LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 6/15 lup. 15-19
  • “Wangulanga Obubi” ng’Ofuga Obusungu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Wangulanga Obubi” ng’Ofuga Obusungu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Tuli mu Nsi Ejjudde Abantu Abasunguwavu
  • Ebyokulabirako Ebirungi n’Ebibi
  • Endowooza Omukristaayo gy’Alina Okuba Nayo
  • Okuba Omukkakkamu eri Bonna Kivaamu Ebirungi
  • “Omuntu Omutegeevu Alwawo Okusunguwala”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Busungu?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okwogera mu Ngeri ey’Ekisa Kiyamba Okukuuma Enkolagana Ennungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 6/15 lup. 15-19

“Wangulanga Obubi” ng’Ofuga Obusungu

‘Towooleranga ggwanga, naye wangulanga obubi ng’okola ebirungi.’​—BAR. 12:19, 21.

1, 2. Kyakulabirako ki ekirungi Abajulirwa ba Yakuwa abaali batambulira mu nnyonyi kye baatekawo?

ABAJULIRWA BA YAKUWA 34 bwe baali bagenda ku mukolo ogw’okuwaayo ofiisi y’ettabi, ennyonyi mwe baali batambulira yafuna obuzibu n’ebalwisa. Mu kifo ky’okumala essaawa emu yokka ng’enywa amafuta ku kisaawe ky’ennyonyi ekiri mu kifo ekyesudde, ennyonyi eyo yamalawo essaawa 44 nnamba kyokka nga mu kifo ekyo tewaaliyo bya kulya, mazzi, n’eby’okukozesa ebirala. Abasaabaze bangi baava mu mbeera era ne baagala okwekalakaasa. Kyokka bo ab’oluganda baasigala nga bakkakkamu.

2 Kya ddaaki Abajulirwa abo baatuuka gye baali bagenda era baasanga omukolo gunaatera okukomekkerezebwa. Wadde nga baali bakooye, ab’oluganda abo baasigalawo okumala akaseera ng’omukolo guwedde basobole okunyumyako n’ab’oluganda ab’omu kitundu. Oluvannyuma baakitegeerako nti waaliwo omuntu eyali yeetegereza engeri gye baayolekamu obugumiikiriza n’okwefuga. Omu ku basaabaze yagamba abo abaddukanya kampuni y’ennyonyi nti, “Singa tebaabadde Bakristaayo 34 abaabadde naffe mu nnyonyi, wandibaddewo akeegugungo ak’amaanyi ku kisaawe ky’ennyonyi.”

Tuli mu Nsi Ejjudde Abantu Abasunguwavu

3, 4. (a) Ebikolwa eby’obukambwe bimaze bbanga ki nga bikolebwa era bikosezza bitya abantu? (b) Kayini yali asobola okufuga obusungu bwe? Nnyonnyola.

3 Ebizibu ebingi ebiri mu nsi eno leero bisobola okuleetera abantu okusunguwala. (Mub. 7:7) Emirundi egisinga, obusungu obwo buleetedde abantu okukyawa bannaabwe era n’okwenyigira mu bikolwa eby’ettemu. Amawanga mangi galwanagana era n’abantu baago nabo balwanagana bokka na bokka. Ate era ebizibu biviiriddeko obukuubagano bungi mu maka. Ebikolwa ng’ebyo eby’obukambwe bimaze ebbanga ddene nnyo nga weebiri. Kayini, mutabani wa Adamu ne Kaawa omubereberye, yatta muto we Abbeeri olw’obusungu. Kayini yakola ekikolwa ekyo ekibi wadde nga Yakuwa yali amulabudde okufuga obusungu bwe era ng’amusuubizza okumuwa omukisa bwe yandikikoze.​—Soma Olubereberye 4:6-8.

4 Wadde nga yali asikidde obutali butuukirivu, Kayini yali alina ky’asobola okukolawo. Yali asobola okufuga obusungu bwe. Eyo ye nsonga lwaki yavvunaanibwa olw’ekikolwa ekyo eky’ettemu. Mu ngeri y’emu, naffe olw’okuba tetutuukiridde, kituzibuwalira okufuga obusungu n’okwewala ebikola eby’obukambwe. Era ebizibu ebirala eby’amaanyi bye tufuna mu ‘biseera bino ebizibu’ nabyo byongera ku nnaku gye tulina. (2 Tim. 3:1) Ng’ekyokulabirako, obuzibu bw’eby’enfuna butuleetera okweraliikirira. Ebitongole bya poliisi n’ebibiina ebikola ku nsonga z’amaka bikizudde nti obutabanguko obusinga obungi mu maka buva ku bizibu bya byanfuna.

