Okusigala ng’Osiimibwa Katonda Wadde nga Wazeewo Enkyukakyuka
OLINA enkyukakyuka z’ofunye mu bulamu bwo? Okisanze nga kizibu okuzikkiriza? Bangi ku ffe twali tubaddeko mu mbeera ng’eyo oba lumu tuligibaamu. Kyokka waliwo ebyokulabirako eby’abantu abaliwo edda ebisobola okutuyamba okwolekagana n’embeera eyo.
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Dawudi eyafuna enkyukakyuka ennyingi mu bulamu bwe. Samwiri we yamufukirako amafuta ng’oyo eyandifuuse kabaka, Dawudi yali mulenzi muto era nga mulunzi wa ndiga. Ng’akyali muto, yeewaayo okulwanyisa Goliyaasi omusajja Omufirisuuti eyali omuwagguufu. (1 Sam. 17:26-32, 42) Dawudi yatwalibwa mu lubiri lwa Kabaka Sawulo, era yalondebwa okukulira abasajja abalwanyi. Enkyukakyuka zino zonna Dawudi yali tazisuubira; era yali tasobola na kuteebereza byandiddiridde.
Enkolagana ya Dawudi ne Sawulo yayonooneka. (1 Sam. 18:8, 9; 19:9, 10) Okusobola okutaasa obulamu bwe, Dawudi yafuuka emmomboze okumala emyaka egiwerako. Ne bwe yali afuga nga kabaka wa Isiraeri, waaliwo enkyukakyuka ez’amaanyi ezajjawo mu bulamu bwe, naddala oluvannyuma lw’okukola obwenzi era, mu kugezaako okukweka ekibi ekyo, n’atta omuntu. Ebibi bye yakola byamuviirako emitawaana mingi mu maka ge. Ng’ekyokulabirako, mutabani we, Abusaalomu yeewaggula. (2 Sam. 12:10-12; 15:1-14) Naye Dawudi bwe yeenenya ebibi bye, obwenzi n’okutta, Yakuwa yamusonyiwa era n’addamu okusiimibwa mu maaso ge.
Embeera zo nazo ziyinza okukyuka. Obulwadde, embeera y’eby’enfuna okwonooneka, oba ebizibu mu maka—n’ebintu bye tukola—biyinza okuleetawo enkyukakyuka mu bulamu bwaffe. Kati olwo biki ebinaatuyamba okwolekagana n’embeera ng’ezo?
Obwetoowaze Butuyamba
Obwetoowaze kizingiramu okuba omuwulize. Obwetoowaze obwa nnamaddala butuyamba okuba abeesimbu mu ngeri gye twetunuuliramu era n’engeri gye tutunuuliramu abalala. Bwe tufuba okutegeera engeri za bannaffe ennungi era n’ebintu ebirungi bye bakola, kijja kutuyamba okumanya obusobozi bwabwe we bukoma n’okusiima ebyo bye bakola. Ate era obwetoowaze butuyamba okutegeera ensonga lwaki ekintu ekimu kitutuuseeko era n’okumanya engeri gye tuyinza okukikwatamu.
Ku nsonga eno, Yonasaani mutabani wa Sawulo kyakulabirako kirungi. Samwiri bwe yagamba Sawulo nti Yakuwa yali agenda kumuggyako obwakabaka, teyagamba nti Yonasaani mutabani we ye yandifuuse kabaka. (1 Sam. 15:28; 16:1, 12, 13) Katonda bwe yakiraga nti Dawudi ye yandifuuse kabaka wa Isiraeri addako, ekyo kyalaga nti Yonasaani si ye yali ow’okusikira kitaawe. Bwe kityo, okwonoona kwa Sawulo kwafiiriza Yonasaani enkizo. Wadde nga yali tavunaanyizibwa lwa nsobi za Sawulo, Yonasaani teyamuddira mu bigere. (1 Sam. 20:30, 31) Yonasaani yeeyisa atya mu mbeera eno? Yakwatirwa Dawudi obujja era n’amusibira ekiruyi? Nedda. Wadde nga Yonasaani yali asinga Dawudi obukulu n’obumanyirivu, yakola kyonna kye yali asobola okumuwagira. (1 Sam. 23:16-18) Obwetoowaze bwamuyamba okutegeera ani eyalina obuwagizi bwa Katonda, ekyo ne kimuyamba “obuteerowoozaako kisukkiridde.” (Bar. 12:3) Yonasaani yategeera ekyo Yakuwa kye yali amwetaagisa okukola era yakkiriza ekyo Kye yali asazeewo.
