EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Sigala ng’Oli Muwombeefu ng’Oyolekaganye n’Embeera Esoomooza
Obuwombeefu bwa Musa bwagezesebwa bwe yayolekagana n’embeera ezisoomooza (Kbl 20:2-5; w19.02 lup. 12 ¶19)
Musa yalemererwa okwoleka obuwombeefu mu mbeera emu (Kbl 20:10; w19.02 lup. 13 ¶20-21)
Yakuwa yakangavvula Musa ne Alooni olw’ensobi gye baakola (Kbl 20:12; w09-E 9/1 lup. 19 ¶5)
Omuntu omuwombeefu tanyiiga mangu era taba wa malala. Ate era, aba mugumiikiriza nga waliwo amunyiizizza, tasiba kirungi, era teyeesasuza.