5, 6. Ndowooza ki abantu mu nsi gye balina ku busungu esobola okuba ey’akabi gye tuli?

5 Okugatta ku ekyo, bangi ku bantu be tubeeramu “beeyagala bokka,” “ba malala,” era “bakambwe.” Kyangu abantu abeeyisa bwe batyo okutunyiiza. (2 Tim. 3:2-5) Ebintu bingi ebiragibwa mu firimu ne ku ttivi biraga nti tekiba kibi okuwoolera eggwanga era n’okukola ebikolwa eby’obukambwe okusobola okugonjoola ebizibu. Firimu ng’ezo zireetera abo abaziraba okwesunga okulaba ng’omuzannyi omukulu “asasula oyo aba azzizza omusango ekimugwanira” mu ngeri ey’obukambwe.

6 Obulimba ng’obwo tebukubiriza bantu kukola Katonda by’ayagala, wabula bukubiriza “mwoyo gwa nsi” era ogw’omufuzi waayo omukambwe, Sitaani. (1 Kol. 2:12; Bef. 2:2; Kub. 12:12) Omwoyo ogwo gukubiriza okwegomba kw’omubiri era gukontanira ddala n’omwoyo gwa Katonda omutukuvu awamu n’ekibala kyagwo. Mu butuufu, ekimu ku bintu ebikulu Abakristaayo bye bayigirizibwa kwe kwewala okwesasuza nga waliwo abanyiizizza. (Soma Matayo 5:39, 44, 45.) Kati olwo tuyinza tutya okukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza?

Ebyokulabirako Ebirungi n’Ebibi

7. Biki ebyava mu kuba nti Simyoni ne Leevi baalemererwa okufuga obusungu bwabwe?

7 Baibuli etukubiriza okufuga obusungu, era erimu n’ebyokulabirako bingi ebiraga ekyo ekiyinza okuvaamu singa tufuga obusungu oba singa tulemererwa okubufuga. Lowooza ku ekyo ekyaliwo batabani ba Yakobo, Simyoni ne Leevi, bwe beesasuza Sekemu olw’okukwata mwannyinaabwe Dina. ‘Baanakuwala era ne basunguwala nnyo.’ (Lub. 34:7) N’ekyaddirira, batabani ba Yakobo abalala batta buli musajja eyali mu kibuga kya Sekemu, ne banyaga ebintu byamu, era ne bawamba abakazi n’abaana. Ebyo byonna baabikola si lwa kuba nti Dina yali akwatiddwa kyokka, naye n’olw’okuba nti baalina amalala. Baawulira nti Sekemu yali abaswazizza nnyo era ng’aswazizza ne kitaabwe, Yakobo. Naye Yakobo yatwala atya ebikolwa byabwe ebyo?

8. Ebyo ebikwata ku Simyoni ne Leevi bituyigiriza ki ku kuwoolera eggwanga?

8 Ebyo ebyatuuka ku Dina birina okuba nga byanakuwaza nnyo Yakobo. Wadde kyali kityo, yavumirira batabani be olw’okuwoolera eggwanga. Simyoni ne Leevi baagezaako okwewolereza nga bagamba nti: ‘Kirungi omuntu yenna okuyisa mwannyinaffe ng’omwenzi?’ (Lub. 34:31, NW) Kyokka ebintu tebyakoma awo, kubanga ne Yakuwa yanyiiga nnyo. Nga wayiseewo emyaka egiwerako, Yakobo yalagula nti olw’ebikolwa bya Simyoni ne Leevi eby’obukambwe, bazzukulu baabwe bandisaasaanye mu bika bya Isiraeri. (Soma Olubereberye 49:5-7.) Yee, obutafuga busungu kyabaviirako okunyiiza Katonda ne kitaabwe.

