n’ey’Ekisodookisi wamu n’amadiini g’Ekipolotesitante agaatandikibwawo oluvannyuma​—gaaviirako omuddo mungi ogufaanana ng’eŋŋaano okumeruka. Mu kiseera kye kimu, okwetooloola ensi, waaliwo ensigo entonotono ez’eŋŋaano entuufu ezeeyongera okusigibwa. Nnannyini nnimiro ayogerwako mu lugero luno yamala ekiseera kiwanvu ng’alindirira okutuusa ekiseera ky’amakungula lwe kyandituuse.

Ekiseera ky’Amakungula Ekyali Kirindirirwa

10, 11. (a) Ekiseera ky’amakungula kyatandika ddi? (b) Eŋŋaano ey’akabonero ereetebwa etya mu tterekero lya Yakuwa?

10 Yesu agamba nti: ‘Amakungula ge mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu, era abakunguzi be bamalayika.’ (Mat. 13:39) Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, abaana b’Obwakabaka bakuŋŋaanyizibwa era baawulwa ku abo abalinga omuddo. Ku nsonga eno, omutume Peetero agamba nti: “Ekiseera kituuse omusango okusalibwa nga gutandikira mu nnyumba ya Katonda. Bwe gutandikira ku ffe, kinaaba kitya eri abo abatagondera mawulire ga Katonda amalungi?”​—1 Peet. 4:17.

11 Ng’ennaku ez’oluvannyuma, oba ‘amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,’ zaakatandika, abo abaali bagamba nti Bakristaayo b’amazima baatandika okusalirwa omusango, okukakasa obanga ddala baali “baana b’obwakabaka” oba “baana b’omubi.” Ku ntandikwa y’amakungula, ‘okusooka’ Babulooni Ekinene kyagwa, era “oluvannyuma” abaana b’Obwakabaka baakuŋŋanyizibwa. (Mat. 13:30) Naye leero, eŋŋaano ey’akabonero ereetebwa etya mu tterekero lya Yakuwa? Abo abakungulwa baleetebwa mu kibiina Ekikristaayo ekyazzibwawo, mwe bafunira emikisa gya Katonda n’obukuumi bwe, oba baweebwa empeera yaabwe mu ggulu.

12. Amakungula gabaawo kumala bbanga ki?

12 Okusala omusango kumala bbanga ki? Yesu bwe yali ayogera ku makungula yakiyita “kiseera,” ekiraga nti gabaawo okumala ebbanga eriwerako. (Kub. 14:15, 16) Okusalira abaafukibwako amafuta omusango kinnoomu kugenda mu maaso mu kiseera kino eky’enkomerero. Kujja kweyongera mu maaso okutuusa nga bonna bamaze okuteekebwako akabonero.​—Kub. 7:1-4.

13. Mu ngeri ki abo abalinga omuddo gye baleetera abantu okwesittala, era bakola batya eby’obujeemu?

13 Baani abaliggibwa mu Bwakabaka, era beesitaza batya abantu era bakola batya eby’obujeemu? (Mat. 13:41) Okumala ebyasa bingi, abakulembeze ba Kristendomu abalinga omuddo babuzaabuzizza abantu bangi nnyo. Kino bakikoze nga bayigiriza ebintu ebitaweesa Katonda kitiibwa, ‘ebintu ebyesittaza,’ gamba ng’enjigiriza egamba nti abantu babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira n’eyo egamba nti Katonda ali mu busatu. Abakulembeze b’eddiini bangi bateereddewo abagoberezi baabwe ekyokulabirako ekibi nga bakola omukwano n’ensi eno embi era nga beenyigira mu bikolwa byayo eby’obugwenyufu. (Yak. 4:4) Okugatta ku ekyo, abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu beeyongedde okuttira ku liiso ebikolwa eby’obugwenyufu ebikolebwa abagoberezi baabwe. (Soma Yuda 4.) Wadde kiri kityo, beeyongera okuwa ekifaananyi nti batya Katonda. Nga kya ssanyu okuba nti abaana b’Obwakabaka baayawulibwa ku abo abalinga omuddo awamu n’enjigiriza zaabwe enkyamu ezireetera abantu okwesittala!

14. Mu ngeri ki abo abalinga omuddo gye bakaaba era ne baluma obujiji?

14 Mu ngeri ki abo abalinga omuddo gye bakaaba era ne baluma obujiji? (Mat. 13:42) ‘Abaana b’omubi’ balumizibwa olw’okuba ‘abaana b’obwakabaka’ baanise enjigiriza zaabwe enkyamu n’ebikolwa byabwe ebibi. Era balumizibwa olw’okuba abagoberezi baabwe beeyongera okukendeera, era nga tebakyasobola kubafuga.​—Soma Isaaya 65:13, 14.

15. Mu ngeri ki omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano gye gwokebwa?

15 Mu ngeri ki omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano gye gukuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa? (Mat. 13:40) Kino kiraga ekyo ekijja okutuuka ku muddo ogufaanana ng’eŋŋaano. Okusuulibwa mu kikoomi ky’omuliro mu ngeri ey’akabonero kiraga nti boolekedde okuzikirizibwa emirembe n’emirembe. (Kub. 20:14; 21:8) Abo abalinga omuddo era Abakristaayo ab’obulimba bajja kumalibwawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’​—Mat. 24:21.