Kyo kituufu nti enkyukakyuka nnyingi zireetawo obuzibu. Ekiseera kyatuuka Yonasaani ng’alina okukolagana n’abasajja babiri, ate nga bombi yali abaagala. Omu yali mukwano gwe Dawudi, Yakuwa gwe yali alonze okufuuka kabaka mu kiseera eky’omu maaso. Ate omulala yali kitaawe Sawulo, Yakuwa gwe yali asazeewo okuggyako obwakabaka naye nga mu kiseera ekyo ye yali akyafuga. Ekyo kiteekwa okuba nga kyateeka Yonasaani mu mbeera enzibu olw’okuba yalina okufuba okusigala ng’asiimibwa Yakuwa. Enkyukakyuka ze tufuna mu bulamu ziyinza okutuleetera okweraliikirira. Kyokka singa tufuba okutegeera endowooza ya Yakuwa tujja kusobola okweyongera okumuweereza n’obwesigwa nga bwe tweyongera okugumira enkyukakyuka.
Kikulu Okumanya Obusobozi Bwaffe we Bukoma
Omuntu ne bw’aba mwetoowaze, ayinza obutamanya bulungi busobozi bwe we bukoma. Dawudi yali amanyi obusobozi bwe we bukoma. Wadde nga Yakuwa yali amulonze okuba kabaka, yamala ebbanga nga tannatuuzibwa ku ntebe ya bwakabaka. Baibuli terina we tulagira nti Yakuwa yannyonnyola Dawudi ensonga lwaki kyali bwe kityo. Wadde kyali kityo, ekyo tekyamuggya mu mbeera. Yali amanyi obusobozi bwe we bukoma era ng’amanyi nti Yakuwa eyali aleseewo embeera eyo, yali ajja kugitereeza. Bwe kityo Dawudi yali tayinza kutta Sawulo, wadde ng’ekyo kyali kisobola okutaasa obulamu bwe, era yagaana ne Abisaayi okumutta.—1 Sam. 26:6-9.
Ebiseera ebimu wayinza okubaawo ensonga mu kibiina gye tutategeera bulungi oba gye tulowooza nti tekoleddwako bulungi. Ng’abantu abamanyi obusobozi bwaffe we bukoma, tukijjukira nti Yesu ye Mutwe gw’ekibiina era nti akikulembera ng’ayitira mu kakiiko k’abakadde. Okusobola okusigala nga tusiimibwa Yakuwa, tunaalindirira obulagirizi bw’awa okuyitira mu Yesu Kristo? Tunaalindirira Yakuwa ne bwe kiba nga si kyangu kukikola?
Obuwombeefu Butuyamba Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu
Obuwombeefu kitegeeza okuba omuteefu. Butuyamba okuba abagumiikiriza nga tuli mu mbeera enzibu ne tusobola okusigala nga tetusunguwadde, nga tetusibye kiruyi, era nga tetukoze kintu kyonna kwesasuza. Si kyangu kuba muwombeefu. Naye mu lunyiriri olumu mu Baibuli, “abawombeefu ab’omu nsi” bakubirizibwa ‘okunoonya obuwombeefu.’ (Zef. 2:3) Obuwombeefu bulina akakwate n’obwetoowaze era n’okumanya obusobozi bwaffe we bukoma, kyokka buzingiramu n’engeri endala gamba ng’obulungi n’obukkakkamu. Omuntu omuwombeefu akkiriza obulagirizi obumuweebwa era aba mwangu okuyigiriza, ekyo ne kimuyamba okukula mu by’omwoyo.
Obuwombeefu butuyamba butya okwolekagana ne enkyukakyuka mu bulamu bwaffe? Oyinza okuba ng’okyetegerezza nti abantu bangi tebaagala nkyukakyuka, so ng’ate enkyukakyuka ziyinza okutuwa akakisa okuyigirizibwa Yakuwa mu ngeri esingawo. Kino tukirabira ku ebyo ebyatuuka ku Musa.