9. Kiki ekyali kireetedde Dawudi okulemererwa okufuga obusungu bwe?

9 Kabaka Dawudi ye yali wa njawulo. Yafuna emikisa egiwerako okwesasuza, naye teyakikola. (1 Sam. 24:3-7) Naye lumu yali alemereddwa okufuga obusungu bwe. Omusajja omugagga ayitibwa Nabali yaboggolera abasajja ba Dawudi kyokka nga baali bakuumye endiga ze n’abasumba be. Dawudi yali anaatera okuwoolera eggwanga olw’okuba Nabali yali ayisizza bubi abasajja be. Dawudi ne basajja be bwe baali bagenda okulumba Nabali n’ab’omu maka ge, waliwo omuvubuka eyabuulirako Abbigayiri, muka Nabali eyali ow’amagezi, ekyo ekyali kigenda okubaawo era n’amukubiriza okubaako ky’akolawo. Amangu ago, Abbigayiri yateekateeka ebirabo bingi n’agenda okusisinkana Dawudi. Yeetonda olw’empisa za Nabali embi era n’akubiriza Dawudi obutakola kintu kinyiiza Yakuwa. Dawudi yakkakkana era n’agamba nti: “Naawe otenderezebwe ankuumye leero, obutabaako musango gwa musaayi.”​—1 Sam. 25:2-35.

Endowooza Omukristaayo gy’Alina Okuba Nayo

10. Abakristaayo basaanidde kuba na ndowooza ki ku kuwoolera eggwanga?

10 Ebyo ebikwata ku Simyoni ne Leevi era n’ebyo ebyali wakati wa Dawudi ne Abbigayiri biraga nti Yakuwa akyawa abantu abatafuga busungu n’abo abakola ebikolwa eby’obukambwe era nti awa omukisa abo abafuba okuleetawo emirembe. Omutume Pawulo yagamba nti: “Mukolenga kyonna kye musobola okutabagana n’abantu bonna. Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye muwe obusungu bwa Katonda omwagaanya: kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Yakuwa.’ Naye, ‘omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe eky’okulya; bw’aba alumwa ennyonta muwe eky’okunywa; kubanga bw’okola bw’otyo ojja kutuuma amanda agaaka ku mutwe gwe.’ Tokkirizanga kuwangulwa bubi, naye wangulanga obubi ng’okola ebirungi.”​—Bar. 12:18-21.a

11. Mwannyinaffe omu yayiga atya okufuga obusungu bwe?

11 Naffe tuyinza okukolera ku magezi ago. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu yayogerako n’omukadde nga yeemulugunya ku ngeri mukama we omupya gy’amuyisaamu ku mulimu. Yagamba nti mukama we talina kisa era si mwenkanya. Olw’okuba yamunyiiza, mwannyinaffe yali ayagala kuleka mulimu ogwo. Naye omukadde yamukubiriza obutayanguyiriza kukikola. Yakizuula nti olw’okuba mwannyinaffe yali tafuze busungu bwe, ekyo kyali kyongedde kwonoona mbeera. (Tit. 3:1-3) Omukadde yamugamba nti ne bw’anaafuna omulimu omulala, kijja kuba kimwetaagisa okukyusa mu ngeri gye yeeyisaamu nga waliwo amuyisizza obubi. Yakubiriza mwannyinaffe okukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza, ng’ayisa mukama we nga naye bwe yandyagadde okuyisibwa. (Soma Lukka 6:31.) Ekyo mwannyinaffe yakkiriza okukikola. Biki ebyavaamu? Oluvannyuma lw’ekiseera, mukama we yatandika okumuyisa mu ngeri ey’ekisa, n’atuuka n’okumwebaza olw’emirimu gye yali akola.

12. Lwaki tuyisibwa bubi nnyo nga Bakristaayo bannaffe batunyiizizza?

12 Kiyinza obutatwewuunyisa singa tufuna ebizibu ng’ebyo n’omuntu ali ebweru w’ekibiina Ekikristaayo. Tukimanyi bulungi nti abantu abali mu nteekateeka ya Sitaani si benkanya era nti tulina okwewala okusunguwala ng’abantu abo ababi balina kye batukoze. (Zab. 37:1-11; Mub. 8:12, 13; 12:13, 14) Naye singa omuntu aba atunyiizizza aba mukkiriza munnaffe, ekyo kiyinza okutuyisa obubi ennyo. Mwannyinaffe omu agamba nti, “Ekintu ekyasinga okunzibuwalira nga njiga amazima, kwe kukkiriza nti abantu ba Yakuwa nabo tebatuukiridde.” Oluvannyuma lw’okuva mu nsi omutali kwagala era omuli abantu abeefaako bokka, tuba tusuubira nti buli omu ali mu kibiina ajja kuyisa munne mu ngeri ey’ekisa. N’olwekyo, singa Mukristaayo munnaffe, naddala oyo aba alina obuvunaanyizibwa mu kibiina, atuyisa bubi oba aba tafaayo ku nneewulira z’abalala, ekyo kiyinza okutuleetera okunyiiga. Tuyinza okwebuuza, ‘Ekintu ng’ekyo kiyinza kitya okuba mu bantu ba Katonda?’ Mu butuufu, ebintu ng’ebyo byaliwo ne mu Bakristaayo abaafukibwako amafuta mu kiseera ky’abatume. (Bag. 2:11-14; 5:15; Yak. 3:14, 15) Ekyo bwe kitutuukako, tusaanidde kukola ki?

