EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 12-13
Olugero lw’Eŋŋaano n’Omuddo
Yesu yakozesa olugero lw’eŋŋaano n’omuddo okulaga ekiseera n’engeri gye yandikuŋŋaanyizzaamu Abakristaayo abaafukibwako amafuta, era ng’ekyo yandikikoze okutandikira mu mwaka gwa 33 E.E.
‘Omusajja yasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye’
Omusizi: Yesu Kristo
Ensigo ennungi zisigibwa: Abayigirizwa ba Yesu bafukibwako omwoyo omutukuvu
Ennimiro: Ensi
“Abantu bwe baali beebase, omulabe we n’ajja n’asiga mu ŋŋaano omuddo”
Omulabe: Sitaani
Abantu bwe baali beebase: Ng’abatume bafudde
“Mubireke bikulire wamu okutuusa ku makungula”
Eŋŋaano: Abakristaayo abaafukibwako amafuta
Omuddo: Abakristaayo ab’obulimba
‘Musooke mukuŋŋaanye omuddo, oluvannyuma mulyoke mukuŋŋaanye eŋŋaano’
Abaddu/abakunguzi: Bamalayika
Omuddo gukuŋŋaanyizibwa: Abakristaayo ab’obulimba baawulibwa ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta
Okukuŋŋaanyiza mu tterekero: Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakuŋŋaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo ekizziddwawo
Ekiseera eky’amakungula bwe kyatandika, kiki ekyayawulawo Abakristaayo ab’amazima ku b’obulimba?
Olugero luno lunjigiriza ki?