“Balyakaayakana ng’Enjuba ”

16, 17. Malaki yalagula ki ku yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo, era ekyo kyatandika ddi okutuukirizibwa?

16 Abo abalinga eŋŋaano ‘baakaayakana ddi ng’enjuba’? (Mat. 13:43) Ng’ayogera ku kulongoosebwa kwa yeekaalu ya Katonda, Malaki yalagula nti: “Mukama [ow’amazima] gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw’ayogera Mukama w’eggye. Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw’alirabika? kubanga aliŋŋanga omuliro gw’oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow’aboozi: era alituula ng’oyo alongoosa effeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.”​—Mal. 3:1-3.

17 Mu kiseera kyaffe, obunnabbi buno bwatandika okutuukirizibwa mu 1918 Yakuwa, ng’ali wamu “n’omubaka w’endagaano,” Yesu Kristo, bwe yalambula yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. Malaki atubuulira ekibaawo ng’okulongoosa okwo kuwedde: “[Muliraba enjawulo wakati w’omutuukirivu] n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.” (Mal. 3:18) Okweyongerayongera okubaddewo mu Bakristaayo ab’amazima okuva mu mwaka ogwo kulaga nti ekiseera ky’amakungula kyatandika mu mwaka ogwo.

18. Danyeri yalagula ki ekyandibaddewo mu kiseera kyaffe?

18 Nnabbi Danyeri yalagula ku kiseera kyaffe ng’agamba nti: “Abo abalina amagezi balyakaayakana ng’okumasamasa okw’omu bbanga: n’abo abakyusa abangi eri obutuukirivu ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe.” (Dan. 12:3) Baani abo abaakaayakana? Bano be Bakristaayo abaafukibwako amafuta, eŋŋaano yennyini Yesu gye yayogerako mu lugero lwe olw’eŋŋaano n’omuddo. Okweyongerayongera kw’ekibiina ekinene eky’abo abalinga endiga bukakafu obulaga nti omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano ‘gukuulibwamu.’ Bwe beegatta ku nsigalira y’abaafukibwako amafuta, bano abanaafugibwa Obwakabaka nabo baleka ekitangaala kyabwe okwakira abantu mu nsi eno ejjudde ekizikiza.​—Zek. 8:23; Mat. 5:14-16; Baf. 2:15.

19, 20. ‘Abaana b’obwakabaka’ balindirira ki, era tujja kwekenneenya ki mu kitundu ekiddako?

19 Leero, ‘abaana b’obwakabaka’ balindirira okufuna empeera yaabwe mu ggulu. (Bar. 8:18, 19; 1 Kol. 15:53; Baf. 1:21-24) Naye ng’ekyo tekinnabaawo, balina okusigala nga beesigwa, nga beeyongera okwakaayakana era nga bakyoleka nti ba njawulo ku “baana b’omubi.” (Mat. 13:38; Kub. 2:10) Nga tuli basanyufu okuba nti tulabye ebyo ebivudde mu kuba nti omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano ‘gukuulibwamu’ mu ngeri ey’akabonero mu kiseera kyaffe!

20 Naye, kakwate ki akali wakati w’abaana b’Obwakabaka n’ab’ekibiina ekinene ekigenda kyeyongerayongera abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna nga bafugibwa Obwakabaka? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebisingawo ku ngero ezo, laba Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 15, 2008, olupapula 12-21.

b Mu lugero luno, okusiga tekukiikirira mulimu gwa kubuulira na kufuula bantu bayigirizwa, ogwandireese abapya abandifuuse Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Ng’ayogera ku nsigo ennungi ezaasigibwa mu nnimiro, Yesu yagamba nti: “[Bano] be baana bw’obwakabaka,” so si nti bajja kufuuka baana b’obwakabaka. Okusiga kukiikirira okufuka amafuta ku baana bw’Obwakabaka abo.

c Emirandira gy’omuddo guno ogufaanana ng’eŋŋaano oguyitibwa bearded darnel gisibagana nnyo n’egy’eŋŋaano ne kiba nti okukuulamu omuddo ogwo ng’amakungula tegannatuuka kyandiviiriddeko okufiirwa eŋŋaano.​—Laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, olupapula 1178.

Ojjukira?

Mu lugero lwa Yesu olw’eŋŋaano n’omuddo, ebintu bino bitegeeza ki?

• Ensigo ennungi

• Omuntu eyasiga ensigo

• Okusiga ensigo

• Omulabe

• Omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano

• Ekiseera eky’amakungula

• Etterekero

• Okukaaba n’okuluma obujiji

• Ekikoomi eky’omuliro

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]

Ensigo ennungi zaatandika okusigibwa ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Eŋŋaano ey’akabonero kati ereetebwa mu tterekero lya Yakuwa

[Ensibuko y’Ekifaananyi]

Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share