13. Lwaki tusaanidde okufuba okumalawo obutategeeragana era ekyo tuyinza kukikola tutya?

13 Mwannyinaffe ayogeddwako waggulu agamba nti, “Nnayiga okusabira omuntu yenna aba ampisizza obubi era ekyo kinnyambye nnyo.” Nga bwe twalabye, Yesu yatukubiriza okusabira abo abatuyigganya. (Mat. 5:44) Tetwandifubye nnyo n’okusingawo okusabira baganda baffe ne bannyinnaffe! Nga taata bw’asanyuka okulaba ng’abaana be baagalana, bw’atyo ne Yakuwa asanyuka nnyo okulaba ng’abaweereza be ku nsi baagalana. Twesunga ekiseera we tunaabeerera awamu mu mirembe ebbanga lyonna, era ekyo Yakuwa akituyigiriza kati. Ayagala tukolaganire wamu nga tukola omulimu omukulu gwe yatuwa. N’olwekyo, ka tufube okugonjoola obutategeeragana oba tube beetegefu “okusonyiwa” nga tubuusa amaaso ensobi z’abalala tusobole okusigala nga tuli bumu. (Soma Engero 19:11.) Mu kifo ky’okwesala ku baganda baffe nga wazzeewo ebizibu, tusaanidde okuyambagana tusobole okusigala mu bantu ba Katonda, nga tukuumibwa Yakuwa mu ‘mikono gye egy’olubeerera.’​—Ma. 33:27, Baibuli y’Oluganda eya 2003.

Okuba Omukkakkamu eri Bonna Kivaamu Ebirungi

14. Tusobola tutya okwewala enjawukana Sitaani z’aleetawo?

14 Okusobola okutulemesa okubuulira amawulire amalungi, Sitaani ne badayimooni bafuba okulaba nti batabangula emirembe mu maka ne mu kibiina. Bafuba okuleetawo enjawukana, kuba bakimanyi nti enjawukana ng’ezo za mutawaana nnyo. (Mat. 12:25) Okusobola okwewala enjawukana Sitaani z’aleetawo, twetaaga okukolera ku bigambo bya Pawulo bino: “Omuddu wa Mukama tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu eri bonna.” (2 Tim. 2:24) Jjukira nti ‘tetumeggana na musaayi na mubiri, naye tumeggana na myoyo emibi.’ Okusobola okuwangula olutalo luno, twetaaga okukozesa ebyokulwanyisa eby’omwoyo, omuli “amawulire amalungi ag’emirembe.”​—Bef. 6:12-18.

15. Bwe wabaawo abantu abatuyigganya, twandyeyisizza tutya?

15 Abalabe ba Yakuwa baagala nnyo okukola obulumbaganyi ku bantu be ab’emirembe. Abamu ku balabe bano batuusa obulabe ku Bajulirwa ba Yakuwa. Abalala batwogerako eby’obulimba ku mikutu gy’eby’empuliziganya oba mu kkooti z’amateeka. Yesu yagamba abagoberezi be okusuubira ebintu ng’ebyo. (Mat. 5:11, 12) Ffe twandyeyisizza tutya? Tetulina “kukola muntu kibi olw’okuba atukoze ekibi,” ka kibe mu bigambo oba mu bikolwa.​—Bar. 12:17; soma 1 Peetero 3:16.

16, 17. Buzibu ki ekibiina ekimu bwe kyafuna?