We yawereza emyaka 40 egy’obukulu, Musa yali amaze okufuna engeri ennungi. Yali akiraze bulungi nti afaayo nnyo ku byetaago by’abantu ba Katonda era nti yalina omwoyo gw’okwefiiriza. (Beb. 11:24-26) Wadde kyali kityo, nga Yakuwa tannaba kumutuma kukulembera baana ba Isiraeri kuva mu Misiri, Musa yalina okwolekagana n’okugezesebwa okwandimuyambye okwongera okuba omuwombeefu. Wadde nga yali wa ttutumu, yalina okudduka okuva mu Misiri agende mu nsi ya Midiyaani abeere eyo okumala emyaka 40 ng’akola ng’omusumba. Biki ebyavaamu? Yasobola okwongera okukulaakulanya engeri ennungi. (Kubal. 12:3) Yayiga okukulembeza Yakuwa by’ayagala mu kifo ky’okukulembeza ebibye.
Okusobola okutegeera obulungi obuwombeefu bwa Musa, lowooza ku ebyo ebyaliwo Yakuwa bwe yagamba nti yali agenda kuleka eggwanga ejjeemu, afuule bazzukulu ba Musa eggwanga ery’amaanyi. (Kubal. 14:11-20) Musa yeegayirira Katonda asonyiwe eggwanga eryo. Ebigambo bye biraga nti kino yakikola ku lw’erinnya lya Katonda ne ku lw’obulungi bwa baganda be. Omulimu Musa gwe yakola ogw’okukulembera eggwanga n’okuba omutabaganya gwali gwetaagisa omuntu omuwombeefu. Wadde nga Miryamu ne Alooni baamwogerako bubi, Baibuli egamba nti Musa “yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna.” (Kubal. 12:1-3, 9-15) Musa alina okuba nga yagumira embeera eno okumala ebbanga. Olowooza biki ebyandivuddemu singa Musa teyali muwombeefu?
Ku mulundi omulala, omwoyo gwa Yakuwa gwatuula ku basajja abamu, ne batandika okulagula. Omuweereza wa Musa, Yoswa, yakitwala nti abamu ku Baisiraeri baali beetulinkirizza nga beefuula bannabbi. Kyokka ye Musa ebintu yabitunuulira nga Yakuwa bw’abitunuulira era kino tekyamuleetera kweraliikirira nti yandifiiriddwa ekifo kye. (Kubal. 11:26-29) Singa Musa teyali muwombeefu, olowooza yandikkiriza enkyukakyuka eno Yakuwa gye yali akoze?
Obuwombeefu bwayamba Musa okukozesa obulungi ekifo kye n’obuyinza obw’amaanyi Katonda bye yali amuwadde. Yakuwa yamugamba alinnye ku Lusozi Kolebu. Oluvannyuma Musa yayimirira mu maaso g’abantu, Katonda n’ayogera naye ng’ayitira mu malayika era n’amulonda okuba omutabaganya w’endagaano. Obuwombeefu bwa Musa bwamuyamba okukkiriza obuvunaanyizibwa buno obwali obw’amaanyi, bw’atyo n’asigala ng’asiimibwa mu maaso ga Katonda.
Ate kiri kitya ku ffe? Naffe twetaaga okuba abawombeefu okusobola okukula mu by’omwoyo. Abo bonna abaweereddwa enkizo n’obuvunaanyizibwa mu bantu ba Katonda beetaga okuba abawombeefu. Ekyo kituyamba obutaba ba malala bwe waba nga wazzeewo enkyukakyuka era kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga twolekagana n’embeera yonna eba ezzeewo. Kikulu nnyo okufaayo ku ngeri gye tweyisaamu. Tunnakkiriza enkyukakyuka eba ezeewo? Tunaagitwala ng’omukisa okulaba wa we tusaanidde okulongoosamu? Ekyo kiyinza okutuyamba okweyongera okuba abantu abawombeefu!
Tewali kubuusabuusa nti tujja kweyongera okufuna enkyukakyuka mu bulamu bwaffe. Oluusi kiyinza n’okutuzibuwalira okumanya ensonga lwaki enkyukakyuka ezo zizzeewo. Embeera yaffe awamu n’ebintu ebirala ebitweraliikiriza biyinza okukifuula ekizibu okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira. Wadde kiri kityo, okuba abeetoowaze, okumanya obusobozi bwaffe we bukoma, n’okuba abawombeefu kijja kutuyamba okukkiriza enkyukakyuka eziba zizzeewo n’okusigala nga tusiimibwa Katonda.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]
Obwetoowaze obwa nnamaddala butuyamba okuba abeesimbu mu ngeri gye twetunuuliramu
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]
Twetaaga okuba abawombeefu okusobola okukula mu by’omwoyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Musa yayolekagana n’okugezesebwa okwamuyamba okweyongera okuba omuwombeefu