16 Ka kibe ki Omulyolyomi ky’atukola, bwe ‘tuwangula obubi nga tukola ebirungi,’ kiyinza okuwa obujulirwa obw’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekimu ekisangibwa ku kizinga ky’ennyanja Pacific kyapangisa ekizimbe okusobola okukwatiramu Ekijjukizo. Abakulu b’eddiini y’omu kitundu ekyo bwe baakitegeerako, baakunga abagoberezi baabwe okukuŋŋaana basabire mu kizimbe ekyo mu kiseera omukolo gw’Ekijjukizo we gwali gulina okubeererawo. Kyokka, akulira poliisi yali alagidde abakulu b’eddiini abo obutabeera mu kizimbe ekyo mu kiseera Abajulirwa ba Yakuwa we baali balina okubeereramu. Wadde kyali kityo, ekiseera ekyo we kyatuukira ekizimbe kyonna kyali kijjudde abakulu b’eddiini n’abagoberezi baabwe era nga batandise okusaba.

17 Poliisi bwe yali eteekateeka okubagobamu, omukulembeze w’eddiini eyo yajja eri omu ku bakadde n’amubuuza: “Mulina kye mubadde muteeseteese okukolera mu kizimbe kino akawungeezi ka leero?” Ow’oluganda bwe yamubuulira ku mukolo gw’Ekijjukizo, omusajja oyo yagamba nti: “Ee! Nze mbadde simanyi.” Awo owa poliisi omu kwe kumugamba nti: “Naye ekyo twakibagambye ku makya!” Oluvannyuma omukulembeze w’eddiini oyo yagenda eri omukadde nga bwe yeesesa n’amugamba nti: “Kati mugenda kukola ki? Abantu baabo bajjudde mu kizimbe. Mugenda kulagira poliisi etugobemu?” Omukulembeze w’eddiini oyo yali ayagala kirabike nga gy’obeera Abajulirwa ba Yakuwa be baali babayigganya! Ab’oluganda beeyisa batya?

18. Ab’oluganda beeyisa batya bwe baasoomoozebwa, era biki ebyavaamu?

18 Abajulirwa bakkiriza abakulu b’eddiini abo okukozesa ekizimbe okumala eddakiika 30, oluvannyuma nabo bakwatiremu omukolo gw’Ekijjukizo. Abantu abo baayisa mu budde obwali bubaweereddwa, naye oluvannyuma lw’okuva mu kizimbe ekyo, omukolo gw’Ekijjukizo gwatandika. Olunaku olwaddako, gavumenti yateekawo akakiiko kabuulirize ku ebyo ebyali bibaddewo. Oluvannyuma lw’okwetegereza ensonga, akakiiko kaalagira abakulu b’eddiini abo okulangirira nti ebizibu byonna ebyaliwo byava ku mukulembeze wa ddiini yaabwe, so si ku Bajulirwa ba Yakuwa. Era akakiiko ako keebaza nnyo Abajulirwa ba Yakuwa olw’okwoleka obugumiikiriza mu mbeera eyo eyali enzibu. Olw’okuba Abajulirwa baafuba “okutabagana n’abantu bonna,” ekyo kyavaamu ebirungi.

19. Kiki ekirala ekiyinza okutuyamba okusigala mu mirembe n’abalala?

19 Ekintu ekirala ekiyinza okutuyamba okuba n’enkolagana ennungi n’abalala kwe kwogera mu ngeri ey’ekisa. Ekitundu ekiddako kijja kulaga kye kitegeeza okwogera mu ngeri ey’ekisa era kirage n’engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.

[Obugambo obuli wansi]

a Mu biseera by’edda, “amanda agaaka” gaateekebwanga wansi w’ebyuma ne waggulu wabyo okusobola okubisaanuusa biveemu obukyafu. Mu ngeri y’emu, okulaga ekisa abo abatuyisa obubi kisobola okubaleetera okukyusa endowooza zaabwe ne booleka engeri ennungi.

Osobola Okunnyonnyola?

• Lwaki leero abantu bangi basunguwavu?

• Byakulabirako ki ebiri mu Baibuli ebiraga ebyo ebiyinza okuvaamu singa tufuga obusungu oba singa tulemererwa okubufuga?

• Twandyeyisizza tutya singa Mukristaayo munnaffe atuyisa bubi?

• Bwe wabaawo abantu abatuyigganya twandyeyisizza tutya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Simyoni ne Leevi baalemererwa okufuga obusungu bwabwe wadde ng’oluvannyuma beekuba mu kifuba

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]

Okwoleka ekisa kisobola okukyusa endowooza y’abalala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share